Kiki Ekifuula Obulamu Okuba obw’Amakulu?
“Otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye.”—MUB. 12:13.
1, 2. Tuyinza tutya okuganyulwa mu kusoma ekitabo ky’Omubuulizi?
LOWOOZA ku musajja alabika ng’alina buli kimu. Mufuzi mututumufu nnyo, y’omu ku basajja abasingayo okuba abagagga mu nsi yonna, era y’asingayo okuba ow’amagezi. Wadde ng’alina ebyo byonna, omusajja ono yeebuuza, ‘Kiki ekifuula obulamu okuba obw’amakulu?’
2 Omusajja ng’oyo ddala yaliyo—emyaka ng’enkumi ssatu egiyise. Yali ayitibwa Sulemaani, era mu kitabo ky’Omubuulizi ayogera ku ngeri gye yanoonyaamu essanyu mu bulamu. (Mub. 1:13) Waliwo bingi bye tuyinza okuyigira ku bulamu bwa Sulemaani. Mu butuufu, amagezi agali mu kitabo ky’Omubuulizi gayinza okutuyamba okweteerawo ebiruubirirwa ebijja okufuula obulamu bwaffe okuba obw’amakulu.
“Kugoberera Mpewo”
3. Kintu ki ekikwata ku bulamu bw’omuntu ffenna kye tulina okutegeera?
3 Sulemaani agamba nti Katonda yatonda ebintu ebirungi bingi ku nsi ebyewuunyisa era ebisanyusa. Kyokka, olw’okuba obulamu bwaffe bumpi nnyo, tetuyinza kwekenneenya bintu byonna Katonda bye yatonda ne tubimalayo. (Mub. 3:11; 8:17) Nga Baibuli bw’egamba, ennaku zaffe ntono era ziyita mangu. (Yobu 14:1, 2; Mub. 6:12) Eno ye nsonga lwaki tusaanidde okukozesa obulamu bwaffe mu ngeri ey’amagezi. Kino si kyangu olw’okuba ensi ya Setaani egezaako okutuwugula tukwate ekkubo ekkyamu.
4. (a) Ekigambo “butaliimu” kitegeeza ki? (b) Bintu ki abantu bye banoonya mu bulamu bye tugenda okwogerako?
4 Ng’alaga akabi akali mu kukozesa obubi obulamu bwaffe, Sulemaani akozesa ekigambo “butaliimu” emirundi nga 30 mu kitabo ky’Omubuulizi. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “butaliimu” kitegeeza ekintu ekitagasa, ekitalina makulu, oba ekitalina mugaso gwa lubeerera. (Mub. 1:2, 3) Emirundi egimu Sulemaani akozesa ekigambo “butaliimu” awamu n’ebigambo “kugoberera mpewo.” (Mub. 1:14; 2:11) Kya lwatu nti okugoberera empewo kuba kumala biseera. Omuntu yenna agezaako okukikola avaayo ngalo nsa. Bwe kityo bwe kiba singa omuntu aluubirira ebintu ebitali bya magezi. Olw’okuba obulamu bumpi nnyo, tetusaanidde kubwonoonera ku bintu bitaliimu. N’olwekyo, okusobola okwewala okugwa mu nsobi eyo, ka tulabe ebimu ku bintu Sulemaani by’ayogerako abantu bye batera okunoonya mu bulamu. Ekisooka, tujja kwogera ku kunoonya amasanyu n’ebintu. Ekyo bwe kinaggwa, tujja kwogera ku miganyulo egiri mu kukola emirimu egisiimibwa Katonda.
Eby’Amasanyu Binaatuleetera Essanyu?
5. Sulemaani yanoonya atya essanyu?
5 Okufaananako abantu bangi leero, Sulemaani yagezaako okunoonya essanyu okuyitira mu by’amasanyu. Agamba nti: “Saaziyiza mutima gwange obutalaba ssanyu lyonna.” (Mub. 2:10) Essanyu yalinoonya atya? Okusinziira ku Omubuulizi essuula 2, ‘yasanyusa omubiri gwe n’omwenge’—ng’anywa gwa kigero—era yasimba ensuku, yazimba amayumba, yawuliriza ennyimba, ssaako n’okulya emmere ennungi.
6. (a) Lwaki si kikyamu kwesanyusaamu? (b) Lwaki tulina okuba abeegendereza bwe kituuka ku kwesanyusaamu?
