Weeyongere Okuwagira Baganda ba Kristo
“Bwe mwakikoleranga omu ku baganda bange bano abasembayo okuba aba wansi, mwakikoleranga nze.”—MAT. 25:40.
1, 2. (a) Ngero ki Yesu ze yagerera mikwano gye ab’oku lusegere? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki kye tulina okumanya ku lugero olukwata ku ndiga n’embuzi?
YESU abadde ayogera ne mikwano gye ab’oku lusegere Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana. Yaakamala okugera olugero olukwata ku muddu omwesigwa era ow’amagezi, olukwata ku bawala ekkumi embeerera, n’olukwata ku ttalanta. Yesu akomekkereza ng’agera olugero olulala olukwata ku kiseera “Omwana w’omuntu” lw’ajja okulamula “amawanga gonna.” Ng’olugero olwo luteekwa okuba nga lwewuunyisa nnyo abayigirizwa be! Mu lugero olwo, Yesu ayogera ku bibinja by’abantu bibiri, ng’ekimu kirimu abo abalinga endiga ate ng’ekirala kirimu abo abalinga embuzi. Oluvannyuma ayogera ku kibinja eky’okusatu ekirimu abo b’ayita “baganda” ba “Kabaka.”—Soma Matayo 25:31-46.
2 Okumala ekiseera kiwanvu abantu ba Yakuwa babadde bafuba okwekenneenya ebyo ebiri mu lugero olwo, kubanga bikwata ku bulamu bw’abantu bonna. Mu lugero olwo, Yesu alaga ensonga lwaki abamu bajja kufuna obulamu obutaggwaawo n’ensonga lwaki abalala bajja kuzikirizibwa. Bwe tuba ab’okufuna obulamu obutaggwaawo, tulina okutegeera ebyo Yesu bye yayigiriza era ne tubikolerako. N’olw’ensonga eyo, tusaanidde okwebuuza: Yakuwa atuyambye atya okwongera okutegeera amakulu g’olugero olwo? Lwaki tuyinza okugamba nti olugero olwo lulaga nti kikulu okunyiikirira omulimu gw’okubuulira? Baani abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okubuulira? Era lwaki kino kye kiseera okuba abeesigwa eri “Kabaka” n’eri abo b’ayita ‘baganda be’?
YAKUWA ATUYAMBYE ATYA OKWONGERA OKUTEGEERA AMAKULU G’OLUGERO OLWO?
3, 4. (a) Bintu ki ebikulu bye twetaaga okumanya okusobola okutegeera olugero olukwata ku ndiga n’embuzi? (b) Mu 1881, magazini ya Zion’s Watch Tower yannyonnyola etya olugero olwo?
3 Okusobola okutegeera obulungi amakulu g’olugero olukwata ku ndiga n’embuzi, tulina okutegeera ebintu ebikulu bisatu: Abo aboogerwako mu lugero olwo, ekiseera eky’okulamula, era n’ensonga lwaki abantu bajja kwawulwawo nti ndiga oba mbuzi.
4 Mu 1881, magazini ya Zion’s Watch Tower yagamba nti “Omwana w’omuntu,” oba “Kabaka,” ye Yesu. Abayizi ba Bayibuli abaaliwo mu kiseera ekyo baali bagamba nti baganda ba Kristo beebo abalina essuubi ery’okufuga naye nga kw’ogasse n’abantu bonna abajja okubeera ku nsi oluvannyuma lw’okufuuka abatuukiridde. Baali balowooza nti okwawulawo abantu nti ndiga oba nti mbuzi kijja kubaawo mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo. Era baali bagamba nti abantu abajja okulamulwa nti ndiga beebo abanaaba bakoledde ku tteeka lya Katonda ery’okwagala.
