Tubatizibwa mu Linnya ly’Ani?
“Mugende mufuule abantu . . . abayigirizwa, nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu.”—MAT. 28:19.
1, 2. (a) Kiki ekyaliwo mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekooti? (b) Kiki ekyaleetera abantu abangi okubatizibwa?
YERUSAALEMI kyalimu abantu bangi abaali bavudde mu bitundu by’ensi eby’enjawulo. Ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka ogwa 33 mu mbala eno, waaliwo omukolo ogw’amaanyi ogwali gugenda mu maaso era nga kuliko n’abagenyi bangi. Kyokka ku lunaku olwo, waliwo ekintu ekitali kya bulijjo ekyabaawo, era oluvannyuma omutume Peetero alina ebigambo bye yayogera ebyatuuka ku mitima gy’abantu bangi. Abayudaaya n’abakyufu nga 3,000 baakwatibwako nnyo ne beenenya, era ne babatizibwa. Bwe kityo beegatta ku kibiina Ekikristaayo ekyali kyakatandikibwawo. (Bik. 2:41) Okubatizibwa kw’abantu abangi bwe batyo kuteekwa okuba nga kwaleetawo akasattiro mu Yerusaalemi!
2 Kiki ekyaleetera abantu abangi bwe batyo okubatizibwa? Ku lunaku olwo lwennyini, ‘waali wabaddewo okuwuuma okw’amaanyi okwava mu ggulu nga kulinga okw’embuyaga ey’amaanyi.’ Abayigirizwa ba Yesu nga 120 abaali bakuŋŋaanidde mu kisenge eky’ennyumba ekya waggulu bajjuzibwa omwoyo omutukuvu. Oluvannyuma lw’ekyo, abasajja n’abakazi abawombeefu baakuŋŋaana era beewuunya nnyo okuwulira ng’abayigirizwa abo ‘boogera mu nnimi ez’enjawulo.’ Bwe baawulira ebyo Peetero bye yayogera, omwali n’obubaka obw’amaanyi obwali bukwata ku kufa kwa Yesu, bangi ‘baalumwa mu mitima gyabwe.’ Kiki kye baalina okukola? Peetero yabagamba nti: “Mwenenye, era buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo . . . , era mujja kufuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu.”—Bik. 2:1-4, 36-38.
3. Ku lunaku lwa Pentekooti, kiki Abayudaaya n’abakyufu abawombeefu kye baalina okukola?
3 Ate lowooza ku mbeera Abayudaaya n’abakyufu abaawulira ebigambo bya Peetero gye baalimu mu by’omwoyo. Baali baamala dda okukkiriza Yakuwa nga Katonda waabwe. Era nga basinziira ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, baali bamanyi ebikwata ku mwoyo omutukuvu, amaanyi Katonda ge yakozesa mu kutonda era ne mu biseera ebyaddirira. (Lub. 1:2; Balam. 14:5, 6; 1 Sam. 10:6; Zab. 104:30) Naye waaliwo ekintu ekirala kye baali beetaaga. Baali beetaaga okutegeera n’okukkiriza oyo Katonda mw’ayitira okuwa abantu obulokozi—Masiya, Yesu. Eyo ye nsonga lwaki Peetero yabakubiriza ‘okubatizibwa mu linnya lya Yesu Kristo.’ Waali waakayita ennaku ntono nga Yesu eyali azuukiziddwa alagidde Peetero n’abalala okubatiza abantu “mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu.” (Mat. 28:19, 20) Ekyo kyalina amakulu mu kyasa ekyasooka, nga bwe kiri ne leero. Makulu ki ago?
Mu Linnya lya Kitaffe
4. Ku bikwata ku kuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, nkyukakyuka ki eyali ezzeewo?
4 Nga bwe tulabye, abo abaakolera ku bigamba bya Peetero baali basinza Yakuwa era baalina enkolagana ennungi naye. Baali bafuba okukwata Amateeka ge, era ng’eno ye nsonga lwaki baali bavudde mu bitundu ebitali bimu nga bazze e Yerusaalemi. (Bik. 2:5-11) Kyokka, Katonda yali yaakakola enkyukakyuka mu ngeri gy’akolaganamu n’abantu. Yali alekedde awo okutwala Abayudaaya ng’eggwanga lye; ne kiba nti okukwata Amateeka si kye kyali kisinziirwako okusobola okusiimibwa mu maaso ge. (Mat. 21:43; Bak. 2:14) N’olwekyo, abantu abo okusobola okweyongera okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, waliwo ekintu ekirala kye baalina okukola.
