Ekyetaagisa Okusobola Okubeera Omusanyufu
YAKUWA, “Katonda omusanyufu,” era ne Yesu Kristo ‘omusanyufu,’ be bamanyidde ddala ekyetaagisa okusobola okubeera omusanyufu. (1 Timoseewo 1:11; 6:15, NW) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kituyamba okufuna essanyu.—Okubikkulirwa 1:3; 22:7.
Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu annyonnyola ebyo ebyetaagisa okusobola okubeera omusanyufu. Agamba bw’ati: “Basanyufu abo” (1) abafaayo ku mbeera yaabwe eyeby’omwoyo, (2) abalina ennaku, (3) abateefu, (4) abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu, (5) ab’ekisa, (6) abalina omutima omulongoofu, (7) abatabaganya, (8) abayigganyizibwa olw’obutuukirivu, n’abo (9) abavumibwa n’abayigganyizibwa ku lulwe.—Matayo 5:3-11, NW.a
Ebigambo bya Yesu Bituufu?
Amakulu g’ebimu ku bigambo bya Yesu si mazibu kutegeera. Ani atakikkiriza nti omuntu omuteefu, ow’ekisa era atabaganya abalala ng’akubirizibwa omutima omulungi aba musanyufu okusinga oyo ow’obusungu, omukambwe era atalina kisa?
Kyokka, kiyinza okutwewuunyisa engeri abantu abalumwa enjala n’ennyonta ey’obutuukirivu oba abalina ennaku gye basobola okubeera abasanyufu. Abantu ng’abo balina endaba entuufu ey’embeera eriwo mu nsi. ‘Basinda era ne bakaaba olw’emizizo gyonna egikolebwa’ mu kiseera kyaffe. (Ezeekyeri 9:4) Kyokka ekyo ku bwakyo tekibaleetera ssanyu. Naye, bwe bategeera ekigendererwa kya Katonda eky’okuleeta embeera ez’obutuukirivu ku nsi era n’okulamula n’obwenkanya abo abanyigirizibwa, kibaleetera essanyu.—Isaaya 11:4.
Ate era, okwagala obutuukirivu kireetera abantu okunakuwala olw’okulemererwa okukola ekituufu. Mu ngeri eyo balaga nti bafaayo ku mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo. Abantu ng’abo beetegefu okunoonya obulagirizi bwa Katonda olw’okuba bakimanyi nti ye yekka ayinza okuyamba abantu okuvvuunuka obunafu bwabwe.—Engero 16:3, 9; 20:24.
Abantu abalina ennaku, abalumwa enjala n’ennyonta olw’obutuukirivu, n’abo abafaayo ku mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo, bamanyi bulungi obukulu bw’okubeera n’enkolagana ennungi n’Omutonzi. Bw’oba n’enkolagana ennungi n’abantu kireeta essanyu, naye ate essanyu eryo lisingawo nnyo bw’oba n’enkolagana ng’eyo ne Katonda. Yee, abo abafaayo okukola ekituufu era abeetegefu okukolera ku bulagirizi bwa Katonda, mazima ddala basobola okuba abasanyufu.
Kyokka, kiyinza okukuzibuwalira okukkiriza nti omuntu ayigganyizibwa era avumibwa asobola okuba omusanyufu. Naye kisoboka omuntu ng’oyo okuba omusanyufu olw’okuba Yesu kennyini ye yayogera ebigambo ebyo. Kati olwo, ebigambo bye bitegeeza ki?
Kisoboka Kitya Okuyigganyizibwa ate n’Oba Omusanyufu?
Weetegereze nti Yesu teyagamba nti okuvumibwa n’okuyigganyizibwa ku bwabyo bireeta essanyu. Yagamba bw’ati: “Balina omukisa [“basanyufu,” NW] abo abayigganyizibwa olw’obutuukirivu, . . . bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga . . . okubavunaanya nze.” (Matayo 5:10, 11) N’olwekyo, omuntu bw’ayigganyizibwa olw’okuba omugoberezi wa Kristo era n’olw’okutambuliza obulamu bwe ku misingi egy’obutuukirivu Yesu gye yayigiriza lw’afuna essanyu.
