‘Omuddu Omwesigwa’ Asiimibwa mu Kiseera eky’Okukeberebwa!
‘Obudde butuuse okusala omusango kutandikire mu nnyumba ya Katonda.’—1 PEETERO 4:17.
1. Kiki Yesu kye yazuula bwe yakebera omulimu ‘gw’omuddu’?
KU Pentekoote mu mwaka 33 C.E., Yesu yalonda “omuddu” okugabiranga “ab’omu nju ye” emmere mu kiseera ekituufu. Mu 1914, Yesu yafuulibwa Kabaka, era oluvannyumako ekiseera ne kituuka okutandika okukebera omulimu ‘gw’omuddu’ oyo. Okutwalira awamu, yasanga omuddu oyo nga ‘mwesigwa era nga wa magezi.’ N’olwekyo, yamusigira “ebintu bye byonna.” (Matayo 24:45-47) Kyokka era, waaliwo n’omuddu omubi, ataali mwesigwa era nga si wa magezi.
“Omuddu Oyo Omubi”
2, 3. “Omuddu oyo omubi” yava wa, era yajja atya okubaawo?
2 Yesu yayogera ku muddu omubi amangu ddala nga yaakamala okwogera ku ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Yagamba: “Omuddu oyo omubi bw’aligamba mu mutima gwe nti Mukama wange aludde; era bw’alisooka okukuba baddu banne, n’okulya n’okunywera awamu n’abatamiivu; mukama w’omuddu oyo alijjira ku lunaku lw’atalindiriramu, ne mu kiseera ky’atamanyi, alimutemamu ebitundu bibiri, [“alimubonereza nnyo,” NW] alimuwa omugabo gwe wamu ne bannanfuusi: mwe muliba okukaaba n’okuluma obujiji.” (Matayo 24:48-51) Ebigambo “omuddu oyo omubi” bituleetera okulowooza ku bigambo Yesu bye yasooka okwogera ebikwata ku muddu omwesigwa era ow’amagezi. Mazima ddala, abali mu kibiina ‘ky’omuddu omubi’ baasibuka mu abo abali mu kibiina ky’omuddu omwesigwa.a Mu ngeri ki?
3 Ng’omwaka 1914 tegunnatuuka, bangi ku abo abaali mu kibiina ky’omuddu omwesigwa baali beesunga nnyo okusisinkana Anaawasa omugole mu ggulu mu mwaka ogwo gwennyini, naye kye baali basuubira tekyatuukirira. Ekyavaamu, bangi baggwaamu amaanyi ate abalala ne banyiiga nnyo. Abamu ku bo baatandika ‘okukuba’ abaali baganda baabwe, kwe kugamba, nga bakozesa ebigambo era baakolagana ‘n’abatamiivu,’ kwe kugamba, amadiini ga Kristendomu.—Isaaya 28:1-3; 32:6.
4. Kiki Yesu kye yakola ‘omuddu omubi’ n’abo bonna abalaze omwoyo ng’ogw’omuddu oyo?
4 Abo abaali Abakristaayo baafuuka ‘omuddu omubi,’ era Yesu ‘yababonereza nnyo.’ Mu ngeri ki? Yabeesamba era ne bafiirwa essuubi lyabwe ery’okugenda mu ggulu. Kyokka, tebaazikirizibwawo mangu ago. Okusooka baali ba kukaaba n’okuluma obujiji okumala akabanga nga bali mu ‘kizikiza ebweru’ w’ekibiina Ekikristaayo. (Matayo 8:12) Okuva mu kiseera ekyo, abaafukibwako amafuta abalala abatonotono balaze omwoyo gwe gumu omubi, era nabo ne beeraga okuba nti bali kibiina ‘ky’omuddu omubi.’ Abamu ku ‘b’endiga endala’ nabo bakoppye obutali bwesigwa bwabwe. (Yokaana 10:16) Abalabe ba Kristo ng’abo bonna bali mu ‘kizikiza’ kye kimu eky’eby’omwoyo ebweru.
