“Tuligenda Nammwe”
“Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.”—ZEK. 8:23.
1, 2. (a) Kiki Yakuwa kye yagamba ekyandibaddewo mu kiseera kyaffe? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino? (Laba ekifaananyi waggulu.)
NG’AYOGERA ku kiseera kyaffe, Yakuwa yagamba nti: “Mu nnaku ziri abantu kkumi balikwata, okuva mu nnimi zonna ez’amawanga, balikwata ku lukugiro olw’omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.” (Zek. 8:23) Okufaananako abasajja abo ekkumi ab’akabonero, abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi ‘bakutte ku lukugiro lw’Omuyudaaya.’ Bagitwala nga nkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa nga bali wamu n’abaafukibwako amafuta oba “Israeri wa Katonda,” nga bakimanyi nti Yakuwa awa abaafukibwako amafuta omukisa.—Bag. 6:16.
2 Okufaananako nnabbi Zekkaliya, Yesu naye yalaga nti abantu ba Katonda bandibadde bumu. Yagamba nti mu bagoberezi be mwandibaddemu ‘ab’ekisibo ekitono’ awamu ‘n’ab’endiga endala,’ era n’alaga nti bonna bandibadde “ekisibo kimu” nga bali wansi “w’omusumba omu.” (Luk. 12:32; Yok. 10:16) Okuva bwe kiri nti abagoberezi ba Yesu bali mu bibinja bibiri, abamu bayinza okwebuuza: (1) Ab’endiga endala kibeetaagisa okumanya amannya g’abaafukibwako amafuta bonna? (2) Abaafukibwako amafuta basaanidde kwetwala batya? (3) Wandyeyisizza otya singa wabaawo omuntu mu kibiina kyammwe atandika okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo? (4) Eky’okuba nti omuwendo gw’abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo gweyongedde kyandikweraliikirizza? Tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino.
KITWETAAGISA OKUMANYA AMANNYA G’ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA BONNA ABALIWO LEERO?
3. Lwaki tetusobola kumanyira ddala ani anaabeera mu 144,000 abanaafugira awamu ne Kristo?
3 Ab’endiga endala kibeetaagisa okumanya amannya g’abaafukibwako amafuta bonna? Eky’okuddamu kiri nti nedda. Lwaki? Kubanga omuntu ne bw’aba ng’alondeddwa okugenda mu ggulu, aba tannafuna mpeera eyo wabula aba alondeddwa bulondebwa. Kijjukire nti Sitaani aleetawo “bannabbi ab’obulimba . . . bwe kiba kisoboka bakyamye n’abalonde.” (Mat. 24:24) N’olwekyo, tewali n’omu asobola kumanya obanga omuntu eyafukibwako amafuta anaafuna empeera ye okutuusa nga Yakuwa amaze okumukakasa nti agwana okuweebwa empeera eyo. Yakuwa y’asalawo obanga omuntu oyo agwana okuweebwa empeera eyo era amussaako akabonero akasembayo nga tannafa oba ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika. (Kub. 2:10; 7:3, 14) N’olwekyo, mu kiseera kino tekigasa kudda awo kuteebereza ani ku bantu ba Katonda anaabeera mu 144,000 abanaafugira awamu ne Yesu.[1]
4. Bwe kiba nti tetusobola kumanya mannya g’abaafukibwako amafuta bonna abali ku nsi leero, tusobola tutya ‘okugenda nabo’?
4 Bwe kiba nti tetusobola kumanya mannya g’abaafukibwako amafuta bonna abali ku nsi leero, ab’endiga endala basobola batya ‘okugenda nabo’? Lowooza ku ekyo obunnabbi obuli mu Zekkaliya kye bwogera ku basajja ekkumi ab’akabonero. Abasajja abo ‘bakwata ku lukugiro lw’Omuyudaaya, nga bagamba nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ Wadde ng’Omuyudaaya omu y’ayogerwako, olunyiriri olwo lulaga nti Omuyudaaya oyo akiikirira abantu abasukka mu omu. N’olwekyo, Omuyudaaya oyo akiikirira abaafukibwako amafuta bonna awamu ng’ekibiina! Bwe kityo, tekitwetaagisa kumanya buli eyafukibwako amafuta tumugoberere. Mu kifo ky’ekyo, twetaaga okuweerereza awamu n’abaafukibwako amafuta bonna ng’ekibiina. Ebyawandiikibwa tebitukubiriza kugoberera muntu yenna. Yesu ye Mukulembeze waffe.—Mat. 23:10.
ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA BASAANIDDE KWETWALA BATYA?
