Ossa Ekitiibwa mu Kirabo Katonda Kye Yatuwa eky’Obufumbo?
“Yakuwa abawe ekirabo era buli omu afune ekiwummulo mu nnyumba ya bba.”—LUUS. 1:9, NW.
NOONYA EBY’OKUDDAMU:
Lwaki tuyinza okugamba nti abaweereza ba Katonda ab’edda baali bassa ekitiibwa mu kirabo ky’obufumbo?
Kiki ekiraga nti Yakuwa afaayo ku muntu wa ngeri ki gwe tusalawo okufumbiriganwa naye?
Bwe kituuka ku bufumbo, magezi ki agali mu Bayibuli g’omaliridde okukolerako?
1. Adamu yawulira atya nga Katonda amukoledde omukazi?
“ONO nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja.” (Lub. 2:23) Ebyo bye bigambo Adamu, omusajja eyasooka, bye yayogera. Yali musanyufu nnyo olw’okuba Yakuwa yali amukoledde omukyala omulungi. Katonda yeebasa Adamu otulo otw’amaanyi, n’amuggyamu olumu ku mbirizi ze, n’alukolamu omukazi. Omukazi oyo Adamu yamutuuma erinnya Kaawa. Katonda yagatta wamu Adamu ne Kaawa ne bafuuka bafumbo. Olw’okuba Yakuwa yakozesa olubiriizi lwa Adamu okutonda Kaawa, omukwano ogwali wakati wa Adamu ne Kaawa gwali gwa maanyi nnyo okusinga omukwano gw’abafumbo bonna abaali babadde ku nsi.
2. Kiki ekireetera omusajja n’omukazi buli omu okusikirizibwa eri munne?
2 Mu magezi ge agatenkanika, Yakuwa yakola omukazi n’omusajja nga basobola okwagalana, ekintu ekibaleetera okusikirizibwa buli omu eri munne. Abantu abasinga obungi bwe bafumbiriganwa, baba basuubira nti omukwano gwabwe gujja kuba gwa lubeerera.
BAALAGA NTI BASSA EKITIIBWA MU KIRABO KY’OBUFUMBO
3. Isaaka yafuna atya omukyala?
3 Omusajja omwesigwa Ibulayimu yali assa nnyo ekitiibwa mu bufumbo. Bwe kityo, yatuma omuweereza we omukulu okugenda e Mesopotamiya afunire Isaaka omukazi. Omuweereza we oyo yasaba Yakuwa amuyambe era bw’atyo yasobola okufunira Isaaka omukazi eyali atya Katonda ayitibwa Lebbeeka. Lebbeeka okufuuka mukyala wa Isaaka, kyayamba nnyo mu kukuuma olunyiriri ezzadde lya Ibulayimu mwe lyandiyitidde. (Lub. 22:18; 24:12-14, 67) Kyokka ekyo tekiraga nti tusaanidde okunoonyeza omuntu yenna omuntu ow’okufumbiriganwa naye singa aba tatusabye kukikola. Ennaku zino abantu abasinga obungi be beerondera omuntu gwe baba baagala okufumbiriganwa naye. Katonda si y’atulondera omuntu ow’okufumbiriganwa naye. Naye singa Omukristaayo ayagala okuyingira obufumbo asaba Katonda amuwe obulagirizi era n’agoberera obulagirizi bw’omwoyo gwe omutukuvu, Katonda asobola okumuyamba okufuna omuntu omutuufu.—Bag. 5:18, 25.
4, 5. Kiki ekiraga nti omuwala Omusulamu n’omulenzi omusumba baali baagalana nnyo?
4 Omuwala Omusulamu ow’omu Isiraeri ey’edda yagaana mikwano gye okumupikiriza okufuuka omu ku bakazi ba Kabaka Sulemaani abaali abangi. Yagamba mikwano gye nti: “Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi, muleme okugolokosa newakubadde okuzuukusa okwagala, okutuusa we kunaayagalira.” (Lu. 8:4) Omuwala Omusulamu yali tayagala Sulemaani wabula yali ayagala omulenzi omusumba. Yagamba omulenzi oyo nti: “Nze ndi kimyula kya Saloni, eddanga ery’omu biwonvu.” Omulenzi omusumba naye yali ayagala nnyo omuwala oyo era yamuddamu ng’agamba nti: “Ng’eddanga mu maggwa, gwe njagala bw’ali bw’atyo mu bawala”! (Lu. 2:1, 2) Mu butuufu, bombi baali baagalana nnyo.