5. Omuddu omwesigwa era ow’amagezi yeeyisa atya obutafaananako ‘omuddu omubi’?
5 Wadde kiri kityo, omuddu omwesigwa era ow’amagezi yayita mu bigezo bye bimu ‘ng’omuddu oyo omubi.’ Kyokka, mu kifo ky’okunyiiga, yatereeza endowooza ye. (2 Abakkolinso 13:11, NW) Okwagala kwe yalina eri Yakuwa n’eri baganda be, kwanywezebwa. N’ekivuddemu, afuuse “mpagi n’omusingi eby’amazima” mu biseera bino ‘eby’oluvannyuma’ ebizibu.—1 Timoseewo 3:15; 2 Timoseewo 3:1.
Abawala ab’Amagezi n’Abasirusiru
6. (a) Lugero ki Yesu lwe yagera okulaga amagezi g’ekibiina ky’omuddu omwesigwa? (b) Ng’omwaka 1914 tegunnatuuka, bubaka ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe baalangirira?
6 Oluvannyuma lw’okwogera ku “muddu oyo omubi,” Yesu yagera engero bbiri okulaga ensonga lwaki Abakristaayo abamu abaafukibwako amafuta bandibadde beesigwa era nga ba magezi ate abalala ne batabeera bwe batyo.b Ng’ayogera ku ky’okuba n’amagezi, yagamba: “Obwakabaka obw’omu ggulu bulifaananyizibwa abawala ekkumi, abaatwala ettabaaza zaabwe, ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. Naye bannaabwe abataano baali basirusiru, n’abataano be baalina amagezi. Kubanga abasirusiru, bwe baatwala ettabaaza zaabwe, ne bateetwalira mafuta: naye abalina amagezi ne batwala amafuta mu macupa gaabwe wamu n’ettabaaza zaabwe.” (Matayo 25:1-4) Abawala ekkumi batujjukiza Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaaliwo ng’omwaka 1914 tegunnatuuka. Baali babaliridde nti ekiseera Yesu Kristo anaawasa omugole kye yandirabikiddemu kyali kinaatera okutuuka. Bwe kityo, baagenda ‘okumusisinkana’ nga babuulira n’obuvumu nti “ebiro eby’ab’amawanga” byali bigenda kukoma mu 1914.—Lukka 21:24.
7. Ddi Abakristaayo abaafukibwako amafuta lwe “beebaka” mu ngeri ey’eby’omwoyo era lwaki?
7 Baali batuufu. Ebiro by’ab’amawanga byakoma mu 1914, era Obwakabaka bwa Katonda ne butandika okufuga nga bukulemberwa Yesu Kristo. Naye ekyo kyali mu ggulu. Wano ku nsi, abantu baatandika ‘okubonaabona ennyo’ nga bwe kyali kirangiriddwa. (Okubikkulirwa 12:10, 12) Ekiseera eky’okugezesebwa kyatandika. Olw’okuba baali tebategeera bulungi ekyali kigenda mu maaso, Abakristaayo abaafukibwako amafuta baalowooza nti ‘anaawasa omugole yali aluddewo okutuuka.’ Nga batabuddwa era nga boolekaganye n’okuziyizibwa okw’amaanyi okuva eri ensi, baggwaamu amaanyi era kyenkana baalekera awo okukola omulimu gw’okubuulira. Okufaananako abawala aboogerwako mu lugero, mu ngeri ey’eby’omwoyo ‘baabongoota ne beebaka,’ era ng’Abakristaayo abataali beesigwa bwe baakola oluvannyuma lw’okufa kw’abatume ba Yesu.—Matayo 25:5; Okubikkulirwa 11:7, 8; 12:17.
8. Kiki ekyaviirako okugamba nti: “Anaawasa omugole ajja,” era ekiseera kyali kituuse Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakole ki?
