Tujja Kutambulira mu Linnya lya Yakuwa Emirembe Gyonna!
“Tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe.”—MIKKA 4:5.
1. Bubaka ki obuli mu Mikka okuva ku ssuula 3 okutuuka ku 5?
YAKUWA alina ky’ayagala okutegeeza abantu be, era akozesa Mikka nga nnabbi we. Katonda alina ekigendererwa eky’okubaako ky’akolawo ku bantu ababi. Agenda kubonereza Isiraeri olw’obwewagguzi. Naye, eky’essanyu, Yakuwa ajja kuwa omukisa abo abatambulira mu linnya lye. Obubaka buno bweyoleka bulungi okuva ku ssuula 3 okutuuka ku ssuula 5 ez’obunnabbi bwa Mikka.
2, 3. (a) Ngeri ki abakulembeze ba Isiraeri gye balina okwolesa, naye ddala kiki kye bakola? (b) Wandinnyonnyodde otya ebigambo ebikozesebwa mu Mikka 3:2, 3?
2 Nnabbi wa Katonda ono agamba: “Muwulire, mbeegayiridde, mmwe abakulu ba Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri; si kwammwe okumanya omusango [“obwenkanya,” NW]?” Mazima ddala bandibadde bafaayo okumanya obwenkanya, naye ddala ekyo kye bakola? Mikka agamba: “[Mmwe] abakyawa ebirungi, era abaagala ebibi; ababaggyako eddiba lyabwe n’omubiri gwabwe ku magumba gaabwe; era abalya omubiri gw’abantu bange; ne bababaagako eddiba lyabwe n’amagumba gaabwe bagamenya; weewaawo, babatiimatiima ng’ebigenda mu kibya, era ng’ennyama ey’omu ntamu.”—Mikka 3:1-3.
3 Kitalo, abakulembeze banyigiriza abaavu, abatalina bukuumi! Ebigambo Mikka by’akozesa wano abamuwuliriza babitegeera bulungi. Omuntu bw’aba asse endiga ng’agenda kugifumba, asooka kugiggyako eddiba n’oluvannyuma n’agitemaatemamu. Oluusi, amagumba gatemebwatemebwa okusobola okugaggyamu obusomyo. Ennyama n’amagumba bifumbibwa mu ntamu ennene ng’eyo Mikka gye yayogerako. (Ezeekyeri 24:3-6, 10) Ekyokulabirako ekyo nga kiraga engeri embi ennyo abakulembeze ababi gye baali bayisaamu abantu mu kiseera kya Mikka!
Yakuwa Atwetaagisa Okwoleka Obwenkanya
4. Njawulo ki eriwo wakati wa Yakuwa n’abakulembeze ba Isiraeri?
4 Waliwo enjawulo ya maanyi nnyo wakati wa Yakuwa, Omusumba ow’okwagala, n’abakulembeze ba Isiraeri. Olw’okuba tebooleka bwenkanya, balemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okukuuma ekisibo. Mu kifo ky’okukola ekyo, banyigiriza endiga ezo ez’akabonero, nga tebabalaga bwenkanya era nga ‘bayiwa omusaayi,’ gwabwe nga bwe kiri mu Mikka 3:10. Kiki kye tuyinza okuyigira ku mbeera eyo?
5. Kiki Yakuwa kye yeetaaza abo abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu bantu be?
5 Katonda asuubira abo abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu bantu be okulaga obwenkanya. Bwe kityo bwe kiri mu bantu ba Yakuwa leero. Era ekyo kituukagana bulungi nnyo n’ebigambo ebiri mu Isaaya 32:1, we tusoma: “Laba, kabaka alifuga n’obutuukirivu, n’abakulu balifuga n’omusango [“n’obwenkanya,” NW].” Naye kiki ekiriwo mu kiseera kya Mikka? “Abakyawa ebirungi era abaagala ebibi,” beeyongera okusuula omuguluka obwenkanya.
Kusaba kw’Ani Okuddibwamu?
6, 7. Nsonga ki enkulu eggumizibwa mu Mikka 3:4?
