Makko
11 Bwe baali banaatera okutuuka e Yerusaalemi, nga batuuse e Besufaage era n’e Bessaniya+ ku Lusozi olw’Emizeyituuni, n’atuma abayigirizwa be babiri+ 2 n’abagamba nti: “Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era amangu ddala nga mwakakayingiramu, mujja kulaba omwana gw’endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu yenna. Mugusumulule muguleete. 3 Omuntu yenna bw’ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ mumugambe nti, ‘Mukama waffe agwetaaga, era gujja kukomezebwawo mangu.’” 4 Ne bagenda ne basanga omwana gw’endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango, ku mabbali g’oluguudo, ne bagusumulula.+ 5 Naye abamu ku abo abaali bayimiridde awo ne bababuuza nti: “Lwaki musumulula omwana gw’endogoyi ogwo?” 6 Ne babaddamu nga Yesu bwe yali abagambye, ne babaleka ne bagenda.
7 Awo ne baleeta omwana gw’endogoyi+ eri Yesu, ne baguteekako ebyambalo byabwe eby’okungulu, n’agutuulako.+ 8 Era bangi ne baalirira ebyambalo byabwe eby’okungulu mu kkubo ate abalala ne batema amatabi ku miti egy’oku ttale.+ 9 Abo abaali bakulembedde n’abo abaali bava emabega ne boogerera waggulu nga bagamba nti: “Tukusaba, olokole!+ Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa!*+ 10 Obwakabaka bwa kitaffe Dawudi obugenda okujja buweereddwa omukisa!+ Tukusaba, lokola ggwe ali waggulu!” 11 Awo n’atuuka mu Yerusaalemi n’ayingira mu yeekaalu, n’atunuulira ebintu byonna ebyalimu, naye olw’okuba obudde bwali bunaatera okuwungeera, n’afuluma n’agenda e Bessaniya ng’ali n’Ekkumi n’Ababiri.+
12 Ku lunaku olwaddako, bwe baali nga bava e Bessaniya, enjala n’emuluma.+ 13 N’alengera omutiini ogwaliko ebikoola, era n’agenda okulaba obanga anaasangako ebibala. Naye bwe yagutuukako, n’atasangako kibala kyonna okuggyako ebikoola, kubanga ekyo si kye kyali ekiseera emitiini mwe gibalira. 14 N’agugamba nti: “Tewabangawo alya ku bibala byo emirembe n’emirembe.”+ Era abayigirizwa be baali bawulira.
15 Awo ne batuuka e Yerusaalemi. N’ayingira mu yeekaalu, n’agobamu abaali batundiramu ebintu n’abo abaali babigula, n’avuunika emmeeza z’abo abaali bavungisa ssente era n’entebe z’abo abaali batunda amayiba,+ 16 era n’atakkiriza muntu yenna kuyisa kintu kyonna mu yeekaalu. 17 Era n’ayigiriza abantu ng’agamba nti: “Tekyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabirwamu amawanga gonna’?+ Naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.”+ 18 Bakabona abakulu n’abawandiisi bwe baakiwulira, ne banoonya engeri gye bayinza okumuttamu;+ kubanga baali bamutya olw’okuba abantu baawuniikiriranga olw’engeri gye yayigirizangamu.+
19 Bwe bwawungeera, ne bava mu kibuga. 20 Era bwe baali batambula ku makya ennyo ne balaba omutiini nga gukaze okuviira ddala ku mirandira.+ 21 Peetero bwe yajjukira ebyali bibaddewo n’amugamba nti: “Labbi, laba! omutiini gwe wakolimidde gukaze.”+ 22 Yesu n’addamu nti: “Mube n’okukkiriza mu Katonda. 23 Mazima mbagamba nti buli anaagambanga olusozi luno nti, ‘Siguukulukuka ogwe mu nnyanja,’ kijja kuba bwe kityo singa aba tabuusabuusa mu mutima gwe, naye ng’alina okukkiriza nti ky’ayogedde kijja kutuukirira.+ 24 Kyenva mbagamba nti ebintu byonna bye musaba, mube n’okukkiriza nti mubifunye, era mulibifuna.+ 25 Bwe muba musaba, musonyiwenga buli aba abakoze ekibi, nammwe Kitammwe ali mu ggulu asobole okubasonyiwa ebibi byammwe.”+ 26 *—
27 Awo ne bakomawo nate e Yerusaalemi. Era bwe yali atambula mu luggya lwa yeekaalu, bakabona abakulu n’abawandiisi n’abakadde ne bajja 28 ne bamubuuza nti: “Oggya wa obuyinza okukola ebintu bino? Era ani eyakuwa obuyinza okubikola?”+ 29 Yesu n’abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Bwe munanziramu, nange nja kubabuulira gye nzigya obuyinza okukola ebintu bino. 30 Yokaana yaggya wa obuyinza okubatiza,+ mu ggulu oba mu bantu? Munziremu.”+ 31 Ne batandika okwogera bokka na bokka nti: “Singa tugamba nti ‘Yabuggya mu ggulu,’ ajja kugamba nti, ‘Lwaki temwamukkiriza?’ 32 Oba tugambe nti ‘Yabuggya mu bantu’?” Baatya okwogera bwe batyo olw’ekibiina ky’abantu kubanga abantu abo bonna baali bakitwala nti Yokaana yali nnabbi.+ 33 Ne baddamu Yesu nti: “Tetumanyi.” Yesu n’abagamba nti: “Nange sijja kubabuulira gye nzigya buyinza kukola bintu bino.”