-
Okwetulinkiriza Kuvaamu OkufeebezebwaOmunaala gw’Omukuumi—2000 | Agusito 1
-
-
Okwetulinkiriza Kuvaamu Okufeebezebwa
“Okwetulinkiriza kuzze? Awo n’okufeebezebwa kunajja; naye amagezi gaba n’abeetoowaze.”—ENGERO 11:2, NW.
1, 2. Okwetulinkiriza kye ki, era mu ngeri ki gye kuvuddemu akabi?
OMULEEVI akwatiddwa obuggya akulembera ekibinja ky’abajeemu ekiwakanya abo Yakuwa be yalonda. Omulangira ayeegwanyiza ettuttumu akola olukwe lw’okuwamba obufuzi bwa kitaawe. Kabaka atali mugumiikiriza anyooma ebiragiro bya nnabbi wa Katonda. Abaisiraeri bano bonsatule balina kye bafaananya: okwetulinkiriza.
2 Okwetulinkiriza ngeri y’omu mutima ey’akabi eri bonna. (Zabbuli 19:13) Omuntu eyetulinkiriza akola ekintu ekisukka obuyinza bwe nga talina lukusa. Emirundi mingi kino kivaamu akabi. Mu butuufu, okwetulinkiriza kusaanyizaawo bakabaka n’obwakabaka. (Yeremiya 50:29, 31, 32; Danyeri 5:20) Era kutwalirizza n’abaweereza ba Yakuwa abamu ne kibaviirako okugwa mu kabi.
3. Tuyinza tutya okuyiga ku kabi akava mu kwetulinkiriza?
3 Olw’ensonga ennungi Baibuli egamba: “Okwetulinkiriza kuzze? Awo n’okufeebezebwa kunajja; naye amagezi gaba n’abeetoowaze.” (Engero 11:2, NW ) Baibuli etuwa ebyokulabirako ebikakasa amazima agali mu lugero luno. Okwekkenneenya ebimu ku byo kijja kutuyamba okulaba akabi akali mu kusukka ekkomo lyaffe. N’olwekyo, ka twekenneenye engeri obuggya, okwegwanyiza ettuttumu, n’obutaba bagumiikiriza gye byaleetera abasajja abasatu aboogeddwako ku ntandikwa okwetulinkiriza, ne kibaviirako okufeebezebwa.
Koola—Omujeemu ow’Obuggya
4. (a) Koola yali ani, era yenyigira mu bintu ki? (b) Mu myaka egy’oluvannyuma, kikolwa ki eky’akabi Koola kye yatandikawo?
4 Koola yali Muleevi Omukokasi, kizibwe wa Musa ne Alooni. Kirabika yali mwesigwa eri Yakuwa okumala amakumi g’emyaka. Koola yalina enkizo ey’okubeera mu abo abaawonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero ku Nnyanja Emmyufu, era kirabika yenyigira mu kutuukiriza omusango Yakuwa gwe yali asalidde Abaisiraeri abaali basinza akayana ku Lusozi Sinaayi. (Okuva 32:26) Kyokka, mu nkomerero, Koola yafuuka omukulembeze w’abaali bawakanya Musa ne Alooni abalimu Dasani, Abiraamu ne Oni okuva mu kika kya Lewubeeni, awamu n’Abaisiraeri abakulu b’ebika 250.a ‘Tubakooye,’ bwe batyo bwe bagamba Musa ne Alooni, “kubanga ekibiina kyonna kitukuvu, . . . era Mukama ali mu bo: kale mwegulumiriza ki okusinga ekibiina kya Mukama?”—Okubala 16:1-3.
5, 6. (a) Lwaki Koola yajeemera Musa ne Alooni? (b) Lwaki kiyinza okugambibwa nti Koola yanyooma ekifo kye mu nteekateeka ya Katonda?
5 Oluvannyuma lw’emyaka mingi nga mwesigwa, lwaki Koola yajeema? Mazima ddala obukulembeze bwa Musa ku Isiraeri bwali tebunyigiriza kubanga “yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna.” (Okubala 12:3) Kyokka, kirabika nti Koola yakwatirwa Musa ne Alooni obuggya era n’akyawa obukulu bwabwe, era kino kyamuviirako okwogera—mu bukyamu—nti nga baalina kye beenoonyeza, beegulumiza ku kibiina.—Zabbuli 106:16.
6 Ekimu ku kizibu kya Koola kiyinza okuba nga teyasiima nkizo ye mu nteekateeka ya Katonda. Kyo kituufu nti Abakokasi Abaleevi tebaali bakabona, naye baali bayigiriza b’Amateeka ga Katonda. Era basitulanga ebibajje n’ebikozesebwa mu weema nga kyetaagisa okubitwala mu kifo ekirala. Omulimu ogwo gwali mukulu, kubanga ebikozesebwa ebitukuvu byali biyinza kukwatibwako abo bokka abaali abayonjo mu by’eddiini ne mu mpisa. (Isaaya 52:11) Bwe kityo, Musa bwe yatuukirira Koola, yali amubuuza, Omulimu gwo ogutwala ng’ekituntu ekitali kikulu olyoke anoonye obwakabona? (Okubala 16:9, 10) Koola yalemererwa okutegeera nti ekitiibwa ekisingirayo ddala kwe kuweereza Yakuwa n’obwesigwa okusinziira ku nteekateeka ye—so si okufuna enkizo oba ekifo eky’enjawulo.—Zabbuli 84:10.
7. (a) Musa yakola ki Koola n’abasajja be? (b) Obujeemu bwa Koola bwakomezebwa butya?