Kino kyeyolekera mu ekyo ekyatuuka ku Bakristaayo abaasooka. Ab’Olukiiko lw’Ekiyudaaya, “baayita abatume, ne babakuba, ne ba[ba]lagira obutayogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata.” Abatume baakola ki? ‘Awo ne bava mu maaso g’olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyizibbwa okukwatibwa ensonyi olw’Erinnya. Buli lunaku mu yeekaalu n’okuva nnyumba ku nnyumba tebaayosanga kuyigirizanga n’okubuuliranga Yesu nga ye Kristo.’—Ebikolwa 5:40-42, NW; 13:50-52.
N’omutume Peetero yayogera ku kakwate akaliwo wakati w’okuyigganyizibwa n’okufuna essanyu. Yagamba: “Bwe muvumibwanga olw’erinnya lya Kristo, mulina omukisa [“essanyu,” NW], kubanga [o]mwoyo ogw’ekitiibwa era ogwa Katonda [gu]tuula ku mwe.” (1 Peetero 4:14) Yee, Omukristaayo bw’ayigganyizibwa olw’okukola ekituufu, ne bwe kiba nti okuyigganyizibwa okwo kwa bulumi, kimuleetera okufuna essanyu olw’okumanya nti afuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Mu ngeri ki omwoyo gwa Katonda omutukuvu gye gulina akakwate n’essanyu?
Oyoleka Bikolwa bya Mubiri oba Bibala bya Mwoyo?
Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gubeera ku abo bokka abamugondera ng’omufuzi. (Ebikolwa 5:32) Yakuwa tawa mwoyo gwe abo abenyigira mu ‘bikolwa eby’omubiri.’ Ebikolwa ebyo bwe “bwenzi, empitambi, obukaba, okusinza ebifaananyi, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebiri ng’ebyo.” (Abaggalatiya 5:19-21) Kyo kituufu nti mu nsi ya leero ‘ebikolwa eby’omubiri’ bicaase nnyo. Kyokka, abo ababyenyigiramu tebalina ssanyu lya namaddala. Mu butuufu, okwenyigira mu bikolwa ng’ebyo kyonoona enkolagana y’omuntu n’abeŋŋanda ze wamu n’ab’emikwano. Ate era, Ekigambo kya Katonda kigamba nti abo abenyigira mu bikolwa ng’ebyo “tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.”
Ku luuyi olulala, Katonda awa omwoyo gwe omutukuvu abo abooleka “ebibala eby’omwoyo.” Ebibala ebyo kwe ‘kwagala, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza.’ (Abaggalatiya 5:22, 23) Bwe twoleka ebibala ebyo, tubeera mu mirembe n’abalala era ne Katonda, ne kituviirako okufuna essanyu erya nnamaddala. (Laba akasanduuko.) N’ekisinga obukulu, bwe twoleka okwagala, ekisa, obulungi n’engeri endala ezooleka okutya Katonda, tumusanyusa era ne tuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi ye empya ey’obutuukirivu.
Osobola Okulondawo Okuba Omusanyufu
Omugogo ogumu ogw’abafumbo mu Bugirimaani, Wolfgang ne Brigitte we baatandikira okuyiga Baibuli, baalina eby’obugagga abantu bye balowooza nti bye bireeta essanyu. Baali bavubuka era ng’embeera y’obulamu bwabwe nnungi. Baalina engoye ez’ebbeeyi, amaka amayitirivu obulungi era ne bizinesi ekola obulungi ennyo. Ebiseera byabwe ebisinga obungi baabimaliranga mu kwongera kunoonya bya bugagga, naye kino tekyabaleetera kufuna ssanyu lya nnamaddala. Nga wayiseewo ekiseera, Wolfgang ne Brigitte baakola okusalawo okw’amaanyi. Baatandika okwemalira ennyo ku by’omwoyo n’okulaba engeri gye basobola okunywezaamu enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Okusalawo kwabwe kwabaleetera okukola enkyukakyuka mu ndowooza yaabwe, ne kibaviirako okuba n’obulamu obwangu era ne basobola okuweereza nga bapayoniya, oba abalangirizi b’Obwakabaka ab’ekiseera kyonna. Leero, baweereza nga bannakyewa ku ttabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa mu Bugirimaani. Okugatta ku ekyo, kati bayiga olumu ku nnimi ezogerebwa mu Asia basobole okuyamba abagwira okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda, Baibuli.