6 Baibuli evumirira okwesanyusaamu ng’oli ne banno? Nedda. Ng’ekyokulabirako, Sulemaani agamba nti okutuula awamu n’olya emmere ennungi oluvannyuma lw’okukola ennyo kiba kirabo okuva eri Katonda. (Soma Omubuulizi 2:24; 3:12, 13.) Ne Yakuwa kennyini agamba abavubuka ‘okusanyukanga era okulekanga omutima gwabwe gubasanyuse’ mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa. (Mub. 11:9) Twetaaga okuwummulamu n’okwesanyusaamu. (Geraageranya Mak. 6:31.) Kyokka, okwesanyusaamu si kye kintu kye tusaanidde okukulembeza mu bulamu. Mu kifo ky’ekyo, okwesanyusaamu kusaanidde kuba ng’eky’okunywa ekikuweweeza ng’omaze okulya emmere. Kya lwatu nti eky’okunywa ekyo ne bwe kiba kiwooma kitya, ku bwakyo tekisobola kukukkusa era tekiriimu kiriisa kimala. Mu ngeri y’emu, Sulemaani yakizuula nti okukulembeza okwesanyusaamu mu bulamu kuba “kugoberera mpewo.”—Mub. 2:10, 11.
7. Lwaki tulina okwegendereza bwe tuba tulondawo eby’okwesanyusaamu?
7 Ate era, tekiri nti buli kya kwesanyusaamu kiba kirungi. Eby’okwesanyusaamu ebimu bibi kubanga byonoona empisa zaffe era n’enkolagana yaffe ne Yakuwa. Abantu bangi bagudde mu mitawaana ‘olw’okwagala okwesanyusaamu’ nga banywa enjaga, beekamirira omwenge, oba nga bakuba zzaala. Yakuwa atulabula nti bwe tukkiriza omutima gwaffe oba amaaso okutuleetera okukola ekintu eky’akabi, tukimanye nti kijja kutuviiramu ebizibu.—Bag. 6:7.
8. Lwaki kirungi okufumiitiriza ku ngeri gye tukozesaamu obulamu bwaffe?
8 Ng’oggyeko ekyo, okwemalira ku by’amasanyu kijja kutuleetera okulagajjalira ebintu ebisinga obukulu. Jjukira nti obulamu bumpi era tetusobola kuba bakakafu nti tetujja kulwala oba okufuna ekizibu ekirala kyonna. Eyo y’ensonga lwaki Sulemaani yagamba nti okugenda okuziika—naddala ng’afudde abadde Mukristaayo mwesigwa—kiyinza okutuganyula okusinga okugenda mu “nnyumba ey’ebinyumu.” (Soma Omubuulizi 7:2, 4.) Lwaki? Kubanga bwe tuwuliriza emboozi eweebwa mu kuziika era ne tufumiitiriza ku bulamu bw’oyo afudde abadde omuweereza wa Yakuwa omwesigwa, kiyinza okutuyamba okwekebera tulabe engeri gye tukozesaamu obulamu bwaffe. N’ekivaamu, tuyinza okukizuula nti twetaaga okukyusa ebiruubirirwa byaffe tusobole okukozesa obulamu bwaffe mu ngeri ey’amagezi.—Mub. 12:1.
Okuba n’Ebintu Kinaatuleetera Essanyu?
9. Kiki Sulemaani kye yazuula ku bikwata ku kuba n’eby’obugagga?
9 Sulemaani we yawandiikira ekitabo ky’Omubuulizi, yali omu ku basajja abasingayo obugagga mu nsi. (2 Byom. 9:22) Yali asobola okufuna ekintu kyonna kye yali ayagala. Yagamba nti: “Na buli kintu amaaso gange kye geegombanga saakigamma.” (Mub. 2:10) Wadde kyali kityo, yakizuula nti okuba n’ebintu ku bwakyo tekireeta ssanyu. Yawunzika bw’ati: “Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza; so n’oyo ayagala obungi, ekyengera tekiimukkusenga.”—Mub. 5:10.
10. Kiki ekireeta essanyu n’obugagga obwa nnamaddala?
10 Wadde ng’eby’obugagga tebirina mugaso gwa lubeerera, bisikiriza bangi. Mu kunoonyereza okwakolebwa mu Amerika gye buvuddeko kwalaga nti abayizi ba yunivasite 75 ku buli kikumi abali mu mwaka ogusooka baagamba nti ekiruubirirwa kyabwe ekikulu mu bulamu kwe “kugaggawala ennyo.” Ekyo ne bwe bakituukako, baba bafunye essanyu erya nnamaddala? Kiyinza obutaba kityo. Abekenneenya bakizudde nti omuntu bw’ayagala ennyo ebintu kimulemesa okufuna essanyu. Emyaka mingi emabega, Sulemaani yazuula ekintu kye kimu. Yawandiika nti: “Neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu, n’obugagga obw’omu nsi obwa bakabaka . . . Era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.”a (Mub. 2:8, 11) Okwawukana ku ekyo, bwe tukozesa obulamu bwaffe okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, bwe tutyo ne tufuna emikisa gye, tujja kufuna obugagga obwa nnamaddala.—Soma Engero 10:22.