7 Musa yayita Koola n’abasajja be okukuŋŋaana enkeera mu weema ey’okusisinkaniramu nga balina ebyoterezo n’obubaane. Koola n’abasajja be tebaalina lukusa kwotereza bubaane okuva bwe bataali bakabona. Bwe bandizze n’ebyoterezo n’obubaane kyandiraze bulungi nti abasajja bano baali bakyalowooza nti bayinza okuweereza nga bakabona—wadde nga baalina ekiro kyonna okufumiitiriza ku nsonga eyo. Bwe bajja enkeera, Yakuwa yayoleka obusungu bwe. Eri abo abaava mu kika kya Lewubeeni, ‘ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira.’ Abalala bonna, nga mw’otwalidde Koola, baazikirizibwa omuliro okuva eri Katonda. (Ekyamateeka 11:6; Okubala 16:16-35; 26:10) Koola okwetulinkiriza kyamuviiramu okufeebezebwa okusingirayo ddala—obutasiimibwa Katonda!
Ziyiza ‘Obuggya’
8. ‘Obuggya’ buyinza butya okweyoleka mu Bakristaayo?
8 Ebyaliwo ebikwata ku Koola kulabula gye tuli. Okuva ‘obuggya’ bwe buli mu bantu abatatuukiridde, buyinza n’okweyoleka mu kibiina Ekikristaayo. (Yakobo 4:5) Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga tufaayo nnyo ku bifo. Okufaananako Koola, tuyinza okukwatirwa obuggya abo abalina enkizo ze twagala. Oba tuyinza okufuuka nga Diyotuleefe Omukristaayo ow’omu kyasa ekyasooka. Yali avumirira nnyo obuyinza bw’abatume, nga kirabika yali ayagala kubeera mu buyinza. Mazima ddala, Yokaana yawandiika nti Diyotuleefe ‘ayagala okubeera mu kifo ekisooka.’—3 Yokaana 9, NW.
9. (a Ndowooza ki ku buvunaanyizibwa mu kibiina gye twetaaga okwewala? (b) Ndowooza ki entuufu gye twandibadde nayo ku kifo kyaffe mu nteekateeka ya Katonda?
9 Kya lwatu, si kikyamu omusajja Omukristaayo okuluubirira obuvunaanyizibwa mu kibiina. Pawulo yakubiriza okukola ekyo. (1 Timoseewo 3:1) Kyokka, tetuteekwa n’akamu kutwala nkizo z’obuweereza ng’ebifo eby’ettuttumu, gy’obeera nti bwe tubifuna, tuba tulina ekifo eky’ekitiibwa kye tutuuseeko. Jjukira nti Yesu yagamba: “Buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe.” (Matayo 20:26, 27) Kya lwatu, kyandibadde kikyamu okukwatirwa obuggya abo abalina obuvunaanyizibwa obusingawo, nga gy’obeera nti omuwendo gwaffe mu maaso ga Katonda gwesigamye ku “kifo” mu ntegeka ye. Yesu yagamba: “Mwenna muli ba luganda.” (Matayo 23:8) Yee, k’obeere mubuulizi oba payoniya, eyaakabatizibwa oba oyo akuumye obugolokofu okumala ekiseera ekiwanvu—bonna abaweereza Yakuwa n’omutima gwonna balina ekifo eky’omuwendo mu nteekateeka ye. (Lukka 10:27; 12:6, 7; Abaggalatiya 3:28; Abaebbulaniya 6:10) Mazima ddala kirungi nnyo okukolera awamu n’obukadde n’obukadde bw’abo abagezaako okugoberera okubuulirira kw’omu Baibuli: “Mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwekka na mwekka.”—1 Peetero 5:5.
Abusaalomu—Omuntu Eyeegwanyiza Ettuttumu
10. Abusaalomu yali ani, era yagezzaako atya okusiimibwa abo abajjanga eri kabaka okusalirwa omusango?
10 Obulamu bwa mutabani wa Dawudi ow’okusatu, Abusaalomu, bw’awa eky’okuyiga ku kwegwanyiza ettuttumu. Omuntu ono eyali yeenoonyeza ebibye yawaanawaananga abantu abajjanga eri kabaka okulamulibwa ng’anoonya okwagalibwa. Okusooka, yayagala abantu balowooze nti Dawudi yali tafaayo ku byetaago byabwe. Kati awo n’alyoka atuukira ddala ku nsonga. “Singa nze nfuuliddwa mulamuzi mu nsi,” bw’atyo Abusaalomu bwe yayogera, “buli muntu alina ensonga yonna oba musango ajjenga gye ndi, nange nandimukoledde eby’ensonga.” Enkwe za Abusaalomu tezaakoma awo. “Omuntu yenna bwe yasemberanga okumweyanza,” bw’etyo Baibuli bw’egamba, “n’agololanga omukono gwe n’amukwatako n’amunywegera. Awo bw’atyo Abusaalomu bwe yakolanga Isiraeri yenna abajjanga eri kabaka okusalirwa emisango.” Kiki ekyavaamu? “Abusaalomu n’abba bw’atyo emyoyo gy’abasajja ba Isiraeri.”—2 Samwiri 15:1-6.
11. Abusaalomu yagezzaako atya okuwamba entebe ya Dawudi?
11 Abusaalomu yali mumalirivu okuwamba obufuzi bwa kitaawe. Emyaka etaano emabega, yatemuza Amoni, mutabani wa Dawudi asinga obukulu, mbu nga yeesasuza okukwatibwa kwa mwannyina Tamali. (2 Samwiri 13:28, 29) Kyokka, ne mu kiseera ekyo Abusaalomu ayinza okuba yali yeegwanyiza entebe y’Obwakabaka, ng’okuttibwa kwa Amoni ye yali engeri ey’okuggyawo eyali amuvuganya.b Mu buli ngeri, ekiseera bwe kyatuuka, Abusaalomu yateeka mu nkola kye yali ayagala. Yalangirira obufuzi bwe mu ggwanga lyonna.—2 Samwiri 15:10.