5, 6. Abayudaaya n’abakyufu bangi mu kyasa ekyasooka baakola ki okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda?
5 Kya lwatu nti kye baalina okukola si kwe kuva ku Yakuwa, Omugabi w’Obulamu. (Bik. 4:24) Abo abaawuliriza ebyo Peetero bye yayogera beeyongera okukiraba nti Yakuwa ye Kitaffe ow’okwagala. Yasindika Masiya okubanunula era yali mwetegefu okusonyiwa n’abo Peetero be yayogerako ng’agamba nti: “Ennyumba ya Isiraeri k’ekimanyire ddala nti Yesu ono gwe mwakomerera, Katonda yamufuula Mukama waffe era Kristo.” Mu butuufu, abo abaakolera ku bigambo bya Peetero baalina ensonga ey’amaanyi eyandibaleetedde okusiima ekyo Kitaffe kye yakola okusobozesa abantu bonna abamwagala okufuna enkolagana ennungi naye!—Soma Ebikolwa 2:30-36.
6 Awatali kubuusabuusa, Abayudaaya n’abakyufu abo kati baali bakiraba bulungi nti okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa kyali kibeetaagisa okumukkiririzaamu ng’Oyo awa abantu obulokozi okuyitira mu Yesu. Kati osobola okulaba ensonga lwaki beenenya ebibi byabwe, omwali n’eky’okutta Yesu, ka babe nga baali bakikoze mu bugenderevu oba mu butamanya. Era tekyewuunyisa nti ne mu nnaku ezaddirira “beeyongeranga okussaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baayigirizanga.” (Bik. 2:42) Baali baagala ‘okusemberera entebe ey’ekisa eky’ensusso era basabe Katonda nga boogera n’obuvumu.’—Beb. 4:16.
7. Leero, abantu bangi bakyusizza batya endowooza yaabwe ku Katonda era babatizibwa batya mu linnya lya Kitaffe?
7 Leero, Baibuli eyambye abantu bangi okuva mu mbeera ezitali zimu okuyiga amazima agakwata ku Yakuwa. (Is. 2:2, 3) Abamu baali tebakkiriza nti Katonda gyali ate ng’abalala bakkiriza nti gyali naye nga babuusabuusa obanga ddala afaayo ku bitonde bye. Kyokka ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, baakitegeera nti eriyo Omutonzi era nti basobola okufuna enkolagana ennungi naye. Abalala baali basinza bifaananyi oba katonda ali mu busatu. Naye baakitegeera nti Yakuwa ye Katonda omuyinza w’ebintu byonna, era baatandika okukozesa erinnya lye. Kino kituukana n’ekyo Yesu kye yagamba abayigirizwa be nti baalina okubatizibwa mu linnya lya Kitaffe.
8. Abo abaali tebamanyi nti baasikira ekibi okuva ku Adamu baali beetaaga kutegeera ki ku Kitaffe?
8 Era abantu abo baakitegera bulungi nti baasikira ekibi okuva ku Adamu. (Bar. 5:12) Kino kyali kintu kipya kye baalina okukkiriza. Baali ng’omuntu alina obulwadde naye nga tamanyi nti abulina. Wayinza n’okuba nga waliwo n’obubonero obulaga nti mulwadde, gamba ng’okulumizibwa ebiseera ebimu. Kyokka, olw’okuba tannaba kukeberebwa bulwadde bumuluma ayinza okulowooza nti mulamu bulungi. Naye amazima gali nti ekyo si bwe kiri. (Geraageranya 1 Abakkolinso 4:4.) Naye kiri kitya singa akeberebwa obulwadde bwennyini obumuluma? Tekyandibadde kya magezi okukkiriza n’afuna obujanjabi obutuufu? Mu ngeri y’emu, bangi bwe bayiga amazima agakwata ku kibi ekisikire, bakkiriza Baibuli ‘ebakebere’ era bakitegeera nti Katonda asobola ‘okubawonya.’ Yee, abo bonna abeeyawudde ku Kitaffe balina okudda eri Oyo asobola ‘okubawonya.’—Bef. 4:17-19.
