Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitundu Ekyokutaano eky’Ekitabo kya Zabbuli
ABAGAGGA bayinza okugamba nti: ‘Batabani baffe bali ng’emiti egikuze nga bakyali bavubuka; n’abawala baffe ng’amayinja ag’omu nsonda agabajjibwa nga bagabajjira mu lubiri; Amawanika gaffe gajjudde, n’endiga zaffe zizaala enkumi n’obukumi.’ Ate era abagagga bayinza okugamba: “Balina omukisa abantu ababeera bwe batyo.” Kyokka, okwawukana ku ekyo omuwandiisi wa Zabbuli agamba: “Balina omukisa [essanyu] abantu abalina Katonda waabwe ye Mukama.” (Zabbuli 144:12-15) Mazima ddala twandisuubidde abantu ba Katonda okubeera abasanyufu. Yakuwa Katonda musanyufu, era abo abamusinza nabo baba basanyufu. (1 Timoseewo 1:11) Ekyo kyeyolekera mu kitundu ekisembayo eky’ennyimba ezaaluŋŋamizibwa Katonda, ekirimu Zabbuli 107 okutuuka ku 150.
Ekitundu eky’Okutaano eky’Ekitabo kya Zabbuli era kyogera ku ngeri za Katonda ennungi ennyo nga mw’otwalidde ekisa kye eky’ensusso, amazima ge, n’obulungi bwe. Gye tukoma okumanya engeri za Katonda, gye tukoma okumwagala n’okumutya. N’ekivaamu, tubeera basanyufu. Ng’Ekitundu Ekyokutaano eky’Ekitabo kya Zabbuli kirimu obubaka obw’omuganyulo!—Abaebbulaniya 4:12.
BASANYUFU OLW’EKISA KYA YAKUWA EKY’ENSUSSO
Abayudaaya abaakomawo okuva mu buwambe e Babulooni baayimba nti: ‘Abantu ka batendereze Yakuwa olw’ekisa kye, era n’olw’ebikolwa bye eby’ekitalo by’akoledde abantu.’ (Zabbuli 107:8, 15, 21, 31) Ng’atendereza Katonda, Dawudi yayimba: “N’amazima go gatuuka mu ggulu.” (Zabbuli 108:4) Mu Zabbuli eddako, asaba bw’ati: “Onnyambe, ai Mukama Katonda wange; Nkwegayiridde ondokole ng’okusaasira kwo bwe kuli.” (Zabbuli 109:18, 19, 26) Zabbuli 110 bunnabbi obukwata ku bufuzi bwa Masiya. Zabbuli 111:10 lugamba: “Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera.” Zabbuli eddako egamba, “alina omukisa oyo atya Mukama.”—Zabbuli 112:1.
Zabbuli 113 okutuuka ku 118 zoogera nnyo ku kutendereza Yakuwa. Okusinziira ku kiwandiiko eky’omu kyasa eky’okusatu ekyogera ku bulombolombo, ennyimba zino zaayimbibwanga ku mukolo ogw’Okuyitako ne ku mbaga z’Abayudaaya essatu ezaabangawo buli mwaka. Zabbuli 119, esinga Zabbuli n’essuula zonna ez’omu Baibuli obuwanvu, egulumiza Ekigambo kya Yakuwa oba obubaka bwe.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
109:23—Dawudi yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Ŋŋendedde ddala ng’ekisiikirize bwe kiggwaawo”? Mu ngeri ey’ekitontome Dawudi yali agamba nti anaatera okufa.—Zabbuli 102:11.
110:1, 2—Kiki “Mukama [wa Dawudi],” Yesu Kristo, kye yakola ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda? Oluvannyuma lw’okuzuukira kwe, Yesu yagenda mu ggulu n’alindirira ng’ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda okutuusa ku mwaka 1914 lwe yanditandise okufuga nga Kabaka. Ng’omwaka ogwo tegunnatuuka, Yesu yali afuga abagoberezi be abaafukibwako amafuta ng’abawa obulagirizi bw’okubuulira n’okufuula abayigirizwa era ng’abateekateeka okufugira awamu mu Bwakabaka bwe.—Matayo 24:14; 28:18-20; Lukka 22:28-30.
110:4—Kiki Yakuwa kye ‘yalayirira ky’atagenda kwejjusa’? Ekirayiro kino y’endagaano Yakuwa gye yakola ne Yesu Kristo okuweereza nga Kabaka era Kabona Asinga Obukulu.—Lukka 22:29.
