Abantu ‘ab’Ennimi Zonna’ Bawuliriza Amawulire Amalungi
‘Abantu kkumi okuva mu nnimi zonna ez’amawanga, baligamba nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’—ZEKKALIYA 8:23.
1. Mu ngeri ki Yakuwa gye yalonda ekiseera ekituufu okutandikiramu omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mu nnimi zonna?
PENTEKOOTE 33 C.E. we lwatuukira, Abayudaaya n’abakyufu okuva mu masaza 15 aga Rooma baali bazze mu Yerusaalemi okukwata embaga ey’okuyitako. N’olwekyo ekyo kye kyali ekiseera ekituufu okubuulira amawulire amalungi mu nnimi ez’enjawulo. Ku lunaku olwo, bangi baawulira abasajja n’abakazi abaliko omwoyo omutukuvu nga babuulira amawulire amalungi mu nnimi ez’enjawulo. Ennimi ezo tezaali ng’ezo ezaayogerwa ku munaala gw’e Babeeri, wabula zo zaali zitegeerekeka bulungi eri abantu abaali mu ttwale eryo lyonna. (Ebikolwa 2:1-12) Ku lunaku olwo ekibiina Ekikristaayo kyatandika, era amawulire amalungi ne gatandika okubuulirwa mu nnimi zonna n’okutuusiza ddala mu kiseera kino.
2. Kiki abayigirizwa ba Yesu kye baakola ku Pentekoote 33 C.E. ‘ekyewuunyisa’ ennyo abantu?
2 Abayigirizwa ba Yesu baayogeranga Luyonaani olwalinga lukozesebwa mu kiseera ekyo. Ate era baali bamanyi n’Olwebbulaniya olwakozesebwanga mu yeekaalu. Ekyewuunyisa kiri nti, ku Pentekoote abayigirizwa baayogera ennimi ez’enjawulo abantu ze baali bategeera obulungi era ekyo ‘kyewuunyisa’ nnyo abo abaaliwo. Biki ebyavaamu? Bangi bakkiriza amazima kubanga baabuulirwa mu nnimi zaabwe. N’ekyavaamu, abayigirizwa beeyongera ne batuuka mu 3,000!—Ebikolwa 2:37-42.
3, 4. Mu ngeri ki amawulire amalungi gye gaasaasaanamu mu bitundu eby’enjawulo ng’abayigirizwa bavudde mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya ne mu Ggaliraaya?
3 Waayita ekiseera kitono ne waabalukawo okuyigganyizibwa okw’amaanyi mu Yerusaalemi, era “abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo.” (Ebikolwa 8:1-4) Ng’ekyokulabirako, Ebikolwa by’Abatume essuula 8 tusoma ku Firipo, omubuulizi eyali ayogera Oluyonaani. Essuula eyo eraga nti, yabuulira Abasamaliya, n’omukungu Omwesiyopiya eyakkiriza Kristo.—Ebikolwa 6:1-5; 8:5-13, 26-40; 21:8, 9.
4 Abakristaayo bwe badduka okuva mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya n’e mu Ggaliraaya nga banoonya aw’okubeera, tekyabanguyiranga kubuulira kubanga abantu be baasanganga baali boogera nnimi ndala. N’olwekyo abamu baabuuliranga Bayudaaya bokka. Naye okusinziira ku Lukka: “waaliwo abantu mu bo ab’e Kupulo n’ab’e Kuleene, abo bwe baatuuka mu Antiyokiya bo ne boogera n’Abayonaani, nga babuulira Mukama waffe Yesu.”—Ebikolwa 11:19-21.
