Abaana—Mweyongere Okwagala Okuweereza Yakuwa
“Ojjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo.”—MUB. 12:1.
1. Abaana mu Isiraeri baali balina kukola ki?
EMYAKA nga 3,500 egiyise, Musa, nnabbi wa Yakuwa yalagira bakabona n’abakadde mu Isiraeri nti: “Okuŋŋaanyanga abantu, abasajja n’abakazi n’abaana abato, . . . bawulire, era bayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bakwatenga ebigambo byonna eby’amateeka gano okubikola.” (Ma. 31:12) Weetegereze nti abasajja, abakazi, era n’abaana abato baalagirwa okukuŋŋaana okusinza. Yee, n’abaana abato baali balina okuwuliriza, okuyiga, era n’okugoberera obulagirizi bwa Yakuwa.
2. Yakuwa yalaga atya nti yali afaayo nnyo ku bavubuka abaali mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka?
2 Ne mu kyasa ekyasooka, Yakuwa yeeyongera okukiraga nti afaayo nnyo ku bavubuka abamuweereza. Ng’ekyokulabirako, yaluŋŋamya omutume Pawulo okubaako obulagirizi bw’awa abaana mu zimu ku bbaluwa ze yawandiikira ebibiina. (Soma Abeefeso 6:1; Abakkolosaayi 3:20.) Abaana Abakristaayo abaagoberera obulagirizi ng’obwo beeyongera okwagala Kitaabwe ow’omu ggulu era baafuna emikisa gye.
3. Leero, abaana bakiraga batya nti baagala okuweereza Katonda?
3 Ne leero abaana beetaaga okubaawo mu nkuŋŋaana basobole okusinza Yakuwa? Yee! Mu butuufu, kizzaamu nnyo amaanyi abantu ba Katonda bonna okulaba ng’abaana bangi okwetooloola ensi bafuba okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okugamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.” (Beb. 10:24, 25) Okugatta ku ekyo, abaana bangi bafuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda wamu ne bazadde baabwe. (Mat. 24:14) Ate era buli mwaka abaana bangi bakyoleka nti baagala Yakuwa nga babatizibwa, bwe kityo bafuna emikisa mingi olw’okuba baba bafuuse abayigirizwa ba Kristo.—Mat. 16:24; Mak. 10:29, 30.
Weereza Yakuwa—Kati
4. Abaana basaanidde kutandika ddi okuweereza Katonda?
4 Omubuulizi 12:1 wagamba nti: “Ojjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo.” Mmwe abaana mulina kuba ba myaka emeka okusobola okukolera ku kukubirizibwa okwo ne muweereza Yakuwa? Ebyawandiikibwa tebyogera ku myaka mwana gy’alina kuba nagyo. N’olwekyo, tolonzalonza ng’olowooza nti okyali muto nnyo okusobola okuwuliriza Yakuwa n’okumuweereza. K’obe wa myaka emeka, okubirizibwa okuweereza Yakuwa awatali kulwa.
5. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukulaakulana mu by’omwoyo?
5 Bangi ku mmwe mukulaakulana mu by’omwoyo olw’obuyambi bwe mufuna okuva eri bazadde bammwe. Mufaananako Timoseewo eyaliwo mu biseera bya Baibuli. Bwe yali akyali muwere, nnyina, Ewuniike, ne jjajjaawe Looyi baamuyigirizanga ebyawandiikibwa ebitukuvu. (2 Tim. 3:14, 15) Oboolyawo naawe bazadde bo bakutendeka nga basoma naawe Baibuli, nga basaba naawe, nga bakutwala mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene ez’abantu ba Katonda, era nga bakutwala mu buweereza bw’ennimiro. Mu butuufu, okukuyigiriza amakubo ga Katonda bwe buvunaanyizibwa obusingayo okuba obw’amaanyi Yakuwa bwe yakwasa bazadde bo. Okiraga nti obasiima olw’okwagala kwe bakulaga n’olw’engeri gye bakufaako?—Nge. 23:22.
6. (a) Okusinziira ku Zabbuli 110:3, kusinza kwa ngeri ki Yakuwa kw’asiima? (b) Kiki kye tugenda okwetegereza?
6 Okufaananako Timoseewo, nammwe abaana bwe mugenda mukula Yakuwa ayagala “mukakase ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.” (Bar. 12:2) Okukola ekyo, kijja kubayamba okwenyigira mu mirimu gy’ekibiina, si lwa kuba bazadde bammwe bagyenyigiramu, naye lwa kuba mwagala okukola ebyo Katonda by’ayagala. Bw’oweereza Yakuwa n’omwoyo ogutawalirizibwa, kimusanyusa nnyo. (Zab. 110:3) Kati olwo, osobola otya okukiraga nti oyagala okweyongera okuwuliriza Yakuwa n’okukolera ku bulagirizi bwe? Tugenda kwetegereza engeri ssatu kino mw’oyinza okukikolera. Nga muno mwe muli okwesomesa, okusaba, n’okuba n’empisa ennungi. Ka twetegereze engeri ezo emu ku emu.
