Tyanga Yakuwa era Okwatenga Ebiragiro Bye
“Tyanga Katonda ow’amazima era kwata ebiragiro bye. Kubanga ekyo bwe buvunaanyizibwa bwonna obw’omuntu.”—OMUBUULIZI 12:13, NW.
1, 2. (a) Okutya kuyinza kutya okutukuuma? (b) Lwaki abazadde ab’amagezi bafuba okuyigiriza abaana baabwe okutya okuganyula?
“NG’OBUVUMU bwe buyinza okuteeka obulamu mu katyabaga, okutya kuyinza okubukuuma,” bw’atyo Leonardo da Vinci bwe yagamba. Obuvumu obw’ekisirusiru buviirako omuntu obutalaba kabi, ng’ate kwo okutya kumuleetera okubeera omwegendereza. Ng’ekyokulabirako, bwe tusemberera omugo gw’ekinnya ekiwanvu ne tulaba wansi gye kikoma, mu butonde abasinga obungi ku ffe twesega. Mu ngeri y’emu, okutya okw’omuganyulo tekuleetawo nkolagana nnungi ne Katonda kyokka nga bwe twayize mu kitundu ekivuddeko, naye era kutukuuma okuva ku kabi.
2 Kyokka, ebintu bingi eby’akabi ennaku zino tuyiga buyizi okubitya. Okuva abaana abato bwe batamanyi kabi akava ku masannyalaze oba emmotoka ezitambula, kiba kyangu abaana abo okutuukibwako akabenje ak’amaanyi.a Abazadde ab’amagezi bafuba okuyigiriza abaana baabwe okutya okw’omuganyulo nga babalabula enfunda n’enfunda ku kabi akabeetoolodde. Abazadde bakimanyi nti okutya okwo kuyinza okuwonya obulamu bw’abaana baabwe.
3. Lwaki Yakuwa atulabula ku kabi ak’eby’omwoyo, era ekyo akikola atya?
3 Mu ngeri y’emu ne Yakuwa ayagala ffenna tubeere bulungi. Nga Kitaffe omwagazi, atuyigiriza okuyitira mu Kigambo kye era n’ekibiina kye okutuganyula. (Isaaya 48:17) Okuyigiriza kwa Katonda kutwaliramu okutulabula “enfunda n’enfunda” ku kabi ak’eby’omwoyo tusobole okukulaakulanya okutya okuzimba eri akabi ng’ako. (2 Ebyomumirembe 36:15, NW; 2 Peetero 3:1) Mu byafaayo byonna, ebizibu bingi mu by’omwoyo byandibadde byewalibwa era n’okubonaabona kungi ne kutabaawo singa ‘abantu baali bakulaakulanyizza emitima gyabwe okutya Katonda n’okukwata amateeka ge.’ (Ekyamateeka 5:29) Mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku,’ tuyinza tutya okukulaakulanya emitima egitya Katonda era ne twewala akabi ak’eby’omwoyo?—2 Timoseewo 3:1.
Weewale Ekibi
4. (a) Bukyayi ki Abakristaayo bwe bandikulaakulanyiza? (b) Yakuwa atwala atya empisa embi? (Laba obugambo obutono obuli wansi.)
4 Baibuli ennyonnyola nti “okutya Mukama kwe kukyawa obubi.” (Engero 8:13) Enkuluze ya Baibuli ennyonnyola okukyawa kuno nga “ekyo kyowulira mu mutima eri abantu oba ebintu ebitakkirizibwa, ebinyoomebwa era ng’omuntu tayagala kubyesembereza.” N’olwekyo, okutya Katonda kuzingiramu okukyayira ddala oba okwenyinyala buli kyonna ky’atwala okuba ekibi mu maaso ge.b (Zabbuli 97:10) Okutya Katonda kutukubiriza okwewala ekibi, era nga bwe twandivudde awali ekinnya ekiwanvu ng’okutya okw’omu butonde kutulabudde. Baibuli egamba: “Mu kutya Yakuwa omuntu yeewala ekibi.”—Engero 16:6, NW.
5. (a) Tusobola tutya okweyongera okutya Katonda n’okukyawa ebibi? (b) Ebyafaayo by’eggwanga lya Isiraeri bituyigiriza ki ku kino?
