“Bagoberera Omwana gw’Endiga”
“Abo be bagoberera Omwana gw’endiga buli gy’agenda.”—KUB. 14:4.
1. Eky’okugoberera Yesu Abayigirizwa ba Yesu aba nnamaddala baali bakitwala batya?
NGA yaakamala emyaka ng’ebiri mu buweereza bwe, Yesu yali “mu kkuŋŋaaniro ng’ayigiriza mu Kaperunawumu.” Olw’okuba ebigambo bye yayogera byabeesisiwaza, ‘bangi ku bayigirizwa be baddirira ne bataddayo kutambulira wamu naye nate.’ Yesu bwe yabuuza abatume be 12 obanga nabo baali baagala okugenda, Simooni Peetero yaddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo. Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.” (Yok. 6:48, 59, 60, 66-69) Abayigirizwa ba Yesu aba nnamaddala bo tebaalekera awo kumugoberera. Era beeyongera okukolera ku bulagirizi bwe oluvannyuma lw’okufukibwako omwoyo omutukuvu.—Bik. 16:7-10.
2. (a) “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” oba “omuwanika omwesigwa” y’ani? (b) Omuddu oyo alaze atya obwesigwa mu ‘kugoberera Omwana gw’endiga’?
2 Ate kiri kitya ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu kiseera kino? Yesu bwe yali ayogera ku ‘kabonero akandiraze okubeerawo kwe awamu n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,’ ekibiina ky’abagoberezi be abaafukibwako amafuta ku nsi yakiyita “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” oba “omuwanika omwesigwa.” (Mat. 24:3, 45, NW; Luk.12:42) Ekibiina ky’omuddu oyo kiraze obwesigwa nga ‘kigoberera Omwana gw’endiga buli gy’agenda.’ (Soma Okubikkulirwa 14:4, 5.) Abo abakirimu beekuumye nga mbeerera mu by’omwoyo mu ngeri nti beewaze enzikiriza n’ebikolwa bya “Babulooni Ekinene,” amadiini ag’obulimba gonna agali mu nsi. (Kub. 17:5) “Mu kamwa kaabwe” temuli njigiriza yonna ya bulimba, era “tebaliiko bulema” kuva eri nsi ya Setaani. (Yok. 15:19) Mu biseera eby’omu maaso, abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi ‘bajja kugoberera’ Omwana gw’endiga mu ggulu.—Yok. 13:36.
3. Lwaki twandibadde n’obwesige mu kibiina ky’omuddu?
3 Yesu yasigira omuddu omwesigwa era ow’amagezi “ab’omu nju ye,” nga bano be bantu kinnoomu abali mu kibiina ky’omuddu omwesigwa, “okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo.” Yesu era yasigira omuddu oyo “ebintu bye byonna.” (Mat. 24:45-47) “Ebintu” ebyo bitwaliramu ‘ekibiina ekinene’ ‘eky’ab’endiga endala’ ekyeyongera obunene buli kiseera. (Kub. 7:9; Yok. 10:16) Kino tekyandireetedde abaafukibwako amafuta bonna awamu ‘n’ab’endiga endala’ okwesiga omuddu eyalondebwa okubalabirira? Waliwo ensonga nnyingi lwaki twandibadde n’obwesige mu kibiina ky’omuddu oyo. Ebbiri enkulu ennyo ze zino: (1) Yakuwa alina obwesige mu kibiina ky’omuddu. (2) Yesu naye alina obwesige mu muddu oyo. Ka twetegereze obujulizi obulaga nti Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo bombi balina obwesige mu kibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi.
Yakuwa Alina Obwesige mu Muddu
4. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti emmere ey’eby’omwoyo etuweebwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi nnungi?
4 Lowooza ku ekyo ekisobozesa omuddu omwesigwa era ow’amagezi okutuwa emmere ennungi ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. Yakuwa agamba nti: ‘Nnaakuyigirizanga era nnaakulaganga ekkubo ery’okuyitamu.’ Agattako nti: “N[n]aakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.” (Zab. 32:8) Yee, Yakuwa awa omuddu oyo obulagirizi. N’olwekyo tusaanidde okwesiga amagezi, okutegeera, n’obulagirizi ebituweebwa omuddu okuva mu Byawandiikibwa.