Abafumbo bano baafuna essanyu erya nnamaddala? Wolfgang agamba bw’ati: “Okuva lwe tweyongera okwettanira ebintu eby’omwoyo, tweyongedde okufuna essanyu n’obumativu. Ate era, okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna kituyambye okunyweza obufumbo bwaffe. Wadde ng’obufumbo bwaffe bwali bulungi, emirimu gyaffe n’ebiruubirirwa eby’enjawulo byatuleetera obutaba bumu. Kati tulina ekiruubirirwa kye kimu.”
Kiki Ekyetaagisa Okusobola Okuba Omusanyufu?
Mu bufunze: Weewale “ebikolwa by’omubiri” ate okulaakulanye ‘ebibala by’omwoyo gwa Katonda.’ Okusobola okuba omusanyufu, omuntu ateekwa okuba ng’ayagala okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Omuntu afuba okukola kino, atuukagana bulungi n’omuntu Yesu gwe yayita omusanyufu.
N’olwekyo, toba na ndowooza nkyamu nti tosobola kufuna ssanyu. Kyo kituufu nti mu kiseera kino obulamu bwo buyinza obutaba bulungi oba nga n’obufumbo bwo bulimu ebizibu. Oboolyawo tokyasobola kuzaala baana oba oyinza okuba nga tonnafuna mulimu mulungi. Oboolyawo tokyalina bulungi ssente nga bwe kyali edda. Wadde kiri bwe kityo, tosaanidde kuggwaamu maanyi! Obwakabaka bwa Katonda bujja kugonjoola ebizibu bino era n’ebirala nkumu. Mu butuufu, mangu nnyo Yakuwa ajja kutuukiriza ebigambo bino eby’omuwandiisi wa Zabbuli eri abo abamuweereza: “Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo . . . Oyanjuluza engalo zo, n’okussa buli kintu kiramu bye kyagala.” (Zabbuli 145:13, 16) Ng’obukadde n’obukadde bw’Abajulirwa bwe bakizudde, okulowooza ku kisuubizo ekyo ekya Yakuwa kijja kukuleetera okufuna essanyu mu kiseera kino.—Okubikkulirwa 21:3.
[Obugambo obuli wansi]
a Buli emu ku nsonga ezo omwenda Yesu ze yayogerako, etandika n’ekigambo ky’Oluyonaani ma·kaʹri·oi. Mu kifo ky’okuvuunula ekigambo kino nga “balina omukisa,” ng’enkyusa ezimu bwe zikola, New World Translation n’enkyusa ezimu endala, gamba nga The Jerusalem Bible ne Today’s English Version, zikozesa ekigambo “basanyufu” ekisinga okuggyayo obulungi amakulu g’Oluyonaani.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Ebituyamba Okufuna Essanyu
Okwagala kuleetera abalala okukwagala.
Emirembe gikuyamba obutaba na bukuubagano n’abalala.
Obugumiikiriza bukusobozesa okusigala ng’oli musanyufu wadde ng’ogezesebwa.
Ekisa kireetera abalala okubeera mikwano gyo.
Obulungi bw’olaga bukubiriza abalala okukuyamba ng’oli mu bwetaavu.
Okukkiriza kujja kukukakasa nti Yakuwa ajja kukuwa obulagirizi.
Obuwombeefu bujja kukuyamba okubeera omukkakkamu mu birowoozo ne mu mutima.
Okwegendereza kujja kukuyamba obutakola nsobi nnyingi.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Okusobola okufuna essanyu, olina okufaayo ku mbeera yo ey’eby’omwoyo