5. Kulabula ki abaafukibwako amafuta kwe basaanidde okukuumira mu birowoozo, era lwaki?
5 Abo abalya ku mugaati era ne banywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo basaanidde okujjukira ebigambo ebiri mu 1 Abakkolinso 11:27-29. (Soma.) Kiki omutume Pawulo kye yali ategeeza? Omukristaayo eyafukibwako amafuta bw’ataba mwesigwa eri Yakuwa era n’alya ku mugaati oba n’anywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo, aba alidde tagwanidde. (Beb. 6:4-6; 10:26-29) Okulabula ng’okwo kuyamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta okukijjukira nti tebannaba kufuna mpeera. Balina okweyongera okufuba “okutuuka ku kiruubirirwa eky’okufuna empeera ey’okuyitibwa okw’omu ggulu, Katonda gy’agaba okuyitira mu Kristo Yesu.”—Baf. 3:13-16.
6. Abakristaayo abaafukibwako amafuta basaanidde kwetwala batya?
6 Ng’aluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu, Pawulo yakubiriza Abakristaayo abaafukibwako amafuta “okweyisa mu ngeri esaanira abo abaayitibwa.” Ekyo bayinza kukikola batya? Pawulo yagattako nti: “Nga muba bawombeefu, nga muba bakkakkamu, nga mugumiikiriza, era nga buli omu azibiikiriza munne mu kwagala, nga mufuba nnyo okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe eginyweza.” (Bef. 4:1-3) Omwoyo gwa Yakuwa guleetera omuntu okuba omwetoowaze, so si okuba ow’amalala. (Bak. 3:12) Abaafukibwako amafuta abeetoowaze bakijjukira nti Katonda tabawa mwoyo mungi kusinga abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Tebeetwala kuba nti bamanyi bingi oba nti waliwo ebintu eby’enjawulo Katonda by’ababikkulira; era tebeetwala kuba ba waggulu ku balala. Ate era tebagezaako kugamba balala nti nabo baafukibwako amafuta era nti balina okutandika okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo. Bakijjukira nti Yakuwa y’alonda abantu abanaagenda mu ggulu.
7, 8. Kiki Abakristaayo abaafukibwako amafuta kye batalina kusuubira mu balala, era lwaki?
7 Wadde nga nkizo ya maanyi okuba omu ku baafukibwako amafuta, Abakristaayo abaafukibwako amafuta tebasuubira balala kubawa kitiibwa kya njawulo. (Bef. 1:18, 19; soma Abafiripi 2:2, 3.) Omwoyo gwa Yakuwa gw’abawa obujulirwa ng’abantu kinnoomu. Tewaaliwo kirango kyayisibwa eri abantu bonna. N’olwekyo, tekisaanidde kubeewuunyisa abalala bwe batakikkiririzaawo nti baafukibwako amafuta. Bakijjukira nti Ebyawandiikibwa bitukubiriza obutamala gakkiriza muntu agamba nti Katonda amulonze era nti amukwasizza obuvunaanyizibwa obw’enjawulo. (Kub. 2:2) Beewala okweyanjula eri abalala nga babategeeza nti baafukibwako amafuta. Bwe kiba kisoboka, beewalira ddala n’okukibuulirako omuntu yenna okusobola okwewala okuleetera abalala okubassaako ennyo omwoyo ekiteetaagisa. Ate era beewala n’okwewaanira ku balala olw’essuubi ery’ekitalo lye balina.—1 Kol. 1:28, 29; soma 1 Abakkolinso 4:6-8.
8 Abaafukibwako amafuta tebasaanidde kulowooza nti balina kukolagana na Bakristaayo bannaabwe abaafukibwako amafuta bokka, nga gy’obeera balina ekibiina ekyabwe ekiri awo eky’enjawulo. Tebagezaako kunoonya bannaabwe abalala abaafukibwako amafuta, oboolyawo basobole okwogera ku nkizo yaabwe oba basobole okusomera awamu Bayibuli. (Bag. 1:15-17) Ebintu ng’ebyo bireetawo enjawukana mu kibiina era bikontana n’obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu oguyamba abantu ba Katonda okuba mu mirembe n’okuba obumu.—Soma Abaruumi 16:17, 18.
WANDYEYISIZZA OTYA?
9. Lwaki tulina okwegendereza engeri gye tuyisaamu abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo? (Laba akasanduuko “Okwagala ‘Tekweyisa mu Ngeri Etasaana.’”)