5 Tusobola okweyongera okuba n’okutya kuno okw’omuganyulo era ne tukyawa ekibi nga twetegereza emitawaana egiva mu kukola obubi. Baibuli etukakasa nti tujja kukungula ekyo kye tusiga, ka tube nga tusigira mubiri oba mwoyo. (Abaggalatiya 6:7, 8) Olw’ensonga eyo Yakuwa yannyonnyola bulungi akabi akava mu kusuula omuguluka ebiragiro bye era n’okuleka okusinza okw’amazima. Awatali bukuumi bwa Katonda, eggwanga ettono erya Isiraeri teryandisobodde kwaŋŋanga baliraanwa baalyo ab’amaanyi. (Ekyamateeka 28:15, 45-48) Ebibi ebyava mu bujeemu bwa Isiraeri byawandiikibwa mu Baibuli “olw’okutulabula” tusobole okubaako kye tuyiga era tukulaakulanye okutya Katonda.—1 Abakkolinso 10:11.
6. Byakulabirako ki ebiri mu Byawandiikibwa bye tuyinza okwekenneenya nga tuyiga okutya Katonda? (Laba obugambo obutono wansi.)
6 Ng’oggyeko ebyatuuka ku Isiraeri ng’eggwanga, era Baibuli erimu ebyokulabirako eby’abantu kinnoomu abaatwalirizibwa obuggya, obugwenyufu, omulugube, oba amalala.c Abamu ku bantu abo baali baweerezza Yakuwa okumala emyaka mingi, naye mu kiseera ekimu mu bulamu bwabwe, okutya okwo tekwali kunywevu ekimala, era bwe kityo ne bagwa mu mitawaana egy’amaanyi. Bwe tufumiitiriza ku byokulabirako bwe bityo eby’omu Byawandiikibwa, tusobola okweyongera okuba abamalirivu obutakola nsobi ng’ezo. Nga kyandibadde kya nnaku nnyo okusooka okugwa mu kabi ne tulyoka tujjukira obulagirizi bwa Katonda! Okwawukana ku njogera ekkirizibwa abangi, tetulina kusooka kuyita mu mbeera okusobola okubaako kye tugiyigako.—Zabbuli 19:7.
7. Ani Yakuwa gw’ayaniriza mu weema ye ey’akabonero?
7 Ensonga endala enkulu lwaki twandikulaakulanyizza okutya Katonda, kwe kwagala okukuuma enkolagana ennungi naye. Tutya okunyiiza Yakuwa kubanga tutwala omukwano gwaffe naye nga gwa muwendo nnyo. Ani Katonda gw’atwala okuba mukwano gwe, oyo gw’ayinza okwaniriza mu weema ye ey’akabonero? Oyo yekka “atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu.” (Zabbuli 15:1, 2) Singa tutwala enkolagana yaffe n’Omutonzi okuba ey’omuwendo, tujja kwegendereza tutambulire mu bugolokofu mu maaso ge.
8. Mu ngeri ki Abaisiraeri abamu mu kiseera kya Malaki gye baatwala omukwano gwabwe ne Katonda ng’ekintu ekitali ekikulu?
8 Eky’ennaku, Abaisiraeri abamu mu kiseera kya Malaki tebaatwala mukwano gwabwe ne Katonda ng’ekintu ekikulu. Mu kifo ky’okutya Katonda n’okumuwa ekitiibwa, baawaayo ensolo endwadde n’eziwenyera ku kyoto kye. Era, obutatya Katonda bweyolekera mu ngeri gye baatwalamu obufumbo bwabwe. Nga beekwasa obusongasonga, baagoba abakazi ab’omu buvubuka bwabwe basobole okuwasa abakazi abato. Malaki yabagamba nti Yakuwa akyawa “okugoba abakazi,” era nti obukuusa bwabwe bwali bubaawudde ku Katonda waabwe. Katonda yandisiimye atya ssaddaaka zaabwe ng’ekyoto kye kijjudde amaziga agaali gakulukusibwa bakazi baabwe abaali balekeddwa ettayo? Okunyooma emisingi gye mu ngeri eyo kyaviirako Yakuwa okubuuza: “Okutiibwa kwange kuli ludda wa?”—Malaki 1:6-8; 2:13-16.
9, 10. Tuyinza tutya okulaga nti tutwala omukwano gwaffe ne Yakuwa nga gwa muwendo.