Fuba Okumanya Yakuwa ng’Omuntu
7. Yesu yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi ng’omuyizi w’Ebyawandiikibwa, era kiki ekyamuyamba okukola ekyo?
7 Engeri esooka mw’olagira nti oyagala okwongera okuweereza Yakuwa kwe kusoma Baibuli buli lunaku. Osobola okukola ku byetaago byo eby’eby’omwoyo era n’ofuna okumanya okw’omuwendo okuli mu Baibuli ng’osoma Ekigambo kya Katonda obutayosa. (Mat. 5:3) Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Lumu, nga wa myaka 12 egy’obukulu, bazadde be bamusanga mu yeekaalu “ng’atudde n’abayigiriza, ng’abawuliriza era ng’ababuuza ebibuuzo.” (Luk. 2:44-46) Okuviira ddala mu buto, Yesu yali ayagala nnyo okutegeera Ebyawandiikibwa. Kiki ekyamuyamba okukola ekyo? Tewali kubuusabuusa nti nnyina, Maliyamu, ne kitaawe, Yusufu, baamuyamba nnyo. Baali baweereza ba Katonda abaafuba ennyo okuyigiriza Yesu ebikwata ku Katonda okuviira ddala mu buwere.—Mat. 1:18-20; Luk. 2:41, 51.
8. (a) Abazadde basaanidde kutandika ddi okuyamba abaana baabwe okwagala Ekigambo kya Katonda? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga obukulu bw’okutandika okutendeka abaana okuviira ddaala mu buwere.
8 Mu ngeri y’emu, leero abazadde abatya Katonda bakimanyi bulungi nti kikulu nnyo okuyamba abaana baabwe okwagala amazima agali mu Baibuli okuviira ddala nga bakyali bawere. (Ma. 6:6-9) Ekyo kyennyini mwannyinaffe ayitibwa Rubi kye yakola amangu ddala nga yaakazaala mutabani we eyasooka, Joseph. Buli lunaku yamusomeranga Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli. Bwe yagenda akula, mwannyinaffe oyo yamuyamba okukwata ebyawandiikibwa ebitali bimu mu mutwe. Joseph yaganyulwa mu kutendekebwa okwo? Amangu ddala nga yaakayiga okwogera, yali asobola okunyumya engero za Baibuli nnyingi mu bigambo bye. Era yawa emboozi ye eyasooka mu Essomero ly’Omulimu gwa Katonda nga wa myaka etaano gyokka egy’obukulu.
9. Lwaki kikulu nnyo okusoma Baibuli n’okufumiitiriza ku ebyo by’osoma?
9 Okusobola okwongera okukulaakulana mu by’omwoyo, mmwe abaana musaanidde okufuba okusomanga Baibuli buli lunaku era ekyo mube bamalirivu okukikola ebbanga lyonna ery’obulamu bwammwe. (Zab. 71:17) Lwaki okusoma Baibuli kusobola okubayamba okukulaakulana? Weetegereze ekyo Yesu kye yayogera bwe yali ng’asaba Kitaawe: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima.” (Yok. 17:3) Mu butuufu, bw’onoogenda ofuna okumanya okukwata ku Yakuwa, ajja kufuuka Muntu wa ddala gy’oli era ojja kweyongera okumwagala. (Beb. 11:27) N’olwekyo, buli lw’obaako ekitundu ky’osoma mu Baibuli, kozesa akakisa ako okwongera okumanya ebikwata ku Yakuwa. Weebuuze: ‘Bye nsomye binjigirizza ki ku Yakuwa ng’Omuntu? Byoleka bitya okwagala kwa Katonda era biraga bitya nti anfaako?’ Bw’ofumiitiriza ku bibuuzo ng’ebyo, kikuyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa, enneewulira ye, era n’ebyo by’akwetaagisa. (Soma Engero 2:1-5.) Okufaananako Timoseewo, ekyo kijja kukuleetera ‘okukkiriza’ ebyo by’oyiga mu Byawandiikibwa nti “bituufu,” era kijja kukukubiriza okuweereza Yakuwa n’omutima ogutawalirizibwa.—2 Tim. 3:14.