8 Kati ate mu 1919 ekintu ekyali kitasuubirwa kyabaawo. Tusoma bwe tuti: “Ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti Laba, anaawasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana. Abawala bali bonna ne balyoka bagolokoka, ne balongoosa ettabaaza zaabwe.” (Matayo 25:6, 7) Mu kiseera ekyo we kyalabikira ng’awatakyali ssuubi lyonna, baakubirizibwa okuddamu okukola omulimu gwabwe! Mu 1918, Yesu “omubaka w’endagaano,” yajja mu yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo okukebera n’okulongoosa ekibiina kya Katonda. (Malaki 3:1) Mu kiseera ekyo, kyali kyetaagisa Abakristaayo abaafukibwako amafuta okufuluma okumusisinkana mu luggya lwa yeekaalu eyo olw’oku nsi. Ekiseera kyali kituuse ‘baakaayakane ng’ettabaaza.’—Isaaya 60:1; Abafiripi 2:14, 15.
9, 10. Mu 1919, lwaki Abakristaayo abamu baali “ba magezi” ate abalala “basirusiru”?
9 Mu lugero, abamu ku bawala baalina ekizibu. Yesu yagamba bw’ati: “Abasirusiru ne bagamba abalina amagezi nti Mutuwe ku mafuta gammwe; kubanga ettabaaza zaffe ziggweerera.” (Matayo 25:8) Ettabaaza tezandisobodde kwaka nga teziriimu mafuta. N’olwekyo, amafuta g’ettabaaza gatujjukiza Ekigambo kya Katonda eky’amazima n’omwoyo gwe omutukuvu, ebiwa amaanyi abasinza ab’amazima ne basobola okutambuza ekitangaala. (Zabbuli 119:130; Danyeri 5:14) Ng’omwaka 1919 tegunnatuuka, Abakristaayo ab’amagezi abaafukibwako amafuta baali bafubye nnyo okumanya Katonda ky’ayagala bakole, wadde nga baali banafuyeemu okumala akaseera. N’olwekyo, bwe baakubirizibwa okubunyisa ekitangaala, baali beetegefu okukikola.—2 Timoseewo 4:2; Abaebbulaniya 10:24, 25.
10 Kyokka, abamu ku baafukibwako amafuta tebaali beetegefu kwerekereza oba okukola ennyo wadde nga baali baagala nnyo okubeera n’Anaawasa omugole. N’olwekyo, ekiseera bwe kyatuuka okwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi, tebaali beetegefu. (Matayo 24:14) Baagezaako n’okumalamu amaanyi bannaabwe abaali abanyiikivu, nga babasaba babawe ku mafuta gaabwe. Mu lugero lwa Yesu, abawala ab’amagezi baayanukula batya? Baagamba: “Wozzi tegaatumale fenna nammwe: waakiri mugende eri abatunda, mwegulire.” (Matayo 25:9) Mu ngeri y’emu, Abakristaayo abeesigwa abaafukibwako amafuta abaaliwo mu 1919 baagaana okukola ekintu kyonna ekyandibadde kibalemesa okutambuza obulungi ekitangaala kyabwe. Bwe kityo baasiimibwa mu kiseera eky’okukeberebwa.
11. Kiki ekyatuuka ku bawala abasirusiru?
11 Yesu akomekkereza ng’agamba: “[Abawala abasirusiru] bwe baali bagenda okugula, anaawasa omugole n’ajja: n’abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey’obugole: oluggi ne luggalwawo. Oluvannyuma abawala bali abalala nabo ne bajja, ne bagamba nti Mukama waffe, mukama waffe tuggulirewo. Naye n’addamu n’agamba nti Mazima mbagamba nti sibamanyi.” (Matayo 25:10-12) Yee, abamu tebaali beetegefu okwaniriza Anaawasa omugole. Mu ngeri eyo, tebaasiimibwa mu kiseera eky’okukeberebwa era ne bafiirwa omukisa ogw’okubeera ku mbaga ey’omu ggulu. Ng’ekyo kyali kya nnaku nnyo!