5. Kiki ekiraga nti omwoyo gwa Katonda guwa omuddu omwesigwa amaanyi?
5 Yakuwa era awagira ekibiina ky’omuddu ng’akiwa omwoyo gwe omutukuvu. Wadde ng’omwoyo gwa Yakuwa tegulabika, bye gusobozesa abo abagufuna okukola byo birabika. Lowooza ku ebyo omuddu omwesigwa era ow’amagezi by’asobodde okukola mu kuwa obujulirwa ku Yakuwa Katonda, ku Mwana we, era ne ku Bwakabaka mu nsi yonna. Abasinza ba Yakuwa babuulira obubaka bw’Obwakabaka mu nsi ezisukka mu 230. Ekyo tekiwa obujulirwa obwenkukunala nti ddala omwoyo gwa Katonda guwa omuddu amaanyi? (Soma Ebikolwa 1:8.) Waliwo ebintu bingi nnyo ebikulu omuddu by’alina okusalawo okusobola okuwa abantu ba Yakuwa mu nsi yonna emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. Ayoleka okwagala, obuwombeefu, n’ebibala ebirala eby’omwoyo mu bintu by’asalawo, ne mu ngeri gy’abiteeka mu nkola.—Bag. 5:22, 23.
6, 7. Omuddu omwesigwa Yakuwa amwesiga kwenkana wa?
6 Okusobola okulaba obwesige obw’amaanyi Yakuwa bw’alina mu kibiina ky’omuddu omwesigwa, lowooza ku ebyo bye yasuubiza abo abakirimu. Omutume Pawulo yawandiika nti: “[Akagombe] kalivuga, n’abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa. Kubanga oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda, n’ogufa guno okwambala obutafa.” (1 Kol. 15:52, 53) Abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta abaweereza Katonda n’obwesigwa bafa nga balina emibiri egivunda, naye bazuukizibwa nga balina emibiri egisinga ne ku gy’ebitonde eby’omwoyo ebirina obulamu obutaggwawo. Baweebwa obutafa—obulamu obutakoma era obutasobola kuzikirizibwa. Ng’oggyeko ekyo, bambazibwa obutavunda, nga gino gye mibiri egitayinza kuvunda era nga kirabika gisobola okwebeezaawo. Okubikkulirwa 4:4 walaga abazuukiziddwa abo nga batudde ku ntebe z’obwakabaka era nga balina engule eza zzaabu ku mitwe gyabwe. Mu butuufu Abakristaayo abaafukibwako amafuta bajja kufuna ekitiibwa eky’ensusso. Naye waliwo n’ekirala ekiraga nti Katonda abalinamu obwesige.
7 Okubikkulirwa 19:7, 8 wagamba nti: “Obugole bw’Omwana gw’endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese. [Mukazi we] n’aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.” Yakuwa yalonda Abakristaayo abaafukibwako amafuta okuba omugole w’Omwana we. Obutavunda, obutafa, obwakabaka, “obugole bw’Omwana gw’endiga”—nga bino birabo bya kitalo! Bikyoleka bulungi nti Katonda alina obwesige mu abo abaafukibwako amafuta, ‘abagoberera Omwana gw’endiga buli gy’agenda.’
Yesu Alina Obwesige mu Muddu
8. Yesu yalaga atya nti alina obwesige mu bagoberezi be abaafukibwako amafuta?
8 Kiki ekiraga nti Yesu alina obwesige mu bagoberezi be abaafukibwako amafuta? Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu alina kye yasuubiza abatume be 11 abeesigwa. Yabagamba nti: “Mmwe muumuno abaagumiikirizanga awamu nange mu kukemebwa kwange; nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze, mulyoke mulye era munywere ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange; era mulituula ku ntebe ez’ekitiibwa, nga musalira emisango ebika ekkumi n’ebibiri eby’Abaisiraeri.” (Luk. 22:28-30) Endagaano eyo Yesu gye yakola n’abatume 11 etwaliramu Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta 144,000. (Luk. 12:32; Kub. 5:9, 10; 14:1) Yesu yandikoze nabo endagaano ey’okufuga naye mu Bwakabaka bwe singa yali tabalinaamu bwesige?
9. ‘Ebintu bya Kristo’ bizingiramu ki?
9 Ng’oggyeko ekyo, Yesu Kristo yasigira omuddu omwesigwa era ow’amagezi “ebintu bye byonna”—buli kimu ekikwatagana n’Obwakabaka ku nsi. (Mat. 24:47) Mu bino mwe muli ekitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa, ofiisi z’amatabi mu nsi ezitali zimu, Ebizimbe by’Obwakabaka byonna, ssaako n’omulimu gw’okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa. Waliwo omuntu yenna ayinza okukwasa omulala ebintu bye eby’omuwendo abitereke oba abikozese nga tamwesiga?