12. Nnyonnyola engeri okwetulinkiriza kwa Abusaalomu gye kwavaamu okufeebezebwa.
12 Okumala ekiseera, Abusaalomu yatuuka ku buwanguzi, kubanga “okwekoba okwo ne kuba n’amaanyi; kubanga abantu beeyongerayongeranga bulijjo abaali ne Abusaalomu.” Ekiseera bwe kyayitawo, Kabaka Dawudi yawalirizibwa okudduka okuwonya obulamu bwe. (2 Samwiri 15:12-17) Kyokka, ekiruubirirwa kya Abusaalomu tekyatuukirira kubanga Yowaabu yamutta n’amusuula mu bunnya, n’amutuumako entuumo y’amayinja. Kiteebereze—omusajja ono eyali yeegwanyiza ettuttumu ng’ayagala okufuuka kabaka teyaziikibwa!c Okwetulinkiriza mazima ddala kwaleetera Abusaalomu okufeebezebwa.—2 Samwiri 18:9-17.
Weewale Okwegwanyiza Ettuttumu
13. Omwoyo ogw’okwegwanyiza ebintu guyinza gutya okusimba amakanda mu mutima gw’Omukristaayo?
13 Abusaalomu okulinnya mu buyinza ate oluvannyuma n’agwa kya kuyiga gye tuli. Mu nsi ya leero, kya bulijjo abantu okuwaanawaana bakama baabwe, nga baagala okusiimibwa gye bali basobole okufuna enkizo emu oba okukuzibwa. Mu kiseera kye kimu bayinza okusuubiza ababali wansi okubakolera ebintu ebimu, nga baagala okusiimibwa kwabwe oba obuwagizi. Bwe tutegendereza, omwoyo ng’ogwo ogw’okwegwanyiza ettuttumu guyinza okusimba amakanda mu mitima gyaffe. Kirabika kino kyaliwo mu bamu mu kyasa ekyasooka, ne kyetaagisa abatume okuwa okulabula okw’amaanyi ku balinga abo.—Abaggalatiya 4:17; 3 Yokaana 9, 10.
14. Lwaki twandyewaze omwoyo gw’okwegwanyiza ettuttumu n’okwegulumiza?
14 Yakuwa talinaamu kifo mu ntegeka ye eky’abantu abeegwanyiza ettuttumu, abagezaako ‘okunoonya ekitiibwa ekyabwe ku bwabwe.’ (Engero 25:27) Mazima ddala, Baibuli erabula: “Mukama alimalawo emimwa gyonna eginyumiriza [“egiwaanawaana,” NW ] , n’olulimi olwogera ebikulu.” (Zabbuli 12:3) Abusaalomu yalina emimwa egiwaanawaana. Yayogera ebintu ebiwaanawaana abo be yali ayagala bamusiime—ng’akola ebyo byonna okufuna ekifo oba obuyinza bye yali yeegomba. Okwawukana ku ekyo, nga tulina omukisa okubeera mu luganda olugoberera okubuulirira kwa Pawulo: “Temukolanga kintu kyonna olw’okuyomba newakubadde olw’ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka.”—Abafiripi 2:3.
Sawulo—Kabaka Ataali Mugumiikiriza
15. Ekiseera ekimu Sawulo yeeraga atya okubeera omwetoowaze?
15 Ekiseera ekimu, Sawulo, oluvannyuma eyafuuka kabaka wa Isiraeri, yali mwetoowaze. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku byaliwo mu myaka gye egy’obuvubuka. Nnabbi wa Katonda Samwiri bwe yamwogerako obulungi, Sawulo yaddamu mu bwetoowaze: “Nze siri Mubenyamini, ow’omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? [N]’ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini? [K]ale kiki ekikwogeza nange bw’otyo?”—1 Samwiri 9:21.
16. Sawulo yayoleka atya omwoyo gw’obutabeera mugumiikiriza?
16 Kyokka, oluvannyuma, obwetoowaze bwa Sawulo bwaggwaawo. Nga balwana n’Abafirisuuti, yagenda e Girugaali, gye yali asuubirwa okulindirira Samwiri okujja yeegayirire Katonda awamu n’okuwaayo ekiweebwayo. Samwiri bw’atajja mu kiseera ekiragaane, Sawulo yeetulinkiriza n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ye kennyini. Bwe yali amaliririza, Samwiri n’atuuka. “Okoze ki” bw’atyo Samwiri bwe yabuuza. Sawulo yaddamu: “[N]nalabye ng’abantu basaasaanye nga banvaako so naawe nga tojja mu biro ebyateekebwawo . . . Kyennavudde neegumiikiriza n’empaayo ekiweebwayo ekyokebwa.”—1 Samwiri 13:8-12.
17. (a) Mu kusooka, lwaki ebikolwa bya Sawulo biyinza okulabika ng’ebyali bisaanira? (b) Lwaki Yakuwa yabonereza Sawulo olw’obutabeera mugumiikiriza?