Olugero lwa Ttalanta
12. (a) Yesu yakozesa lugero ki okwogera ku bwesigwa? (b) Omuntu “eyagenda mu nsi endala” yali ani?
12 Ng’amaze okugera olugero olukwata ku magezi, Yesu yagerayo olugero olulala olukwata ku bwesigwa. Yagamba: “[Obwakabaka] buli ng’omuntu eyali agenda okutambula mu nsi endala, n’ayita abaddu be, n’abalekera ebintu bye. N’awa omu ettalanta ttaano, omulala bbiri, omulala emu; buli muntu [ng’obusobozi] bwe bwe bwali; n’agenda.” (Matayo 25:14, 15) Omuntu oyo ayogerwako mu lugero luno ye Yesu kennyini, “eyatambula mu nsi endala” bwe yagenda mu ggulu mu mwaka 33 C.E. Naye bwe yali nga tannaba kugenda mu ggulu, Yesu yasigira abayigirizwa be abeesigwa “ebintu bye.” Mu ngeri ki?
13. Yesu yateekateeka atya ennimiro ennene ey’okukolamu era n’akwasa “abaddu” be omulimu ogw’okukola?
13 Mu buweereza bwe obw’oku nsi, Yesu yatandika okuteekateeka ennimiro ennene ey’okukolamu ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu Isiraeri mwonna. (Matayo 9:35-38) Nga tannaba ‘kugenda mu nsi endala,’ ennimiro eyo yagisigira abayigirizwa be abeesigwa, ng’agamba: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira.” (Matayo 28:18-20) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yakwasa “abaddu” be omulimu ogw’okukola okutuusa lw’alidda, ‘buli muntu ng’obusobozi bwe bwe buli.’
14. Lwaki bonna baali tebasuubirwa kukola kye kimu mu mulimu ogwabaweebwa?
14 Ebigambo ebyo biraga nti Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bonna tebaali mu mbeera ze zimu oba tebaalina busobozi bwe bumu. Abamu ku bo, gamba nga Pawulo ne Timoseewo, baali basobola okwenyigira ennyo mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. Embeera abalala ze baalimu ziyinza okuba nga zaabakugiranga nnyo. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo abamu baali baddu, abalala baali balwadde, bakaddiye, oba baalina obuvunaanyizibwa bw’amaka. Kya lwatu bonna tebaalina nkizo ze zimu mu kibiina. Abakazi abaafukibwako amafuta n’abasajja abamu abaafukibwako amafuta tebaayigirizanga mu kibiina. (1 Abakkolinso 14:34; 1 Timoseewo 3:1; Yakobo 3:1) Kyokka, ka babe nga baali mu mbeera ki, abayigirizwa ba Kristo bonna, abasajja n’abakazi, baali ba kwenyigira mu mulimu gwe yabakwasa, nga bakozesa bulungi buli kakisa ke baafunanga na buli mbeera yonna mu buweereza obw’Ekikristaayo. N’abayigirizwa ba Kristo ab’omu kiseera kino bakola ekintu kye kimu.
Ekiseera eky’Okukeberebwa Kitandika!
15, 16. (a) Ekiseera eky’okwetegereza abaddu be bye bakoze kyaliwo ddi? (b) ‘Bya kukola ki’ ebirala bye yawa abaweereza abeesigwa?
15 Olugero lweyongera ne lugamba bwe luti: “Awo ebiro bingi bwe byayita, mukama w’abaddu bali n’ajja, n’abala nabo omuwendo [“ne yeetegereza bye bakoze,” NW].” (Matayo 25:19) Mu 1914, nga wayiseewo ekiseera kiwanvu nnyo okuva mu 33 C.E, okubeerawo kwa Yesu Kristo nga Kabaka kwatandika. Mu 1918 nga wayiseewo emyaka esatu n’ekitundu, yajja mu yeekaalu ya Katonda ey’eby’omwoyo n’atuukiriza ebigambo bya Peetero bino: “Obudde butuuse okusala omusango kutandikire mu nnyumba ya Katonda.” (1 Peetero 4:17; Malaki 3:1) Ekiseera kyali kituuse yeetegereze omulimu ogukoleddwa abaddu be.