9 Wandiyisizza otya omuntu alya ku mugaati era anywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo? Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mmwenna muli ba luganda.” Era yagattako nti: “Buli eyeegulumiza alitoowazibwa na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.” (Mat. 23:8-12) N’olwekyo, kiba kikyamu okubaako abantu be tugulumiza, ka babe nga baafukibwako amafuta oba nedda. Bayibuli etukubiriza okukoppa okukkiriza kw’abakadde mu kibiina, naye tetugamba kutwala muntu yenna ng’omukulembeze waffe. (Beb. 13:7) Kyo kituufu nti Ebyawandiikibwa byogera ku bantu abamu mu kibiina abalina okussibwamu ennyo ekitiibwa. Naye abantu abo bassibwamu ekitiibwa ekyo, si lwa kuba nti baafukibwako amafuta, naye lwa kuba ‘bakulembera bulungi abalala’ era ‘bakola nnyo mu kwogera ne mu kuyigiriza.’ (1 Tim. 5:17) N’olwekyo, singa abaafukibwako amafuta tubatwala ng’aba ba waggulu ku balala, tusobola okubaleetera okuwulira obubi. Ate era singa tubayisa mu ngeri ya njawulo, kisobola okubaleetera okufuna amalala. (Bar. 12:3) Tewali n’omu ku ffe yandyagadde kuleetera omu ku baganda ba Kristo kwesittala!—Luk. 17:2.
10. Oyinza otya okukiraga nti owa ekitiibwa Abakristaayo abaafukibwako amafuta?
10 Tuyinza tutya okulaga nti tuwa ekitiibwa abo Yakuwa be yafukako amafuta? Tujja kwewala okubabuuza ebibuuzo ebikwata ku ngeri gye baategeeramu nti baafukibwako amafuta. Mu ngeri eyo, tujja kuba twewala okweyingiza mu nsonga ezitatukwatako. (1 Bas. 4:11; 2 Bas. 3:11) Tetusaanidde kulowooza nti abazadde b’omuntu eyafukibwako amafuta, munnaabwe mu bufumbo, oba ab’eŋŋanda ze abalala nabo bajja kufukibwako amafuta. Eky’okufukibwako amafuta omuntu takisikira busikizi. (1 Bas. 2:12) Ate eyafukibwako amafuta bw’aba nga mufumbo, tusaanidde okwewala okubuuza munne mu bufumbo engeri gy’awuliramu bw’alowooza ku ky’okuba nti tajja kuba naye mu nsi empya. Mu kifo ky’okubuuza ebibuuzo ng’ebyo ebiyinza okuleetera abalala obulumi ku mutima, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa ajja kwanjuluza engalo ze ‘akkuse buli kintu ekiramu bye kyetaaga.’—Zab. 145:16.
11. Bwe twewala okutwala abantu abamu ng’ab’ekitalo, kituganyula kitya?
11 Abo abayisa Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu ngeri esaana beewala emitawaana mingi. Ebyawandiikibwa bigamba nti “ab’oluganda ab’obulimba” basobola okuyingira mu kibiina. (Bag. 2:4, 5; 1 Yok. 2:19) Abantu ng’abo bayinza n’okweyita abaafukibwako amafuta. Ate era abamu ku baafukibwako amafuta basobola okufuuka abatali beesigwa. (Mat. 25:10-12; 2 Peet. 2:20, 21) Bwe twewala okutwala abantu abamu ng’ab’ekitalo, abantu ng’abo tebajja kusobola kutukyamya kuva mu kukkiriza; era tetujja kwesittala singa wabaawo Omukristaayo abadde omwesigwa ennyo eri Yakuwa oba amaze ebbanga eddene ng’aweereza Yakuwa ava mu mazima.—Yud. 16.
TWANDYERALIIKIRIDDE OLW’OMUWENDO GWABWE OGWEYONGERA?
12, 13. Lwaki okuba nti omuwendo gw’abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo gweyongedde tekyanditweraliikirizza?
12 Mu myaka egyakayita, omuwendo gw’abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo gweyongedde. Ekyo si bwe kyali emabega, kuba okumala emyaka mingi omuwendo ogwo gwalinga gukendeera bukendeezi buli mwaka. Naye eky’okuba nti kati omuwendo ogwo gweyongedde kyanditweraliikirizza? Nedda. Ka tulowooze ku nsonga zino.
13 “Yakuwa amanyi ababe.” (2 Tim. 2:19) Abo ababala omuwendo gw’abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo ku mukolo gw’Ekijjukizo tebasobola kutegeera baani ddala abaafukibwako amafuta. Mu abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo mulimu n’abo abalowooza mu bukyamu nti baafukibwako amafuta. Abamu ku abo abaali balya, ekiseera kyatuuka ne balekera awo okulya. Abalala ebizibu eby’amaanyi bye boolekagana nabyo oba obulwadde ku bwongo bibaleetera okulowooza nti baalondebwa okufugira awamu ne Yesu. N’olwekyo, omuwendo gw’abo abalya tegulagira ddala muwendo mutuufu ogw’abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo ku nsi.
