1 Abakkolinso
12 Kaakano ab’oluganda, njagala mumanye bulungi ebikwata ku birabo eby’omwoyo.+ 2 Mumanyi nti bwe mwali ab’amawanga mwatwalirizibwanga mu ngeri ezitali zimu ne musinza ebifaananyi ebitayogera.+ 3 N’olwekyo njagala mumanye nti tewali n’omu abaako omwoyo gwa Katonda agamba nti: “Yesu mukolimire!” era tewali n’omu ayinza kwogera nti: “Yesu ye Mukama!” okuggyako ng’alina omwoyo omutukuvu.+
4 Waliwo ebirabo ebitali bimu, naye waliwo omwoyo gumu;+ 5 waliwo obuweereza bwa ngeri nnyingi,+ naye Mukama waffe y’omu; 6 era waliwo enkola ez’enjawulo, naye Katonda y’omu akolera mu buli omu mu ngeri ez’enjawulo.+ 7 Naye omwoyo gweyoleka mu buli omu olw’okuganyula abalala.+ 8 Okuyitira mu mwoyo, omu aweebwa ekirabo eky’okwogera ebigambo ebyoleka amagezi, era okuyitira mu mwoyo ogwo gwe gumu, omulala aweebwa ekirabo eky’okwogera ebigambo ebyoleka okumanya, 9 omulala aweebwa kukkiriza,+ omulala ekirabo eky’okuwonya,+ 10 ate omulala kukola byamagero,+ omulala kwogera bunnabbi, omulala kutegeera ebigambo ebyaluŋŋamizibwa,+ omulala kwogera nnimi ez’enjawulo,+ ate omulala kuvvuunula nnimi.+ 11 Naye omwoyo gwe gumu gwe gukola bino byonna, nga gugabira buli omu nga bwe gwagala.
12 Ng’omubiri bwe guli ogumu naye nga gulina ebitundu bingi, era n’ebitundu by’omubiri ogwo byonna wadde nga bingi, biri omubiri gumu,+ ne Kristo bw’atyo bw’ali. 13 Kubanga, okuyitira mu mwoyo gumu ffenna twabatizibwa mu mubiri gumu, ka babe Bayudaaya oba Bayonaani, baddu oba ba ddembe, era ffenna twafuna omwoyo gwe gumu.
14 Kubanga omubiri teguba na kitundu kimu, wabula bingi.+ 15 Singa ekigere kigamba nti: “Olw’okuba siri mukono siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. 16 Era singa okutu kugamba nti, “Olw’okuba siri liiso, siri kitundu kya mubiri,” ekyo tekikufuula butaba kitundu kya mubiri. 17 Singa omubiri gwonna gwali liiso, okuwulira kwandibadde wa? Singa gwonna gwali kutu, okuwunyiriza kwandibadde wa? 18 Naye Katonda yateeka buli kitundu ku mubiri nga bwe yayagala.
19 Singa byonna byali ekitundu kimu, omubiri gwandibadde wa? 20 Naye kaakano biri ebitundu bingi naye omubiri guli gumu. 21 Eriiso teriyinza kugamba mukono nti, “Sikwetaaga,” oba, omutwe teguyinza kugamba bigere nti, “Sibeetaaga.” 22 Naye ebitundu by’omubiri ebirabika ng’ebinafu bya mugaso, 23 era ebitundu by’omubiri bye tulowooza nti si bya kitiibwa nnyo bye tusinga okuwa ekitiibwa,+ bwe kityo ebitundu byaffe ebirabika ng’ebitali bya kitiibwa nnyo bye bisinga okuba eby’ekitiibwa, 24 so ng’ebitundu byaffe ebirabika obulungi tebyetaaga kintu kyonna. Bw’atyo Katonda bwe yakola ebitundu by’omubiri, ekitundu ekitali kya kitiibwa nnyo n’akiwa ekitiibwa ekisingako, 25 waleme kubaawo njawukana mu mubiri, naye buli kitundu kifeeyo ku kinnaakyo.+ 26 Era singa ekitundu ekimu kibonaabona, byonna bibonaabonera wamu nakyo;+ oba singa ekitundu ekimu kigulumizibwa, ebitundu ebirala byonna bisanyukira wamu nakyo.+
27 Kaakano mmwe muli mubiri gwa Kristo,+ era buli omu ku mmwe kitundu kya mubiri ogwo.+ 28 Era Katonda ataddewo abantu ab’enjawulo mu kibiina: okusooka abatume,+ ne kuddako bannabbi,+ ne kuddako abayigiriza,+ ne kuddako abakola ebyamagero,+ ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya,+ abayamba abantu, abalina obusobozi bw’okukulembera,+ n’aboogera ennimi ez’enjawulo.+ 29 Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero? 30 Bonna balina ekirabo eky’okuwonya? Bonna boogera mu nnimi?+ Bonna bavvuunuzi?+ 31 Mufubenga okunoonya ebirabo ebisingako.+ Naye nze nja kubalaga ekkubo erisinga gonna.+