Mulimu gwa Ngeri Ki Oguleeta Essanyu Erya Nnamaddala?
11. Ebyawandiikibwa byogera ki ku mugaso oguli mu kukola?
11 Yesu yagamba nti: “Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola.” (Yok. 5:17) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ne Yesu banyumirwa nnyo okukola. Baibuli eraga nti Yakuwa yawulira essanyu olw’ebyo bye yali atonze. Egamba nti: “Katonda n’alaba buli ky’akoze; era, laba, kirungi nnyo.” (Lub. 1:31) Bamalayika ‘baayogerera waggulu olw’essanyu’ bwe baalaba byonna Katonda bye yali akoze. (Yobu 38:4-7) Ne Sulemaani yalaba obulungi obuli mu kukola emirimu emirungi.—Mub. 3:13.
12, 13. (a) Kiki abantu babiri kye boogera ku ssanyu lye bafuna mu kukola n’amaanyi? (b) Lwaki okukola emirimu egimu mu nsi oluusi kimalamu amaanyi?
12 Abantu bangi balaba omugaso oguli mu kukola n’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, José, omusiizi w’ebifaananyi omwatiikirivu agamba nti, “Buli lw’omaliriza okusiiga ekifaananyi ekikubadde mu birowoozo, owulira ng’atuuse ku ntikko y’olusozi oluwanvu.” Munnabizineesi ayitibwa Miguelb agamba nti: “Okukola kuleeta essanyu kubanga kikusobozesa okulabirira ab’omu maka go. Era kikuleetera n’okuwulira nti olina eky’omugaso ky’oba okoze.”
13 Ku luuyi olulala, emirimu egimu tegireeta ssanyu, era tegisobozesa muntu kukozesa busobozi bwe mu bujjuvu. Abantu abamu oluusi bayisibwa bubi ku mirimu, era ekyo kibamalamu amaanyi. Nga Sulemaani bwe yagamba, omuntu omugayaavu—oboolyawo olw’okuba alina b’amanyi mu bifo ebya waggulu—ayinza okufuna empeera eyandibadde ey’omukozi omunyiikivu. (Mub. 2:21) Waliwo n’ebintu ebirala ebiyinza okumalamu omuntu amaanyi. Bizineesi ebadde ekola obulungi eyinza okugwa olw’okugootaana kw’eby’enfuna by’eggwanga oba olw’ebizibu ebigwa obugwi. (Soma Omubuulizi 9:11.) Emirundi mingi, omuntu afuba ennyo okutuuka ku buwanguzi yeesanga nga aweddemu amaanyi, era akizuula nti abadde “ateganira mpewo.”—Mub. 5:16.
14. Mulimu ki oguleeta essanyu erya nnamaddala?
14 Waliwo omulimu gwonna ogutayinza kumalamu muntu maanyi? José omusiizi w’ebifaananyi eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Emyaka bwe gigenda giyitawo, ebifaananyi biyinza okubula oba okwonoonebwa. Naye si bwe kiri ku bintu bye tukola mu kuweereza Katonda. Olw’okugondera Yakuwa nga mbuulira amawulire amalungi, nsobodde okuyamba abantu okufuuka Abakristaayo, era ekyo kijja kubaganyula emirembe gyonna. Ekyo kya muwendo nnyo gye ndi.” (1 Kol. 3:9-11) Miguel naye agamba nti okubuulira amawulire g’Obwakabaka kimuleetera essanyu lingi okusinga okukola emirimu egy’ensi. Agamba nti: “Tewali kiyinza kukuwa ssanyu kusinga kunnyonnyola muntu Kyawandiikibwa n’olaba nga kimutuuse ku mutima.”
“Suulanga Emmere Yo”
15. Kiki ddala ekifuula obulamu okuba obw’amakulu?
15 Nga tufundikira, kiki ddala ekifuula obulamu okuba obw’amakulu? Tufuna essanyu erya nnamaddala obulamu bwaffe obumpi bwe tubukozesa okusanyusa Yakuwa. Tusobola okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda, tusobola okuyigiriza abaana baffe emitindo gy’omu Baibuli, tusobola okuyamba abalala okutegeera Yakuwa, era tusobola okukola emikwano egy’olubeerera n’ab’oluganda. (Bag. 6:10) Bino byonna bivaamu emikisa n’emiganyulo egy’olubeerera. Sulemaani yakozesa ekyokulabirako ekirungi okulaga omugaso oguli mu kukola ebirungi. Yagamba nti: “Suulanga emmere yo ku mazzi: kubanga oligiraba ennaku nnyingi nga ziyiseewo.” (Mub. 11:1) Yesu yakubiriza abagoberezi be nti: “Mugabenga, nammwe muligabirwa.” (Luk. 6:38) Ate era, Yakuwa asuubiza okuwa empeera abo abakolera abalala ebirungi.—Nge. 19:17; soma Abaebbulaniya 6:10.