17 Mu kusooka, ekyo Sawulo kye yakola kiyinza okulabika ng’ekyali kisaanira. Abantu ba Katonda ‘baali bubi’, ‘baali mu nnaku,’ era nga batidde nnyo olw’embera enzibu gye baalimu. (1 Samwiri 13:6, 7) Mazima ddala, tekiba kikyamu okubaako ky’okola ng’embeera ekyetaagisa.d Kyokka, jjukira nti Yakuwa ayinza okulaba ekiri mu mutima n’amanya ebiruubirirwa eby’omunda. (1 Samwiri 16:7) Bwe kityo, ateekwa okuba ng’alina bye yalaba mu Sawulo ebitaayogerwako mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa ayinza okuba yalaba nti obutali bugumiikiriza bwa Sawulo bwasibuka ku malala. Oboolyawo Sawulo yanyiiga nnyo olw’okuba ye—kabaka wa Isiraeri—yalina okulindirira omuntu gwe yatwala okuba nnabbi omukadde alonzalonza! Mu buli ngeri, Sawulo yawulira nti okulwayo kwa Samwiri kwamuwa ebbeetu ye kennyini okukola ku nsonga n’okubuusa amaaso ebiragiro ebyamuweebwa. Ekyavaamu? Samwiri teyasiima ekyo Sawulo kye yakola. Okwawukana ku ekyo, yavumirira nnyo Sawulo, ng’agamba: “Obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera . . . kubanga tokutte ekyo Mukama kye yakulagira.” (1 Samwiri 13:13, 14) Era, okwetulinkiriza kwavaamu okufeebezebwa.
Weekuume Obutaba Mugumiikiriza
18, 19. (a) Nnyonnyola engeri obutali bugumiikiriza gye buyinza okuleetera omuweereza wa Katonda mu kiseeera kino okwetulinkiriza. (b) Kiki kye tusaanidde okujjukira ku nkola y’ekibiina Ekikristaayo?
18 Ekikolwa kya Sawulo eky’okwetulinkiriza kyawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda okutuganyula ffe. (1 Abakkolinso 10:11) Kyangu nnyo ffe okunyiiga olw’obutali butuukirivu bwa baganda baffe. Okufaananako Sawulo, tuyinza okufuuka abatali bagumiikiriza, nga tukitwala nti singa ensonga tezikolwako bulungi, ffe tulina okubaako kye tukolawo. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti ow’olunganda mukugu mu nsonga ezimu ezikwata ku nteekateeka. Enteekateeka z’ekibiina zonna azituukiriza bulungi ate mu budde, era ng’alina ekirabo ky’okwogera n’okuyigiriza. Mu kiseera kye kimu n’alaba nti abalala tebatuuka ku mutindo gwe, era nga tebakola bulungi nga bwe yandyagadde. Kino kimuwa ebbeetu obutaba mugumiikiriza? Yandivumiridde baganda be, oboolyawo ng’akitwala nti singa tekwali kufuba kwe tewandibaddewo kikolebwa era nti ekibiina kyandigudde? Okwo kwandibadde kwetulinkiriza!
19 Mazima ddala, kiki ekireetera ekibiina ky’Abakristaayo okubeera obumu? Obumanyirivu mu bye ntegeka? Okukola obulungi ebintu? Okumanya okw’amaanyi? Kyo kituufu ebintu bino bya muganyulo eri entambula ennungi ey’ekibiina. (1 Abakkolinso 14:40; Abafiripi 3:16; 2 Peetero 3:18) Kyokka, Yesu yagamba nti abagoberezi be okusingira ddala bandimanyiddwa olw’okwagala kwabwe. (Yokaana 13:35) Eyo ye nsonga lwaki abakadde abafaayo, wadde baba n’enteekateeka ennungi, bakitegeera nti ekibiina tekitambulira ku nkola nkakali; wabula ekisibo ekyetaaga okulabirirwa obulungi. (Isaaya 32:1, 2; 40:11) Okwetulinkiriza ne weesamba emisingi ng’egyo kitera okuvaamu obutategeeragana. Okwawukana ku ekyo, enteekateeka ennungi erimu okutya Katonda evaamu emirembe.—1 Abakkolinso 14:33; Abaggalatiya 6:16.
20. Kiki kijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
20 Ebyogeddwa mu Baibuli ku Koola, Abusaalomu, ne Sawulo biraga bulungi nti okwetulinkiriza kuvaamu okufeebezebwa, nga bwe kiri mu Engero 11:2, (NW ). Kyokka, olunyiriri lwe lumu mu Baibuli lugattako: “Amagezi gaba n’abeetoowaze.” Obwetoowaze kye ki? Byakulabirako ki okuva mu Baibuli ebiyinza okutuyamba okutegeera engeri eno, era tuyinza tutya okulaga obwetoowaze leero? Ebibuuzo bino bijja kwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Okuva Lewubeeni bwe yali omuggulanda wa Yakobo, abazzukulu be abaabuzaabuzibwa Koola ne bajeema bayinza okuba tebaasanyuka olw’okuba Musa—muzzukulu wa Leevi—yabalinako obuyinza.
b Kireyaabu, mutabani wa Dawudi ow’okubiri, taddayo kwogerwako oluvannyuma lw’okuzaalibwa kwe. Oboolyawo yafa nga Abusaalomu tannatandika bujeemu bwe.
c Mu biseera bya Baibuli okuziikibwa kw’omuntu afudde kyali kikolwa kikulu nnyo. Bwe kityo, obutaziikibwa kyali kibi nnyo era emirundi mingi kyatwalibwa ng’akabonero ak’obutasiimibwa Katonda.—Yeremiya 25:32, 33.
d Ng’ekyokulabirako, Finekaasi, alina kye yakolawo amangu okuziyiza kawumpuli eyatta enkumi n’enkumi z’Abaisiraeri, era ne Dawudi yakubiriza abasajja be abaali balumwa enjala okumwegattako okulya emigaati egyali mu “nnyumba ya Katonda.” Tewali na kimu ku ebyo ekyavumirirwa Katonda ng’okwetulinkiriza.—Matayo 12:2-4; Okubala 25:7-9; 1 Samwiri 21:1-6.
