ESSUULA 27
‘Obulungi Bwe nga Bungi!’
1, 2. Obulungi bwa Katonda bukoma wa, era Baibuli eggumiza etya engeri eno?
AWO ng’enjuba egolooba, ab’omukwano bali ku kijjulo wabweru w’ennyumba. Baseka, banyumya ng’ate bwe banyumirwa okulaba enjuba ng’egolooba. Mu kifo ekirala, omulimi atunuulira ennimiro ye era n’asanyuka kubanga ebire bikutte era amatondo g’enkuba gatandise okugwa ku birime bye ebyetaaga ennyo enkuba. Mu kifo ekirala, omwami n’omukyala basanyuka bwe balaba ng’omwana waabwe asooka atandiikiriza okutambula.
2 Ka babe ng’abantu abo bakimanyi oba nedda, bonna baganyulwa mu kintu kye kimu—obulungi bwa Yakuwa Katonda. Bannaddiini abamu batera okuddiŋŋana ebigambo nti “Katonda mulungi.” Yo Baibuli ekiggumiza n’okusingawo. Egamba: ‘Obulungi bwe nga bungi!’ (Zekkaliya 9:17) Kyokka, kirabika nti abantu batono nnyo leero abamanyi ebigambo ebyo kye bitegeeza. Obulungi bwa Yakuwa Katonda ddala buzingiramu ki, era engeri eno eya Katonda etukwatako etya?
Ngeri Nkulu Nnyo ey’Okwagala kwa Katonda
3, 4. Obulungi kye ki, era lwaki obulungi bwa Yakuwa buyinza okwogerwako ng’ekikolwa ekyoleka okwagala kwe?
3 Okusinziira ku Baibuli, ekigambo obulungi kitegeeza empisa ennungi. Mu ngeri emu, tuyinza okugamba nti obulungi bweyolekera mu Yakuwa. Engeri ze zonna—nga mw’otwalidde amaanyi, obwenkanya, n’amagezi—nnungi nnyo. Wadde kiri kityo, obulungi buyinza okwogerwako ng’emu ku ngeri ezooleka okwagala kwa Yakuwa. Lwaki?
4 Obulungi ngeri eyeeyolekera mu bikolwa. Omutume Pawulo yalaga nti mu bantu, obulungi busikiriza nnyo okusinga obutuukirivu. (Abaruumi 5:7) Omuntu omutuukirivu asuubirwa okugoberera butiribiri amateeka naye omuntu omulungi akola ekisingawo ku ekyo. Abaako ne ky’akolawo, ng’anoonya engeri ey’okuyambamu abalala. Nga bwe tujja okulaba, Yakuwa mulungi mu ngeri eyo. Kya lwatu, obulungi ng’obwo busibuka mu kwagala kwa Yakuwa okungi.
5-7. Lwaki Yesu yagaana okuyitibwa “Omuyigiriza Omulungi,” era mazima ki ge yaggumiza awo?
5 Era Yakuwa wa njawulo mu ngeri gy’alagamu obulungi bwe. Ng’ebulayo ekiseera kitono Yesu attibwe, omusajja omu yamutuukirira n’amubuuza ekibuuzo, era n’amuyita “Omuyigiriza Omulungi.” Yesu yamuddamu: “Ompitira ki omulungi? [T]ewali mulungi wabula omu, ye Katonda.” (Makko 10:17, 18) Naye, ebigambo ebyo biyinza okukwewuunyisa. Lwaki Yesu yagolola omusajja oyo? Yesu teyali ‘Muyigiriza Mulungi’?
6 Kya lwatu, omusajja oyo yakozesa ebigambo “Omuyigiriza Omulungi” ng’awa Yesu ekitiibwa eky’ensusso. Ekitiibwa ng’ekyo, mu bwetoowaze Yesu yakiwa Kitaawe ow’omu ggulu, omulungi mu bujjuvu, mu buli ngeri. (Engero 11:2) Kyokka era, Yesu yali aggumiza amazima ag’ekitalo. Yakuwa yekka y’alina obuyinza obujjuvu okusalawo ekirungi n’ekibi. Adamu ne Kaawa bwe baajeema ne balya ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi, baayagala okutwala obuyinza obwo. Okubaawukanako, mu bwetoowaze Yesu aleka Kitaawe okumusalirawo ekirungi n’ekibi.