Katonda Atasosola—Alina Obubaka eri Bonna
5. Ku bikwata ku kubuulira amawulire amalungi, kiki ekiraga nti Yakuwa tasosola?
5 Olw’okuba amawulire amalungi gabuulirwa abantu ab’ennimi zonna, kiraga nti Katonda tasosola. Yakuwa bwe yamala okuyamba omutume Peetero okuba n’endowooza entuufu ku b’amawanga, Peetero yakitegeera bulungi era n’atuuka n’okugamba nti: “Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35; Zabbuli 145:9) N’omutume Pawulo eyali omuyigganya w’Abakristaayo, naye yeeyongera okukakasa ensonga eyo bwe yagamba nti Katonda “ayagala abantu bonna okulokoka.” (1 Timoseewo 2:4) N’olwekyo kyeyoleka kaati nti Katonda tasosola, kubanga amawulire g’Obwakabaka gabuulirwa abantu bonna ka babe basajja oba bakazi, awatali kusosola mu langi, ennimi wadde amawanga.
6, 7. Bunnabbi ki obuli mu Baibuli obulaga nti abantu aba buli lulimi bandituusiddwako amawulire amalungi?
6 Kyali kyalagulwa dda nti ekiseera kyandituuse amawulire amalungi ne gabuulirwa mu nnimi zonna. Okusinziira ku bunnabbi bwa Danyeri, ‘Yesu yaweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga.’ (Danyeri 7:14) Ekiraga nti obunnabbi obwo butuukirizibwa, kwe kuba nti akatabo kano akayitibwa Omunaala gw’Omukuumi kakubibwa mu nnimi 151 era ne kabunyisibwa mu nsi yonna, osobole okusoma ku Bwakabaka bwa Yakuwa.
7 Baibuli yayogera ku kiseera abantu aboogera ennimi ez’enjawulo lwe bandisobodde okuwulira amawulire amalungi mu nnimi zaabwe zennyini. Ng’ayogera ku ngeri abantu gye bandizzeemu mu kusinza okw’amazima, Zekkaliya yagamba: ‘Mu nnaku ziri abantu kkumi, okuva mu nnimi zonna ez’amawanga, balikwata ku lukugiro olw’omuntu Omuyudaaya [Abakristaayo abamu abaafukibwako amafuta abakola “Isiraeri wa Katonda”] nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ (Zekkaliya 8:23; Abaggalatiya 6:16) N’omutume Yokaana bwe yali ayogera ku ebyo bye yalaba mu kwolesebwa, yagamba nti: ‘Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi, nga bayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga.’ (Okubikkulirwa 7:9) Mazima ddala tulabye obunnabbi obwo nga butuukirizibwa!
Okubuulira Abantu aba Buli Kika
8. Mbeera ki eriwo mu kiseera kino etwetaagisa okuyiga ennimi empya tusobole okubuulira abantu?
8 Ennaku zino, abantu basengukira nnyo mu bitundu ebirala. Olw’okuba ensi ezimu zikolagana bulungi abantu kibanguyira okuva mu nsi yaabwe ne basengukira mu nsi endala. Bangi basengukidde mu bitundu ebirala olw’entalo n’ebbula ly’eby’enfuna, nga banoonya awali emirembe ne we basobolera okubeerera obulungi mu by’enfuna. N’ekivuddemu, mu nsi nnyingi eriyo abantu bangi aboogera ennimi endala. Ng’ekyokulabirako, mu Finland boogera ennimi ezisukka mu 120; mu Australia ennimi ezoogerwa zisukka mu 200. Ng’oggyeko ekyo, mu kibuga kimu kyokka ekiri mu Amerika—San Diego—boogera ennimi ezisukka mu100!