-
-
“Amagezi Gaba n’Abeetoowaze”Omunaala gw’Omukuumi—2000 | Agusito 1
-
-
“Amagezi Gaba n’Abeetoowaze”
‘Kiki Yakuwa ky’akusaba wabula okubeera omwetoowaze ng’otambula ne Katonda wo?’—MIKKA 6:8, NW.
1, 2. Obwetoowaze kye ki, era bwawukana butya ku kwetulinkiriza?
OMUTUME omututumufu agaana okwegulumiza. Omulamuzi omuvumu Omuisiraeri yeeyita asingayo okuba owa wansi mu nnyumba ya kitaawe. Omusajja eyali abaddewo eyasingayo okwatiikirira akkiriza nti talina buyinza bujjuvu. Buli omu ku basajja bano ayoleka obwetoowaze.
2 Obwetoowaze bwawukanira ddala ku kwetulinkiriza. Omuntu omwetoowaze amanyi ekkomo ly’obusobozi bwe n’omuwendo gwe era teyenyumiriza nnyo mu byatuuseeko. Mu kifo ky’okubeera ow’amalala, okwewaanawaana, oba okwegwanyiza ettuttumu, omuntu omwetoowaze amanyi ekkomo lye. Bwe kityo, assa ekitiibwa era n’afaayo ku nneewulira n’endowooza z’abalala.
3. Mu ngeri ki amagezi gye ‘gaba n’abeetoowaze’?
3 Ng’erina ensonga ennungi Baibuli egamba: ‘Amagezi gaba n’abeetoowaze.’ (Engero 11:2) Omuntu omwetoowaze aba wa magezi kubanga agoberera ekkubo Katonda ly’asiima, era yeewala omwoyo gw’okwetulinkiriza oguvaamu okufeebezebwa. (Engero 8:13; 1 Peetero 5:5) Amagezi agali mu bwetoowaze galabikira mu nneeyisa y’abaweereza ba Katonda abawerako. Ka twekenneenye ebyokulabirako bisatu ebyogeddwako mu katundu akatandika.
Pawulo—‘Omuweereza’ era ‘Omuwanika’
4. Pawulo yalina nkizo ki ez’enjawulo?
4 Pawulo yali muntu mututumufu mu Bakristaayo abaasooka, era ekyo kitegeerekeka bulungi. Mu buweereza bwe, yatambula enkumi n’enkumi za mayiro ku nnyanja ne ku lukalu, era yatandikawo ebibiina bingi. Okugatta ku ekyo, Yakuwa yawa Pawulo okwolesebwa era n’ekirabo ky’okwogera mu nnimi engwira. (1 Abakkolinso 14:18; 2 Abakkolinso 12:1-5) Era yaluŋŋamya Pawulo okuwandiika ebbaluwa 14 kati eziri ekitundu ky’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani. Kya lwatu, kiyinza okugambibwa nti okufuba kwa Pawulo kwasinga okw’abatume abalala bonna.—1 Abakkolinso 15:10.
5. Pawulo yalaga atya nti yali mwetoowaze ?
5 Okuva Pawulo bwe yali awomye omutwe mu mulimu gw’Ekikristaayo, abamu bayinza okumusuubira okugulumizibwa, oba n’okwoleka obuyinza bwe. Kyokka si bwe kyali, kubanga Pawulo yali mwetoowaze. Yeeyita ‘asingayo okuba owa wansi mu batume,’ n’agattako: “Sisaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda.” (1 Abakkolinso 15:9, NW ) Ng’oyo eyayigganyako Abakristaayo, Pawulo teyeerabira nti yalina enkolagana ennungi ne Katonda era n’enkizo ey’obuweereza obw’enjawulo olw’ekisa ekitatusaanira. (Yokaana 6:44; Abaefeso 2:8) Bwe kityo, Pawulo teyakitwala nti bye yatuukako eby’enkukunala mu buweereza bya mufuula asinga abalala.—1 Abakkolinso 9:16.
6. Pawulo yalaga atya obwetoowaze mu ngeri gye yakolaganamu n’Abakkolinso?
6 Obwetoowaze bwa Pawulo naddala bweyoleka mu ngeri gye yakolaganamu n’Abakkolinso. Kirabika, abamu baatendanga abo be baalowooza okubeera abalabirizi abatutumufu, nga mw’otwalidde Apolo, Keefa, ne Pawulo kennyini. (1 Abakkolinso 1:11-15) Naye Pawulo teyasaba Bakkolinso kumutendereza wadde okwenyumiriza olw’okuba baali bamutendereza. Bwe yabakyaliranga, teyabatuukirira “na maanyi mangi ag’ebigambo oba amagezi.” Wabula, Pawulo yayogera bw’ati ne banne: “Omuntu atulowoozenga bw’ati nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika b’ebyama bya Katonda.”a—1 Abakkolinso 2:1-5; 4:1.
7. Pawulo yayoleka atya obwetoowaze wadde ng’abuulirira?
7 Pawulo era yayoleka obwetoowaze ng’awa okubuulira okw’amaanyi n’obulagirizi. Yeegayirira Bakristaayo banne “olw’okusaasira kwa Katonda” era ‘olw’okwagala’ mu kifo ky’okwesigama ku buyinza bwe ng’omutume. (Abaruumi 12:1, 2; Firemooni 8, 9) Lwaki Pawulo yakola kino? Kubanga yeetwala okuba ‘akolera awamu’ ne baganda be so si ‘afuga okukkiriza kwabwe.’ (2 Abakkolinso 1:24) Awatali kubuusabuusa obwetoowaze bwa Pawulo bwe bw’amuleetera okwagalibwa ebibiina by’Ekikristaayo eby’omu kyasa ekyasooka.—Ebikolwa 20:36-38.