7 Ate era, Yesu yali amanyi nti Yakuwa ye nsibuko ya buli kirungi kyonna. Ye Mugabi wa ‘buli kirabo kirungi na buli kitone kituukirivu.’ (Yakobo 1:17) Ka tulabe engeri obulungi bwa Yakuwa gye bweyolekamu mu kugabira abalala.
Obujulizi Obulaga Obulungi bwa Yakuwa Obungi
8. Yakuwa alaze atya abantu bonna obulungi?
8 Buli muntu yenna eyali abaddewo aganyuddwa mu bulungi bwa Yakuwa. Zabbuli 145:9 lugamba: ‘Mukama mulungi eri bonna.’ Byakulabirako ki ebimu ebiraga obulungi bwe? Baibuli egamba: “Teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng’abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby’okubalirangamu emmere, ng’ajjuzanga emitima gyammwe emmere n’essanyu.” (Ebikolwa 14:17) Emmere ewooma ekusanyusa? Singa tebwali bulungi bwa Yakuwa mu kuteekateeka ensi awamu n’amazzi agagiriko “n’ebiro eby’okubalirangamu emmere” ebisobozesa emmere okubala mu bungi, tewandibaddewo mmere. Obulungi obwo Yakuwa tabulaze abo bokka abamwagala naye abulaze buli omu. Yesu yagamba: “Enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”—Matayo 5:45.
Yakuwa ‘abawa enkuba n’ebiro eby’okubaliramu emmere’
9. Apo eyoleka etya obulungi bwa Yakuwa?
9 Bangi tebasiima bulungi Yakuwa bw’abalaga olw’okuba buli kiseera wabaawo ekitangaala, enkuba n’ebiro ebibaza emmere. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kibala ekiyitibwa apo. Kibala ekirimibwa mu bitundu ebimu eby’ensi ebitali bya bbugumu nnyo era nga si binnyogovu nnyo. Kifaanana bulungi era kiwooma nnyo, kirina omucuuzi oguweweeza n’ebiriisa ebyetaagisa. Wali okimanyi nti okwetooloola ensi yonna eriyo ebika bya apo nga 7,500, nga mwe muli ebirina langi emmyufu, eya kyenvu, kiragala era ng’eriyo entono ennyo ezenkana ensaali n’ennene ennyo ezenkana sseccungwa? Bw’otunuulira akasigo ka apo akatono ennyo, kayinza okulabika ng’akatalina mugaso. Kyokka, akasigo ako akatono ennyo kakulamu ogumu ku miti egisingayo okulabika obulungi. (Oluyimba 2:3) Mu kiseera kya ttogo, omuti gwa apo gumulisa; ate mu kiseera kya ddumbi ne gubala ebibala. Omuti gwa apo guyinza okuwangaala emyaka 75, nga buli mwaka gubala ebibala ebijjuza ebibokisi 20 nga buli kimu kizitowa kilo 19!
10, 11. Okulaba, okuwulira, okuwunyiriza, okukwata, n’okuloza byoleka bitya obulungi bwa Katonda?
10 Mu bulungi bwe obungi, Yakuwa yatuwa omubiri ‘ogwakolebwa mu ngeri ey’ekitalo,’ nga gutusobozesa okutegeera emirimu gye n’okugisanyukira. (Zabbuli 139:14) Lowooza ku ebyo ebyayogeddwako ku ntandikwa y’essuula eno. Biki bye tulaba ebitusanyusa? Akaseko k’omwana asanyuse. Enkuba ng’etonnya mu nnimiro. Langi emmyufu, eya kyenvu, n’endala ezirabibwa ng’enjuba egolooba. Eriiso ly’omuntu lisobola okulaba langi ez’enjawulo ezisoba mu 300,000! Era tuyinza okuwulira amaloboozi agatali gamu, gamba ng’okuwuuma kw’empewo ekunta mu miti, n’okuseka kw’omwana omuto. Lwaki tusobola okulaba n’okuwulira ebintu ng’ebyo? Baibuli egamba: “Okutu okuwulira, n’eriiso eriraba, Mukama ye yakola byombi.” (Engero 20:12) Naye ebyo bintu bibiri byokka bye twogeddeko.