10. Kiki ekiraga nti Yesu Kristo ali wamu n’abagoberezi be abaafukibwako amafuta?
10 Ng’ebula kaseera buseera addeyo mu ggulu, Yesu yalabikira abagoberezi be abeesigwa n’abasuubiza nti: “Laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” (Mat. 28:20) Ekisuubizo kino Yesu akituukirizza? Mu myaka 15 gyokka egiyise, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebyali 70,000 kati bisukka mu 100,000 era byeyongeddeyongedde ebitundu ebisoba mu 40 ku buli kikumi. Ate gwo omuwendo gw’abayigirizwa gweyongedde kyenkana wa? Abayigirizwa kumpi obukadde buna n’ekitundu be babatiziddwa mu myaka 15 egiyise—be bantu abasukka 800 buli lunaku. Okweyongerayongera kuno okw’amaanyi kulagira ddala nti Kristo awa abagoberezi be abaafukibwako amafuta obulagirizi mu nkuŋŋaana zaabwe era abawagira mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa.
Omuddu Mwesigwa era wa Magezi
11, 12. Omuddu akiraze atya nti mwesigwa era wa magezi?
11 Oba nga Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo beesigira ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi, naffe tetwandikoze kye kimu? Ggwe ate oba omuddu oyo alaze obwesigwa mu kukola omulimu ogwamuweebwa. Ng’ekyokulabirako, magazini eno Omunaala gw’Omukuumi kati emaze emyaka 130 ng’efulumizibwa (okusooka yali mu Lungereza lwokka). Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ennene n’entono na buli kati zituzimba mu by’omwoyo.
12 Ate era omuddu wa magezi mu ngeri nti teyeeyitiriza kwogera ku nsonga nga Yakuwa tannaba kuzitangaaza, era talonzalonza kukolera ku bulagirizi bwa Katonda mu nsonga yonna bwe buba nga bweyolese. Ng’ekyokulabirako, abantu bwe bakola ebintu ebimenya amateeka ga Katonda, abakulembeze b’amadiini ag’obulimba tebabafaako era oluusi n’okubawagira babawagira, so ng’ate ye omuddu alabula ku kabi akali mu kutambulira ku mitindo gy’ensi eno efugibwa Setaani. Omuddu awa obulagirizi obulungi era alabula nga bwe kisaana kubanga Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo bali mabega we. N’olwekyo, naffe tusaanye okulagira ddala obwesige mu muddu oyo. Naye tuyinza tutya okulaga nti tulina obwesige mu muddu omwesigwa era ow’amagezi?
‘Genda’ n’Abaafukibwako Amafuta nga Bagoberera Omwana gw’Endiga
13. Okusinziira ku bunnabbi bwa Zekkaliya, tuyinza tutya okulaga nti tulina obwesige mu muddu omwesigwa era ow’amagezi?
13 Ekitabo kya Zekkaliya kigamba nti “abantu kkumi” bagenda eri “omuntu Omuyudaaya” ne bagamba nti: “Tuligenda nammwe.” (Soma Zekkaliya 8:23.) Ekigambo “nammwe” kiraga nti “omuntu Omuyudaaya” ayogerwako wano akiikirira abantu bangi. Mu kiseera kyaffe akiikirira ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, nga bano be bamu ku bali mu “Isiraeri wa Katonda.” (Bag. 6:16) ‘Abantu ekkumi abava mu nnimi zonna ez’amawanga’ bakiikirira ekibiina ekinene eky’ab’endiga endala. Ng’Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe bagoberera Yesu buli gy’agenda, n’ekibiina ekinene ‘kigenda,’ oba kitambulira wamu n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Ab’ekibiina ekinene tebalina kukwatibwa nsonyi kukiraga nti bakolagana n’abo “abalina omugabo mu kuyitibwa okw’omu ggulu.” (Beb. 3:1) Abo abaafukibwako amafuta Yesu takwatibwa nsonyi kubayita ‘baganda be.’—Beb. 2:11.