Okutunuulira Enkizo Zaffe n’Obwetoowaze
8, 9. (a) Lwaki twandibadde beetoowaze? (b) Abo abalina obuvunaanyizibwa bayinza batya okwoleka obwetoowaze?
8 Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi eri Abakristaayo leero. Ka tube nga tukwasiddwa buvunaanyizibwa bwa ngeri ki, tewali n’omu ku ffe eyandirowoozezza nti asinga abalala. “Omuntu bwe yeerowoozanga okuba ekintu nga si kintu,” bw’atyo Pawulo bwe yawandiika, “nga yeerimbalimba.” (Abaggalatiya 6:3) Lwaki? Kubanga “bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Abaruumi 3:23, italiki zaffe; 5:12) Yee, tetwerabiranga nti fenna twasikira ekibi n’okufa okuva ku Adamu. Enkizo ez’enjawulo tezitugulumiza kuva mu mbeera yaffe eya wansi ey’ekibi. (Omubuulizi 9:2) Nga bwe kyali ku bikwata ku Pawulo, tufuna enkolagana ennungi ne Katonda era n’enkizo ey’okumuweereza olw’ekisa ekitatusaanira.—Abaruumi 3:12, 24.
9 Ng’ategedde kino, omuntu omwetoowaze teyeenyumiriza mu nkizo ze wadde okwewaanawaana olw’ebyo by’atuuseeko. (1 Abakkolinso 4:7) Bw’aba awa abalala okubuulirira oba obulagirizi, akikola nga mukozi munnaabwe—so si nga mukama waabwe. Mazima ddala, kyandibadde kikyamu oyo akola obulungi mu mulimu ogumu okusaba abalala okumutendereza oba okwenoonyeza ebibye olw’okuba bakkiriza banne bamutenda. (Engero 25:27; Matayo 6:2-4) Okutenderezebwa kwokka okw’omuwendo kwekwo okuva eri abalala—era tekwandisabiddwa. Bwe tutenderezebwa, tekyandituleetedde kwerowoozaako kisukkiridde.—Engero 27:2; Abaruumi 12:3.
10. Nnyonnyola engeri abamu abayinza okulabika nga aba wansi bwe bali ‘abagagga mu kukkiriza.’
10 Bwe tuweebwa obuvunaanyizibwa, obwetoowaze bujja kutuyamba okwewala okwerowoozaako ennyo, nga tukitwala nti ekibiina kiyimiriddewo olw’okufuba kwaffe n’obusobozi bwaffe. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okubeera n’ekitone ky’okuyigiriza. (Abaefeso 4:11, 12) Kyokka, mu bwetoowaaze tuteekwa okukitegeera nti ebimu ku bintu ebisingayo obulungi bye tuyiga mu nkuŋŋaana z’ekibiina tebitutegeezebwa kuva ku platifomu. Ng’ekyokulabirako, toddamu amaanyi bw’olaba omuzadde ali obwannamunigina ng’ajja mu Kingdom Hall n’abaana be obutayosa? Oba omuntu omwenyamivu ng’ajja mu nkuŋŋaana obutayosa wadde nga muli awulira nti talina mugaso? Oba omuvubuka akulaakulana mu by’omwoyo wadde ng’ayolekaganye n’embeera embi ku ssomero ne mu bifo ebirala? (Zabbuli 84:10) Abantu bano bayinza obutabeera mu bifo bya kitiibwa. Okugezesebwa eri obugolokofu bwabwe abalala bayinza obutakulaba. Kyokka, bayinza okuba ‘abagagga mu kukkiriza’ ng’abo abatutumufu. (Yakobo 2:5) Mu nkomerero, obwesigwa bwe buviirako okusiimibwa Yakuwa.—Matayo 10:22; 1 Abakkolinso 4:2.
Gidiyoni—‘Asingayo Okuba owa Wansi’ mu Nnyumba ya Kitaawe
11. Gidiyoni yalaga atya obwetoowaze mu ngeri gye yayogeramu ne malayika wa Katonda?
11 Gidiyoni, omuvubuka ow’amaanyi ow’ekika kya Manase, yaliwo mu kiseera ekizibu mu byafaayo bya Isiraeri. Okumala emyaka musanvu, abantu ba Katonda baabonaabona wansi w’okunyigirizibwa kw’Abamidiyaani. Kyokka, kati ekiseera kyali kituuse Yakuwa okununula abantu be. Bwe kityo, malayika yalabikira Gidiyoni n’amugamba: “Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow’amaanyi omuzira.” Gidiyoni yali mwetoowaze, n’olwekyo teyeenyumiriza nnyo olw’okusiimibwa mu ngeri eyo eyali tesuubirwa. Mu kifo ky’ekyo, yaddamu malayika ng’amussaamu ekitiibwa: “Mukama wange, oba nga Mukama ali wamu naffe, kale ekitubeesezzaako ebyo byonna kiki?” Malayika yatangaaza ku nsonga n’agamba Gidiyoni: ‘Ojja kulokola Isiraeri mu mukono gwa Midiyaani.’ Gidiyoni yaddamu atya? Mu kifo ky’okwanguwa okukkiriza obuvunaanyizibwa ng’ekyokusinziirako okufuuka omuntu omututumufu mu ggwanga, Gidiyoni yaddamu: “Ai Mukama wange, Isiraeri ndimulokolera ku ki? [L]aba, baganda bange be basinga okuba abaavu mu Manase, nange ndi muto [“asingayo okuba owa wansi,” NW ] mu nnyumba ya Kitange.” Nga bwali bwetoowaze bwa kitalo!—Ekyabalamuzi 6:11-15.