9 Mu ngeri y’emu, leero Yakuwa alaba obuyinike bw’abakyala n’abaami bangi abatalina musango abayisiddwa obubi bannaabwe mu bufumbo abeefaako bokka era abenzi. Era alaba n’obuyinike bw’abaana abayisiddwa obubi bakitaabwe oba bannyaabwe. Awatali kubuusabuusa kimunakuwaza nnyo. Omuntu bw’aba mukwano gwa Katonda ajja kulaba ensonga nga Katonda bw’aziraba era afube n’okunyweza obufumbo bwe. Era, ajja kwesamba endowooza z’ensi ezitassa kitiibwa mu bufumbo, ‘adduke n’obwenzi.’—1 Abakkolinso 6:18.
10 Mu bufumbo era ne mu mbeera endala ez’obulamu bwaffe, okukyawa buli Yakuwa ky’atwala okuba ekibi, wamu n’okusiima omukwano gwe tulina naye, bijja kumuleetera okutusiima. Omutume Peetero yagamba: “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” (Ebikolwa10:34, 35) Tulina ebyokulabirako bingi okuva mu Byawandiikibwa ebiraga engeri okutya Katonda gye kwakubirizaamu abantu kinnoomu okukola ekituufu mu mbeera ezitali zimu ezaali zigezesa.
Abantu Basatu Abaatya Katonda
11. Mu mbeera ki Ibulayimu mwe yayitibwa omuntu “atya Katonda”?
11 Waliwo omusajja omu mu Baibuli ayogerwako nga mukwano gwa Yakuwa. Omusajja oyo ye Ibulayimu. (Isaaya 41:8) Okutya Katonda Ibulayimu kwe yalina kwagezesebwa, Katonda bwe yamusaba okuwaayo Isaaka, omwana we omu yekka nga ssaddaaka, oyo Katonda gwe yali ow’okuyitiramu okutuukiriza ekisuubizo kye eky’okufuula ezzadde lya Ibulayimu eggwanga eddene. (Olubereberye 12:2, 3; 17:19) “Mukwano gwa Katonda” ono yandiyise ekigezo kino ekizibu ennyo? (Yakobo 2:23) Mu kaseera kennyini Ibulayimu mwe yagalulira akambe okutta Isaaka, malayika wa Yakuwa yamugamba: “Tossa mukono gwo ku mulenzi, so tomukolako kantu: kubanga kaakano ntegedde ng’otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu.”—Olubereberye 22:10-12.
12. Kiki ekyaleetera Ibulayimu okutya Katonda, era naffe tuyinza tutya okukola kye kimu?
12 Wadde nga Ibulayimu yali yeeraze okuba omuntu atya Yakuwa, ku mulundi guno yakiraga mu ngeri ey’enkukunala. Okubeera omwetegefu okuwaayo Isaaka nga ssaddaaka kyali kisingawo ku kubeera obubeezi omuwulize. Ibulayimu yali mukakafu ddala nti Kitaawe ow’omu ggulu yandituukirizza ekisuubizo Kye ng’azuukiza Isaaka bwe kyandibadde kyetaagisa. Nga Pawulo bwe yawandiika, Ibulayimu yali ‘mukakafu ddala nti Katonda bye yasuubiza era ayinza n’okubikola.’ (Abaruumi 4:16-21) Tuli beetegefu okukola Katonda ky’ayagala ne bwe kiba nga kyetaagisa okwefiiriza okw’amaanyi? Tuli bakakafu ddala nti obuwulize ng’obwo bujja kutuleetera emiganyulo egy’olubeerera nga tumanyi nti Yakuwa “ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya”? (Abaebbulaniya 11:6) Okwo kuba kutya Katonda mu ngeri entuufu.—Zabbuli 115:11.
13. Lwaki Yusufu yali asobola okweyogerako ng’omusajja ‘atya Katonda’?
13 Ka twekenneenye ekyokulabirako ekirala eky’okutya Katonda, nga kye kya Yusufu. Ng’omuddu mu nju ya Potifali, Yusufu yeesanga nga buli lunaku ayolekaganye n’okupikirizibwa okukola obwenzi. Kirabika nga yali tasobola kwewala muka mukama we eyamusendasendanga buli kiseera okwebaka naye. Mu nkomerero, omukazi oyo bwe ‘yasika ekyambalo kye,’ ye ‘yadduka n’avaayo, n’afuluma.’ Kiki ekyamuyamba okwewala ekibi amangu ddala? Awatali kubuusabuusa, ensonga enkulu kwali okutya Katonda, n’okwagala okwewala “okwonoona okwenkanidde awo n’okusobya ku Katonda.” (Olubereberye 39:7-12) Yusufu yali asobola okweyogerako ng’omusajja ‘atya Katonda.’—Olubereberye 42:18.