Okusaba Kukuyamba Okweyongera Okwagala Yakuwa
10, 11. Okusaba kukuyamba kutya okweyongera okwagala okuweereza Katonda?
10 Engeri ey’okubiri eneekuyamba okwongera okwagala okuweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna kwe kusaba. Mu Zabbuli 65:2, tusoma nti: “Ai ggwe awulira okusaba, bonna abalina omubiri balijja gy’oli.” Ne mu kiseera Isiraeri we yabeerera eggwanga lya Katonda, bannaggwanga abajjanga ku yeekaalu ya Yakuwa baasobolanga okumutuukirira mu kusaba. (1 Bassek. 8:41, 42) Katonda tasosola. Abo abakwata ebiragiro bye bakakafu nti mwetegefu okubawuliriza. (Nge. 15:8) Mu butuufu, mu abo “bonna abalina omubiri” mwe muli nammwe abaana.
11 Mukimanyi bulungi nti abantu bonna okusobola okunyweza omukwano gwabwe, kibeetaagisa okuba n’empuliziganya ennungi. Oboolyawo otera okubuulirako mukwano gwo by’olowooza, ebikweraliikiriza, n’enneewulira zo. Mu ngeri y’emu, bw’osaba essaala eviira ddala ku mutima, oba oyogera n’Omutonzi wo ow’Ekitalo. (Baf. 4:6, 7) Yogera ne Yakuwa nga bw’oyogera ne muzadde wo ow’okwagala oba mukwano gwo ennyo. Mu butuufu, waliwo akakwate ka maanyi wakati w’engeri gy’osabamu n’engeri gy’otwalamu Yakuwa. Bw’oneeyongera okwagala Yakuwa n’essaala zo zijja kweyongera okuba ez’amakulu.
12. (a) Lwaki essaala okusobola okuba ey’amakulu kisingawo ku bigambo by’okozesa? (b) Kiki ekinaakuyamba okukiraba nti Yakuwa ali kumpi naawe?
12 Kyokka olina okukijjukira nti essaala okusobola okuba ey’amakulu kisingawo ku bigambo by’okozesa ng’osaba. Kizingiramu enneewulira zo. Bw’oba osaba, kirage nti oyagala nnyo Yakuwa, omussaamu ekitiibwa era nti omwesigira ddala. Bw’onoolaba engeri Yakuwa gy’addamu okusaba kwo, ojja kweyongera okukiraba nti ‘Mukama aba kumpi n’abo bonna abamukaabirira.’ (Zab. 145:18) Yee, Yakuwa ajja kukusemberera, akuyambe okuziyiza Omulyolyomi, era akuyambe okusalawo mu ngeri ey’amagezi.—Soma Yakobo 4:7, 8.
13. (a) Okuba mukwano gwa Katonda kyayamba kitya mwannyinaffe omu? (b) Okubeera mukwano gwa Katonda kikuyamba kitya okwolekagana n’okupikirizibwa?
13 Lowooza ku ngeri okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa gye kyayambamu Cherie. Ng’ali mu siniya, yawangula ebirabo bingi olw’okuba yali akola bulungi mu kibiina ne mu by’emizannyo. Bwe yamala siniya, yaweebwa sikaala asobole okufuna obuyigirize obwa waggulu. Cherie agamba nti: “Ekyo kyali kisikiriza era abatendesi ne bayizi bannange baali baagala nzikirize sikaala eyo.” Kyokka yakiraba nti okukola ekyo kyandimutwalidde ebiseera bingi ng’asoma era nga yeenyigira mu by’emizannyo ne kiba nti teyandisobodde kufuna biseera bimala kuweereza Yakuwa. Cherie yakola ki? Agamba nti, “Oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa, nnagaana sikaala eyo era ne ntandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo.” Kati wayise emyaka ng’etaano ng’aweereza nga payoniya. Agamba nti: “Sirina kye nnejjusa. Okukimanya nti kye nnasalawo okukola kisanyusa Yakuwa kindeetera essanyu lingi. Mu butuufu, bw’osooka okunoonya Obwakabaka bwa Katonda, ebintu ebirala byonna bikwongerwako.”—Mat. 6:33.
Empisa Ennungi Ziraga nti Olina “Omutima Omulongoofu”
14. Lwaki Yakuwa akwetaagisa okuba n’empisa ennungi?
14 Engeri ey’okusatu gy’oyinza okukiraga nti oweereza Yakuwa n’omutima ogutawalirizibwa kwe kuba n’empisa ennungi. Yakuwa awa omukisa abavubuka abafuba okusigala nga bayonjo mu mpisa. (Soma Zabbuli 24:3-5.) Samwiri bwe yali akyali muto teyakkiriza kutwalirizibwa mpisa za batabani ba Kabona Asinga Obukulu Eri embi era ekyo kyeyoleka eri bonna. Baibuli egamba nti: “Omwana Samwiri ne yeeyongera okukula, n’aba muganzi [eri] Katonda era n’abantu.”—1 Sam. 2:26.
