“Omuddu” Omwesigwa era nga wa Magezi
“Aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow’amagezi, mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye?”—MATAYO 24:45.
1, 2. Lwaki kikulu nnyo ffe okufuna emmere ey’eby’omwoyo obutayosa?
KU Lwokubiri olweggulo, nga Nisani 11, 33 C.E., Yesu yabuuzibwa abayigirizwa ekibuuzo eky’amakulu ennyo gye tuli leero. Baamubuuza: ‘Akabonero ak’okubeerawo kwo n’ak’amafundikira g’embeera zino ez’ebintu kaliba katya?’ Mu kubaddamu, Yesu yawa obunnabbi obukulu ennyo. Yayogera ku kiseera eky’akazigizigi ekyandibaddemu entalo, enjala, musisi n’endwadde. Ebyo byonna byandibadde “lubereberye lw’okulumwa.” Embeera yandyeyongedde okwonooneka. Ekyo nga kyali kitiisa nnyo!—Matayo 24:3, 7, 8, 15-22; Lukka 21:10, 11.
2 Okuva mu 1914, ebisinga obungi ku ebyo ebiri mu bunnabbi bwa Yesu bituukiridde. Abantu boolekaganye ‘n’okulumwa’ okw’amaanyi ennyo. Wadde kiri kityo, Abakristaayo ab’amazima tebalina kutya. Yesu yabasuubiza nti yandibanywezezza ng’abawa emmere ennungi ey’eby’omwoyo. Okuva Yesu bw’ali mu ggulu, nteekateeka ki gy’atukoledde wano ku nsi tusobole okufuna emmere eyo ey’eby’omwoyo?
3. Nteekateeka ki Yesu z’atukoledde tusobole okufuna ‘emmere mu kiseera ekituufu’?
3 Yesu kennyini yaddamu ekibuuzo ekyo. Bwe yali ng’akyawa obunnabbi obwo obukulu ennyo, yabuuza: “Aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow’amagezi, mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye okubawanga emmere yaabwe mu kiseera [ekituufu]?” Awo n’alyoka agamba: “Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw’alisanga ng’azze ng’akola bw’atyo. Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.” (Matayo 24:45-47) Mazima ddala, wandibaddewo “omuddu” eyaweebwa omulimu gw’okugaba emmere ey’eby’omwoyo, “omuddu” eyandibadde omwesigwa era nga wa magezi. Omuddu oyo yali muntu omu bw’ati, abantu bangi nga buli omu agenda adda mu bigere bya munne, oba Yesu yali ategeeza kintu kirala? Okuva omuddu omwesigwa bw’agaba emmere ey’eby’omwoyo eyeetaagibwa ennyo, kijja kuba kya muganyulo nnyo gye tuli okufuna eky’okuddamu.
Muntu Omu oba Kibiina ky’Abantu?
4. Tumanya tutya nti ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ tayinza kubeera muntu omu yekka?
4 ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ tayinza kubeera muntu omu yekka. Lwaki? Kubanga omuddu oyo yatandika okugaba emmere ey’eby’omwoyo mu kyasa ekyasooka, era okusinziira ku Yesu, omuddu oyo yandibadde akyakola omulimu ogwo okutuukira ddala ku kujja kwa Mukama we mu 1914. Ekyo kyandibadde kitegeeza nti omuntu omu yandiweerezza okumala emyaka nga 1,900. Kyokka, ne Mesuseera teyawangaala kutuuka awo!—Olubereberye 5:27.
5. Nnyonnyola ensonga lwaki ebigambo ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ tebikwata ku buli Mukristaayo.
5 Kati olwo, ebigambo ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ biyinza okuba nga bikwata ku buli Mukristaayo kinnoomu? Kyo kituufu nti Abakristaayo bonna balina okubeera abeesigwa era ab’amagezi; kyokka, Yesu yali ategeeza ekisingawo ku ekyo bwe yayogera ku ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga yagamba nti ‘mukama we ng’azze’ yandisigidde omuddu oyo “ebintu bye byonna.” Buli Mukristaayo yandisigiddwa atya ebintu “byonna” ebya Mukama waffe? Ekyo tekyandisobose!