5 Olw’okuba Omusulamu n’omusumba bombi baali baagala nnyo Katonda, bwe bandifumbiriganiddwa, obufumbo bwabwe bwandibadde bunywevu nnyo. Omusulamu yagamba omusumba nti: “Nteeka ku mutima gwo ng’akabonero, ku mukono gwo ng’akabonero: kubanga okwagala kwenkana okufa amaanyi; obuggya bwenkana amagombe obukambwe: okumyansa kwabwo kumyansa kwa muliro, okwokya kwennyini okwa Mukama. Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, so n’ebitaba tebiyinza kukutta: omuntu bw’akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby’omu nnyumba ye olw’okwagala, yandinyoomereddwa ddala.” (Lu. 8:6, 7) Ne leero, abaweereza ba Katonda abaagala okufumbiriganwa, basaanidde okuba nga baagala nnyo Yakuwa era nga nabo baagalana nnyo.
KATONDA AFAAYO KU EKYO KY’OSALAWO
6, 7. Kiki ekiraga nti Katonda afaayo ku muntu wa ngeri ki gwe tusalawo okufumbiriganwa naye?
6 Katonda afaayo ku muntu wa ngeri ki gw’osalawo okufumbiriganwa naye. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti: “Tofumbiriganwanga [na Bakanani]; muwala wo tomuwanga mutabani we, so ne muwala we tomuwasizanga mutabani wo. Kubanga alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga bakatonda abalala: obusungu bwa Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe, era alikuzikiriza mangu.” (Ma. 7:3, 4) Nga wayise ebyasa by’emyaka, Ezera eyali aweereza nga kabona yagamba Abaisiraeri nti: “Mwasobya ne muwasa abakazi bannaggwanga okwongera ku Isiraeri omusango.” (Ezer. 10:10) Omutume Pawulo naye yagamba Bakristaayo banne nti: “Omukyala aba asibiddwa ng’omwami we akyali mulamu. Naye omwami we bw’afa aba wa ddembe okufumbirwa gw’ayagala, naye mu Mukama waffe mwokka.”—1 Kol. 7:39.
7 Singa Omuweereza wa Yakuwa omubatize asalawo okufumbiriganwa n’omuntu atali mukkiriza, aba ajeemedde Yakuwa. Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Ezera baajeemera Yakuwa bwe ‘baawasa abakazi bannaggwanga.’ Ebyawandiikibwa biraga bulungi bantu ba ngeri ki be tusaanidde okuwasa oba okufumbirwa. Kiba kikyamu okugezaako okwekwasa obusongasonga ne tugaana okugoberera obulagirizi bwa Katonda obukwata ku nsonga eyo. (Ezer. 10:10; 2 Kol. 6:14, 15) Omukristaayo bw’asalawo okufumbiriganwa n’omuntu atali mukkiriza aba tataddeewo kyakulabirako kirungi era aba alaze nti tassa kitiibwa mu kirabo Katonda kye yatuwa eky’obufumbo. Singa Omukristaayo omubatize afumbiriganwa n’omuntu atali mukkiriza, enkizo ezimu zimuggibwako. Era tekiba kya magezi Mukristaayo ng’oyo kusuubira Yakuwa kumuwa mikisa. Bw’asaba Yakuwa okumuwa emikisa, aba ng’agamba nti: ‘Yakuwa, nnakujeemera mu bugenderevu, naye mala gampa emikisa.’
YAKUWA AMANYI EKYO EKISINGAYO OBULUNGI
8. Lwaki kiba kya magezi okukolera ku bulagirizi bwa Katonda obukwata ku bufumbo?
8 Omuntu aba yakola ekintu aba amanyi bulungi engeri ennungi ey’okukikozesaamu. Singa atubuulira engeri y’okukikozesaamu naye ne tugaana okukolera ku bulagirizi bw’aba atuwadde, biki ebiyinza okuvaamu? Ebivaamu tebiyinza kuba birungi. Mu ngeri y’emu, bwe tuba twagala obufumbo bwaffe okubaamu essanyu, tuba tulina okukolera ku bulagirizi Yakuwa, Oyo eyatandikawo obufumbo, bw’atuwa.
9. Lwaki Yakuwa yawa abantu ekirabo ky’obufumbo?
9 Yakuwa amanyi bulungi nnyo ebikwata ku bantu ne ku bufumbo. Yatonda abantu nga balina okwagala okw’okwegatta basobole ‘okweyongera baale bajjuze ensi.’ (Lub. 1:28) Katonda ategeera bulungi ekiwuubaalo omuntu ky’aba nakyo nga tannafuna mubeezi. Eyo ye nsonga lwaki bwe yali tannatonda Kaawa, yagamba nti: “Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; [nnaamukolera] omubeezi amusaanira.” (Lub. 2:18) Yakuwa era amanyi essanyu abafumbo lye basobola okufuna mu bufumbo.—Soma Engero 5:15-18.