12. Gidiyoni yakozesa atya amagezi mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe?
12 Nga tannasindika Gidiyoni mu lutalo, Yakuwa yamugezesa. Mu ngeri ki? Gidiyoni yagambibwa okumenya ekyoto kya kitaawe eri Baali era n’empagi za Asera ezaali okumpi nakyo. Omulimu guno gwali gwetaagisa obuvumu, naye era Gidiyoni yalaga obwetoowaze n’amagezi mu ngeri gye yagutuukirizaamu. Mu kifo ky’okugukola mu lujjudde, Gidiyoni yagukola kiro mu kiseera we batandimulabidde. Ate era, Gidiyoni yakola omulimu gwe n’obwegendereza. Yagenda n’abaweereza kkumi—oboolyawo abamu babe nga bakuuma ng’ate abalala bamuyamba okuzikiriza ekyoto n’empagi za Asera.b Mu buli ngeri, awamu n’emikisa gya Yakuwa, Gidiyoni yatuukiriza omulimu gwe, era ekiseera bwe kyayitawo, Katonda yamukozesa okununula Isiraeri okuva ku Bamidiyaani.—Ekyabalamuzi 6:25-27.
Okwoleka Obwetoowaze n’Amagezi
13, 14. (a) Tuyinza tutya okulaga obwetoowaze nga tuweereddwa enkizo y’obuweereza? (b) Ow’Oluganda A. H. Macmillan yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze?
13 Waliwo bingi bye tuyinza okuyiga okuva ku bwetoowaze bwa Gidiyoni. Ng’ekyokulabirako, tweyisa tutya bwe tuweebwa enkizo ey’obuweereza? Tusooka kulowooza ku ttutumu n’ekitiibwa ebinaavaamu? Oba n’obwetoowaze awamu n’okusaba tufumiitiriza obanga tunaatuukiriza obuvunaanyizibwa obwo? Ow’Oluganda A. H. Macmillan, eyamaliriza obulamu bwe obw’oku nsi mu 1966 yassaawo ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno. C. T. Russell, prezidenti wa WatchTower Society eyasooka, lumu yasaba Ow’Oluganda Macmillan amuwe endowooza ye ku ani eyanditutte obuvunaanyizibwa nga taliiwo. Mu kukubaganya ebirowoozo okwaddirira, Ow’Oluganda Macmillan teyeeyogerako ng’eyandisobodde, wadde nga kyandibadde kisaanira okukola bw’atyo. Mu nkomerero, Ow’Oluganda Russell yagamba Ow’Oluganda Macmillan okulowooza ku kukkiriza obuvunaanyizibwa obwo. “Nasoberwa,” bw’atyo Ow’Oluganda Macmillan bwe yawandiika nga wayiseewo emyaka. “Nakirowoozaako nnyo, era ne nkiteeka mu kusaba nga sinnamugamba nti nnandisanyuse okukola kyonna okumuyamba.”
14 Ekiseera si kiwanvu oluvannyuma lw’ekyo, Ow’Oluganda Russell yafa, n’aleka ekifo kya prezidenti wa Watch Tower Society nga tekiriimu muntu. Okuva Ow’Oluganda Macmillan bwe yali addukanya ebintu mu kiseera ky’olugendo ly’okubuulira kw’Ow’Oluganda Russell okwasembayo, Ow’Oluganda omu yamugamba: “Mac, olina omukisa gwa maanyi okufuuka prezidenti. Ggwe wali okiikirira Ow’Oluganda Russell mu ngeri ey’enjawulo nga taliiwo, era yatugamba ffenna okukola nga bw’ogamba. Yagenda era n’atakomawo. Kirabika gwe musajja ajja okumuddira mu bigere.” Ow’Oluganda Macmillan yaddamu: “Ow’Oluganda, eyo si y’engeri y’okutunuuliramu ensonga eno. Guno mulimu gwa Mukama, era ekifo ky’ofuna mu ntegeka ya Mukama ky’ekyo Mukama ky’alaba ng’osaanira okuweebwa; era ndi mukakafu nti si nze musajja asaanira omulimu ogwo.” Awo Ow’Oluganda Macmillan n’asemba omuntu omulala okuweebwa ekifo ekyo. Okufaananako Gidiyoni, teyeerowoozaako ng’owa waggulu—endowooza gye tulina okuba nayo.
15. Ngeri ki ezimu mwe tuyinza okukozesa amagezi nga tubuulira abalala?
15 Naffe twandibadde beetoowazze mu ngeri gye tutuukirizaamu emirimu gyaffe. Gidiyoni yakozesa amagezi, era n’agezaako obutanyiiza balabe be mu ngeri eteetaagisa. Mu ngeri y’emu, nga tuli mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira, twandibadde beetoowazze era ne tukozesa amagezi mu ngeri gye twogeramu n’abalala. Kyo kituufu, tuli mu lutalo lw’eby’omwoyo olw’okulwanyisa ‘ebintu ebyasimba amakanda’ ‘n’endowooza.’ (2 Abakkolinso 10:4, 5, NW ) Naye tetwandyogedde mu ngeri ennyooma abalala oba okukola ekintu kyonna ekiyinza okubaleetera okukyawa obubaka bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, twanditadde ekitiibwa mu ndowooza zaabwe, ne tuggumiza bye tukkiriziganya nabo, ate ne tussa essira ku bintu ebizzaamu amaanyi eby’obubaka bwaffe.—Ebikolwa 22:1-3; 1 Abakkolinso 9:22; Okubikkulirwa 21:4.