6 Ddala abantu ababi ab’omu kiseera kya Mikka basobola okusiimibwa Yakuwa? N’akatono! Mikka 3:4 wagamba: “Banaakaabiriranga Mukama, so [taa]baddengamu; weewaawo, anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, nga bwe baakola obubi mu bikolwa byabwe.” Kino kiggumiza ensonga enkulu ennyo.
7 Yakuwa tajja kuddamu kusaba kwaffe singa twonoona olutatadde mu bugenderevu. Bwe kityo bwe kiba singa tuba bannanfuusi, nga tukweka ebibi byaffe ate ne tuwa ekifaananyi nti tuweereza Katonda n’obwesigwa. Okusinziira ku Zabbuli 26:4, Dawudi yagamba: “Saatuulanga wamu na bantu abataliimu; so [s]iiyingirenga wamu na bakuusakuusa.” Yakuwa tasobola kuddamu kusaba kw’abo abasambajja Ekigambo kye mu bugenderevu!
Omwoyo gwa Katonda Gubawa Amaanyi
8. Bannabbi ab’obulimba ab’omu kiseera kya Mikka baalabulwa ku ki?
8 Abakulembeze b’Abaisiraeri nga beenyigidde mu bintu ebibi ennyo! Bannabbi ab’obulimba bakyamizza abantu ba Katonda mu by’omwoyo. Abantu ab’omululu bagamba nti, “Mirembe!” naye nga ‘buli agaana okubawa eky’okulya, bamuggulako olutalo.’ N’olwekyo, Yakuwa abagamba: “Kibeera ekiro gye muli, muleme okwolesebwa; era ekizikiza kiriba gye muli, muleme okulagula; era enjuba erigwiira bannabbi, era obudde buliddugala ku bo. N’abalabi balikwatibwa ensonyi, n’abalaguzi baliswala; weewaawo, bonna balibikka ku mimwa gyabwe.”—Mikka 3:5-7a.
9, 10. Kitegeeza ki ‘okubikka ku mimwa,’ era lwaki Mikka tekimwetaagisa kubikka ku mimwa gye?
9 Lwaki ‘babikka ku mimwa gyabwe’? Kino abantu ababi ab’omu kiseera kya Mikka bakikola olw’okukwatibwa ensonyi. Era abantu abo ababi bateekwa okukwatibwa ensonyi. ‘Katonda tayinza kubaanukula.’ (Mikka 3:7b) Yakuwa tayinza kuwuliriza kusaba kw’abantu ababi era ab’amalala.
10 Mikka tekimwetaagisa ‘kubikka ku mimwa gye.’ Talina kimukwasa nsonyi. Yakuwa ayanukula okusaba kwe. Weetegereze Mikka 3:8, nnabbi ono omwesigwa w’agambira nti: “Naye mazima nze njijudde amaanyi olw’omwoyo gwa Mukama, n’omusango n’obuzira.” Nga Mikka musanyufu nnyo okulaba nti ekiseera ekyo kyonna ky’amaze ng’aweereza n’obwesigwa, abadde ajjudde “amaanyi olw’omwoyo gwa Mukama”! Kino kimuwadde amaanyi ‘okubuulira Yakobo okwonoona kwe era n’okubuulira Isiraeri ebibi bye.’
11. Abantu basobola batya okufuna amaanyi okulangirira obubaka bwa Katonda?
11 Mikka yali yeetaaga amaanyi agasinga ku g’obuntu okusobola okulangirira obubaka obw’omusango gwa Yakuwa. Yali yeetaaga omwoyo gwa Yakuwa. Ate kiri kitya gye tuli? Tewali ngeri ndala yonna gye tusobola kutuukirizaamu mulimu gwaffe ogw’okubuulira okuggyako nga Yakuwa atuwa amaanyi okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu. Okubuulira kwaffe kujja kuba kwa bwereere singa twenyigira mu bikolwa ebibi. Era ekyo kireetera Katonda obutaddamu kusaba kwaffe okw’okutuwa amaanyi okukola omulimu ogwo. Mazima ddala tetusobola kulangirira bubaka obw’omusango obwa Kitaffe ali mu ggulu, okuggyako nga tulina ‘omwoyo gwe.’ Okusaba kwaffe bwe kuddibwamu era awamu n’obuyambi bw’omwoyo omutukuvu, tusobola okwogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu nga Mikka bwe yakola.
