“Mubeere Bulindaala”
“Kale mutunule [“Mubeere bulindaala,” “NW”]; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’alijjirako.”—MATAYO 24:42.
1. Abamaze ekiseera ekiwanvu nga baweereza Yakuwa balowooza batya ku kiseera ekiwanvu kye bamaze nga baweereza n’obwesigwa? Waayo ekyokulabirako.
BANGI abamaze ekiseera kiwanvu nga baweereza Yakuwa, baayiga amazima nga bakyali bavubuka bato. Okufaananako omusuubuzi eyazuula luulu ey’omuwendo omungi n’atunda bye yalina byonna asobole okugigula, abayizi ba Baibuli abo abanyiikivu beerekereza byonna ne bawaayo obulamu bwabwe eri Yakuwa. (Matayo 13:45, 46; Makko 8:34) Bawulira batya oluvannyuma lw’okulindirira ebbanga ddene okusinga eryo lye baali basuubira okusobola okulaba ebigendererwa bya Katonda nga bituukirizibwa eri ensi? Tebejjusa n’akamu! Bakkiriziganya ne Ow’Oluganda A. H. Macmillan, oluvannyuma lw’okuweereza Katonda n’obwesigwa emyaka nga 60, eyagamba: “Ndi mumalirivu nnyo n’okusinga bwe kyali kibadde okunywerera ku kukkiriza kwange. Kuwadde obulamu bwange amakulu. Era kukyannyamba okwolekagana n’ebiseera eby’omu maaso awatali kutya kwonna.”
2.(a) Kubuulirira ki okutuukirawo Yesu kwe yawa abagoberezi be? (b) Bibuuzo ki bye tujja okwekenneenya mu kitundu kino?
2 Ate ggwe? K’obe ng’olina emyaka emeka, fumiitiriza ku bigambo bya Yesu: “Kale mutunule [“mubeere bulindaala,” NW]; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’ajjirako.” (Matayo 24:42) Ebigambo ebyo ebitonotono birimu amazima amakulu ennyo. Tetumanyi lunaku Mukama waffe lw’alijjirako okuzikiriza embeera zino embi, era tekitwetaagisa kulumanya. Naye twetaaga okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri esaanidde ne kiba nti Mukama waffe bw’alijja, tetugenda kubaako kye twejjusa. Ku nsonga eno, byakulabirako ki bye tusanga mu Baibuli ebiyinza okutuyamba okusigala nga tuli bulindaala? Yesu yalaga atya obwetaavu buno? Era bujulizi ki bwe tulina leero obukakasa nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma ez’ensi eno etetya Katonda?
Ekyokulabirako Ekirabula
3. Abantu bangi leero bafaanana batya ab’omu kiseera kya Nuuwa?
3 Mu ngeri nnyingi, abantu abaliwo leero bafaananako abasajja n’abakazi abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa. Mu kiseera ekyo ensi yali ejjudde ettemu, era ebirowoozo by’abantu byali ‘bibi byereere buli kiseera.’ (Olubereberye 6:5) Abasinga obungi baali beemalidde ku bintu by’obulamu ebya bulijjo. Kyokka, nga tannaleeta Mataba, Yakuwa yawa abantu akakisa okwenenya. Yatuma Nuuwa okubuulira, era Nuuwa yakola kye baamugamba—n’aweereza nga “omubuulizi w’obutuukirivu,” oboolyawo okumala emyaka 40 oba 50 oba n’okusingawo. (2 Peetero 2:5) Kyokka, abantu tebaafaayo ku bubaka bwa Nuuwa obulabula. Tebaali bulindaala. N’olwekyo, mu nkomerero, Nuuwa yekka n’ab’omu maka ge be baawonawo nga Yakuwa atuukiriza omusango gwe yali asaze.—Matayo 24:37-39.
4. Mu ngeri ki bwe tuyinza okugamba nti obuweereza bwa Nuuwa bwatuukiriza ekigendererwa kyabwo, era omulimu gwo ogw’okubuulira guyinza gutya okwogerwako kye kimu?