113:3—Mu ngeri ki erinnya lya Yakuwa gye lijja okutenderezebwa “okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba”? Ekyo tekikwata ku kibinja ky’abantu abatendereza Katonda buli lunaku bokka. Okuva mu buvanjuba n’okutuuka mu bugwanjuba, ekitangaala ky’omusana kimulisa ensi yonna. Mu ngeri y’emu, Yakuwa alina okutenderezebwa mu nsi yonna. Kino tekiyinza kukolebwa mu ngeri etali ntegeke obulungi. Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tulina enkizo ey’omuwendo ey’okutendereza Katonda n’okukola omulimu gw’okulangirira Obwakabaka n’obunyiikivu.
116:15—Mu ngeri ki ‘okufa kw’abatukuvu ba Yakuwa gye kuli okw’omuwendo ennyo mu maaso ge’? Abasinza ba Yakuwa ba muwendo nnyo gy’ali ne kiba nti tayinza kukkiriza baweereza be bonna okufa omulundi gumu. Ekyo singa Yakuwa akikkiriza okubaawo, kyandirabise nti abalabe be bamusinga amaanyi. Ate era, tewandibaddewo muntu n’omu eyandirekeddwawo okuba omusingi gw’ensi empya.
119:71—Kirungi ki ekiri mu kubonyaabonyezebwa? Ebizibu bisobola okutuyigiriza okwesiga Yakuwa mu bujjuvu, okumusaba entakera era n’okunyiikirira okusoma Baibuli n’okussa mu nkola by’egamba. Kyokka, engeri gye tweyisaamu nga tuli mu kizibu eyinza okulaga nti tulina engeri ezeetaaga okutereezebwa. Tetujja kuwulira bubi singa okubonaabona tukutunuulira ng’ekintu ekiyinza okutereeza engeri zaffe.
119:96—Ebigambo ‘enkomerero y’ebintu byonna ebyatuukirira,’ bitegeeza ki? Omuwandiisi wa Zabbuli ayogera ku butuukirivu ng’asinziira ku ndaba ey’obuntu. Oboolyawo yali ategeeza nti engeri omuntu gy’ategeeramu obutuukirivu eriko ekkomo. Okwawukana ku ekyo, ebiragiro bya Katonda byo tebiriiko kkomo. Obulagirizi obubirimu bukwata ku mbeera zonna ez’obulamu. Enkyusa eya New International Version egamba nti “Ndabye ng’ebintu byonna ebyatuukirira biriko ekkomo, naye amateeka go tegaaliko kkomo.”
119:164—Makulu ki agali mu kutendereza Katonda ‘emirundi musanvu buli lunaku’? Nnamba musanvu etera okukiikirira obujjuvu. N’olwekyo, omuwandiisi wa Zabbuli agamba nti Yakuwa agwanidde okutenderezebwa mu bujjuvu.
Bye Tuyigamu:
107:27-31. Amagezi g’omu nsi ‘gajja kubula’ nga Kalumagedoni abaluseewo. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Tegasobola kuwonyawo muntu n’atazikirizibwa. Abo bokka abeesiga Yakuwa okubalokola be bajja ‘okutendereza Mukama olw’ekisa kye eky’ensusso.’
109:30, 31; 110:5. Omukono ogwa ddyo ogw’omuserikale ogukwata ekitala tegukuumibwa ngabo ekwatirwa ku mukono ogwa kkono. Mu ngeri ey’akabonero, Yakuwa ali “ku mukono ogwa ddyo” ogw’abaweereza be okubalwanirira. Bwe kityo abawa obukuumi n’obuyambi—ensonga ennungi etuleetera ‘okumwebaza ennyo.’
113:4-9. Yakuwa ali wa ggulu nnyo ne kiba nti kimwetaagisa okukutama okusobola ‘okutunuulira ebiri mu ggulu.’ Wadde kiri kityo, asaasira abanaku, abaavu n’omukazi omugumba. Yakuwa Mukama Afuga byonna mwetoowaze era ayagala abasinza be babe beetoowaze.—Yakobo 4:6.
114:3-7. Twandikwatiddwako nnyo bwe tuyiga ku bikolwa eby’ekitalo Yakuwa bye yakola ku lw’abantu be ku Nnyanja Emmyufu, ku Mugga Yoludaani, ne ku Lusozi Sinaayi. Omuntu akiikirirwa “ensi” yandibadde mu kutya—mu ngeri ey’akabonero “mu bulumi obw’amaanyi, NW—awali Mukama.