16 Abaddu, baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta, baali bakoze ki mu “ttalanta” za Kabaka? Okuva mu 33 C.E. okweyongera mu maaso era ne mu kiseera ekyo ng’omwaka 1914 gunaatera okutuuka, bangi baali bafubye nnyo okukola ‘omulimu’ Yesu gwe yabawa. (Matayo 25:16) Ne mu kiseera kya ssematalo eyasooka, baali bakiraze nti baagala nnyo okuweereza Mukama waabwe. Kati kyali kisaanira okwongera okuwa abeesigwa abo ‘eby’okukola.’ Ekiseera eky’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu kyali kituuse. Amawulire amalungi gaali galina okubuulirwa mu nsi yonna. ‘Amakungula g’ensi’ gaali gatuuse. (Okubikkulirwa 14:6, 7, 14-16) Abaali bakyabulayo ku b’omu kibiina ky’eŋŋaano ennungi baalina okukuŋŋaanyizibwa era ‘n’ab’ekibiina ekinene’ eky’endiga endala.—Okubikkulirwa 7:9; Matayo 13:24-30.
17. Abakristaayo abeesigwa abaafukibwako amafuta ‘baayingira batya mu ssanyu lya mukama waabwe’?
17 Ekiseera ky’amakungula kiba kya ssanyu. (Zabbuli 126:6) N’olwekyo, kyali kituukirawo bulungi nti mu 1919 Yesu bwe yawa baganda be abeesigwa abaafukibwako amafuta obuvunaanyizibwa obulala, yagamba: ‘Wali mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu ssanyu lya mukama wo.’ (Matayo 25:21, 23) Kyokka, essanyu lya Mukama waabwe oyo nga Kabaka eyali yaakatuuzibwa ku ntebe mu Bwakabaka bwa Katonda lyali lingi nnyo n’okusinga bwe tuteebereza. (Zabbuli 45:1, 2, 6, 7) Ekibiina ky’omuddu omwesigwa nakyo kisanyufu olw’okukiikirira Kabaka era n’okwaza ebintu bye eby’oku nsi. (2 Abakkolinso 5:20) Essanyu lye balina lyeyolekera mu bigambo ebiri mu Isaaya 61:10: “N[n]aasanyukiranga nnyo Mukama, emmeeme yange eneesanyukiranga Katonda wange; kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi.”
18. Lwaki abamu tebaasiimibwa mu kiseera eky’okukeberebwa, era kiki ekyavaamu?
18 Eky’ennaku, abamu tebaasiimibwa mu kiseera eky’okukeberebwa. Tusoma: “N’oli eyaweebwa ettalanta emu n’ajja n’agamba nti Mukama wange, n[n]akumanya ng’oli muntu mukakanyavu ng’okungulira gy’otaasigira, ng’okuŋŋaanyiza gy’otaayiyira: ne ntya, ne ŋŋenda, ne ngikweka mu ttaka ettalanta yo: laba, eyiyo oli nayo.” (Matayo 25:24, 25) Mu ngeri y’emu, Abakristaayo abamu abaafukibwako amafuta baali tebeenyigidde mu ‘mulimu’ ogwabaweebwa. Ng’omwaka 1914 tegunnatuuka, tebaalaga bunyiikivu bwonna mu kutegeeza abalala essuubi lyabwe, era ne mu 1919 tebaayagala kutandika kukola mulimu ogwo. Yesu yabakola ki olw’obunyoomi bwe baayoleka? Yabaggyako enkizo zonna ze baalina. ‘Baasuulibwa mu kizikiza eky’ebweru: gye bandibadde bakaabira n’okuluma obujiji.’—Matayo 25:28, 30.