4 Obuweereza bwa Nuuwa bwatuukiriza ekigendererwa kyabwo? Tosalawo ng’osinziira ku muwendo omutono ogw’abo abaayanukula. Mazima ddala, okubuulira kwa Nuuwa kwatuukiriza ekigendererwa kyakwo, abantu ka babe nga baayanukula batya. Lwaki? Kubanga kyawa abantu omukisa okulondawo obanga banaaweereza Yakuwa oba nedda. Kiri kitya mu kitundu ky’obuuliramu? Wadde ng’abantu baanukula kitono, oba otuukiriza ekigendererwa kyo. Lwaki? Kubanga okuyitira mu kubuulira, owa okulabula kwa Katonda, era oba otuukiriza omulimu Yesu gwe yawa abagoberezi be.—Matayo 24:14; 28:19, 20.
Obutafaayo ku Bannabbi ba Katonda
5. (a) Mbeera ki ezaaliwo mu Yuda mu kiseera kya Kaabakuuku, era abantu baayanukula batya obubaka bwe obw’obunnabbi? (b) Abantu ba Yuda baayoleka batya obulabe eri bannabbi ba Yakuwa?
5 Ebyasa by’emyaka oluvannyuma lw’Amataba, embeera mu bwakabaka bwa Yuda yayonooneka nnyo. Okusinza ebifaananyi, obutali bwenkanya, okunyigiriza abalala, n’ettemu byacaaka nnyo. Yakuwa yayimusaawo nnabbi Kaabakuuku okulabula abantu nti singa tebeenenya, baali ba kuzikirizibwa Abakaludaaya, oba Abababulooni. (Kaabakuuku 1:5-7) Naye abantu baagaana okuwuliriza. Oboolyawo baagamba, ‘Emyaka egisukka mu kikumi emabega, nnabbi Isaaya yawa okulabula okufaananako, naye tewali kyali kibaddewo!’ (Isaaya 39:6, 7) Abakungu ba Yuda bangi tebaakoma ku buteefiirayo ku bubaka kyokka naye era baali ba bulabe eri abaleeta obubaka. Lumu baagezaako okutta nnabbi Yeremiya era bandimusse singa Akikamu teyayingira mu nsonga. Nga musunguwavu olw’obubaka obulala obw’obunnabbi, Kabaka Yekoyakimu yalagira ne batta nnabbi Uliya.—Yeremiya 26:21-24.
6. Yakuwa yanyweza atya Kaabakuuku?
6 Obubaka bwa Kaabakuuku nabwo bwali bwa maanyi nnyo, era nga tebwagalibwa ng’obwa Yeremiya, eyaluŋŋamizibwa Katonda okulagula nti Yuda yandifuuliddwa matongo okumala emyaka 70. (Yeremiya 25:8-11) N’olwekyo tuyinza okutegeera ennaku ya Kaabakuuku bwe yagamba: “Ai Yakuwa, ndituusa wa okukukaabirira onnyambe, n’otowulira? Ndituusa wa okukukoowoola omponye okuva mu ttemu, n’otomponya?” (Kaabakuuku 1:2, NW) Yakuwa yayanukula Kaabakuuku n’ebigambo bino ebinyweza okukkiriza: “Okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa [“ekiseera ekigereke,” NW], era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.” (Kaabakuuku 2:3) N’olwekyo, Yakuwa yali ategeseewo “ekiseera ekigereke” okukomya obutali bwenkanya n’okunyigirizibwa. Bwe kiba ng’okutuukirizibwa kw’obunnabbi buno kwalabika ng’okuludde, Kaabakuuku teyalina kuggwaamu maanyi, wadde okuddirira. Mu kifo ky’ekyo, yali wa ‘kulindirira,’ nga buli lunaku yeeyisa mu ngeri eraga nti ateegera obukulu bw’ebiseera. Olunaku lwa Yakuwa lwali terujja kulwa!