6. Eggwanga lya Isiraeri lyali lya kuweereza litya nga “omuddu” wa Katonda oba “omuweereza” we?
6 N’olwekyo, kyandibadde kya magezi okugamba nti Yesu yali ayogera ku kibiina ky’Abakristaayo nga ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Ddala wasobola okubeerawo ekibiina ekyo eky’omuddu? Yee. Emyaka 700 nga Kristo tannaba kujja ku nsi, Yakuwa yayogera ku ggwanga lya Isiraeri lyonna nga ‘abajulirwa bange’ era ‘n’omuweereza’ wange gwe nnalonda. (Isaaya 43:10) Okuva mu mwaka 1513 B.C.E., Amateeka ga Musa lwe gaaweebwa eggwanga lya Isiraeri, okutuukira ddala ku Pentekoote 33 C.E., buli muntu yenna mu ggwanga eryo yali mu kibiina kino eky’omuweereza. Abaisiraeri abasinga obungi tebaalina kifo kya buvunaanyizibwa ku bikwata ku kuddukanya ensonga z’eggwanga eryo oba okwenyigira mu nteekateeka ey’okuliriisa mu by’omwoyo. Yakuwa yakozesanga bakabaka, abalamuzi, bannabbi, bakabona n’Abaleevi okukola emirimu egyo. Wadde kyali kityo, Isiraeri ng’eggwanga yali erina okukiikirira obufuzi bwa Yakuwa era n’okumutendereza mu mawanga amalala. Buli Muisiraeri yali wa kubeera mujulirwa wa Yakuwa.—Ekyamateeka 26:19; Isaaya 43:21; Malaki 2:7; Abaruumi 3:1, 2.
“Omuweereza” Agobebwa
7. Lwaki eggwanga lya Isiraeri lyatuuka ekiseera ne liba nga terikyasaana kubeera ‘muweereza’ wa Katonda?
7 Okuva Isiraeri bwe yali “omuweereza” wa Katonda ebyasa bingi emabega, olwo kino kitegeeza nti ye yali omuddu Yesu gwe yayogerako? Nedda, kubanga eky’ennaku ennyo Isiraeri ey’edda teyakuuma bwesigwa wadde okubeera ey’amagezi. Pawulo awumbawumbako embeera bwe yali ng’ajuliza ebigambo Yakuwa bye yayogera eri eggwanga eryo: “Erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b’amawanga ku lwammwe.” (Abaruumi 2:24) Mazima ddala, Isiraeri yatuuka ku ntikko y’obujeemu bwayo ng’egaana Yesu, era mu kiseera ekyo kyennyini, Yakuwa naye n’agyesamba.—Matayo 21:42, 43.
8. Ddi “omuweereza” omulala lwe yalondebwa okudda mu kifo kya Isiraeri, era mu ngeri ki?
8 Okuba nti eggwanga lya Isiraeri eryali likola nga “omuweereza” teryali lyesigwa, tekyategeeza nti abasinza abeesigwa tebandizzeemu kufuna mmere ya bya mwoyo. Ku Pentekoote 33 C.E., nga wayiseewo ennaku 50 oluvannyuma lwa Yesu okuzuukira, omwoyo omutukuvu gwafukibwa ku bayigirizwa nga 120 abaali mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi. Mu kiseera ekyo, eggwanga eriggya lyazaalibwa. Nga kituukirawo bulungi, okuzaalibwa kwalyo kwamanyika, abalirimu bwe baatandika okutegeeza abantu b’omu Yerusaalemi ebikwata ku ‘bintu eby’ekitalo ebya Katonda.’ (Ebikolwa 2:11) N’olwekyo, eggwanga eryo eriggya, ery’eby’omwoyo, lyafuuka “omuweereza” eyandirangiridde ekitiibwa kya Yakuwa mu mawanga era n’okugaba emmere mu kiseera ekituufu. (1 Peetero 2:9) Bwe kityo, lyatandika okuyitibwa “Isiraeri wa Katonda.”—Abaggalatiya 6:16.
9. (a) Baani abali mu kibiina kya ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’? (b) “Ab’omu nju” be baani?