Yesu—Ekyokulabirako Ekisingayo Obulungi eky’Obwetoowaze
16. Yesu yalaga atya nti teyeerowoozaako nnyo ?
16 Ekyokulabirako ekisingayo obulungi eky’obwetoowaze kye kya Yesu Kristo.c Wadde yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaawe, Yesu teyalonzalonza kukkiriza nti ensonga ezimu zaali zisukka obuyinza bwe. (Yokaana 1:14) Ng’ekyokulabirako, maama wa Yakobo ne Yokaana bwe yasaba nti batabani be ababiri batuule ne Yesu mu bwakabaka bwe, Yesu yaddamu: “Okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo, ne ku mukono ogwa kkono, si nze nkugaba.” (Matayo 20:20-23) Ku mulundi omulala, Yesu yakikkiriza nti: “Siyinza kukola kintu ku bwange . . . sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala.”—Yokaana 5:30; 14:28; Abafiripi 2:5, 6.
17. Yesu yalaga atya obwetoowaze mu ngeri gye yakolaganamu n’abalala?
17 Yesu yali asinga abantu abatatuukiridde mu buli ngeri, era yalina obuyinza obusinga obw’abalala bonna obwava eri Kitaawe, Yakuwa. Wadde kyali kityo, Yesu yali mwetoowaze mu ngeri gye yakolaganamu n’abagoberezi be. Teyagezzaako kubawuniikiriza n’okumanya kwe yalina. Yabafaako, era mu ngeri ey’obusaasizi n’akola ku byetaago byabwe. (Matayo 15:32; 26:40, 41; Makko 6:31) Bwe kityo, wadde Yesu yali atuukiridde, teyasuubira balala kukola bintu mu ngeri etuukiridde. Teyasaba bayigirizwa be kukola ekyo kye baali batasobola, era teyabawa kukola ekyo kye baali batasobola kukola. (Yokaana 16:12) Tekyewuunyisa nti bangi baafuna ekiwummulo nga bali naye!—Matayo 11:29.
Koppa Ekyokulabirako kya Yesu eky’Obwetoowaze
18, 19. Tuyinza tutya okukoppa obwetoowaze bwa Yesu (a) mu ngeri gye twerowoozaako, era (b) mu ngeri gye tuyisaamu abalala?
18 Bwe kiba nti omusajja eyasingayo okwatikirira eyali abaddewo yayoleka obwetoowaze, ate olwo ffe. Abantu abatatuukiridde emirundi mingi balwawo okukkiriza nti tebalina buyinza bujjuvu. Kyokka, nga bakoppa Yesu, Abakristaayo bafuba okubeera abeetoowaze. Amalala tegabalemesa kuwa buvunaanyizibwa abo abasaanira; era tebeekulumbaza wadde okugaana obulagirizi okuva eri abo abalina obuyinza okubuwa. Nga balaga omwoyo ogw’okukolagana n’abalala, baleka ebintu byonna mu kibiina ‘okutambula obulungi ate mu ngeri entegeke.’—1 Abakkolinso 14:40, NW.
19 Era obwetoowaze bujja kutuleetera obutabeera bakakanyavu ku ekyo kye tusuubira mu balala era n’okufaayo ku byetaago byabwe. (Abafiripi 4:5) Tuyinza okubeera n’obusobozi n’amaanyi abalala bye batalina. Kyokka, bwe tubeera abeetoowaze, tetujja buli kiseera kusuubira balala kukola nga bwe twagala bakole. Nga tukimanyi nti buli muntu alina ekkomo, mu bwetoowaze tujja kubikka ku bunafu bw’abalala. Peetero yawandiika: “Okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.”—1 Peetero 4:8.
20. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuvvuunuka engeri yonna ey’obutaba beetoowaze?
20 Nga bwe tuyize, amagezi mazima ddala gaba n’abeetoowaze. Kyokka, kiba kitya singa okisanga nti toli mwetoowaze oba nga weetulinkiriza? Toggwamu maanyi. Wabula, goberera ekyokulabirako kya Dawudi, eyasaba: “Okuva mu bikolwa eby’okwetulinkiriza ziyiza omuweereza wo; tobireka kunfuga.” (Zabbuli 19:13, NW ) Nga tukoppa okukkiriza kw’abasajja nga Pawulo, Gidiyoni, era—n’okusinga bonna—Yesu Kristo, tujja kulaba ffe kennyini amazima agali mu bigambo bino: ‘Amagezi gaba n’abeetoowaze.’—Engero 11:2.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa ‘abaweereza’ kiyinza okutegeeza omuddu eyakubanga enkasi ku mmeeri ennene. Okwawukana ku ekyo, “abawanika” baali bayinza okuweebwa obuvunaanyizibwa obusingawo, oboolyawo okulabirira ebintu. Wadde kyali kityo, abaalina obuyinza abasinga obungi omuwanika baamutwalanga okuba mu ssa lye limu n’omuddu ayakubanga enkasi ku mmeeri ennene.
b Obukujjukujju bwa Gidiyoni n’okwegendereza tebisaanidde kutwalibwa ng’obutiitiizi. Okwawukana ku ekyo, obuvumu bwe yalina bukakasibwa mu Abaebbulaniya 11:32-38, eziteeka Gidiyoni mu abo ‘abaaweebwa amaanyi’ era ne ‘bafuuka abazira mu ntalo.’
c Okuva obwetoowaze bwe butwaliramu okumanya ekkomo ly’omuntu, Yakuwa tayinza kwogerwako ng’omwetoowaze. Kyokka muwombeefu.—Zabbuli 18:35.
-