7. Lwaki Yerusaalemi kyali kyolekedde okuzikirizibwa nate mu kyasa ekyasooka eky’Embala Eno gye tulimu?
7 ONga wayiseewo emyaka nga 20 okuva Yakuwa bwe yayogera ne Kaabakuuku, Yerusaalemi, ekibuga ekikulu ekya Yuda, kyazikirizibwa. Oluvannyuma, kyaddamu okuzimbibwa, era bingi ku bikyamu ebyali binakuwazizza ennyo Kaabakuuku byatereezebwa. Kyokka, mu kyasa ekyasooka eky’Embala Eno gye tulimu, ekibuga ekyo kyali kyolekedde okuzikirizibwa nate olw’obutali butuukirivu bw’a- bantu abaakirimu. Olw’obusaasizi bwe, Yakuwa yakola enteekateeka abantu ab’emitima emirungi okusobola okuwonawo. Ku luno, yakozesa nnabbi omukulu ennyo Yesu Kristo, okutegeeza obubaka obwo. Mu 33 C.E., Yesu yagamba abagoberezi be: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka. Mu biro ebyo ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi.”—Lukka 21:20, 21.
8. (a) Kiki ekiyinza okuba nga kyatuuka ku Bakristaayo abamu ekiseera bwe kyagenda kiyitawo oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu? (b) Ebigambo bya Yesu eby’obunnabbi ebikwata ku Yerusaalemi byatuukirizibwa bitya?
8 Emyaka bwe gyagenda gyekulungula, Abakristaayo abamu abaali mu Yerusaalemi bayinza okuba beebuuza ekiseera obunnabbi bwa Yesu lwe bwandituukiriziddwa. Lowooza ku kwefiiriza abamu kwe baali bakoze. Oboolyawo baali bagaanyi okwenyigira mu by’obusuubuzi omwali amagoba amangi olw’okwagala okusigala nga bali bulindaala. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, baakoowa? Baasalawo nti baali boonoona biseera byabwe, nga bagamba nti ebigambo bya Yesu byali bikwata ku mulembe mulala mu biseera eby’omu maaso, so si mulembe gwabwe? Mu 66 C.E., obunnabbi bwa Yesu bwatandika okutuukirizibwa, amagye g’Abaruumi bwe gaazingiza Yerusaalemi. Abo abaasigala nga bali bulindaala baategeera akabonero ako, ne badduka mu kibuga, era ne bawonyezebwawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa.
Okulaga Obwetaavu bw’Okubeera Obulindaala
9, 10. (a) Wandiwumbyewumbyeko otya olugero lwa Yesu olw’abaddu abalindirira mukama waabwe okudda okuva ku mbaga ye ey’obugole? (b) Lwaki okulindirira mukama waabwe kwandizibuwalidde abaddu? (c) Lwaki kyandibadde kya muganyulo abaddu okubeera abagumiikiriza?
9 Mu kuggumiza obwetaavu bw’okusigala ng’oli bulindaala, Yesu yageraageranya abayigirizwa be ku baddu abalindirira mukama waabwe okudda okuva ku mbaga ye ey’obugole. Baali bamanyi nti ajja kudda ekiro ekimu—naye mu kiseera ki? Mu kisisimuka ekisooka? Eky’okubiri? Oba eky’okusatu? Baali tebamanyi. Yesu yagamba: “Awo [mukama waabwe] bw’alijja mu kisisimuka eky’okubiri, oba mu ky’okusatu, n’abasanga bw’atyo [nga bali bulindaala], balina omukisa abaddu abo.” (Lukka 12:35-38) Teeberezaamu akabuguumiriro ke baalina. Buli akakuba konna, buli kisiikirize kyonna ekikyukako byandyongedde ku bbugumu lye baalina: ‘Oyo taabe mukama waffe?’