15. Lwaki osaanidde okufuba okuba n’empisa ennungi?
15 Tuli mu nsi ejjudde abantu abeeyagala bokka, ab’amalala, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali beesigwa, abakambwe, abeepanka, abaagala amasanyu okusinga Katonda, nga bino bye bimu ku ebyo Pawulo bye yayogerako. (2 Tim. 3:1-5) N’olwekyo, kiyinza okukubeerera ekizibu okusigala ng’olina empisa ennungi nga weetooloddwa abantu abalina empisa ng’ezo embi. Kyokka, buli lw’okola ekituufu era ne weewala empisa ng’ezo, oba okiraga nti oli ku ludda lwa Yakuwa ku nsonga y’obufuzi bw’obutonde bwonna. (Yob. 2:3, 4) Era oba mumativu okukimanya nti okolera ku ekyo Yakuwa ky’agamba nti: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.” (Nge. 27:11) Ate era okukimanya nti osiimibwa Yakuwa kikuleetera okweyongera okwagala okumuweereza.
16. Mwannyinaffe omu yasanyusa atya omutima gwa Yakuwa?
16 Mwannyinaffe omu ayitibwa Carol, bwe yali omutiini ng’akyasoma, yanywerera ku misingi gya Baibuli, era empisa ze ennungi zeeyoleka eri abalala. Biki ebyavaamu? Bayizi banne baamusekerera olw’okuba omuntu we ow’omunda eyali atendekeddwa Baibuli yali tamukkiriza kukuza nnaku nkulu na kwenyigira mu mikolo gya ggwanga. Naye ekyo kyamuwa akakisa okubannyonnyola ebikwata ku nzikiriza ye. Oluvannyuma lw’emyaka mingi, omu ku bayizi Carol be yasomanga nabo yamuweereza ka kaadi ng’agamba nti: “Mmaze ebbanga ddene nga njagala okukuwandiikira nkwebaze. Empisa zo ennungi n’ekyokulabirako kye wateekawo ng’omuvubuka Omukristaayo, awamu n’obuvumu bwe wayoleka n’ogaana okukuza ennaku enkulu, byankwatako nnyo. Ggwe Mujulirwa wa Yakuwa gwe nnasooka okulaba.” Ekyokulabirako kya Carol kyakwata nnyo ku muyizi munne era ekyo oluvannyuma kyamusikiriza okutandika okuyiga Baibuli. Mu ka kaadi ke yawandiikira Carol yagamba nti yali amaze emyaka egissuka mu 40 nga Mujulirwa wa Yakuwa mubatize! Okufaananako Carol, nammwe abaana abafuba okunywerera ku misingi gya Baibuli muyinza okusikiriza abantu ab’emitima emirungi okwagala okumanya ebikwata ku Yakuwa.
Abaana Abatendereza Yakuwa
17, 18. (a) Owulira otya bw’olaba abaana bangi abali mu kibiina kyo? (b) Mikisa ki egirindiridde abavubuka abatya Katonda?
17 Ffenna abali mu kibiina kya Yakuwa okwetooloola ensi tuli basanyufu okulaba nti waliwo abaana bangi abali mu kusinza okw’amazima! Ekiyambye abavubuka bano okweyongera okwagala okusinza Yakuwa kwe kusoma Baibuli buli lunaku, okusaba, n’okufuba okweyisa nga Katonda bw’ayagala. Ekyokulabirako kyabwe ekirungi kizzaamu nnyo amaanyi bazadde baabwe awamu n’abantu ba Yakuwa bonna.—Nge. 23:24, 25.
18 Mu kiseera eky’omu maaso, abaana abeesigwa bajja kuba mu abo abanaawonawo bayingire mu nsi ya Katonda empya. (Kub. 7:9, 14) Mu nsi eyo, bajja kufuna emikisa mingi era bajja kweyongera okwagala Yakuwa n’okumutendereza emirembe gyonna.—Zab. 148:12, 13.
Osobola Okunnyonnyola?
• Abaana basobola batya okwenyigira mu kusinza okw’amazima leero?
• Okusobola okuganyulwa mu kusoma Baibuli, lwaki kikwetaagisa okufumiitiriza?
• Okusaba kukuyamba kutya okusemberera Yakuwa?
• Birungi ki ebiva mu kuba n’empisa ennungi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ofuba okusoma Baibuli buli lunaku?