9. Twandibadde na ndowooza ki singa mu bitundu bye tubuuliramu eriyo abantu aboogera ennimi ez’enjawulo?
9 Ng’Abakristaayo, twandikaluubiriddwa okukola omulimu gwaffe olw’okuba gye tubuulira eriyo abantu aboogera ennimi ez’enjawulo? N’akatono! Mu kifo ky’ekyo, tuwulira nti tusaanidde okubuulira abantu abo era tukitwala nti—‘Ennimiro zituuse okukungulwa.’ (Yokaana 4:35) Tufuba okukola ku bwetaavu bw’abantu obw’eby’omwoyo ka babe ba ggwanga ki oba lulimi ki. (Matayo 5:3) N’ekivuddemu, omuwendo gw’abantu aba ‘buli lulimi’ abafuuka abagoberezi ba Kristo buli mwaka gweyongedde. (Okubikkulirwa 14:6) Ng’ekyokulabirako, omwezi gwa Agusito 2004 we gwatuukira, omulimu gw’okubuulira mu Bugirimaani gwali gukolebwa mu nnimi 40. Mu kiseera kye kimu, amawulire amalungi mu Australia gaali gabuulirwa mu nnimi nga 30, ng’ate mu myaka kkumi egiyise gaali gabuulirwa mu nnimi 18 zokka. Mu Buyonaani, Abajulirwa ba Yakuwa baali babuulira abantu mu nnimi nga 20 ez’enjawulo. Okwetooloola ensi yonna Abajulirwa nga 80 ku buli kikumi tebakozesa Lungereza, olutwalibwa okuba olulimi lw’ensi yonna, wabula bakozesa ennimi endala.
10. Buvunaanyizibwa ki ababuulizi kinnoomu bwe balina mu mulimu gw’okufuula “amawanga gonna” abayigirizwa?
10 Amazima gali nti, omulimu Yesu gwe yatuwa ‘ogw’okufuula amawanga gonna abayigirizwa’ gukolebwa! (Matayo 28:19) Nga bagoberera ekiragiro kya Yesu, Abajulirwa ba Yakuwa babuulira mu nsi 235 era babunyisa ebitabo ebiri mu nnimi ezisukka mu 400. Wadde ekibiina kya Yakuwa kibawa ebitabo bye bayinza okukozesa nga babuulira abantu, buli mubuulizi wa Bwakabaka alina obuvunaanyizibwa obw’okutuusa obubaka bwa Baibuli ku bantu “bonna” mu lulimi lwe bategeera. (Yokaana 1:7) Kino kisobozesezza abantu bukadde na bukadde aboogera ennimi ez’enjawulo okuganyulwa mu mawulire amalungi. (Abaruumi 10:14, 15) Yee, buli omu ku ffe alina obuvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo!
Okusobola Okubuulira Abantu ab’Ennimi ez’Enjawulo
11, 12. (a) Buzibu ki bwe tusanga nga tubuulira era omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya okuvvuunuka obuzibu obwo? (b) Lwaki kikulu nnyo okubuulira omuntu mu lulimi lwe?
11 Leero, ababuulizi b’Obwakabaka bangi bandyagadde okuyiga ennimi endala, naye bakimanyi nti omwoyo gwa Katonda tegukyasobozesa bantu kwogera nnimi mu ngeri ya kyamagero. (1 Abakkolinso 13:8) N’olwekyo okusobola okuyiga olulimi oluppya kyetaagisa okufuba kwa maanyi. Wadde ng’abamu bayinza okuba n’olulimi olulala lwe bamanyi, nabo kiyinza okubeetaagisa okukyusa mu ndowooza yaabwe n’engeri gye babuuliramu basobole okuleetera abantu aboogera olulimi olwo okusiima amazima ga Baibuli. Kino kiri kityo kubanga abantu abo baba baakulira mu kitundu kya njawulo era nga n’enneeyisa y’ewaabwe ya njawulo. Ng’oggyeko ekyo, abantu ababa baasenga obusenzi mu kitundu baba beetya. N’olwekyo kiba kyetaagisa okufuba kwa maanyi okusobola okumanya ekibali ku mutima.
12 Kyokka, omwoyo omutukuvu gukyayamba abaweereza ba Yakuwa okubuulira abantu aboogera ennimi endala. (Lukka 11:13) Wadde tegutusobozesa kwogera nnimi mu ngeri ya kyamagero, gutuleetera okwagala okubuulira abantu aboogera ennimi endala. (Zabbuli 143:10) Bwe tubuulira abantu abo oba ne tubayigiriza Baibuli nga tukozesa olulimi lwe batamanyi bulungi, bayinza okuwulira bye tubabuulira. Kyokka, bwe tuba twagala okubatuuka ku mitima kiba kirungi ne tukozesa olulimi lwabwe—olulimi lwe bategeera obulungi.—Lukka 24:32.