10 Singa mukama waabwe yatuuka mu kisisimuka eky’okubiri, ekyabangawo okuva ku ssaawa ssatu ez’ekiro okutuuka ku mukaaga ogw’ekiro? Abaddu be bonna, nga mw’otwalidde n’abo abaali bakoze ennyo okuva ku makya, bandibadde beetegefu okumukulisaayo oba abamu bandibadde beebase? Kitya singa mukama waabwe yakomawo mu kisisimuka eky’okusatu—ekiseera okuva ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro okutuusa nga ku mwenda ogw’ekiro? Abaddu abamu bandibadde baaweddemu dda amaanyi, nga si basanyufu olw’okuba mukama waabwe aluddeyo?a Abo bokka abandisangiddwa nga bali bulindaala mu kiseera mukama waabwe ky’akomerawo be bandiweereddwa emikisa. Gye bali ebigambo ebiri mu Engero 13:12 bibakwatako: “Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme: naye ekyegombebwa bwe kijja kiba muti gwa bulamu.”
11. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba okusigala nga tuli bulindaala?
11 Mu kiseera ekyo ekyalabika ng’ekirudde, kiki ekyandiyambye abagoberezi ba Yesu okusigala nga bali bulindaala? Bwe yali mu lusuku Gesusemane, ng’ebulayo akaseera katono akwatibwe, Yesu yagamba abatume be basatu: “Mutunule [“Mubeere bulindaala,” NW] musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa.” (Matayo 26:41) Nga wayiseewo emyaka, Peetero, eyaliwo ku kiseera ekyo, yawa Bakristaayo banne okubuulirira okufaananako. Yawandiika: “Enkomerero ya byonna eri kumpi. N’olwekyo, mubeere n’endowooza ennuŋŋamu, era munyiikirirenga okusaba.” (1 Peetero 4:7, NW) Kya lwatu, okusaba kwandibadde mu nkola yaffe eya bulijjo ey’Ekikristaayo. Mazima ddala, twetaaga okwegayirira Yakuwa buli kiseera okutuyamba okusigala nga tuli bulindaala.—Abaruumi 12:12; 1 Abasessaloniika 5:17.
12. Njawulo ki eriwo wakati w’okuteebereza n’okubeera obulindaala?
12 Weetegereze nti Peetero era yagamba: “Enkomerero ya byonna eri kumpi.” Kumpi kwenkana wa? Tewaliiwo ngeri yonna abantu gye bayinza okumanyaamu olunaku lwennyini n’essaawa. (Matayo 24:36) Kyokka, waliwo enjawulo wakati w’okuteebereza, ekintu Baibuli ky’etatukubiriza kukola, n’okulindirira enkomerero, ekintu Baibuli ky’etukubiriza okukola. (Geraageranya 2 Timoseewo 4:3, 4; Tito 3:9.) Ngeri ki emu gye tuyinza okulindiriramu enkomerero? Kwe kwekaliriza obujulizi obulaga nti enkomerero eri kumpi. N’olwekyo, ka twekenneenye obujulizi bwa mirundi mukaaga obulaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma ez’ensi eno etatya Katonda.
Obujulizi Bwa Mirundi Mukaaga Obumatiza
13. Obunnabbi bwa Pawulo obuli mu 2 Timoseewo essuula 3 bukakasa butya nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma”?
13 Obusooka, tulaba bulungi okutuukirizibwa kw’obunnabbi bw’omutume Pawulo obukwata ku “nnaku ez’oluvannyuma.” Pawulo yawandiika: “Mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja. Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab’amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu, abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, ab’enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala amasanyu okusinga Katonda; nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo: era nabo obakubanga amabega. Naye abantu ababi n’abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa.” (2 Timoseewo 3:1-5, 13) Tetulaba obunnabbi buno nga butuukirizibwa mu kiseera kyaffe? Abo bokka abagaana obugaanyi okulaba ebiriwo be bayinza okugaana ekyo!b
14. Ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 12:9 ebikwata ku Mulyolyomi bituukirizibwa bitya leero, era kiki ekijja okumutuukako mu kiseera ekitali kya wala?