12. Lwaki abayigirizwa ba Yesu abasooka ‘beeyongera okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu’?
12 Oboolyawo ojjukira ebiri mu Ebikolwa by’Abatume 4:23-31. Kuba ekifaananyi ng’oli omu ku bayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka. Abantu ab’obulabe baagala okuziyiza abagoberezi ba Kristo okubuulira. Naye abantu abo abeesigwa basaba Mukama Afuga Byonna nga bamwegayirira: ‘Yakuwa laba okutiisatiisa kwabwe, owe abaddu bo amaanyi beeyongere okwogera ekigambo kyo n’obuvumu.’ Kiki ekyavaamu? Bwe bamala okusaba, ekifo kye bakuŋŋaaniddemu kikankana, bonna ne bajjula omwoyo omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu. N’olwekyo, ka tutuukirirenga Yakuwa mu kusaba era twesigenga obuyambi bw’atuwa okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu okusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe.
13. Kiki ekijja okutuuka ku Yerusaalemi ne Samaliya, era lwaki?
13 Ate lowooza ku kiseera kya Mikka. Okusinziira ku Mikka 3:9-12, abakulembeze abo abavunaanibwa omusango ogw’okuyiwa omusaayi basaba enguzi nga basala emisango, ne bakabona basaba ssente okusobola okuyigiriza, era ne bannabbi ab’obulimba basaba ssente okusobola okulagula. Kale nno tekyewuunyisa lwaki Katonda agamba nti ekibuga kya Yuda, Yerusaalemi, “kirifuuka ekifunvu”! Okuva okusinza okw’obulimba bwe kubunye wonna mu Isiraeri era nga n’empisa z’abantu zoonoonese nnyo, Mikka aluŋŋamizibwa okulabula nti Katonda ajja kufuula Samaliya okuba “ng’ekifunvu.” (Mikka 1:6) Mu butuufu, Mikka yalabako n’amaaso ge nga Bwasuli ezikiriza Samaliya mu 740 B.C.E. nga bwe kyali kiraguddwa. (2 Bassekabaka 17:5, 6; 25:1-21) Kya lwatu, obubaka obwo obw’amaanyi obukwata ku Yerusaalemi ne Samaliya bwayogerwa mu maanyi ga Yakuwa.
14. Obunnabbi obuli mu Mikka 3:12 bwatuukirizibwa butya, era ebyo bitukwatako bitya?
14 Mazima ddala Yuda teyinza kusumattuka kubonerezebwa Yakuwa. Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Mikka 3:12, Sayuuni kijja “kulimibwa ng’omutala.” Wano we tuli mu kyasa 21, tumanyi nti ebintu ebyo byatuukirira Abababulooni bwe baazikiriza Yuda ne Yerusaalemi mu 607 B.C.E. Ebyo byatuukirira nga waayiseewo emyaka mingi bukya Mikka abyogerako, naye yali mukakafu ddala nti byali bijja kutuukirira. Ddala naffe tusaanidde okubeera n’obwesige bwe bumu nti enteekateeka y’ebintu eno embi ejja kuggibwawo ku ‘lunaku lwa Yakuwa’ olwalagulibwa.’—2 Peetero 3:11, 12.
Yakuwa Atereeza Ensonga
15. Mu bigambo byo, wandinnyonnyodde otya obunnabbi obuli mu Mikka 4:1-4?
15 Bwe tuddayo nate mu biseera bya Mikka, tulaba ng’ayogera obubaka obubuguumiriza era obuwa essuubi. Obubaka obwo bwe tusoma mu Mikka 4:1-4 nga buzzaamu nnyo amaanyi! Mikka agamba: “Mu nnaku ez’oluvannyuma olulituuka olusozi olw’ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y’ensozi, era luliyimusibwa okusinga obusozi, era amawanga galikulukutiramu. . . . Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag’amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n’amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate. Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka Mukama w’eggye ke kakyogedde.”
16, 17. Mikka 4:1-4 zituukirizibwa zitya leero?
16 “Amawanga amangi” “n’amawanga ag’amaanyi” agoogerwako mu kyawandiikibwa ekyo, kye ki? Si ge mawanga ne gavumenti z’ensi. Wabula, obunnabbi obwo bukwata ku bantu kinnoomu okuva mu mawanga gonna abasinzizza awamu Yakuwa ku lusozi lwe olw’okusinza okw’amazima.