10. Abakristaayo abafumbo bayinza batya okusanyusa Yakuwa bwe kituuka ku nsonga y’okwegatta?
10 Olw’okuba abantu bonna baasikira ekibi okuva ku Adamu, tewali bufumbo butuukiridde. Naye abaweereza ba Yakuwa basobola okufuna essanyu mu bufumbo bwabwe singa bagoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kye. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku magezi amalungi Pawulo ge yawa ku nsonga y’okwegatta. (Soma 1 Abakkolinso 7:1-5.) Ebyawandiikibwa tebigamba nti okuzaala abaana ye nsonga yokka eyandireetedde abafumbo okwegatta. Okwegatta kibayamba okukola ku bwetaavu obulala bwe baba nabo ng’abantu. Naye abafumbo basaanidde okukijjukira nti ebikolwa eby’obuseegu tebisanyusa Katonda. Bwe kituuka ku nsonga y’okwegatta, Abakristaayo abafumbo basaanidde buli omu okuyisa munne mu ngeri ey’ekisa era eraga nti balina okwagala okwa nnamaddala buli omu eri munne. Era balina okwewala ebikolwa byonna ebiyinza okunyiiza Yakuwa.
11. Mikisa ki Luusi gye yafuna olw’okuba yali mwesigwa eri Yakuwa?
11 Obufumbo busaanidde okubaamu essanyu n’emirembe. Bwe kityo bwe kisaanidde okuba naddala mu maka g’Abakristaayo. Lowooza ku ekyo ekyaliwo emyaka nga 3,000 emabega, nnamwandu Nawomi eyali akaddiye awamu ne baka batabani be Olupa ne Luusi, bwe baali bava e Mowaabu nga bagenda mu Yuda. Nawomi yagamba baka batabani be abo baddeyo ewaabwe. Naye Luusi, eyali Omumowaabu, yanywerera ku Nawomi, n’asigala nga mwesigwa eri Katonda ow’amazima. Bowaazi yagamba Luusi nti: ‘Yakuwa Katonda wa Isiraeri akuwe empeera etebulako.’ (Luus. 1:9; 2:12) Olw’okuba yali assa ekitiibwa mu kirabo ky’obufumbo, Luusi yafumbirwa Bowaazi, omusajja eyali aweereza Yakuwa n’obwesigwa. Luusi bw’anaazukira mu nsi ya Katonda empya, ajja kuba musanyufu okukimanya nti yali omu ku bajjajja ba Yesu Kristo. (Mat. 1:1, 5, 6; Luk. 3:23, 32) Luusi yali mwesigwa eri Yakuwa era yafuna emikisa mingi!
AMAGEZI AMALUNGI AGAKWATA KU BUFUMBO
12. Wa we tuyinza okuggya amagezi amalungi agakwata ku bufumbo?
12 Oyo eyatandikawo obufumbo atubuulira ebyo bye twetaaga okukola okusobola okuba n’obufumbo obulungi. Tewali muntu yenna asobola kutuwa magezi malungi ku nsonga eyo okusinga Katonda. Okuva bwe kiri nti amagezi agali mu Bayibuli gava eri Katonda era nga gaba matuufu ekiseera kyonna, omuntu yenna aba awa amagezi agakwata ku bufumbo alina okugeesigamya ku misingi gya Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Buli omu ku mmwe ayagale mukazi we nga bwe yeeyagala, omukazi naye asseemu nnyo bbaawe ekitiibwa.” (Bef. 5:33) Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bategeera bulungi ebigambo ebyo. Naye ekyebuuzibwa kiri nti, banaabikolerako? Bwe baba nga ddala bassa ekitiibwa mu kirabo Katonda kye yatuwa eky’obufumbo, bajja kubikolerako.a
13. Kiki ekiyinza okubaawo singa omwami takolera ku magezi agali mu 1 Peetero 3:7?
13 Omwami Omukristaayo alina okuyisa obulungi mukyala we. Omutume Peetero yagamba nti: “Nammwe abaami, mubeeranga n’abakazi bammwe nga mubategeera bulungi, nga mubassaamu ekitiibwa ng’ekibya ekinafu kubanga nabo basika bannammwe ab’ekisa eky’ensusso eky’obulamu, okusaba kwammwe kuleme okuziyizibwa.” (1 Peet. 3:7) Yakuwa tasobola kuwulira kusaba kwa musajja singa agaana okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kye. Ekyo kiyinza okuviirako enkolagana omwami ne mukyala we gye balina ne Yakuwa okwonooneka. Ekintu ekiyinza okumalawo emirembe mu maka gaabwe, ne batandika okuyombanga, n’obutalagaŋŋana kisa.