13, 14. (a) Kiki ekireetera abamu okuweereza mu nsi endala? (b) Mu ngeri ki abamu gye balaze omwoyo gw’okwefiiriza?
13 Ababuulizi b’Obwakabaka bangi basazeewo okugenda mu nsi endala bwe balabye nti eriyo abantu bangi abaagala amazima ga Baibuli. Abalala bongedde amaanyi mu buweereza bwabwe basobole okubuulira abantu aboogera ennimi endala. Ng’ekyokulabirako, ofiisi y’Abajulirwa ba Yakuwa mu Bulaaya ow’ebukiika ddyo yagamba nti: “Bangi ku abo abava mu Bulaaya ow’e bukiika ddyo bayayaanira amazima.” Nga kizzaamu nnyo amaanyi okuyamba abantu ng’abo abaagala okuyiga amazima!—Isaaya 55:1, 2.
14 Okusobola okukola obulungi omulimu guno, kyetaagisa obumalirivu n’okwefiiriza. (Zabbuli 110:3) Ng’ekyokulabirako, mu Japan, Abajulirwa bangi beerekerezza amaka gaabwe amalungi agali mu kibuga ne basenga mu byalo basobole okuyamba Abakyayina abaasenga mu bitundu ebyo okuyiga amazima. Ate mu bugwanjuba bwa Amerika, ababuulizi bavugira essaawa ezisukka mu bbiri nga bagenda okuyigiriza abayizi baabwe abali mu kitundu ky’Abafiripino. Mu Norway, nayo eriyo abafumbo abayiga Baibuli n’amaka agamu agali mu Afghanistan. Bwe baba basoma, abafumbo bakozesa akatabo Katonda Atwetaagisa Ki?a ak’Olungereza, n’ako akali mu lulimi olwogerwa abantu b’omu Norway, ate ng’amaka ago go gasoma ka Luperusi olukwatagana n’olulimi lwabwe Oludari. Bwe baba bakubaganya ebirowoozo bakozesa Lungereza n’olulimi olwogerwa abantu b’omu Norway. Naffe bwe tulaga omwoyo ng’ogwo ogw’okwefiiriza era ne tufuba okukozesa olulimi abantu lwe bategeera obulungi, abantu abo bajja kukkiriza amawulire ge tubabuulira.b
15. Biki ebiyinza okutuyamba okubuulira abantu aboogera ennimi ez’enjawulo?
15 Naawe osobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira abantu aboogera ennimi ez’enjawulo? Lwaki totandikirawo n’omanya ennimi ezikozesebwa mu kitundu kye mubuuliramu? Oluvannyuma kakasa nti buli lw’oba ogenda okubuulira otwalayo tulakiti eziri mu nnimi ezo. Akatabo Good News for People of All Nations akaafulumizibwa mu 2004, kayambye nnyo mu kubunyisa amawulire g’Obwakabaka kubanga kalimu ennyanjula ennyangu, n’obubaka obuzzaamu amaanyi mu nnimi ez’enjawulo.
“Mwagalenga Munnaggwanga”