14 Obw’okubiri, tulaba ebyava mu kugoba Setaani ne balubaale be okuva mu ggulu, nga kituukiriza Okubikkulirwa 12:9. Wasoma: “N’ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w’ensi zonna, ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.” Kino kivuddemu emitawaana mingi ku nsi. Mazima ddala, wabaddewo emitawaana mingi eri olulyo lw’omuntu, naddala okuva mu 1914. Naye obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa bugattako nti Omulyolyomi bw’asuulibwa ku nsi, aba amanyi nti “alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:12) Mu kaseera ako, Setaani alwanyisa abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta. (Okubikkulirwa 12:17) Mazima ddala tulabye ebivudde mu lulumba luno mu kiseera kyaffe.c Kyokka, mu kiseera ekitali kya wala, Setaani ajja kusuulibwa mu bunnya aleme “okulimba amawanga nate.”—Okubikkulirwa 20:1-3.
15. Okubikkulirwa 17:9-11 ziwa zitya obujulizi nti tuli mu kiseera eky’enkomerero?
15 Obw’okusatu, tuli mu kiseera kya “kabaka“ ow’omunaana era ow’enkomerero ayogerwako mu bunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 17:9-11. Wano omutume Yokaana ayogera ku bakabaka musanvu, abakiikirira obufuzi kirimaanyi obw’ensi yonna—Misiri, Bwasuli, Babulooni, Bumeedi ne Buperusi, Buyonaani, Rooma, n’obufuzi kirimaanyi obw’Abangereza n’Abamereka. Era alaba ‘kabaka ow’omunaana, asibuka mu w’omusanvu.’ Kabaka ono ow’omunaana—kabaka asembayo Yokaana gw’alaba mu kwolesebwa—kati akiikirira ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Yokaana agamba nti kabaka ono ow’omunaana ‘azikirizibwa,’ era oluvannyuma lw’ekyo, teri bakabaka balala ku nsi boogerwako.d
16. Ebiriwo ebituukiriza ekirooto kya Nebukadduneeza eky’ekifaananyi biraga bitya nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma?
16 Obw’okuna, tuli mu kiseera ekikiikirirwa ebigere by’ekifaananyi Nebukadduneeza kye yalaba mu kirooto. Nnabbi Danyeri yawa amakulu g’ekirooto kino eky’ekifaananyi ky’omuntu ekinene ennyo. (Danyeri 2:36-43) Ebyuma ebina eby’enjawulo eby’ekifaananyi ekyo bikiikirira obufuzi kirimaanyi obw’enjawulo, okutandikira ku mutwe (Obwakabaka bwa Babulooni) okutuuka ku bigere n’obugere (gavumenti ezifuga leero). Obufuzi kirimaanyi bwonna obulagibwa mu kifaananyi ekyo bumaze okulabika. Kati tuli mu kiseera ekikiikirirwa ebigere by’ekifaananyi ekyo. Tewali bufuzi bulala bwogerwako obwandiddiridde obwo.e
17. Omulimu gw’okubuulira Obwakabaka guwa gutya obujulizi obulala obulaga nti tuli mu kiseera eky’enkomerero?
17 Obw’okutaano, tulaba omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna nga gukolebwa, Yesu gwe yagamba nti gwandikoleddwa ng’enkomerero y’embeera y’ebintu eneetera okutuuka. Yesu yagamba: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa mu mawanga gonna; olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14, NW) Leero obunnabbi obwo butuukirizibwa ku kigero ekitabangawo. Kyo kituufu nti wakyaliwo ebitundu ebitannatuukibwamu, era nga kiyinza okuba nti mu kiseera kya Yakuwa ekigereke, oluggi olunene olw’omulimu ogusingawo lujja kuggulwawo. (1 Abakkolinso 16:9) Wadde kiri kityo, Baibuli terina w’egambira nti Yakuwa ajja kulinda okutuusa nga buli muntu kinnoomu ku nsi amaze okuweebwa obujulirwa. Wabula, amawulire amalungi gateekwa okubuulirwa okutuusa ku ssa Yakuwa ly’ayagala. Olwo enkomerero ejja kujja.—Geraageranya Matayo 10:23.
18. Kiriba kitya eri abamu ku baafukibwako amafuta nga ekibonyoobonyo ekinene kibalukawo, era kino kiyinza kumanyibwa kitya?