14. Omukyala ow’amagezi ayinza atya okuyamba amaka ge?
14 Omukyala akolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Yakuwa era akulemberwa omwoyo omutukuvu asobola okuyamba amaka ge okubaamu emirembe n’essanyu. Kya bulijjo omwami atya Katonda okwagala mukyala we era n’okumulabirira mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Omukyala Omukristaayo aba ayagala nnyo okwagalibwa bba, era afuba okwoleka engeri ezinaaleetera bba okumwagala ennyo. Engero 14:1 wagamba nti: “Buli mukazi ow’amagezi azimba ennyumba ye. Naye omusirusiru agyabya n’emikono gye ye.” Omukyala ow’amagezi ayamba nnyo mu kuleetawo emirembe n’essanyu mu maka ge. Ate era akiraga mu nneeyisa ye nti assa ekitiibwa mu kirabo Katonda kye yatuwa eky’obufumbo.
15. Kubuulirira ki okuli mu Abeefeso 5:22-25?
15 Omwami ne mukyala we basobola okulaga nti bassa ekitiibwa mu kirabo Katonda kye yatuwa eky’obufumbo nga bakoppa ekyokulabirako Yesu kye yateekawo ng’akolagana n’ekibiina. (Soma Abeefeso 5:22-25.) Balagaŋŋana okwagala era buli omu awa munne ekitiibwa. Baba bawombeefu, bafuba okuba n’empuliziganya ennungi, era beewala okuba n’engeri ezitali za Kikristaayo eziyinza okwonoona obufumbo bwabwe. Yakuwa awa emikisa abafumbo ng’abo.
TEWABANGA MUNTU ABAAWULA
16. Lwaki Abakristaayo abamu basalawo okusigala nga si bafumbo?
16 Abantu abasinga obungi basuubira nti ekiseera kijja kutuuka bawase oba bafumbirwe. Naye abaweereza ba Yakuwa abamu basalawo okusigala nga si bafumbo olw’okuba baba balemereddwa okufuna omuntu gwe baagala era asanyusa Yakuwa. Ate abalala balina ekirabo eky’okusigala nga si bafumbo, era ekyo kibayambye okwemalira ku kuweereza Yakuwa nga tewali kibataataaganya. Kyokka, Abakristaayo abatali bafumbo balina okufuba okusigala nga bayonjo mu maaso ga Yakuwa.—Mat. 19:10-12; 1 Kol. 7:1, 6, 7, 17.
17. (a) Kiki Yesu kye yayogera ku bufumbo kye tulina okujjukiranga? (b) Kiki Omukristaayo ky’alina okukola mu bwangu singa atandika okwegomba omusajja oba omukazi w’omuntu omulala?
17 Ka tube nga tuli bafumbo oba nga tetuli bafumbo, ffenna tusaanidde okujjukiranga ebigambo bya Yesu bino: “Temusomangako nti oyo eyabatonda okuva ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi n’agamba nti, ‘Olw’ensonga eno omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n’abeera ne mukazi we era bombi banaabanga omubiri gumu’? Nga tebakyali babiri naye nga bali omubiri gumu. N’olwekyo, Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulanga.” (Mat. 19:4-6) Omuntu bwe yeegomba omusajja oba omukazi w’omuntu omulala aba akoze ekibi. (Ma. 5:21) Singa Omukristaayo atandika okufuna okwegomba ng’okwo okubi, aba alina okukola kyonna ekisoboka okukweggyamu mu bwangu. Ekyo aba alina okukikola ne bwe kiba nti kigenda kumuleetera obulumi obw’amaanyi mu mutima olw’okuba aba akkirizza okwegomba okwo okubi okukula mu mutima gwe. (Mat. 5:27-30) Kikulu nnyo okweggyamu mu bwangu okwegomba ng’okwo okubi n’obutakkiriza mutima gwaffe omulimba okutubuzaabuza.—Yer. 17:9.
18. Tusaanidde kutwala tutya ekirabo Katonda kye yatuwa eky’obufumbo?
18 Waliwo abantu bangi abamanyi ekitono ku Yakuwa Katonda oba abatamumanyiddeko ddala abakiraze, mu ngeri emu oba endala, nti bassa ekitiibwa mu kirabo ky’obufumbo. Kati olwo ffe abaweereza ba Yakuwa, “Katonda omusanyufu,” tetwandisinzeewo nnyo okukiraga nti tussa ekitiibwa mu kirabo Katonda kye yatuwa eky’obufumbo?—1 Tim. 1:11.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku bufumbo, laba akatabo ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’ essuula 10 ne 11.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]
Obufumbo obulungi buweesa Yakuwa ekitiibwa era n’ababubeeramu baba basanyufu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Luusi yakiraga nti yali assa ekitiibwa mu kirabo Katonda kye yatuwa eky’obufumbo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Okiraga nti ossa ekitiibwa mu kirabo Katonda kye yatuwa eky’obufumbo?