16. Abakadde bayinza batya okulaga okufaayo eri abagwira?
16 Ka kibe nti tuyize olulimi oluppya oba nedda ffenna tusobola okwenyigira mu mulimu gw’okuyigiriza abantu aboogera ennimi ez’enjawulo abali mu bitundu gye tubuulira. Yakuwa yalagira abantu be ‘okwagalanga munnaggwanga.’ (Ekyamateeka 10:18, 19) Ng’ekyokulabirako, mu kibuga ekimu eky’omu North America, ebibiina bitaano bikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu. Ng’enkola bw’eri mu bizimbe by’Obwakabaka bingi, n’ebibiina ebyo bikyusakyusa mu ssaawa ze bikuŋŋaanirako buli mwaka. Olw’enteekateeka eyo, ekibiina ekyogera Olukyayina kyesanga nga kye kirina kukuŋŋaana olweggulo buli lwa Ssande. Kyokka, kino kyali kitegeeza nti bangi ku abo abaasenga mu kitundu ekyo abakola mu ziwooteeri tebandisoboddenga kubaawo mu nkuŋŋaana ezo. Olw’okwagala kwe baalina eri ab’oluganda abo, abakadde b’omu bibiina ebirala bakkiriza okukolamu enkyukakyuka kibe nti ekibiina ekyogera Olukyayina kikuŋŋaana ku ssaawa za ku makya buli lwa Ssande.
17. Twandiwulidde tutya singa abamu basalawo okugenda mu bitundu ebirala basobole okuyamba abantu aboogera ennimi endala?
17 Olw’okwagala kwe balina, abakadde basemba bannyinaffe n’ab’oluganda abalina ebisaanyizo okugenda mu bitundu ebirala basobole okuyamba ku bibinja ebyogera ennimi endala. Ababuulizi abo bayinza n’okuba nga beetaagibwa nnyo mu bibiina byabwe naye abakadde booleka omwoyo gwe gumu ng’ogw’abakadde b’omu Lusitula ne mu Ikoniyo. Abakadde abo tebaagaana Timoseewo kuwerekerako Pawulo wadde nga yali ayamba nnyo ebibiina ebyo. (Ebikolwa 16:1-4) Abo abawoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira, bwe basanga abantu abalina endowooza ez’enjawulo n’empisa ezaawukana ku zaabwe, tebaggwaamu maanyi. Mu kifo ky’ekyo, bakola kyonna ekisoboka okulaba nti bakolagana obulungi n’abantu abo, basobole okubabuulira amawulire amalungi.—1 Abakkolinso 9:22, 23.
18. Luggi ki olugguddwawo eri ababuulizi bonna?
18 Nga bwe kyalagulwa, amawulire amalungi gabuulirwa mu “nnimi zonna ez’amawanga.” Wadde kiri kityo, ekyaliyo abantu bangi abaagala okuyiga amazima mu bitundu omuli abantu aboogera ennimi endala. N’olw’ensonga eyo, ababuulizi bangi abasobola okuyigiriza obulungi bayingidde ‘oluggi oluggule olw’emirimu emingi.’ (1 Abakkolinso 16:9) Kyokka, okusobola okubuulira abantu abo waliwo ebintu bye tusaanidde okulowoozaako. Ebintu ebyo bijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Soma The Watchtower, Apuli 1, 2004, empapula 24-8 ku mutwe “Small Sacrifices Brought Us Great Blessings,” (Okwefiiriza Kwaffe Kwavaamu Emiganyulo) olabeyo ebyokulabirako ebirala.
Osobola Okunnyonnyola?
• Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa ne twewala obusosoze?
• Twanditunuulidde tutya abantu be tusanga mu bitundu gye tubuulira aboogera ennimi endala?
• Lwaki kiba kirungi okubuulira abantu mu lulimu lwabwe?
• Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku bagwira?
[Mmaapu/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
Rooma
ASIYA
KULEETE
LIBIYA
FULUGIYA
PANFULIYA
Yerusaalemi
BUYUDAAYA
MISIRI
PONTO
KAPADOKIYA
MESOPOTAMIYA
BUMEEDI
ERAMU
BUWALABU
PASIYA
[Ennyanja]
Ennyanja Meditereniyani
Ennyanja Enzirugavu
Ennyanja Emmyufu
Ekyondo kya Buperusi
[Ekifaananyi]
Ku Pentekoote 33 C.E., abantu okuva mu bitundu 15 eby’Ettwale lya Rooma baawulira amawulire amalungi mu nnimi zaabwe
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Abagwira bangi bakkiriza amazima ga Baibuli
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Akapande akalaga awali Ekizimbe ky’Obwakabaka nga kali mu nnimi ttaano