17 Okusinziira ku bunnabbi bwa Mikka, ekiseera kiri kumpi okutuuka okusinza okulongoofu okwa Yakuwa kubeerewo mu nsi yonna. Leero, ‘abantu abaagala obulamu obutaggwaawo’ bayigirizibwa okutambulira mu makubo ga Yakuwa. (Ebikolwa 13:48) Yakuwa ‘asala omusango era atereeza’ mu by’omwoyo abo abawagira Obwakabaka bwe. Bajja kuwonawo ku ‘kibonyoobonyo ekinene’ era bano be bali mu ‘kibiina ekinene.’ (Okubikkulirwa 7:9, 14) Olw’okuba baamala okuweesa ebitala byabwe okubifuula ebiwabyo, ne kaakano bali mu mirembe ne Bajulirwa bannaabwe era n’abantu abalala. Nga kisanyusa nnyo okubeera omu ku bo!
Bamalirivu Okutambulira mu Linnya lya Yakuwa
18. Kitegeeza ki buli omu okubeera ‘wansi w’omutiini gwe ne wansi w’omuzabbibu gwe’?
18 Mu kiseera kyaffe, ng’abantu mu nsi yonna bali mu kutya, tuli basanyufu nnyo okulaba nti bangi bayiga amakubo ga Yakuwa. Twesunga ekiseera ekyo ekiri okumpi okutuuka abantu bonna abaagala Katonda lwe bataliyiga kulwana nate, naye buli omu lw’alituula wansi w’omuzabbibu gwe n’omutiini gwe. Emitiini gitera okusimbibwa mu nnimiro z’emizabbibu. (Lukka 13:6) Buli omu okutuula wansi w’omuzabbibu gwe n’omutiini gwe, kiba kiraga nti waliwo embeera ez’emirembe n’obutebenkevu. Ne mu kiseera kino, bwe tubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, tusobola okubeera n’emirembe mu birowoozo era n’obukuumi mu by’omwoyo. Embeera ng’ezo bwe zinaabeerawo wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka, tetujja kubaako kye tutya era tujja kubeera mu butebenkevu.
19. Kitegeeza ki okutambulira mu linnya lya Yakuwa?
19 Okusobola okusiimibwa Katonda, tuteekwa okutambulira mu linnya lye. Kino kiggumizibwa mu Mikka 4:5, nnabbi oyo w’agambira nti: “Amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya [Yakuwa] Katonda waffe emirembe n’emirembe.” Okutambulira mu linnya lya Yakuwa tekitegeeza kugamba bugambi nti ye Katonda waffe. Kizingiramu ekisingawo ku kwenyigira obwenyigizi mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ne mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka, wadde nga n’ebintu ng’ebyo bikulu nnyo. Bwe tuba tutambulira mu linnya lya Yakuwa, kitegeeza nti twewaddeyo gy’ali era nti tufuba okumuweereza mu bwesigwa n’omutima gwaffe gwonna. (Matayo 22:37) Era ng’abantu abamusinza, tuli bamalirivu okutambulira mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe emirembe gyonna.
20. Kiki ekyalagulwa mu Mikka 4:6-13?
20 Kati weetegereze ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu Mikka 4:6-13. ‘Omuwala wa Sayuuni’ alina okugenda mu buwambe ‘e Babulooni.’ Ekyo kyennyini kye kyatuuka ku bantu b’omu Yerusaalemi mu kyasa eky’omusanvu B.C.E. Wadde kiri bwe kityo, obunnabbi bwa Mikka bulaga nti ensigalira bajja kukomawo mu Yuda, era Sayuuni bwe kinazzibwawo, Yakuwa ajja kukakasa nti abalabe baakyo bonna bazikirizibwa.
21, 22. Mikka 5:2 lwatuukirizibwa lutya?
21 Mikka essuula 5 eyogera ku bintu ebirala eby’amaanyi ebirina okubaawo. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ekyogerwako mu Mikka 5:2-4. Mikka agamba nti Omufuzi Katonda gw’alonze—oyo ‘eyaliwo okuva edda n’edda’—ajja kuva mu Besirekemu. Ajja kufuga ng’omusumba mu “maanyi ga Yakuwa.” Kyokka, Omufuzi ono ajja kuba wa maanyi, si mu Isiraeri mwokka, naye ‘n’okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ Wadde ng’ensi eyinza okuba nga tetegeera mufuzi ono, ffe tumutegeera bulungi.