11 Okuwunyiriza bwe bujulizi obulala obulaga obulungi bwa Yakuwa. Ennyindo y’omuntu eyinza okwawulawo ebintu ebiwunya obulungi oba obubi nga 10,000. Lowooza ku bino: akawoowo k’emmere gy’oyagala ng’efumbibwa, ebimuli, n’omukka oguva mu muliro. Era n’okukwatako kukusobozesa okuwulira empewo ng’ekufuuye ku mubiri, omwagalwa wo bw’akugwa mu kifuba, n’obuweweevu bw’ekibala ng’okikutte mu mukono gwo. Bw’okiruma, okozesa obusobozi obw’okulozaako. Owulira obuwoomi bwakyo. Mazima ddala tulina ensonga ennungi okwogera tuti ku Yakuwa: “Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya!” (Zabbuli 31:19) Kyokka, Yakuwa ‘aterekedde’ atya obulungi abo abamutya?
Obulungi Obuvaamu Emiganyulo egy’Olubeerera
12. Nteekateeka ki okuva eri Yakuwa ezisinga obukulu, era lwaki?
12 Yesu yagamba: “Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Matayo 4:4) Mazima ddala, enteekateeka za Yakuwa ez’eby’omwoyo ziyinza okutuganyula ennyo n’okusinga ez’eby’omubiri, kubanga zitusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Mu Ssuula 8 ey’ekitabo kino, twalaba nti Yakuwa akozesezza amaanyi ge ag’okuzza obuggya ebintu mu nnaku zino ez’enkomerero okuleetawo olusuku lwe olw’eby’omwoyo. Ekintu ekikulu ennyo mu biri mu lusuku olwo ye mmere ennyingi ey’eby’omwoyo.
13, 14. (a) Kiki nnabbi Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa, era kirina makulu ki gye tuli leero? (b) Nteekateeka ki ez’obulamu obw’eby’omwoyo Yakuwa z’akolera abaweereza be abeesigwa?
13 Mu bumu ku bunnabbi obukulu ennyo obw’okuzza ebintu obuggya, nnabbi Ezeekyeri yayolesebwa ensi ezziddwa obuggya ne yeekaalu egulumiziddwa. Omugga gwakulukuta okuva mu yeekaalu eyo, ne gugenda nga gugaziwa era nga guwanvuwa okutuusa bwe gwafuuka ‘omugga ogw’emirundi ebiri.’ Buli gye gwakulukutiranga, gwaleetanga emikisa. Ku mbalama zaagwo kwakulako emiti egyavangako emmere era nga giwonya. Era omugga ogwo gwaleeta obulamu mu Nnyanja Enfu! (Ezeekyeri 47:1-12) Naye, ebyo byonna byali bitegeeza ki?
14 Okwolesebwa kwali kutegeeza nti Yakuwa ajja kuzzaawo enteekateeka ye ey’okusinza okulongoofu, nga bwe kyalagibwa yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba. Okufaananako omugga ogwo gwe yalaba mu kwolesebwa, enteekateeka za Katonda ez’obulamu zandikulukuse eri abantu be mu bungi. Okuva okusinza okulongoofu bwe kwazzibwawo mu 1919, Yakuwa akoledde abantu be enteekateeka ez’okufuna obulamu. Mu ngeri ki? Baibuli, ebitabo ebigyesigamiziddwako, enkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ennene, biyambye obukadde n’obukadde bw’abantu okuyiga amazima. Ng’akozesa ebintu ebyo, Yakuwa ayigirizza abantu be ekisingayo obukulu mu nteekateeka ze ez’okufuna obulamu—ekinunulo kya ssaddaaka ya Kristo, ekisobozesa abo bonna abaagala Katonda era abamutya okufuna enkolagana ennungi naye era n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.a N’olwekyo, mu nnaku zino ez’enkomerero, ng’ensi eri mu njala ey’eby’omwoyo, abantu ba Yakuwa babadde ne mmere ey’eby’omwoyo mu bungi.—Isaaya 65:13.