14. Obusaasizi bwa Yusufu bwayoleka butya nti yali atya Katonda?
14 Nga wayiseewo emyaka mingi, Yusufu yaddamu n’alaba baganda be abaamutunda mu buddu nga tebamusaasidde n’akamu. Yandisobodde okukozesa embeera yaabwe ey’obutaba na mmere okwesasuza. Naye okuyisa obubi abantu tekyoleka kutya Katonda. (Abaleevi 25:43) N’olwekyo, Yusufu bwe yafuna obukakafu obumala obulaga nti baganda be baali bakyuse, yabasonyiwa. Okufaananako Yusufu, okutya Katonda kujja kutukubiriza okuwangula obubi n’obulungi, era kutuziyize obutagwa mu kukemebwa.—Olubereberye 45:1-11; Zabbuli 130:3, 4; Abaruumi 12:17-21.
15. Lwaki enneeyisa ya Yobu yasanyusa omutima gwa Yakuwa?
15 Yobu kyakulabirako ekirala eky’enkukunala eky’omuntu eyatya Katonda. Yakuwa yagamba Omulyolyomi: “Olowoozezza ku muddu wange Yobu? [K] ubanga tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow’amazima, atya Katonda ne yeewala obubi.” (Yobu 1:8) Okumala emyaka mingi, enneeyisa ya Yobu ey’obutuukirivu yasanyusa nnyo omutima gwa Kitaawe ow’omu ggulu. Yobu yatya Katonda kubanga yamanya nti kye kyali ekituufu okukola, era nga y’engeri esingayo obulungi mu bulamu. Yobu yagamba: “Laba, okutya mukama okwo ge magezi; n’okuleka obubi kwe kutegeera.” (Yobu 28:28) Ng’omusajja omufumbo, Yobu teyatunuuliranga bakazi bato mu ngeri etasaanira, oba okwegomba okukola nabo obwenzi mu mutima gwe. Newakubadde yali musajja mugagga, yagaana okussa obwesige bwe mu by’obugagga, era yeewala okusinza ebifaananyi okw’engeri yonna.—Yobu 31:1, 9-11, 24-28.
16. (a) Yobu yalaga atya ekisa? (b) Yobu yalaga atya okusonyiwa?
16 Kyokka, okutya Katonda kitegeeza okukola ebirungi n’okwewala ekibi. Bwe kityo, Yobu yafaayo ku bamuzibe, abalema, n’abaavu. (Abaleevi 19:14; Yobu 29:15, 16) Yobu yakitegeera nti buli “atalaga kisa oyo agwana okukolebwa eby’ekisa, era ajja kulekayo n’okutya Omuyinza w’ebintu byonna.” (Yobu 6:14, NW) Obutalaga kisa kiyinza okuzingiramu obutasonyiwa oba okusiba ekiruyi. Oluvannyuma lw’okulagirwa Katonda, Yobu yasabira banne abasatu abaali bamunakuwazizza ennyo. (Yobu 42:7-10) Naffe tuyinza okusonyiwa mukkiriza munnaffe ayinza okuba ng’atunyiizizza mu ngeri emu oba endala? Okusaba mu bwesimbu ku lw’oyo aba atunyiizizza kirina kinene nnyo kye kiyinza okukola mu kutuyamba okuvvuunuka obusungu. Emikisa Yobu gye yafuna olw’okutya Katonda gitulaga ku kigero ekitono ‘ebirungi ebingi Yakuwa by’aterekedde abo abamutya.’—Zabbuli 31:19; Yakobo 5:11.
Okutya Katonda Kwawukana ku Kutya Abantu
17. Okutya abantu kuyinza kutukolako ki, naye lwaki okutya ng’okwo kuba butalaba biri mu maaso?
17 Wadde ng’okutya Katonda kuyinza okutukubiriza okukola ebirungi, ate kwo okutya abantu kusobola okunafuya okukkiriza kwaffe. N’olw’ensonga eyo, bwe yali ng’akubiriza abatume be okunyiikira okubuulira amawulire amalungi, Yesu yabagamba: “Temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mumutyenga ayinza okuzikiririza obulamu n’omubiri mu Ggeyeena.” (Matayo 10:28) Yesu yakiraga nti okutya abantu kuba butalaba biri mu maaso, kubanga abantu tebasobola kutuggyako ssuubi lyaffe ery’obulamu obw’omu maaso. Ate era, tutya Katonda kubanga tutegeera nti wa maanyi ag’ekitalo, kuba ensi zonna ziba tezirina bwe ziri bwe zigeraageranyizibwa n’amaanyi ge. (Isaaya 40:15) Okufaananako Ibulayimu tulina obwesige mu maanyi ga Yakuwa ag’okuzuukiza abaweereza Be abeesigwa. (Okubikkulirwa 2:10) N’olwekyo, twogera n’obwesige nti: “Katonda bw’abeera ku lwaffe, omulabe waffe ani?”—Abaruumi 8:31.