9. Yakuwa yakola ki okusobozesa abantu okufuna enkolagana ennungi naye?
9 Bw’oba nga weewaayo dda eri Yakuwa Katonda era ng’oli mubatize, omanyi bulungi kye kitegeeza okuba n’enkolagana ennungi naye. Olina okuba ng’okiraba nti Yakuwa ye Kitaffe ow’okwagala. (Soma Abaruumi 5:8.) Wadde nga Adamu ne Kaawa baayonoona, Katonda yakola enteekateeka okusobozesa bazzukulu baabwe—nga naffe mw’otutwalidde—okufuna enkolagana ennungi naye. Mu kukola ekyo, Katonda yali alina okugumira obulumi obw’okulaba Omwana we omwagalwa ng’abonyaabonyezebwa era ng’attibwa. Kino tekyanditukubirizza okukkiriza obufuzi bwa Katonda n’okukwata ebiragiro bye? Ekyo bw’oba tonnakikola, olina ensonga lwaki osaanidde okwewaayo eri Katonda era n’obatizibwa.
Mu Linnya ly’Omwana
10, 11. (a) Olaga otya nti osiima ebyo Yesu bye yakukolera? (b) Yesu okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo kikukuteko kitya?
10 Ate lowooza ku ekyo Peetero kye yagamba ekibiina ky’abantu abaali bakuŋŋaanye. Yakiraga nti kikulu nnyo okukkiririza mu Yesu, ng’ekyo kirina akakwate n’okubatizibwa ‘mu linnya ly’Omwana.’ Lwaki ekyo kyali kikulu nnyo mu kiseera ekyo, era lwaki kikulu nnyo ne leero? Okukkiririza mu Yesu n’okubatizibwa mu linnya lye kitegeeza okutegeera ekifo ky’alina mu kutuyamba okuba n’enkolagana ennungi n’Omutonzi. Yesu yalina okukomererwa ku muti ogw’okubonyaabonya okusobola okuggya ku Bayudaaya ekikolimo ky’Amateeka; kyokka okufa kwe kwalina n’omuganyulo ogusingawo. (Bag. 3:13) Yawaayo ssaddaaka y’ekinunulo abantu bonna gye baali beetaaga. (Bef. 2:15, 16; Bak. 1:20; 1 Yok. 2:1, 2) Okusobola okutuukiriza ekyo, Yesu yagumira ebikolwa ebitali bya bwenkanya, okuvumibwa, okubonyaabonyezebwa, n’okuttibwa. Okiraga nti osiima Yesu olw’okwefiiriza okwo? Kuba akafaananyi nga ggwe mulenzi ow’emyaka 12 eyali mu mmeeri eyitibwa Titanic, eyatomera ekyazi n’ebbira mu 1912. Oyagala kubuuka ogwe mu kaato akazze okubanunula naye nga kajjudde. Kyokka wabaawo omusajja ali mu kaato ako asalawo okuleka mukazi we n’akomawo ku mmeeri n’akuggyayo n’akuteeka mu kaato ako. Wandiwulidde otya? Awatali kubuusabuusa wandimusiimye nnyo! Ekyo kikulaga bulungi engeri omulenzi omu eyayita mu mbeera eyo gye yawuliramu.a Kyokka, Yesu yakukolera ekintu ekisingako n’awo. Yattibwa, ggwe osobole okufuna obulamu obutaggwaawo.