9 Buli omu ku abo abali mu “Isiraeri wa Katonda” Mukristaayo eyeewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa, n’afukibwako omwoyo omutukuvu era ng’alina essuubi ery’okugenda mu ggulu. N’olwekyo, ebigambo ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ biba bikwata ku abo bonna abali mu ggwanga eryo ery’eby’omwoyo eryafukibwako amafuta, ababaddewo ku nsi mu bbanga eryo wakati w’omwaka 33 C.E. na guno gwaka, era nga buli Muisiraeri eyaliwo wakati w’omwaka 1513 B.C.E. ne Pentekoote 33 C.E. bwe yali mu kibiina ky’omuweereza eyaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo. Kati olwo “ab’omu nju” abafuna emmere ennungi ey’eby’omwoyo okuva eri omuddu be baani? Mu kyasa ekyasooka, buli Mukristaayo yalina essuubi ery’okugenda mu ggulu. N’olwekyo, ab’omu nju nabo baali Bakristaayo abaafukibwako amafuta, nga buli omu atunuuliddwa ng’omuntu kinnoomu so si ng’ekibiina. Bonna, nga mw’otwalidde n’abo abaalina ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu kibiina, baali beetaaga okufuna emmere ey’eby’omwoyo okuva eri omuddu.—1 Abakkolinso 12:12, 19-27; Abaebbulaniya 5:11-13; 2 Peetero 3:15, 16.
‘Buli Muntu Alina Omulimu Gwe’
10, 11. Tumanya tutya nti bonna abali mu kibiina ky’omuddu tebaaweebwa mulimu gwe gumu?
10 Wadde nga “Isiraeri wa Katonda” kye kibiina ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ eyaweebwa omulimu ogw’okukola, buli omu ku bali mu kibiina kino alina obuvunaanyizibwa obwamukwasibwa. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Makko 13:34 byoleka bulungi ensonga eno. Yagamba: ‘Kifaananako omuntu eyaleka ennyumba ye n’atambula mu nsi endala ng’awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe, n’alagira omuggazi okutunula.’ N’olwekyo, buli omu ku abo abali mu kibiina ky’omuddu yaweebwa omulimu, kwe kugamba, kwongera ku bungi bw’ebintu bya Kristo eby’oku nsi. Buli omu ku bo akola omulimu ogwo okusinziira ku busobozi bwe n’enkizo z’afuna.—Matayo 25:14, 15.
11 Okugatta ku ekyo, omutume Peetero yategeeza Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu kiseera kye: “Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, mukikozese buli omu okuweereza munne, ng’abawanika abalungi ab’ekisa ekitaatugwanira Katonda ky’atulaze mu ngeri ezitali zimu.” (1 Peetero 4:10, NW) N’olwekyo, abo abaafukibwako amafuta balina obuvunaanyizibwa obw’okuweereza bannaabwe nga bakozesa ebirabo Katonda bye yabawa. Ate era, ebigambo bya Peetero biraga nti Abakristaayo bonna tebandibadde na busobozi bwe bumu, buvunaanyizibwa bwe bumu, oba enkizo ze zimu. Kyokka, mu ngeri emu oba endala, buli omu ku abo abali mu kibiina ky’omuddu yandibaddeko ne ky’akola ekiyamba eggwanga lino ery’eby’omwoyo okukulaakulana. Mu ngeri ki?
12. Buli omu ku abo abaali mu kibiina ky’omuddu, k’abe musajja oba mukazi, yakola ki ku kukulaakulana kw’omuddu?
12 Okusooka, buli omu ku bo yalina okubeera omujulirwa wa Yakuwa, ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Isaaya 43:10-12; Matayo 24:14) Ng’ebulayo akaseera katono agende mu ggulu, Yesu yalagira abayigirizwa be abeesigwa bonna, abasajja n’abakazi, okubeera abayigiriza. Yagamba: ‘Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’Omwoyo Omutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.’—Matayo 28:19, 20.
13. Nkizo ki abaafukibwako amafuta bonna gye baalina?
13 Nga bafuula abantu abayigirizwa, baalina okubayigiriza okukwata byonna Kristo bye yalagira abayigirizwa be. Oluvannyuma lw’ekiseera, abantu abo abaali bayigiriziddwa baafuna ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala. Abo abaali ab’okwegatta ku kibiina ky’omuddu nga bava mu mawanga mangi, baafunanga emmere ennungi ey’eby’omwoyo. Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna, abasajja n’abakazi beenyigira mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. (Ebikolwa 2:17, 18) Omulimu guno gwali gwa kweyongera mu maaso okuviira ddala mu kiseera omuddu we yatandikira omulimu gwe okutuukira ddala ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno.
14. Baani bokka abaali baweereddwa omulimu gw’okuyigiriza mu kibiina, era abakazi abeesigwa abaafukibwako amafuta baakitwala batya?