15. Obulungi bwa Yakuwa bunaakulukuta mu ngeri ki eri abantu abeesigwa mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi?
15 Naye, omugga Ezeekyeri gwe yalaba mu kwolesebwa tegujja kulekera awo kukulukuta ng’embeera z’ebintu zino zikomye. Wabula, gujja kukulukuta n’okusingawo mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Olwo nno, okuyitira mu Bwakabaka bwa Masiya, Yakuwa ajja kukozesa ssaddaaka ya Yesu mu bujjuvu, mpolampola atuuse abantu ku ssa ly’obutuukirivu. Mu kiseera ekyo, nga tulisanyukira nnyo obulungi bwa Yakuwa!
Engeri Endala ez’Obulungi bwa Yakuwa
16. Baibuli eraga etya nti obulungi bwa Yakuwa buzingiramu n’engeri endala, era ezimu ku zo ze ziruwa?
16 Obulungi bwa Yakuwa tebukoma ku kuba nti agaba bugabi. Katonda yagamba Musa: “N[n]aayisa obulungi bwange bwonna mu maaso go, era n[n]aatendera erinnya lya Mukama mu maaso go.” Oluvannyuma Ebyawandiikibwa bitugamba: “Mukama n’ayita mu maaso ge, n’atendera nti Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi.” (Okuva 33:19; 34:6) N’olwekyo, obulungi bwa Yakuwa buzingiramu engeri endala ennungi. Ka twekenneenyeko bbiri ku zo.
17. Ekisa kye ki, era Yakuwa akyolese atya eri abantu abatatuukiridde?
17 ‘Wa kisa.’ Engeri eno etutegeeza bingi ku ngeri Yakuwa gy’akolaganamu n’ebitonde bye. Mu kifo ky’okubeera omukambwe, atalina mukwano, oba nnaakyemalira ng’abantu abalina obuyinza bwe batera okubeera, Yakuwa mukkakkamu era wa kisa. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yagamba Ibulaamu: “Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng’oyima mu kifo mw’oli, obukiika obwa kkono n’obwa ddyo n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba.” (Olubereberye 13:14) Abeekenneenya ba Baibuli bagamba nti ebigambo by’Olwebbulaniya olwasooka ebikozesebwa mu lunyiriri luno byoleka okusaba n’eggonjebwa. Waliwo n’ebyokulabirako ebirala ebikifaananako. (Olubereberye 31:12; Ezeekyeri 8:5) Kiteebereze, Omufuzi w’obutonde bwonna ayogera n’abantu n’eggonjebwa ng’alina ky’abasaba! Mu nsi ejjudde obukambwe, tekizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Katonda waffe, Yakuwa, wa kisa?
18. Mu ngeri ki Yakuwa ‘gy’alina amazima amangi,’ era lwaki ebigambo ebyo bizzaamu amaanyi?
18 ‘Alina amazima mangi.’ Abantu bangi si beesigwa leero. Naye Baibuli etujjukiza: “Katonda si muntu, okulimba.” (Okubala 23:19) Mu butuufu, Tito 1:2, lugamba nti ‘Katonda tayinza kulimba.’ Mulungi nnyo n’aba nga tasobola kulimba. N’olwekyo, ebisuubizo bya Yakuwa byesigika, era byayogera bulijjo bituukirira. Era Yakuwa ayitibwa ‘Katonda ow’amazima.’ (Zabbuli 31:5) Ng’oggyeko obutalimba, ategeeza abalala amazima mu bungi. Takola bintu mu nkukutu; wabula awa abaweereza be abeesigwa ekitangaala okuva mu tterekero lye ery’amagezi.b Abayigiriza n’engeri y’okugobereramu amazima g’abayigiriza ne basobola ‘okutambulira mu mazima.’ (3 Yokaana 3) Okutwalira awamu, obulungi bwa Yakuwa bwanditukutteko butya kinnoomu?