5. Mu 1923, tweyongera tutya okutegeera amakulu g’olugero olukwata ku ndiga n’embuzi?
5 Mu 1923, Yakuwa yayamba abantu be okwongera okutegeera amakulu g’olugero olwo. Magazini ya Watch Tower eya Okitobba 15, 1923, yakiggumiza nti “Omwana w’omuntu” ye Yesu. Kyokka yakozesa ebyawandiikibwa ebitali bimu okulaga nti baganda ba Kristo beebo abajja okufugira awamu naye mu ggulu, era n’eraga nti endiga beebo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Kristo. Ate magazini eyo yayogera ki ku kiseera abantu lwe bandyawuddwawo nti ndiga oba mbuzi? Yagamba nti okuva bwe kiri nti mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo baganda ba Kristo bajja kuba mu ggulu nga bafugira wamu naye, tekijja kwetaagisa bantu ku nsi kubayamba. N’olwekyo, tekisoboka kuba nti okwawulawo abantu nti ndiga oba nti mbuzi kujja kubaawo mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo. Ate era magazini eyo yalaga nti abo abandiramuddwa nti ndiga beebo abakiraze nti bakkiriza Yesu okuba Mukama waabwe era nga n’essuubi lyabwe balitadde mu Bwakabaka bwe.
6. Mu 1995, tweyongera tutya okutegeera amakulu g’olugero olukwata ku ndiga n’embuzi?
6 Okusinziira ku nnyinnyonnyola eyo, abantu ba Yakuwa baatandika okulowooza nti okulamula abantu nti ndiga oba nti mbuzi, kwandibaddewo mu kiseera kyonna eky’enkomerero, nga kino kyandisinzidde ku ngeri abantu gye bandyeyisizzaamu nga babuuliddwa amawulire amalungi. Kyokka, mu 1995, engeri gye twali tutegeeramu amakulu g’olugero olwo yakyuka. Magazini ya Watchtower eya Okitobba 15, 1995, yageraageranya ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 24:29-31 (soma) n’ebyo ebiri mu Matayo 25:31, 32. (Soma.)a Yawunzika etya? Yagamba nti: “Okwawulawo endiga n’embuzi kwa kubaawo mu kiseera eky’omu maaso, oluvannyuma ‘lw’ekibonyoobonyo’ ekyogerwako mu Matayo 24:29, 30 okutandika era ng’Omwana w’Omuntu ‘ajjidde mu kitiibwa kye.’ . . . Mu kiseera ekyo, Yesu ajja kulamula abantu bonna, era azikirize enteekateeka y’ebintu eno.”
7. Kati tutegeera tutya olugero olukwata ku ndiga n’embuzi?
7 Leero, tutegeera bulungi amakulu g’olugero olukwata ku ndiga n’embuzi. “Omwana w’omuntu” ye Kabaka Yesu. “Baganda” ba Yesu be basajja n’abakazi abaafukibwako amafuta, abajja okufugira awamu naye mu ggulu. (Bar. 8:16, 17) ‘Endiga n’embuzi,’ zikiikirira abantu ab’amawanga gonna. Bano tebaafukibwako mwoyo mutukuvu. Kati ate okulamula abantu nti ndiga oba nti mbuzi kubaawo ddi? Okulamula okwo kujja kubaawo ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okuggwaako. Ate kiki ekinaasinziirwako okulamula abantu nti ndiga oba nti mbuzi? Ekyo kijja kusinziira ku ngeri gye bayisaamu baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta nga bakyali ku nsi. Ng’enkomerero y’ensi eno egenda yeeyongera okusembera, nga kitusanyusa nnyo okuba nti Yakuwa atuyambye okwongera okutegeera amakulu g’olugero olwo awamu n’amakulu g’engero za Yesu endala eziri mu Matayo essuula 24 ne 25!
OLUGERO OLWO LULAGA LUTYA NTI OMULIMU GW’OKUBUULIRA MUKULU NNYO?
8, 9. Lwaki abo abalinga endiga bayitibwa “abatuukirivu”?
8 Mu lugero olukwata ku ndiga n’embuzi Yesu tayogera butereevu ku mulimu gw’okubuulira. Naye lwaki tusobola okugamba nti olugero olwo lulaga nti omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo?
9 Okusookera ddala, kikulu okukijjukira nti Yesu akozesa lulimi lwa kabonero. Kya lwatu nti mu lugero olwo, Yesu tayogera ku kwawulawo ndiga eza bulijjo ku mbuzi eza bulijjo. Mu ngeri y’emu, Yesu era yali tagamba nti buli muntu anaalamulwa okuba endiga alina kuba nga yawa baganda be emmere, yabawa eby’okwambala, yabajjanjaba nga balwadde, oba nti yabalambula nga bali mu kkomera. Mu kifo ky’ekyo, yali alaga endowooza abo abali ng’endiga gye bandibadde nayo eri baganda be. Abo abalinga endiga yabayita “abatuukirivu” kubanga bakkiriza nti Yesu alina baganda be abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi era bafuba okubayamba mu nnaku zino ez’oluvannyuma.—Mat. 10:40-42; 25:40, 46; 2 Tim. 3:1-5.