16. Ddi lwe tusaanidde okusalawo ku ngeri y’okukozesaamu obulamu bwaffe?
16 Baibuli etukubiriza okusalawo mu ngeri ey’amagezi nga tukyali bato ku ngeri gye tusaanidde okukozesaamu obulamu bwaffe. Bwe tukola tutyo tetujja kwejjusa nga tukaddiye. (Mub. 12:1) Nga kiba kya nnaku bwe twonoona emyaka gy’obulamu bwaffe egisinga okuba emirungi nga twenoonyeza ebiri mu nsi, kyokka oluvannyuma ne tukizuula nti tubadde tugoberera mpewo!
17. Kiki ekinaakuyamba okulondawo obulamu obusingayo okuba obulungi?
17 Okufaananako omuzadde yenna omulungi, Yakuwa ayagala onyumirwe obulamu, okole ebirungi, era weewale emitawaana. (Mub. 11:9, 10) Kiki ekinaakuyamba okukola ekyo? Weeteerewo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo era ofube okubituukako. Emyaka nga 20 egiyise, Javier yalina okusalawo okuba omusawo oba okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Agamba nti: “Wadde ng’okuba omusawo kiyinza okuleeta essanyu, essanyu eryo teriyinza kwenkana eryo lye nnafuna bwe nnayamba abantu abawerako okuyiga amazima. Obuweereza obw’ekiseera kyonna bunnyambye okunyumirwa obulamu mu bujjuvu. Ekintu kyokka kye nnejjusa kwe kuba nti nnalwawo okubutandika.”
18. Lwaki obulamu bwa Yesu ku nsi bwali bwa makulu nnyo?
18 Kati olwo, kintu ki ekisinga okuba eky’omuwendo kye twandifubye okufuna? Ekitabo ky’Omubuulizi kigamba nti: “Erinnya eddungi lisinga amafuta ag’omugavu ag’omuwendo omungi; n’olunaku olw’okufiiramu lusinga olunaku olw’okuzaalirwamu.” (Mub. 7:1) Obulamu bwa Yesu kino bukiraga bulungi. Awatali kubuusabuusa yeekolera erinnya eddungi ne Yakuwa. Yesu bwe yafa nga mwesigwa, yalaga nti obufuzi bwa Kitaawe bwe butuufu era yawaayo ssaddaaka y’ekinunulo eyatusobozesa okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo. (Mat. 20:28) Mu kiseera ekitono kye yamala ku nsi, Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi—ekyokulabirako kye tufuba okukoppa—ekiraga obulamu obw’amakulu bwe bulina okuba.—1 Kol. 11:1; 1 Peet. 2:21.
19. Kubuulirira ki okulungi Sulemaani kwe yawa?
19 Naffe tusobola okwekolera erinnya eddungi ne Katonda. Okuba n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Yakuwa kya muwendo nnyo okusinga okuba n’eby’obugagga. (Soma Matayo 6:19-21.) Buli lunaku waliwo ebintu bye tusobola okukola ebisanyusa Yakuwa era ebijja okutuleetera okuba abamativu. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okubuulira amawulire amalungi, okunyweza obufumbo bwaffe n’amaka gaffe, n’okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa nga twesomesa era nga tubaawo mu nkuŋŋaana. (Mub. 11:6; Beb. 13:16) Kati olwo wandyagadde okuba n’obulamu obumatiza? Bwe kiba bwe kityo, genda mu maaso n’okugoberera okubuulirira kwa Sulemaani kuno: “Otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.”—Mub. 12:13.
[Obugambo obuli wansi]
a Buli mwaka Sulemaani yafunanga ttalanta za zaabu 666 (nga zisoba mu paawundi 50,000).—2 Byom. 9:13.
b Erinnya likyusiddwa.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki ekyandituleetedde okulowooza ennyo ku biruubirirwa byaffe mu bulamu?
• Twanditunuulidde tutya okunoonya eby’amasanyu n’eby’obugagga?
• Mirimu gya ngeri ki egireeta essanyu erya nnamaddala?
• Kintu ki eky’omuwendo kye twandifubye okufuna?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Okwesanyusamu kusaanidde kuba na kifo ki mu bulamu bwaffe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Lwaki omulimu gw’okubuulira guleeta essanyu lingi?