ESSUULA 97
Olugero Olukwata ku Bakozi mu Nnimiro y’Emizabbibu
ABAKOZI “AB’OLUVANNYUMA” MU NNIMIRO Y’EMIZABBIBU BAFUUKA “AB’OLUBEREBERYE”
Yesu yaakamala okugamba ababadde bamuwuliriza mu Pereya nti, “bangi ab’olubereberye baliba ba luvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba ba lubereberye.” (Matayo 19:30) Ensonga eyo aginogaanya ng’akozesa olugero olukwata ku bakozi mu nnimiro y’emizabbibu.
Agamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga omusajja eyalina ennimiro y’emizabbibu, eyakeera ku makya okufuna abakozi ab’okukola mu nnimiro ye. Bwe yamala okukkiriziganya n’abakozi okubasasula eddinaali emu olunaku, n’abasindika okukola mu nnimiro ye ey’emizabbibu. N’afuluma nate ku ssaawa nga ssatu n’alaba abalala mu katale nga bayimiridde awo tebalina kye bakola n’abagamba nti, ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro y’emizabbibu nja kubasasula ekibagwanira.’ Ne bagenda. Era n’afuluma ku ssaawa nga mukaaga, era ne ku ssaawa nga mwenda n’akola ekintu kye kimu. Mu nkomerero, ku ssaawa nga kkumi n’emu n’afuluma n’asanga abalala nga bayimiridde n’abagamba, ‘Lwaki okuva obw’enkya mubadde muyimiridde wano nga temulina kye mukola?’ Ne bamugamba nti, ‘Tewali yatututte kumukolera.’ N’abagamba nti ‘Nammwe mugende mukole mu nnimiro y’emizabbibu.’”—Matayo 20:1-7.
Abo abawuliriza Yesu bwe bawulira ebigambo “Obwakabaka obw’omu ggulu” ne “omusajja eyalina ennimiro,” kirabika balowooza ku Yakuwa. Ebyawandiikibwa byogera ku Yakuwa nga nnannyini nnimiro y’emizabbibu, eyali ekiikirira eggwanga lya Isirayiri. (Zabbuli 80:8, 9; Isaaya 5:3, 4) Abo abali mu ndagaano y’Amateeka bageraageranyizibwa ku bakozi mu nnimiro y’emizabbibu. Kyokka, Yesu tayogera ku byayita, wabula ayogera ku ebyo ebiriwo mu kiseera kye.
Abakulembeze b’amadiini, gamba ng’Abafalisaayo abaamugezesa gye buvuddeko ku bikwata ku kugoba abakazi, bamaze ekiseera nga beetwala okuba abanyiikivu mu kuweereza Katonda. Balinga abakozi abakola ekiseera kyonna era abasuubira okusasulwa omusaala omujjuvu, ng’omusaala ogwo gwa ddinaali emu buli lunaku.
Bakabona n’abantu abalala abali mu kiti ekyo balowooza nti Abayudaaya aba bulijjo tebaweereza Katonda mu bujjuvu, okufaananako abakozi abakola essaawa entono mu nnimiro ya Katonda ey’emizabbibu. Mu lugero lwa Yesu, bano be basajja abaaweebwa omulimu “ku ssaawa nga ssatu” ez’oku makya oba abo abaagufuna oluvannyuma—ku ssaawa mukaaga, ku ssaawa mwenda, ne ku ssaawa kkumi n’emu ez’olweggulo.
Abasajja n’abakazi abagoberera Yesu batwalibwa ‘ng’abaakolimirwa.’ (Yokaana 7:49) Ebiseera byabwe ebisinga babadde bavubi oba nga bakola emirimu emirala. Naye mu mwaka gwa 29 E.E., “nnannyini nnimiro y’emizabbibu” yatuma Yesu Kristo ayite abantu abatwalibwa okuba aba wansi okuweereza Katonda ng’abayigirizwa ba Kristo. Be ‘b’oluvannyuma’ Yesu b’ayogerako, abatandika okukola mu nnimiro y’emizabbibu ku ssaawa kkumi n’emu.
Ng’amaliriza olugero lwe, Yesu annyonnyola ekibaawo ng’abakozi bannyuse. Agamba nti: “Akawungeezi bwe kaatuuka, nnannyini nnimiro y’emizabbibu n’agamba omusajja we alabirira abakozi nti, ‘Yita abakozi obasasule empeera yaabwe; sookera ku abo abazze oluvannyuma osembyeyo abaasoose.’ Awo abakozi abaatandika okukola ku ssaawa ekkumi n’emu bwe bajja, buli omu n’afuna eddinaali emu. Abo abaasooka ku mulimu bwe bajja ne balowooza nti bo bajja kusasulwa ekisingawo, naye nabo ne basasulwa eddinaali emu. Bwe baagifuna ne batandika okwemulugunyiza nnannyini nnimiro nga bagamba nti, ‘Bano abazze oluvannyuma bakoledde essaawa emu naye obasasudde kye kimu naffe abaateganye olunaku lwonna nga n’omusana gutwokya!’ Naye n’agamba omu ku bo nti, ‘Sirina kikyamu kye nkukoze. Tewakkiriziganyizza nange okukusasula eddinaali emu? Kwata empeera yo ogende. Ono asembyeyo njagala kumuwa empeera y’emu nga gye nkuwadde. Sisaanidde kukozesa bintu byange nga bwe njagala? Oba okwatiddwa obuggya olw’okuba ndi muntu mulungi?’ Bwe kityo, ab’oluvannyuma baliba ab’olubereberye, n’ab’olubereberye baliba ab’oluvannyuma.”—Matayo 20:8-16.
Abayigirizwa bayinza okuba nga beebuuza ebigambo ebisembayo mu lugero olwo kye bitegeeza. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abeetwala okuba “ab’olubereberye” banaafuuka batya “ab’oluvannyuma”? Era abayigirizwa ba Yesu banaafuuka batya “ab’olubereberye”?
Abayigirizwa ba Yesu, abatwalibwa okuba “ab’oluvannyuma,” be b’okuba “ab’olubereberye,” era baakusasulwa mu bujjuvu. Yesu bw’anaafa, Yerusaalemi eky’oku nsi kijja kulekebwawo, era Katonda ajja kulonda eggwanga eriggya, “Isirayiri wa Katonda.” (Abaggalatiya 6:16; Matayo 23:38) Yokaana Omubatiza yali yayogera dda ku abo abandibadde mu ggwanga eryo bwe yayogera ku kubatizibwa n’omwoyo omutukuvu. Abo ababadde “ab’oluvannyuma” be bajja okusooka okubatizibwa mu ngeri eyo n’okuweebwa enkizo ey’okuba abajulirwa ba Yesu “mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Ebikolwa 1:5, 8; Matayo 3:11) Abayigirizwa bwe baba nga bategedde bulungi enkyukakyuka Yesu z’ayogerako, balina okuba nga bakirabye nti bajja kukyayibwa abakulembeze b’eddiini abafuuse “ab’oluvannyuma.”