14. Kiki Bayibuli ky’eyogera ku muwendo gw’abaafukibwako amafuta abandibaddewo ekibonyoobonyo ekinene we kyanditandikidde?
14 Abaafukibwako amafuta bajja kubeera mu bitundu by’ensi ebitali bimu Yesu w’anajjira okubakuŋŋaanya okubatwala mu ggulu. Ng’eyogera ku ekyo Yesu ky’anaakola mu kiseera ekyo, Bayibuli egamba nti: “Alituma bamalayika be n’eddoboozi eddene ery’ekkondeere, era balikuŋŋaanya abalonde be okuva ku njuyi ennya, okuva ku luuyi olumu olw’eggulu okutuuka ku lulala.” (Mat. 24:31) Ebyawandiikibwa biraga nti mu nnaku ez’enkomerero abaafukibwako amafuta abandibadde bakyali ku nsi bandibadde batono. (Kub. 12:17) Naye Bayibuli teraga baafukibwako mafuta bameka abandibaddewo ekibonyoobonyo ekinene we kyanditandikidde.
15, 16. Kiki kye tusaanidde okumanya ku bantu 144,000 abalondebwa okufugira awamu ne Yesu?
15 Yakuwa y’asalawo ddi lw’alonda abantu abatali bamu ab’okufugira awamu ne Yesu. (Bar. 8:28-30) Yakuwa yatandika okulonda abo abanaafuga ne Yesu oluvannyuma lwa Yesu okufa n’okuzuukira, era kirabika Abakristaayo bonna abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali baafukibwako amafuta. Okuva awo ng’ekyasa ekyasooka kinaatera okuggwaako okutuukira ddala ku ntandikwa y’ennaku ez’enkomerero, abasinga obungi ku abo abaali beeyita abagoberezi ba Kristo baali Bakristaayo ba bulimba, era Yesu yabageraageranya ku ‘muddo.’ Wadde kyali kityo, mu kiseera ekyo kyonna, Yakuwa yeeyongera okubaako abantu abeesigwa b’afukako amafuta era abantu abo Yesu yabageraageranya ku ‘ŋŋaano.’ (Mat. 13:24-30) Ne mu nnaku zino ez’enkomerero, Yakuwa yeeyongedde okubaako abantu b’alonda okuba abamu ku baafukibwako amafuta 144,000.[2] Bwe kiba nti Yakuwa asazeewo okubaako abamu b’alonda ng’enkomerero eneetera okutandika, ffe baani okuwakanya ky’akola? (Is. 45:9; Dan. 4:35; soma Abaruumi 9:11, 16.)[3] Tetusaanidde kuba ng’abakozi abeemulugunya olw’engeri mukama waabwe gye yayisaamu abakozi abajja ku ssaawa esembayo.—Soma Matayo 20:8-15.
16 Si buli omu alina essuubi ery’okugenda mu ggulu nti ali omu ku abo abayitibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45-47) Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, leero Yakuwa ne Yesu baliisa bangi mu by’omwoyo nga bayitira mu bantu batono. Abakristaayo batono nnyo ku abo abaafukibwako amafuta abaaliwo mu kyasa ekyasooka abaakozesebwa mu kuwandiika Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani. Mu ngeri y’emu, ne leero abaafukibwako amafuta batono abalondeddwa okuwa ab’omu nju “emmere yaabwe mu kiseera ekituufu.”
17. Biki by’oyize mu kitundu kino?
17 Biki bye tulabye mu kitundu kino? Yakuwa yasalawo okuwa abantu be abasinga obungi obulamu obutaggwaawo ku nsi ate abalala abatonotono n’asalawo okubalonda okufugira awamu ne Yesu mu ggulu. Naye bonna abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu n’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna Yakuwa abeetaagisa okugoberera emitindo gye gimu egy’obutuukirivu. Bonna balina okubeera abeetoowaze, okubeera obumu, era balina okukuuma emirembe mu kibiina. Ng’enkomerero egenda esembera, ka ffenna tweyongere okuweerereza awamu ng’ekisibo kimu wansi wa Kristo.
^ [1] (akatundu 3) Okusinziira ku bigambo ebiri mu Zabbuli 87:5, 6 kirabika mu nsi empya abantu ku nsi bajja kutegeezebwa amannya gaabo bonna abanaaba bangenze mu ggulu okufugira awamu ne Yesu.—Bar. 8:19.
^ [2] (akatundu 15) Wadde ng’Ebikolwa by’Abatume 2:33 walaga nti Yesu yeenyigira mu kufukako omuntu amafuta, Yakuwa y’alonda omuntu oyo.
^ [3] (akatundu 15) Okumanya ebisingawo, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Maayi 1, 2007, lup. 30-31.