14. Baganda ba Kristo bayinza kuyambibwa batya?
14 Yesu Kristo yagamba nti bwe tuyamba baganda be, tuba tuyambye ye. (Soma Matayo 25:40.) Kati olwo abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bayinza kuyamba batya baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta? Ekisinga obukulu kwe kubayambako mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. (Mat. 24:14; Yok. 14:12) Omuwendo gw’abaafukibwako amafuta gugenze gukendeera, ng’ate ogw’ab’endiga endala gweyongera bunene. Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bwe beenyigira mu kuwa obujulirwa, era bwe kiba kisoboka ne baweereza ng’ababuulizi ab’ekiseera kyonna, baba bayamba abaafukibwako amafuta okutuukiriza omulimu ogw’okufuula abalala abayigirizwa ogwabaweebwa. (Mat. 28:19, 20) N’eky’okuwagira omulimu guno mu by’ensimbi mu ngeri ezitali zimu tekirina kubuusibwa maaso.
15. Abakristaayo kinnoomu banditutte batya emmere ey’eby’omwoyo omuddu gy’abawa era n’enkyukakyuka z’akola mu nzirukanya y’ekibiina?
15 Ng’Abakristaayo kinnoomu, tutwala tutya emmere ey’eby’omwoyo omuddu omwesigwa gy’atuwa okuyitira mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ne mu bitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli? Tulaga nti tusiima ne tugirya era ne tussa bye tuyiga mu nkola? Tutwala tutya enkyukakyuka omuddu z’akola mu nzirukanya y’ekibiina? Okuba abeetegefu okukolera ku obulagirizi obutuweebwa kiraga nti tukkiririza mu nteekateeka ya Yakuwa.—Yak. 3:17.
16. Lwaki Abakristaayo bonna balina okuwulira baganda ba Kristo?
16 Yesu yagamba nti: “Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera.” (Yok. 10:27) Era bwe batyo Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe bakola. Ate kiri kitya eri abo ‘abagenda nabo’? Tebalina kuwulira Yesu yekka, wabula balina okuwulira ne baganda be. Ggwe ate oba obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abantu ba Katonda bwakwasibwa bo. Okuwulira eddoboozi lya baganda Kristo kizingiramu ki?
17. Okuwulira omuddu kizingiramu ki?
17 Leero, omuddu omwesigwa era ow’amagezi akiikirirwa Akakiiko Akafuzi, nga kano ke katwala obukulembeze era ke kalabirira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu nsi yonna. Abo abatuula ku Kakiiko Akafuzi baba bakadde abaafukibwako amafuta abalina obumanyirivu. Tusobola okugamba nti ab’oluganda abo ‘be batukulembera.’ (Beb. 13:7, NW) Balabirira ababuulizi b’Obwakabaka kumpi 7,000,000, abali mu bibiina ebisukka mu 100,000 okwetooloola ensi. Bwe kityo abalabirizi abo abaafukibwako amafuta balina “eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.” (1 Kol. 15:58, NW) Okuwulira omuddu kitegeeza nti tulina okuwulira Akakiiko Akafuzi akamukiikirira.
Abo Abawulira Omuddu Balina Omukisa
18, 19. (a) Abo abawulira omuddu omwesigwa era ow’amagezi banaafuna mikisa ki? (b) Tulina kuba bamalirivu kukola ki?
18 Okuva lwe yalondebwa, omuddu omwesigwa ‘akyusizza bangi eri obutuukirivu.’ (Dan. 12:3) Mu bano mwe muli abo abalina essuubi ery’okuwonawo ng’enteekateeka eno ey’ebintu ezikirizibwa. Nga mukisa gwa maanyi okuba n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Katonda!
19 Mu biseera eby’omu maaso, ‘ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya [144,000], bwe kinakka okuva mu ggulu ewa Katonda nga kitegekeddwa ng’omugole ayonjereddwa bba,’ abo abawulirizza eddoboozi ly’omuddu banaafuna mikisa ki? Baibuli egamba nti: “Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.” (Kub. 21:2-4) Ka tube bamalirivu okuwulira Kristo awamu ne baganda be abaafukibwako amafuta abeesigwa.
Kiki ky’Oyize?
• Kiki ekiraga nti Yakuwa alina obwesige mu muddu omwesigwa era ow’amagezi?
• Kiki ekiraga nti Yesu alina obwesige mu kibiina ky’omuddu?
• Lwaki tusaanidde okuba n’obwesige mu muwanika omwesigwa?
• Tuyinza tutya okulaga obwesige mu muddu omwesigwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Omanyi ani Yakuwa gwe yalonda okuba omugole w’Omwana we?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Yesu Kristo yasigira omuddu omwesigwa era ow’amagezi “ebintu bye”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Bwe twenyigira mu mulimu gw’okuwa obujulirwa, tuba tuwagira abo abaafukibwako amafuta