Okukeberebwa Kweyongera mu Maaso
19. Mu ngeri ki okukeberebwa gye kweyongera mu maaso, era Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna bamalirivu kukola ki?
19 Kya lwatu, abasinga obungi ku abo abaali ab’okufuuka abaddu ba Kristo abaafukibwako amafuta mu kiseera eky’enkomerero, baali tebannatandika kuweereza Yakuwa mu 1918 Yesu we yatandikira okukebera omulimu gw’omuddu. Baasubwa omukisa gw’okukeberebwa? N’akatono. Okukeberebwa kwali kutandise butandisi mu 1918/19, ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi lwe kyasiimibwa. Abakristaayo abaafukibwako amafuta kinnoomu bakyeyongera okukeberebwa okutuusa lwe balimala okuteekebwako akabonero ak’enkalakkalira. (Okubikkulirwa 7:1-3) Olw’okumanya ekyo, baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta bamalirivu okweyongera ‘okukola omulimu’ gwabwe n’obwesigwa. Bamalirivu okubeera ab’amagezi, nga balina amafuta agamala ettabaaza zaabwe zireme kuzikira. Bakimanyi nti buli omu ku bo bw’atuuka ku nkomerero y’obulamu bwe nga mwesigwa, Yesu ajja kumwaniriza mu ggulu.—Matayo 24:13; Yokaana 14:2-4; 1 Abakkolinso 15:50, 51.
20. (a) Ab’endiga endala bamalirivu kukola ki leero? (b) Kiki Abakristaayo abaafukibwako amafuta kye bamanyi?
20 Ab’ekibiina ekinene eky’endiga endala nabo bakoppye baganda baabwe abaafukibwako amafuta. Bakimanyi bulungi nti okumanya ebigendererwa bya Katonda kubaleetera okuba n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. (Ezeekyeri 3:17-21) N’olwekyo, nga bayambibwako Ekigambo kya Yakuwa n’omwoyo gwe omutukuvu, nabo basigala nga balina amafuta agabamala nga beeyongera okuyiga n’okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Era baleka ekitangaala kyabwe okwaka nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu era mu ngeri eyo, baba ‘bakolera’ wamu ne baganda baabwe abaafukibwako amafuta. Kyokka, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakimanyi bulungi nti ttalanta zaatekebwa mu mikono gyabwe. Bavunaanyizibwa ku ngeri ebintu bya Mukama waabwe eby’oku nsi gye birabirirwamu. Wadde nga batono, obuvunaanyizibwa bwabwe tebayinza kubulekera ab’ekibiina ekinene. N’olw’ensonga eyo, ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ yeeyongera okulabirira omulimu gwa Kabaka, era asiima nnyo obuwagizi bw’ab’ekibiina ekinene. Ab’ekibiina ekinene bamanyi obuvunaanyizibwa baganda baabwe abaafukibwako amafuta bwe balina era bagitwala nga nkizo ya maanyi okukolera wansi w’obulagirizi bwabwe.
21. Kubuulirira ki okukwata ku Bakristaayo bonna okuva ng’omwaka 1919 tegunaatuuka okutuukira ddala mu kiseera kyaffe?
21 N’olwekyo, wadde ng’engero zino zombi ziraga ebyo ebyaliwo mu 1919 oba emyaka egyetooloddewo, emisingi egirimu gikwata ne ku Bakristaayo ab’amazima bonna abaliwo mu kiseera kino eky’enkomerero. Mu ngeri eyo, wadde ng’okubuulirira Yesu kwe yawa ng’afundikira olugero lw’abawala ekkumi kwasooka kukwata ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta abaaliwo ng’omwaka 1919 tegunnatuuka, omusingi oguli mu lugero olwo, gukwata ku buli Mukristaayo. N’olwekyo, ka ffenna tusseeyo omwoyo ku bigambo bya Yesu bino: “Kale mutunule, kubanga temumanyi lunaku newakubadde ekiseera.”—Matayo 25:13.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu ngeri y’emu, abo abaayitibwa “emisege emikambwe” baava mu bakadde Abakristaayo abaafukibwako amafuta oluvannyuma lw’okufa kw’abatume.—Ebikolwa 20:29, 30.