11 Wawulira otya bwe wayiga ebikwata ku ebyo Omwana wa Katonda bye yakukolera? (Soma 2 Abakkolinso 5:14, 15.) Oteekwa okuba nga wasanyuka nnyo. Ekyo kyakukubiriza okwewaayo eri Katonda era ‘n’olekera awo okuba omulamu ku lulwo, wabula ku lw’oyo eyakufiiririra.’ Okubatizibwa mu linnya ly’Omwana kitegeeza okusiima ebyo Yesu by’akukoledde era n’okkiriza obuyinza bwe ‘ng’Omubaka Omukulu ow’obulamu.’ (Bik. 3:15; 5:31) Mu kusooka wali tolina nkolagana na Mutonzi, era nga mu butuufu n’essuubi lyo teririna kwe lyesigamye. Naye olw’okuba wakkiririza mu musaayi gwa Yesu Kristo ogwayiibwa era n’obatizibwa, wafuna enkolagana ne Kitaffe. (Bef. 2:12, 13) Omutume Pawulo yawandiika nti: “Edda mwali mweyawudde era nga muli balabe kubanga ebirowoozo byammwe byali ku bikolwa ebibi, naye kaakano [Katonda] azzeemu okutabagana nammwe okuyitira mu mubiri [gwa Yesu] eyeewaayo n’afa, asobole okubanjulayo nga muli batukuvu, nga temuliiko kamogo.”—Bak. 1:21, 22.
12, 13. (a) Okubatizibwa mu linnya ly’Omwana kyandikutte kitya ku ngeri gye weeyisaamu nga waliwo akunyiizizza? (b) Ng’Omukristaayo eyabatizibwa mu linnya lya Yesu, osaanidde kukola ki?
12 Wadde nga wabatizibwa mu linnya ly’Omwana, okimanyi bulungi nti oli muntu atatuukiridde. Okumanya ekyo kikuyamba mu ngeri gy’okolaganamu n’abalala. Ng’ekyokulabirako, singa omuntu akunyiiza, okijjukira nti mwembi muli boonoonyi? Mwembi mwetaaga Katonda okubasonyiwa, era mwembi mulina okuba nga musonyiwagana. (Mak. 11:25) Ng’akaatiriza ensonga eyo, Yesu yawa ekyokulabirako: Waliwo omuddu mukama we gwe yasonyiwa ebbanja lya talanta mutwalo gumu (ddinaali obukadde 60). Kyokka omuddu oyo ye teyasonyiwa muddu munne gwe yali abanja ddinaali 100. Yesu yagattako nti: Yakuwa tajja kusonyiwa oyo atasonyiwa muganda we. (Mat. 18:23-35) Yee, okubatizibwa mu linnya ly’Omwana kitegeeza okukkiriza obuyinza bwa Yesu, okufuba okugoberera ekyokulabirako kye, era n’okukolera ku ebyo bye yayigiriza, omuli n’eky’okuba abeetegefu okusonyiwa abalala.—1 Peet. 2:21; 1 Yok. 2:6.
13 Olw’okuba totuukiridde, tosobola kukoppa Yesu mu bujjuvu. Wadde kiri kityo, olw’okuba weewaayo eri Katonda n’omutima gwo gwonna, osaanidde okukola kyonna ekisoboka okumukoppa. Kino kizingiramu okufuba okweggyako omuntu omukadde n’okwambala omuntu omuggya. (Soma Abaefeso 4:20-24.) Bw’oba ne mukwano gwo ng’omusamu ekitiibwa, ogezaako okukoppa ekyokulabirako kye n’engeri ze ennungi. Mu ngeri y’emu, olina okuba ng’oyagala nnyo okuyiga ebikwata ku Kristo n’okukoppa ekyokulabirako kye.
14. Oyinza otya okulaga nti okkiriza obuyinza bwa Yesu nga Kabaka ow’omu ggulu?
14 Waliwo n’engeri endala mw’oyinza okulagira nti otegeera bulungi ebizingirwa mu kubatizibwa mu linnya ly’Omwana. Katonda ‘yassa ebintu byonna wansi w’ebigere bya Yesu, n’amufuula omutwe gw’ebintu byonna ku lw’obulungi bw’ekibiina.’ (Bef. 1:22) N’olwekyo, olina okussa ekitiibwa mu ngeri Yesu gy’awa obulagirizi abo abeewaddeyo eri Yakuwa. Kristo akozesa abantu abatatuukiridde mu bibiina byaffe, okusingira ddala abasajja abakuze mu by’omwoyo, nga bano be bakadde mu kibiina. Abasajja abo balondebwa “olw’okutereeza abatukuvu, . . . n’okuzimba omubiri gwa Kristo.” (Bef. 4:11, 12) Wadde ng’abantu abatatuukiridde bakola ensobi, Yesu nga Kabaka w’Obwakabaka obw’omu ggulu asobola okutereeza ensonga mu ngeri entuufu era mu kiseera ekituufu. Ekyo okikkiriza?