22 Muntu ki asingayo okuba ow’ekitiibwa eyazaalibwa mu Besirekemu? Era ani ajja okuba ‘omukulu okutuukira ddala ku nkomerero y’ensi’? Si mulala yenna, wabula Masiya, Yesu Kristo! Kerode Omukulu bwe yabuuza bakabona abakulu n’abawandiisi ekifo Masiya gye yali agenda okuzaalibwa, bamuddamu: “Mu Besirekemu eky’e Buyudaaya.” Era baajuliza ebigambo ebiri mu Mikka 5:2. (Matayo 2:3-6) N’abantu abamu aba bulijjo, ekyo baali bakimanyi, kubanga Yokaana 7:42 walaga nti baagamba: “Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo ava mu zzadde lya Dawudi, mu Besirekemu, embuga Dawudi mwe yali?”
Okubudaabudibwa Okwa Nnamaddala eri Abantu
23. Kiki kati ekikolebwa mu kutuukirizibwa kwa Mikka 5:7?
23 Mikka 5:5-15 woogera ku bulumbaganyi bwa Abaasuli obwandimaze akaseera akatono era walaga nti Katonda ajja kwolekeza obusungu bwe amawanga amajeemu. Mikka 5:7 wasuubiza nti Abayudaaya abeenenya bajja kuzzibwayo mu nsi yaabwe, naye era ebigambo ebyo bitukwatako leero. Mikka agamba: “Ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng’omusulo oguva eri Mukama, ng’empandaggirize ku muddo.” Mikka akozesa olulimi luno olw’akabonero okulagula nti ensigalira ya Yakobo ey’eby’omwoyo, oba Isiraeri, ejja kuba kirabo kya muwendo ekiva eri Katonda. “Endiga endala” eza Yesu, abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, basanyufu okukolera awamu n’ensigalira ya “Isiraeri wa Katonda,” abaliwo mu kiseera kino nga bazzaamu abalala amaanyi mu by’omwoyo. (Yokaana 10:16; Abaggalatiya 6:16; Zeffaniya 3:9) Ne mu kino, waliwo ensonga endala gye twagala okufumiitirizaako. Ng’abalangirizi b’Obwakabaka, enkizo etuweereddwa ey’okubudaabuda abalala twandigitutte nga ya muwendo nnyo.
24. Nsonga ki enkulu ezikukutteko eziri mu Mikka essuula 3 okutuuka ku ssuula 5?
24 Biki by’oyize okuva ku ssuula 3 okutuuka ku ssuula 5 ey’obunnabbi bwa Mikka? Oboolyawo ensonga nga zino: (1) Katonda asuubira abo abalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abantu be okulaganga obwenkanya. (2) Yakuwa tajja kuddamu kusaba kwaffe singa tugugubira ku kukola ekibi. (3) Tusobola okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okubuulira singa Katonda atuwa amaanyi okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu. (4) Okusobola okusiimibwa Katonda, tuteekwa okutambulira mu linnya lye. (5) Ng’abalangirizi b’Obwakabaka, tuteekwa okutwala enkizo etuweereddwa ey’okubudaabuda abalala nga ya muwendo. Wayinza okubaawo n’ensonga endala ezikukutteko. Naye biki ebirala bye tuyinza okuyiga mu kitabo kino eky’obunnabbi? Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okufuna ensonga ezinaatuyamba mu ssuula bbiri ezisembayo mu bunnabbi bwa Mikka obuzaamu amaanyi.
Wandizzeemu Otya?
• Katonda asuubira ki mu abo abalina obuvunaanyizibwa mu bantu be?
• Lwaki okusaba n’omwoyo omutukuvu bikulu nnyo mu kuweereza Yakuwa?
• Abantu batambulira batya mu linnya lya Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Oyinza okunnyonnyola ekyokulabirako kya Mikka ekikwata ku ntamu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Okufaananako Mikka, twenyigira mu buweereza bwaffe n’obuvumu