18 Obw’omukaaga, omuwendo gw’abayigirizwa ba Kristo ab’amazima abaafukibwako amafuta gugenda gukendeera, wadde ng’abamu bajja kuba bakyaliwo ku nsi ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira. Abasinga obungi ku b’ensigalira bakadde nnyo, era emyaka bwe gizze giyitawo, omuwendo gw’abo abaafukibwako amafuta gweyongedde okukendeera. Kyokka, ng’ayogera ku kibonyoobonyo ekinene, Yesu yagamba: “Ennaku ezo singa tezaasalibwako, tewandirokose buli alina omubiri: naye olw’abalonde ennaku ezo zirisalibwako.” (Matayo 24:21, 22) N’olw’ensonga eyo, kya lwatu ng’abamu ku ‘balonde’ ba Kristo bajja kuba bakyaliwo ku nsi ng’ekibonyoobonyo ekinene kibalukawo.f
Biki Ebiri mu Maaso?
19, 20. Lwaki kikulu nnyo gye tuli kati okusinga bwe kyali kibadde okusigala nga tutunula era n’okubeera obulindaala?
19 Biki bye tusuubira mu biseera eby’omu maaso? Ebiseera ebisanyusa ennyo bijja. Pawulo yalabula nti “olunaku lwa Yakuwa lujja ng’omubbi ekiro.” Ng’ayogera ku bantu abalabika ng’ab’amagezi mu nsi, agamba: “Bwe baliba nga boogera nti: ’Mirembe n’obutebenkevu!’ awo okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubajjira.” Bwe kityo Pawulo akubiriza abasomi be: “Kale nno, tulemenga okwebaka ng’abalala, naye tutunulenga era tubenga bulindaala.” (1 Abasessaloniika 5:2, 3, 6, NW) Mazima ddala, abo abeesiga entegeka z’abantu okuleetawo emirembe n’obutebenkevu, bagaana obukakafu obuliwo. Abantu ng’abo baba beebase!
20 Okuzikirizibwa kw’embeera zino ez’ebintu kujja kujja mu ngeri ya kibwatukira. N’olwekyo, mulindirire olunaku lwa Yakuwa. Katonda kennyini yagamba Kaabakuuku: “Tekulirwawo”! Mazima ddala, kikulu nnyo kati okusinga bwe kyali kibadde ffe okubeera obulindaala.
[Obugambo obwa wansi]
a Mukama waabwe yali talagaanyiza baddu be kiseera kyonna. N’olwekyo kyali tekimwetaagisa kubabuulira w’ajjira na w’agendera, oba okunnyonnyola abaddu be ensonga lwaki yali alabika ng’aluddeyo.
b Okumanya ebisingawo ku bunnabbi buno, laba essuula 11 ey’ekitabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, akaakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.
c Okumanya ebisingawo, laba empapula 180-6 mu kitabo Revelation—Its Grand Climax At Hand! ekyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.
d Laba ekitabo Revelation—Its Grand Climax At Hand!, empapula 251-4.
e Laba essuula 4 ey’ekitabo Pay Attention to Daniel’s Prophecy!, ekyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.
f Mu lugero lw’endiga n’embuzi, Omwana w’omuntu ajjira mu kitiibwa kye mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene era asala omusango. Asalira abantu omusango okusinziira ku buwagizi bwe baawa baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta. Tekyandibadde na makulu gonna okusalira abantu omusango okusinziira ku nsonga eyo singa ekiseera eky’okusala omusango kituuka nga baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta baava dda ku nsi.—Matayo 25:31-46.
Okyajjukira?
• Byakulabirako ki okuva mu Byawandiikibwa ebiyinza okutuyamba okubeera obulindaala?
• Yesu yalaga atya obwetaavu bw’okubeera obulindaala?
• Bujulizi ki obw’emirundi omukaaga obulaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 3]
A.H Macmillan yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka nga nkaaga
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Yesu yageraageranya abayigirizwa be ku baddu abasigala nga bali bulindaala