15. Mikisa ki gy’onoofuna ng’omaze okubatizibwa?
15 Abamu tebannaba kwewaayo eri Yakuwa na kubatizibwa. Bw’oba oli omu ku abo, okusinziira ku ebyo bye tulabye, okiraba nti okukkiriza Omwana kiba kya magezi era kiraga nti osiima ebyo by’akukoledde? Okubatizibwa mu linnya ly’Omwana kijja kukuggulirawo emikisa mingi.—Soma Yokaana 10:9-11.
Mu Linnya ly’Omwoyo Omutukuvu
16, 17. Okubatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu kitegeeza ki gy’oli?
16 Kitegeeza ki okubatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu? Nga bwe twalabye, abo abaali bawuliriza Peetero ku lunaku lwa Pentekooti baali bamanyi ebikwata ku mwoyo omutukuvu. Mu butuufu, ku olwo baalaba obukakafu obulaga nti Katonda yali akyeyongera okukozesa omwoyo omutukuvu. Peetero yali omu ku abo ‘abajjula omwoyo omutukuvu ne batandika okwogera mu nnimi ez’enjawulo.’ (Bik. 2:4, 8) Ebigambo “mu linnya lya” tebikozesebwa ku bantu bokka. Ng’ekyokulabirako, leero waliwo ebintu bingi ebikolebwa “mu linnya lya gavumenti,” wadde nga gavumenti si muntu. Ekyo kitegeeza nti ebintu ebyo biba bikolebwa mu buyinza bwa gavumenti. Mu ngeri y’emu, omuntu abatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu akitegeera nti omwoyo omutukuvu si muntu, wabula ge maanyi ga Yakuwa agakola. Era okubatizibwa mu ngeri eyo kiraga nti omuntu ategeera bulungi ekifo ky’omwoyo omutukuvu mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda.
17 Olina ky’oyize ku mwoyo omutukuvu okuyitira mu kusoma Baibuli? Ng’ekyokulabirako, kati okimanyi bulungi nti abo abaawandiika Ebyawandiikibwa baaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. (2 Tim. 3:16) Bwe wagenda okulaakulana mu by’omwoyo, weeyongera okukitegeera nti ‘Kitaffe ow’omu ggulu awa omwoyo gwe omutukuvu abo abamusaba,’ nga naawe mw’oli. (Luk. 11:13) Oboolyawo olabye n’engeri omwoyo omutukuvu gye gukuyambyemu. Ku luuyi olulala, bw’oba tonnabatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu, ekyo Yesu kye yagamba nti Kitaffe awa omwoyo gwe omutukuvu abo abamusaba, kiraga nti waliwo emikisa mingi egikulindiridde mu biseera eby’omu maaso bw’onoofuna omwoyo ogwo.
18. Abo ababatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu bafuna mikisa ki?
18 Kyeyoleka bulungi ne leero nti Yakuwa akulembera ekibiina Ekikristaayo era akiwa obulagirizi ng’ayitira mu mwoyo gwe. Era omwoyo ogwo gutuyamba kinnoomu mu bintu bye tukola buli lunaku. Okubatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu kizingiramu okutegeera ekifo kye gulina mu bulamu bwaffe n’okukolera ku bulagirizi bwagwo. Kyokka abamu bayinza okwebuuza engeri gye tusobola okutuukirizaamu okwewaayo kwaffe eri Yakuwa n’engeri omwoyo omutukuvu gye gutuyambamu. Ekyo kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Awake! Okitobba 22, 1981, olupapula 3-8.
Ojjukira?
• Okubatizibwa mu linnya lya Kitaffe kizingiramu ki?
• Okubatizibwa mu linnya ly’Omwana kitegeeza ki?
• Oyinza otya okulaga nti otegeera bulungi kye kitegeeza okubatizibwa mu linnya lya Kitaffe n’Omwana?
• Okubatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu kitegeeza ki?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]
Oluvannyuma lwa Pentekooti 33 E.E., abayigirizwa abapya bafuna nkolagana ki ne Kitaffe?
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
By permission of the Israel Museum, Jerusalem