b Okusobola okufuna ebirala ebikwata ku lugero lwa Yesu, laba essuula 5 ne 6 mu katabo Worldwide Security Under the “Prince of Peace,” akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okunnyonnyola?
• Ddi Yesu lwe yakebera abagoberezi be, era kiki kye yasanga?
• Lwaki Abakristaayo abamu abaafukibwako amafuta baayoleka omwoyo ‘gw’omuddu oyo omubi’?
• Tusobola tutya okulaga nti tuli ba magezi mu by’omwoyo?
• Nga tukoppa baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta, tusobola tutya okweyongera okukola ‘omulimu’ ogutuweereddwa?
[Akasanduuko akali ku lupapula 29]
DDI YESU LW’AJJA?
Mu Matayo essuula 24 ne 25, Yesu ayogerwako nti “ajja” mu ngeri ezitali zimu. Tekimwetaagisa kuva mu ggulu ‘ajje’ ku nsi. Wabula “ajja” mu ngeri nti, assa ebirowoozo bye ku bantu oba ku bagoberezi be, era nga emirundi egisinga obungi aba ajja kusala musango. Bwe kityo, mu 1914 ‘yajja’ okutandika okubeerawo nga Kabaka atuuziddwa ku nnamulondo. (Matayo 16:28; 17:1; Ebikolwa 1:11) Mu 1918 ‘yajja’ ng’omubaka w’endagaano era n’atandika okusalira omusango abo abaali beegamba nti baweereza Yakuwa. (Malaki 3:1-3; 1 Peetero 4:17) Ku Kalumagedoni, ajja “kujja” okuzikiriza abalabe ba Yakuwa.—Okubikkulirwa 19:11-16.
Okujja (oba okutuuka) okwogerwako emirundi emingi mu Matayo 24:29-44 ne 25:31-46, kujja kubaawo ku ‘kibonyoobonyo ekinene.’ (Okubikkulirwa 7:14) Ku luuyi olulala, okujja okwogerwako emirundi emingi mu Matayo 24:45 okutuuka mu 25:30 kukwata ku kusalira omusango abo abaali beeyita abayigirizwa be okuva mu 1918 n’okweyongerayo. Tekyandibadde kya magezi okugamba nti okuwa omuddu omwesigwa empeera, okusalira omusango abawala abasirusiru, era n’okusalira omusango omuddu omugayaavu eyakweka ttalanta ya Mukama we, bya kubaawo mu kiseera Yesu ‘ky’alijjirako’ mu kibonyoobonyo ekinene. Bwe kyandibadde bwe kityo, kyandibadde kitegeeza nti abasinga obungi ku baafukibwako amafuta bajja kusangibwa nga si beesigwa mu kiseera ekyo era nti mu bifo byabwe wajja kuteekebwawo abalala. Kyokka, Okubikkulirwa 7:3 walaga nti mu kiseera ekyo, abaddu ba Kristo abaafukibwako amafuta bonna bajja kuba bamaze ‘okussibwako akabonero.’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
‘Omuddu omubi’ teyafuna mikisa mu 1919
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Abawala ab’amagezi baali beetegefu mu kiseera anaawasa omugole kye yatuukirako
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Omuddu omwesigwa yali yeenyigidde mu ‘mulimu’ ogwamuweebwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Omuddu omugayaavu ye teyakola mulimu gwe
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Abaafukibwako amafuta ‘n’ab’e- kibiina ekinene’ beeyongera okuleka ekitangaala kyabwe okwaka