10. Abo abalinga endiga bayinza batya okuyamba baganda ba Kristo?
10 Eky’okubiri, Yesu bwe yagera olugero olukwata ku ndiga n’embuzi, yali ayogera ku ebyo ebyandibaddewo mu mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu. (Mat. 24:3) Ng’ekyokulabirako, yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu.” (Mat. 24:14) Ate bwe yali tannagera lugero olukwata ku ndiga n’embuzi, yasooka kugera lugero olukwata ku ttalanta. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yesu yagera olugero olwo okulaga nti abayigirizwa be abaafukibwako amafuta, “baganda” be, balina okwoleka obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Kyokka, abaafukibwako amafuta abakyaliwo ku nsi batono nnyo, so ng’ate omulimu gwe balina okukola ogw’okubuulira mu ‘mawanga gonna’ ng’enkomerero tennatuuka munene nnyo. Olugero olukwata ku ndiga n’embuzi lulaga nti abaafukibwako amafuta bandibadde bayambibwa. N’olwekyo, engeri esinga obukulu abo abalinga endiga gye basobola okuyambamu baganda ba Kristo kwe kubawagira mu mulimu gw’okubuulira. Naye kiki ekizingirwa mu kubawagira? Tekimala kubawagira buwagizi mu by’ensimbi oba okubazzaamu obuzza amaanyi okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Waliwo ekisingako awo abo abalinga endiga kye balina okukola.
BAANI ABALINA OKUBUULIRA?
11. Kibuuzo ki kye tuyinza okwebuuza, era lwaki?
11 Leero, abayigirizwa ba Yesu bawera obukadde munaana, naye abasinga obungi ku bo ba ndiga ndala. Bo tebaaweebwa ttalanta Yesu ze yawa abaddu be abaafukibwako amafuta. (Mat. 25:14-18) Kati ekyebuuzibwa kiri nti, ‘Ddala ekiragiro ky’okubuulira kikwata ne ku b’endiga endala?’ Weetegereze ezimu ku nsonga lwaki nabo kibakwatako.
12. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 28:19, 20 bituyigiriza ki?
12 Yesu yalagira abayigirizwa be bonna okubuulira. Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yagamba abagoberezi be okufuula abantu abayigirizwa, nga babayigiriza okukwata “ebintu byonna” bye yalagira. Mu bintu byonna bye yalagira mwe muli n’omulimu gw’okubuulira. (Soma Matayo 28:19, 20.) N’olwekyo, abayigirizwa ba Kristo bonna balina okubuulira, ka babe nga balina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi.—Bik. 10:42.
13. Kiki kye tuyigira ku kwolesebwa Yokaana kwe yafuna, era lwaki?
13 Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti omulimu gw’okubuulira gulina okukolebwa abaafukibwako amafuta n’abalala. Yesu yawa omutume Yokaana okwolesebwa okukwata ku ‘mugole,’ nga bano be baafukibwako amafuta 144,000 abajja okufugira awamu ne Kristo mu ggulu, nga bayita abantu ‘batwale amazzi ag’obulamu buwa.’ (Kub. 14:1, 3; 22:17) Amazzi gano gakiikirira enteekateeka Yakuwa z’akoze okununula abantu okuva mu kibi n’okufa ng’asinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo. (Mat. 20:28; Yok. 3:16; 1 Yok. 4:9, 10) Ekinunulo y’emu ku njigiriza enkulu ennyo eziri mu bubaka bwe tubuulira, era ng’abaafukibwako amafuta be bawomye omutwe mu mulimu ogw’okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku kinunulo era n’okukiganyulwamu. (1 Kol. 1:23) Naye ate mu kwolesebwa, Yokaana alaba abalala, abatali mu kibinja ky’omugole. Nabo balagirwa okuyita abalala nti, “Jjangu!” Bagondera ekiragiro ekyo era ne bayita n’abalala okunywa amazzi ag’obulamu. Ekibinja kino eky’okubiri beebo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. N’olwekyo, okwolesebwa kuno kulaga bulungi nti abo bonna abakkiriza okuyitibwa nti “jjangu” balina obuvunaanyizibwa okubuulira n’abalala.