14 K’abe ani eyali abayigiriza, abo abaafukibwako amafuta abaali baakabatizibwa, beeyunga ku muddu oyo, era ne beeyongera okuyigirizibwa abakadde mu kibiina abaali batuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa. (1 Timoseewo 3:1-7; Tito 1:6-9) Mu ngeri eyo, abasajja abo ab’obuvunaanyizibwa, baalina enkizo ey’okuyamba eggwanga eryo okukulaakulana. Abakazi Abakristaayo abeesigwa abaali bafukiddwako amafuta tekyabayisa bubi okuba nti omulimu gw’okuyigiriza mu kibiina gwali guwereddwa basajja Bakristaayo bokka. (1 Abakkolinso 14:34, 35) Okwawukana ku ekyo, baali basanyufu okuganyulwa mu mulimu ogw’amaanyi ogwali gukolebwa abasajja mu kibiina era nga basiima enkizo bo kennyini ze baalina, nga mw’otwalidde ey’okubuulira abalala amawulire amalungi. Bannyinnaffe abaafukibwako amafuta abanyiikivu leero nabo booleka omwoyo gwe gumu, ka kibe nti abakadde abalina obuvunaanyizibwa mu bibiina bye balimu baafukibwako amafuta oba nedda.
15. Ogumu ku mikutu emikulu ennyo omwayitiranga emmere ey’eby’omwoyo mu kyasa ekyasooka gwe guluwa, era baani abaagigabanga?
15 Mu kyasa ekyasooka, emmere ey’eby’omwoyo yagabibwanga okuyitira mu bbaluwa ezaawandiikibwanga abatume n’abayigirizwa abalala abaali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa. Ebbaluwa ze baawandiika—naddala ezo ezimu ku bitabo 27 eby’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo—zaasaasaanyizibwa mu bibiina ebyenjawulo era awatali kubuusabuusa, abakadde baazikozesanga mu kuyigiriza kwabwe. Mu ngeri eyo, ababaka b’omuddu baagabiranga Abakristaayo abeesigwa bonna emmere ennungi ey’eby’omwoyo. Ekibiina ky’omuddu eky’omu kyasa ekyasooka kyatuukiriza bulungi nnyo omulimu gwakyo.
“Omuddu” nga Wayiseewo Ebyasa 19
16, 17. Ekibiina ky’omuddu kyatuukiriza kitya omulimu ogwakiweebwa ng’omwaka 1914 gunaatera okutuuka?
16 Kiri kitya leero? Okubeerawo kwa Yesu bwe kwatandika mu 1914, yasanga ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta nga kigaba emmere mu kiseera ekituufu? Yee, yakisanga. Ekibiina ekyo kyali kisobola okumanyika okusinziira ku bibala byakyo ebirungi. (Matayo 7:20) Okuva olwo, ebyafaayo bikakasizza nti ddala ekyo ky’ekibiina kyennyini ekituufu.
17 Mu kiseera Yesu kye yatuukirako, ab’omu nnyumba ye nga 5,000 baali beenyigidde mu mulimu gw’okubunyisa amazima ga Baibuli. Abakozi baali batono, naye omuddu yeeyambisa engeri eziwerako okusobola okubunyisa amawulire amalungi. (Matayo 9:38) Ng’ekyokulabirako, enteekateeka zaakolebwa emboozi ezikwata ku Baibuli ne zikubibwa mu mpapula z’amawulire ezaawerera ddala nga 2,000. Mu ngeri eyo, amazima g’Ekigambo kya Katonda gaatuuka ku basomi nkumi na nkumi mu kiseera kye kimu. Okugatta ku ekyo, programu ey’essaawa omunaana ng’erimu okulaga ebifaananyi eby’oku ntimbe ebiri mu langi ez’enjawulo, yakolebwa. Olwa programu eyo eyali ennungi ennyo, obubaka obuli mu Baibuli okuviira ddala ku ntandikwa y’Okutonda okutuukira ddala ku nkomerero y’Emyaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo, bwatuusibwa ku bantu abasukka mu bukadde mwenda ku ssemazinga ssatu. Ebitabo ye ngeri endala eyakozesebwa. Ng’ekyokulabirako, mu 1914, kopi za magazini eno eziwerera ddala 50,000 zaakubibwa.