18. Yakuwa asasula atya abo abamutya?
18 Ka kibeere nti atuziyiza ali omu ku b’omu nnyumba yaffe oba nga muyizi munnaffe, tujja kukiraba nti “mu kutya Mukama mulimu okuguma ennyo omwoyo.” (Engero 14:26) Tusobola okusaba Katonda okutuwa amaanyi, nga tumanyi nti ajja kutuwulira. (Zabbuli 145:19) Yakuwa teyeerabira abo abamutya. Okuyitira mu nnabbi we Malaki, atukakasa: “Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n’awuliririza n’awulira, ekitabo eky’okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinnya lye.”—Malaki 3:16.
19. Kutya kwa ngeri ki okunaakoma, naye kuluwa okunaasigalawo emirembe gyonna?
19 Ekiseera kiri kumpi bonna abanaabeera ku nsi bwe banaasinza Yakuwa era okutya abantu kuggweerewo ddala. (Isaaya 11:9) Okutya enjala, endwadde, obumenyi bw’amateeka, n’entalo nakwo kujja kuba kuweddewo. Naye okutya Katonda kujja kusigalawo emirembe n’emirembe ng’abaweereza be abeesigwa abali mu ggulu ne ku nsi beeyongera okumuwa ekitiibwa ekimugwanira, n’okumugondera. (Okubikkulirwa 15:4) Kyokka, ng’ekyo tekinnabaawo, ka ffenna tusseeyo omwoyo ku kubuulirira kwa Sulemaani: “Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi: naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde: kubanga mazima empeera weeri; n’essuubi lyo teririmalibwaawo.”—Engero 23:17, 18.
[Obugambo obuli wansi]
a Abantu abamu balekera awo okutya akabi singa emirimu gyabwe giba nga giboolekaganya n’embeera ez’akabi buli kiseera. Bwe yabuuzibwa ensonga lwaki ababazzi bangi tebaalina ngalo ezimu, omubazzi omumanyirivu yaddamu bw’ati: “Balekera awo okutya emisumeeno egikolera ku masannyalaze.”
b Yakuwa kennyini yeesisiwala. Ng’ekyokulabirako, Abaefeso 4:29 woogera ku njogera embi nga ‘ekigambo ekivundu.’ Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa nga “ekivundu,” obutereevu kikwata ku kibala, ekyennyanja, oba ennyama eyonoonese. Enyinyonnyola eyo eraga bulungi engeri gye twandituttemu okuvuma oba okuwemula. Era, n’ebifaananyi ebyole bitera okwogerwako mu Byawandiikibwa nga ebyesisiwaza. (Ekyamateeka 29:17, NW; Ezeekyeri 6:9, NW) Olw’okuba ebifaananyi byesisiwaza, kituyamba okutegeera Katonda bw’atwalamu engeri yonna ey’okubisinza.
c Ng’ekyokulabirako, weekenneenye Ebyawandiikibwa ebikwata ku Kayini (Olubereberye 4:3-12); Dawudi (2 Samwiri 11:2–12:14); Gekazi (2 Bassekabaka 5:20-27); ne Uzziya (2 Ebyomumirembe 26:16-21).
Ojjukira?
• Tuyiga tutya okukyawa obubi?
• Mu ngeri ki Abaisiraeri abamu mu kiseera kya Malaki gye baatwalamu omukwano gwabwe ne Yakuwa ng’ekintu ekitali kikulu?
• Biki bye tuyinza okuyigira ku Ibulayimu, Yusufu, ne Yobu ku bikwata ku kutya Katonda?
• Kutya kwa ngeri ki okutalikoma, era lwaki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Abazadde ab’amagezi bayigiriza abaana baabwe okutya okuganyula
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Ng’okutya bwe kutuleetera okwewala akabi, n’okutya Katonda kutuleetera okwewala ebintu ebibi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Yobu yasigala atya Katonda ne bwe yayolekagana ne mikwano gye abasatu ab’obulimba
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Kigiddwa mu nkyusa ya Baibuli eya Vulgata Latina, 1795