14. Kiki ekizingirwa mu kugondera “etteeka lya Kristo”?
14 Abo bonna abafugibwa “etteeka lya Kristo” balina okubuulira. (Bag. 6:2) Abaweereza ba Yakuwa bonna batambulira ku mitindo gye gimu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti: “Etteeka erinaafuganga Omuisiraeri lye linaafuganga n’omugwira abeera mu mmwe.” (Kuv. 12:49, NW; Leev. 24:22) Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa. Naye, ka tube nga tuli Bakristaayo abaafukibwako amafuta oba nedda, ffenna tuli wansi ‘w’etteeka lya Kristo.’ Etteeka eryo lizingiramu ebintu byonna Yesu bye yayigiriza. Ekimu ku bintu ebikulu Yesu bye yayigiriza kwe kuba nti abagoberezi be booleka okwagala. (Yok. 13:35; Yak. 2:8) Engeri esingayo obulungi gye tuyinza okulaga nti twagala Katonda, Kristo, ne bantu bannaffe kwe kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.—Yok. 15:10; Bik. 1:8.
15. Lwaki tuyinza okugamba nti Yesu yalagira abagoberezi be bonna okubuulira?
15 Oluusi ebigambo Yesu bye yagambanga abantu abatono byali bikwata ku bangi. Ng’ekyokulabirako, Yesu yakola endagaano y’Obwakabaka n’abayigirizwa be 11, naye endagaano eyo ekwata ku baafukibwako amafuta bonna 144,000. (Luk. 22:29, 30; Kub. 5:10; 7:4-8) Ate era Yesu bwe yamala okuzuukira, yalabikira abagoberezi be abatonotono n’abalagira okubuulira. (Bik. 10:40-42; 1 Kol. 15:6) Wadde kyali kityo, abayigirizwa be bonna abeesigwa abaaliwo mu kyasa ekyasooka baagondera ekiragiro ekyo. (Bik. 8:4; 1 Peet. 1:8) Mu ngeri y’emu, tewali n’omu ku babuulizi b’Obwakabaka obukadde omunaana Yesu gwe yali ayogeddeko naye. Wadde kiri kityo, bonna bakimanyi nti balina okukkiririza mu Kristo era ne booleka okukkiriza okwo nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira.—Yak. 2:18.
KINO KYE KISEERA OKUWAGIRA BAGANDA BA KRISTO
16-18. Ab’endiga endala bayamba batya baganda ba Kristo, era lwaki kino kye kiseera okukola ekyo?
16 Olw’okuba Sitaani akimanyi nti asigazza “akaseera katono,” akola kyonna ekisoboka okulwanyisa baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta abakyaliwo ku nsi. (Kub. 12:9, 12, 17) Wadde kiri kityo, abaafukibwako amafuta beeyongedde okuwoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa ku kigero ekitabangawo mu byafaayo. Tewali kubuusabuusa nti Yesu ali wamu nabo era abawa obulagirizi.—Mat. 28:20.
17 Ab’endiga endala bagitwala nga nkizo okuwagira baganda ba Kristo mu mulimu gw’okubuulira ne mu ngeri endala ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, bawaayo ssente okuwagira omulimu gw’Obwakabaka, bayamba mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene, ne ofiisi z’amatabi, era bagondera n’abo “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” b’alonze okutwala obukulembeze.—Mat. 24:45-47; Beb. 13:17.
18 Mu kiseera ekitali kya wala, bamalayika bajja kuta empewo ez’okuzikiriza ez’ekibonyoobonyo ekinene. Ekyo bajja kukikola nga baganda ba Kristo bonna abanaaba bakyali ku nsi bamaze okuteekebwako akabonero akasembayo. (Kub. 7:1-3) Olutalo Kalumagedoni bwe lunaaba terunnatandika, abaafukibwako amafuta bajja kutwalibwa mu ggulu. (Mat. 13:41-43) N’olwekyo, kino kye kiseera abo bonna abaagala okulamulwa nti ndiga okweyongera okuwagira baganda ba Kristo.
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku lugero luno, laba ekitundu “Oliyimirira Otya mu Maaso g’Entebe y’Omulamuzi?” ne “Ebiseera eby’Omu Maaso Binaaba Bitya eri Endiga n’Embuzi?” mu Watchtower eya Okitobba 15, 1995.