‘Sanyukira Obulungi bwa Yakuwa’
19, 20. (a) Setaani yagezaako atya okuleetera Kaawa okubuusabuusa obulungi bwa Yakuwa, era kiki ekyavaamu? (b) Obulungi bwa Yakuwa bwanditukozeeko ki, era lwaki?
19 Setaani bwe yali akema Kaawa mu lusuku Adeni, mu ngeri ey’obukujjukujju yamuleetera okubuusabuusa obulungi bwa Yakuwa. Yakuwa yali agambye Adamu: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga.” Ku miti emingi ennyo egyali mu lusuku olwo, gumu gwokka Yakuwa gwe yabagaana okulyako. Kyokka, weetegereze engeri Setaani gye yabuuzaamu Kaawa: “Bw’atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” (Olubereberye 2:9, 16; 3:1) Setaani yanyoolanyoola ebigambo bya Yakuwa, Kaawa alowooze nti Yakuwa yalina ekirungi kye yali abakweka. Eky’ennaku, akakodyo ako kaakola. Kaawa, okufaananako abasajja n’abakazi bangi abaamuddirira, yatandika okubuusabuusa obulungi bwa Katonda, eyali amuwadde buli kyonna kye yalina.
20 Tumanyi ennaku n’obuyinike ebyava mu kubuusabuusa okwo. N’olwekyo, ka tugoberere ebigambo ebiri mu Yeremiya 31:12: “Balikulukutira [“balisanyukira,” NW] wamu awali obulungi bwa Mukama.” Mazima ddala, obulungi bwa Yakuwa bwandituleetedde essanyu ppitirivu. Tetulina kubuusabuusa biruubirirwa bya Katonda waffe, ajjudde obulungi. Tuyinza okumwesiga mu bujjuvu kubanga ayagaliza birungi byereere abo abamwagala.
21, 22. (a) Ngeri ki ezimu mw’oyinza okulagira nti osiima obulungi bwa Yakuwa? (b) Ngeri ki gye tujja okwogerako mu ssuula eddako, era eyawukana etya ku bulungi?
21 Ate era, bwe tufuna omukisa okutegeeza abalala ku bulungi bwa Yakuwa, tufuna essanyu. Zabbuli 145:7 lwogera luti ku bantu ba Katonda: “Banaayatulanga obulungi bwo obungi.” Buli lunaku, tuganyulwa mu bulungi bwa Yakuwa mu ngeri emu oba endala. Lwaki togifuula mpisa yo okwebaza Yakuwa buli lunaku olw’obulungi bwe, ng’omwebaza olw’ekirungi ekyo kyennyini ky’akoze? Okulowooza ku bulungi bwe n’okumwebaza buli lunaku, era n’okubuulirako abalala, kijja kutuyamba okukoppa Katonda waffe omulungi. Era, bwe tunoonya amakubo ag’okwolekamu obulungi, nga Yakuwa bw’akola, enkolagana yaffe naye ejja kweyongera. Omutume Yokaana eyali akaddiye yagamba: “Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi. Akola obulungi ye wa Katonda.”—3 Yokaana 11.
22 Obulungi bwa Yakuwa era bukwataganyizibwa n’engeri endala. Ng’ekyokulabirako, Katonda “alina okusaasira kungi” oba mwesigwa nnyo. (Okuva 34:6) Engeri eno, okusingira ddala Yakuwa agyoleka eri abaweereza be abeesigwa. Mu ssuula eddako, tujja kuyiga engeri gy’akikolamu.
a Tewali kyakulabirako kyoleka bulungi bwa Yakuwa okusinga ekinunulo. Ku bukadde n’obukadde bw’ebitonde eby’omwoyo, Yakuwa yalondamu Omwana we omu yekka omwagalwa, okutufiiririra.
b Nga kituukirawo, Baibuli ekwataganya amazima n’ekitangaala. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba, ‘tuma ekitangaala kyo n’amazima.’ (Zabbuli 43:3) Yakuwa awa abo abaagala okuyigirizibwa ekitangaala eky’eby’omwoyo mu bungi.—2 Abakkolinso 4:6; 1 Yokaana 1:5.