18. Ddi Yesu lwe yasigira omuddu we ebintu bye byonna, era lwaki?
18 Yee, Mukama we bwe yatuuka, yasanga omuddu aliisa ab’omu nnyumba ye era ng’abuulira n’amawulire amalungi. Omuddu oyo yali agenda okuweebwa obuvunaanyizibwa obusingawo. Yesu yagamba: “Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.” (Matayo 24:47) Ekyo Yesu yakikola mu 1919, ng’omuddu oyo amaze okuyita mu kiseera eky’okugezesebwa. Naye lwaki ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ yafuna obuvunaanyizibwa obusingawo? Kubanga ebintu bya Mukama we byali byeyongedde obungi. Yesu yaweebwa obwakabaka mu 1914.
19. Nnyonnyola engeri ebyetaago eby’eby’omwoyo ebya ‘ab’ekibiina ekinene’ gye bikoleddwako.
19 Bintu ki omuddu omwesigwa bye yasigirwa Mukama we eyali yaakatikkirwa engule ey’obwakabaka? Ebintu bye byonna eby’omwoyo ebiri wano ku nsi. Ng’ekyokulabirako, nga wayiseewo emyaka abiri nga Kristo amaze okutuuzibwa ku nnamulondo mu 1914, “ekibiina ekinene” ekya ‘ab’endiga endala’ kyalabika. (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) Abo tebaali mu “Isiraeri wa Katonda” ey’abaafukibwako amafuta, naye baali abasajja n’abakazi abeesimbu abaalina essuubi ery’okubeera ku nsi, abaali baagala Yakuwa era nga baagala okumuweereza okufaananako n’abaafukibwako amafuta. Baali ng’abaagamba ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ nti: “Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.” (Zekkaliya 8:23) Abakristaayo abo abaali baakabatizibwa nabo baalya ku mmere y’emu ey’eby’omwoyo abaafukibwako amafuta gye baali balyako, era okuva olwo, ebibiina bino byombi bibadde biriira wamu emmere ey’eby’omwoyo. Eyo ng’ebadde nkizo ya maanyi nnyo eri ‘ab’ekibiina ekinene’!
20. ‘Ekibiina ekinene’ kikoze ki mu kwongera ku bungi bw’ebintu bya Mukama waffe?
20 ‘Ab’ekibiina ekinene’ baasanyuka nnyo okwegatta ku kibiina ky’abaafukibwako amafuta ng’ababuulizi b’amawulire amalungi. Nga babuulira amawulire gano, ebintu bya Mukama waffe eby’oku nsi byeyongera obungi, era n’obuvunaanyizibwa ‘bw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ bweyongerako. Omuwendo gw’abantu abaagala amazima bwe gweyongera obungi, ebifo ebikozesebwa okukuba ebitabo byali birina okugaziyizibwa okusobola okukuba ebitabo ebimala ebyesigamiziddwa ku Baibuli. Ofiisi z’amatabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa zaggulibwawo mu nsi nnyingi. Abaminsani baaweerezebwa ‘okutuukira ddala ku nkomerero y’ensi.’ (Ebikolwa 1:8) Okuva ku baafukibwako amafuta abaali bawera nga 5,000 mu 1914, kati omuwendo gw’abantu abatendereza Yakuwa gweyongedde ne baba nga basukka mu bukadde nga mukaaga, ng’abasinga obungi ku bo, ba ‘kibiina ekinene.’ Mazima ddala, ebintu bya Kabaka byeyongedde obungi okuva lwe yatuuzibwa ku ntebe mu 1914!
21. Ngero ki ebbiri ezijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
21 Ebyo byonna biraga nti omuddu abadde ‘mwesigwa era wa magezi.’ Amangu ddala nga yaakamala okwogera ku ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ Yesu yagera engero bbiri ezaalaga obulungi engeri ezo omuddu z’ayolesezza: olugero lw’abawala ab’amagezi n’abasirusiru n’olugero lwa ttalanta. (Matayo 25:1-30) Ekyo kituleetera okwagala okumanya ebisingawo! Engero ezo zirina makulu ki gye tuli leero? Ekibuuzo kino kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
Wandizzeemu Otya?
• ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ y’ani?
• ‘Ab’omu nju ye’ be baani?
• Ddi omuddu omwesigwa lwe yasigirwa ebintu bya Mukama we byonna, era lwaki kyaliwo mu kiseera ekyo?
• Baani abongedde ku bungi bw’ebintu bya Mukama waffe mu makumi g’emyaka egyakayita, era mu ngeri ki?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Ekibiina ky’omuddu eky’omu kyasa ekyasooka kyatuukiriza omulimu gwakyo