119:97-101. Okufuna amagezi, n’okutegeera okuva mu kigambo kya Katonda kitukuuma ne tutafuna kabi mu by’omwoyo.
119:105. Ekigambo kya Katonda ttabaaza eri ebigere byaffe mu ngeri nti kituyamba okukola ku bizibu bye twolekagana nabyo mu kiseera kino. Ate era, mu ngeri ey’akabonero, kimulisa ekkubo lyaffe, okuva bwe kitubuulira ekigendererwa kya Katonda eky’omu maaso.
BASANYUFU WADDE NGA BOOLEKAGANA N’EBIZIBU
Tusobola tutya okwolekagana n’embeera ezigezesa kyokka ne tusigala nga tuli banywevu? Zabbuli 120 okutuuka ku 134 ziddamu bulungi ekibuuzo ekyo. Bwe twesiga Yakuwa okutuwa obuyambi, tusobola okwaŋŋanga ebizibu era ne tusigala nga tuli basanyufu. Zabbuli zino, eziyitibwa Ennyimba ez’oku Madaala, oboolyawo zaayimbibwanga Abaisiraeri nga bambuka e Yerusaalemi okukwata embaga eza buli mwaka.
Zabbuli 135 ne 136 zoogera ku Yakuwa ng’oyo akola ekimusanyusa, era ng’ekyo kimufuula wa njawulo nnyo ku bifaananyi ebitalina kye bisobola kukola. Zabbuli 136 yayiiyizibwa mu ngeri nti abamu bwe bayimba ekitundu eky’olunyiriri ekisooka abalala bayimba ekitundu ekisembayo. Zabbuli eddako eyogera ku Bayudaaya abanakuwavu abaali mu Babulooni abaali baagala okusinza Yakuwa mu Sayuuni. Zabbuli 138 okutuuka ku 145 zaayiyizibwa Dawudi. Yali ayagala ‘okutendereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna.’ Lwaki? Agamba nti “Kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo.” (Zabbuli 138:1; 139:14) Mu Zabbuli eziddirira, Dawudi asaba okufuna obukuumi okuva ku basajja ababi, okukangavvulwa mu butuukirivu, okununulwa okuva ku bamuyigganya era n’okufuna obulagirizi ku ngeri y’okweyisaamu. Ayogera ku ssanyu ly’abantu ba Yakuwa. (Zabbuli 144:15) Oluvannyuma lw’okwekenneenya obukulu n’obulungi bwa Katonda, Dawudi yagamba: “Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama; Era ne byonna ebirina emibiri byebazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n’emirembe.”—Zabbuli 145:21.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
122:3—Mu ngeri ki Yerusaalemi gye kyali ekibuga “ekigattiddwa awamu”? Nga bwe kyali mu bibuga eby’edda, amayumba mu Yerusaalemi gaazimbibwanga kumukumu, n’olwekyo kyali kyangu okukikuuma. Olw’okuba ennyumba zaali nga kumukumu, abantu abaali mu kibuga ekyo baali basobola okuyambagana n’okukuumagana. Kino kyali kiraga obumu obwaliwo mu by’omwoyo mu bika 12 ebya Isiraeri bwe byakuŋŋaananga awamu okusinza.
123:2—Makulu ki agali mu kyokulabirako ekikwata ku maaso g’abaddu? Abaddu n’abazaana batunuulira omukono gwa mukama waabwe olw’ensonga bbiri: okusobola okumanya by’ayagala n’okufuna obukuumi ne bye yeetaaga mu bulamu. Mu ngeri y’emu, naffe tutunuulira Yakuwa okusobola okumanya by’ayagala n’okusiimibwa.
131:1-3—Mu ngeri ki Dawudi gye ‘yagonza era n’asirisa emmeeme ye ng’omwana avudde ku mabeere awali nnyina’? Ng’omwana omuwere avudde ku mabeere bw’afuna okubudaabudibwa n’obumativu mu mikono gya nnyina, Dawudi yayiga engeri y’okugonzaamu n’okusirisaamu emmeeme ye ‘ng’omwana avudde ku mabeere awali nnyina.’ Mu ngeri ki? Nga yeewala okuba ow’amalala mu mutima, nga teyeegulumiza era nga tanoonya bintu ebyali bimusukkiridde. Mu kifo ky’okunoonya ettutumu, yamanya w’akoma era n’ayoleka obwetoowaze. Kiba kirungi okukoppa endowooza ye, naddala bwe tuba tuluubirira enkizo mu kibiina.
