Amagezi ‘g’Abakugu’ Gakyukakyuka
BWONOONYEREZA ku Internet ebigambo “okukuza abaana” ne “okubuulirira,” bajja kukujuliza ensonga ezikwata ku bigambo ebyo ezisukka mu bukadde 26. Singa okozesa eddakiika emu okusoma buli emu ku nsonga ezo, omwana wo ajja kukula ave n’awaka nga tonnamaliriza kuzisoma zonna.
Ng’abasawo abakugu ku nsonga ezikwata ku baana ne Internet tebinnabaawo, abazadde baagendanga wa okufuna amagezi agakwata ku kukuza abaana? Okutwalira awamu, baagendanga mu baŋŋanda zaabwe. Bamaama, bataata, basenga ne bakojja, baalinga beetegefu era nga basobola okuwa obulagirizi, obuyambi mu by’ensimbi n’okulera abaana. Naye mu nsi nnyingi, abantu okusengukira mu bibuga kiviiriddeko enkolagana ey’oku lusegere mu b’eŋŋanda okuggwaawo. Leero bamaama ne bataata beesanga nga be beetikka obuvunaanyizibwa bwonna obw’okukuza abaana baabwe.
Awatali kubuusabuusa, eno ye nsonga lwaki ebibiina ebirabirira abaana byeyongera obungi. Ensonga endala kwe kuba nti abantu beeyongedde okulowooza nti sayansi ayinza okubawa amagezi amalungi. Emyaka gya 1800 bwe gyali nga ginaatera okuggwaako, Abamerika beeyongera okuba abakakafu nti sayansi ayinza okulongoosa buli mbeera y’obulamu bw’omuntu. Eyo ye nsonga lwaki balowooza nti sayansi ayinza n’okubayamba mu kukuza abaana baabwe. N’olwekyo, ekibiina ekiyitibwa American National Congress of Mothers bwe kyayoleka obwennyamivu bwakyo “olw’abazadde okulemererwa okukuza abaana baabwe” mu 1899, ‘bannasayansi abakugu’ bangi beesowolayo okuwa obuyambi. Baasuubiza okuyamba bamaama ne bataata okukuza abaana baabwe.
Okunoonya mu Bitabo Amagezi ag’Okukuza Abaana
Naye ddala kirungi ki ekivudde mu magezi g’abakugu abo? Leero abazadde tebakyeraliikirira era basobola bulungi okukuza abaana baabwe okusinga ab’omu biseera eby’emabega? Si bwe kiri, okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu Bungereza gye buvuddeko awo. Okunoonyereza okwo kwalaga nti abazadde 35 ku buli kikumi na kati bakyanoonyereza amagezi ge bayinza okwesiga mu kukuza abaana. Abalala bo bawulira nti balina kukolera ku magezi agaabwe ku bwabwe okusobola okukuza abaana baabwe.
Mu kitabo kye ekiyitibwa Raising America: Experts, Parents, and a Century of Advice About Children, Ann Hulbert ayogera ku bitabo ebikwata ku kukuza abaana. Hulbert, nga naye alina abaana babiri agamba nti bitono nnyo ku ebyo abakugu bye bazuula mu kukuza abaana ebyali byesigamiziddwa ku sayansi. Wabula, kirabika amagezi ge bawa geesigamiziddwa ku ebyo bo bennyini bye bayiseemu mu bulamu so si ku kunoonyereza ku nsonga yennyini ekwata kukuza abaana. Bwe tuddamu okwekenneenya amagezi gaabwe, kirabika nti bingi ku ebyo bye baawandiika tebiriimu nsa, byekuba endobo era ebiseera ebimu bireetera omuntu okusoberwa.
Kati olwo, abazadde bali mu mbeera ki leero? Mu butuufu, bangi batabuddwa, olw’okuba boolekaganye n’amagezi amangi n’endowooza ezitali zimu ezikontana ku kukuza abaana. Kyokka, tekiri nti buli muzadde awulira nti talina bulagirizi. Mu nsi yonna abazadde baganyulwa mu kitabo eky’edda ekirimu amagezi ageesigika ng’ekitundu ekiddako bwe kijja okulaga.