Yesu Kristo—Masiya Eyasuubizibwa
OKUSOBOLA okutuyamba okutegeera Masiya, Yakuwa Katonda yaluŋŋamya bannabbi bangi okuwandiika mu Baibuli ebintu ebikwata ku kuzaalibwa, obuweereza, n’okufa kw’Omununuzi oyo eyasuubizibwa. Obunnabbi buno bwonna obw’omu Baibuli bwatuukirizibwa ku Yesu Kristo. Bwatuukirizibwa mu ngeri eyeewuunyisa era bulimu kalonda mungi. Okukakasa kino, ka twekenneenyeyo obumu ku bunnabbi obukwata ku kuzaalibwa kwa Masiya n’emyaka gye egy’obuto.
Nnabbi Isaaya yalagula nti Masiya yandibadde muzzukulu wa Kabaka Dawudi. (Isaaya 9:7) Mazima ddala Yesu yazaalibwa mu lunyiriri lwa Dawudi.—Matayo 1:1, 6-17.
Mikka, nnabbi wa Katonda omulala, yalagula nti omwana ono yandibadde mufuzi era nti yandibadde azaalibwa mu “Besirekemu Efulasa.” (Mikka 5:2) Mu kiseera Yesu we baamuzaalira, mu Isiraeri mwalimu ebibuga bibiri ebiyitibwa Besirekemu. Ekimu kyali kumpi ne Nazaaleesi mu bukiika kkono bw’ensi eyo, ate ekirala kyali kumpi ne Yerusaalemi mu Yuda. Besirekemu ekiriraanye Yerusaalemi okusooka kyali kiyitibwa Efulasa. Yesu yazaalibwa mu Kibuga ekyo, ng’obunnabbi bwe bwalagula!—Matayo 2:1.
Obunnabbi bwa Baibuli obulala bwalaga nti Omwana wa Katonda yali wa kuyitibwa “okuva mu Misiri.” Nga muto, Yesu yatwalibwa e Misiri. Yakomezebwawo oluvannyuma lw’okufa kwa Kerode, bwe kityo obunnabbi obwo ne butuukirizibwa.—Koseya 11:1; Matayo 2:15.
Ku kipande ekiri ku lupapula 200, ebyawandiikibwa ebiri wansi w’omutwe ogugamba nti “Obunnabbi,” birimu kalonda akwata ku Masiya. Osabibwa okugeraageranya ebyawandiikibwa bino n’ebyo ebiri wansi w’omutwe ogugamba nti “Okutuukirizibwa.” Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okunyweza okukkiriza kw’olina mu Kigambo kya Katonda.
Nga weekenneenya ebyawandiikibwa bino, kijjukire nti ebyo eby’obunnabbi byawandiikibwa ebikumi n’ebikumi by’emyaka nga Yesu tannazaalibwa. Yesu yagamba: ‘Byonna ebyawandiikibwa ku nze mu mateeka ga Musa ne mu Zabbuli biteekwa okutuukirira.’ (Lukka 24:44) Nga gwe kennyini bw’oyinza okukakasa mu Baibuli yo, ebyawandiikibwa byatuukirizibwa ddala!
[Ekipande ekiri ku lupapula 200]
OBUNNABBI OBUKWATA KU MASIYA
EBYALIWO OBUNNABBI OKUTUUKIRIZIBWA
Yazaalibwa mu kika kya Yuda Olubereberye 49:10 Lukka 3:23-33
Yazaalibwa omuwala embeerera Isaaya 7:14 Matayo 1:18-25
Muzzukulu wa Kabaka Dawudi Isaaya 9:7 Matayo 1:1, 6-17
Yakuwa yalangirira nti Mwana we Zabbuli 2:7 Matayo 3:17
Abasinga obungi tebaamukkiririzaamu Isaaya 53:1 Yokaana 12:37,38
Yayingira mu Yerusaalemi nga
yeebagadde endogoyi Zekkaliya 9:9 Matayo 21:1-9
Yaliibwamu olukwe mukwano gwe
ow’oku lusegere Zabbuli 41:9 Yokaana 13:18, 21-30
Yaliibwamu olukwe olw’ebitundu
bya ffeeza 30 Zekkaliya 11:12 Matayo 26:14-16
Yasirika nga bamulumiriza Isaaya 53:7 Matayo 27:11-14
Engoye ze zaakubibwako akalulu Zabbuli 22:18 Matayo 27:35
Yavumibwa nga ali ku muti Zabbuli 22:7, 8 Matayo 27:39-43
Tewali ggumba lye lyamenyebwa Zabbuli 34:20 Yokaana 19:33, 36
Yaziikibwa n’abagagga Isaaya 53:9 Matayo 27:57-60
Yazuukizibwa nga tannavunda Zabbuli 16:10 Ebikolwa 2:24, 27
Yatuuzibwa ku mukono gwa
Katonda ogwa ddyo Zabbuli 110:1 Ebikolwa 7:56