Bye Tuyigamu:
120:1, 2, 6, 7. Okuwaayiriza n’okwogera ebigambo ebisongovu kiyinza okulumya abalala. Okufuga olulimi lwaffe ye ngeri emu mwetulagira nti ‘twagala emirembe.’
120:3, 4. Bwe tuba ab’okugumiikiriza omuntu alina ‘olulimu olukuusakuusa,’ tuyinza okubudaabudibwa bwe tumanya nti Yakuwa ajja kutereeza ensonga mu kiseera kye ekigereke. Abawaayiriza bajja kubonaabonera mu mikono ‘gy’omuzira.’ Awatali kubuusabuusa Yakuwa ajja kubasalira omusango ogukiikirirwa ‘amanda ag’entaseesa.’
127:1, 2. Mu byonna bye tukola tusaanidde okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa.
133:1-3. Obumu bw’abantu ba Yakuwa buweweeza, buzimba era buzzaamu amaanyi. Tetwandibutabangudde nga tunoonyereza ensobi, tuyomba oba nga twemulugunya.
137:1, 5, 6. Abasinza ba Yakuwa abaali mu buwaŋŋanguse baali baagala nnyo Sayuuni—ekitundu eky’entegeka ya Katonda ey’oku nsi ekyaliwo mu kiseera ekyo. Ate kiri kitya gye tuli? Tunyweredde ku kibiina Yakuwa ky’akozesa leero?
138:2. Yakuwa ‘agulumiza ekigambo kye okusinga erinnya lye’ mu ngeri nti okutuukirizibwa ku ebyo byonna by’asuubiza mu linnya lye kujja kusinga ekyo kyonna kye tuyinza okusuubira. Mazima ddala, tusuubira ebintu eby’ekitalo mu biseera eby’omu maaso.
139:1-6, 15, 16. Yakuwa amanyi bye tukola, bye tulowooza n’ebigambo byaffe nga tetunnaba na kubyogera. Yatumanya okuviira ddala ku kiseera lwe twatondebwa mu lubuto, nga buli kitundu kya mubiri gwaffe tekinnakolebwa. Engeri Katonda gy’atumanyiimu ng’abantu kinnoomu ya ‘kitalo nnyo’ ne tuba nga tetusobola na kugitegeera. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa tamanyi bumanya mbeera nzibu gye twolekagana nayo, naye era amanyi n’engeri gye tukwatibwako!
139:7-12. Mu kifo wonna gye tuba, Katonda asobola okutuzzaamu amaanyi.
139:17, 18. Okumanya okukwata ku Yakuwa kutusanyusa? (Engero 2:10) Bwe kiba bwe kityo, tuba tufunye ensibuko ey’essanyu ery’olubeerera. Ebirowoozo bya Yakuwa ‘bisinga omusenyu omuwendo.’ Bulijjo wajja kubangawo ekippya kye tuyiga ekimukwatako.
139:23, 24. Twandyagadde Yakuwa akebera omutima gwaffe alabe obanga ‘mulimu obubi’—ebirowoozo n’okwegomba ebitasaanira—era atuyambe okubyeggyamu.
143:4-7. Tuyinza tutya okugumira obuzibu obw’amaanyi ennyo? Omuwandiisi wa Zabbuli atutegeeza ekiyinza okutuyamba: Lowooza ku bikolwa bya Yakuwa, ofumiitirize ku mulimu gw’engalo ze era omusabe akuwe obuyambi.
“Mumutendereze Mukama”
Buli kimu ku bitundu ebina ebisooka eby’ekitabo kya Zabbuli kifundikira n’ebigambo mumutendereze Mukama. (Zabbuli 41:13; 72:19, 20; 89:52; 106:48) N’ekitundu ekisembayo nakyo kikomekkereza n’ebigambo ebyo bye bimu. Zabbuli 150:6 lugamba: “Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama. Mumutendereze Mukama.” Mazima ddala ekyo kijja kutuukirira mu nsi empya.
Nga twesunga ekiseera ekyo eky’essanyu, tulina ensonga ennungi okugulumiza Katonda ow’amazima n’okutendereza erinnya lye. Bwe tulowooza ku ssanyu lye tulina olw’okumanya Yakuwa era n’olw’okubeera n’enkolagana ennungi naye, ekyo tekitukubiriza okumutendereza n’omutima ogusanyuka?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Emirimu gya Yakuwa gya ntiisa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Ebirowoozo bya Yakuwa ‘bisinga omusenyu omuwendo’