Okusaba
4 Biki by’Osaanidde Okusaba?
MU SSAALA zonna Abakristaayo ze basaba mu nsi yonna, eno gye basinga okuddiŋŋana. Ka kibe nti ekyo kituufu oba nedda, essaala ya Yesu ey’okulabirako—etera okuyitibwa Essaala ya Mukama Waffe oba Kitaffe Ali mu Ggulu—abantu abasinga obungi tebagitegeera bulungi. Obukadde n’obukadde bw’abantu bamala gaddiŋŋana bigambo ebigirimu nga tebabifumiitirizzaako, era nga kino bakikola buli lunaku oboolyawo enfunda n’enfunda. Naye ekyo si kye kyali ekigendererwa kya Yesu essaala eyo okugikozesa mu ngeri eyo. Kino tukimanya tutya?
Nga tannaba kwogera bigambo ebiri mu ssaala eyo, Yesu yagamba nti: “Bwe mubanga musaba, temuddiŋŋananga bigambo.” (Matayo 6:7) Yesu ate yandibadde akubagana empawa ng’ababuulira ebigambo eby’okukwata obukusu n’okuddiŋŋananga? Nedda! Wabula, Yesu yali atuyigiriza biki bye tusaanidde okusaba, era yali atuwa ebintu ebikulu bye tusaanidde okulowoozaako bwe tuba tusaba. Ka twekenneenye ebyo bye yayogera. Essaala eyo esangibwa mu Matayo 6:9-13.
“Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.”
Yesu yajjukiza abagoberezi be nti Kitaawe, Yakuwa, ye yekka gwe basaanidde okusaba. Naye omanyi ensonga lwaki erinnya lya Katonda kkulu nnyo era lwaki lisaanidde okutukuzibwa?
Okuviira ddala ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu, erinnya lya Katonda ettukuvu lisiigiddwa enziro. Omulabe wa Katonda omukulu, Sitaani, ayise Yakuwa omulimba, Omufuzi nnaakyemalira, atasaanidde kufuga bitonde bye. (Olubereberye 3:1-6) Bangi beegasse ku Sitaani, nga bayigiriza nti Katonda tafaayo, mukambwe, tasonyiwa, era abamu batuuse n’okugamba nti si Ye Mutonzi. Abalala baggudde olutalo ku linnya lye lyennyini, nga baggya erinnya lye Yakuwa mu nkyusa za Baibuli era nga bagaana abantu okulikozesa.
Baibuli eraga nti Katonda ajja kuggyawo obutali bwenkanya obwo bwonna. (Ezeekyeri 39:7) Mu kukola ekyo, ajja kukola ku bwetaavu bwo bwonna era aggyewo ebizibu byo byonna. Kino anaakikola atya? Ebigambo ebiddako mu ssaala ya Yesu bituwa eky’okuddamu.
“Obwakabaka bwo bujje.”
Leero, abasomesa b’eddiini balina endowooza ezitakwatagana ku bikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Naye ng’abo abaali bawuliriza Yesu bwe baali bakimanyi, bannabbi ba Katonda baali baalagula dda nti Masiya, Omulokozi Katonda gwe yalonda, yandifuze nga Kabaka mu Bwakabaka obwandireese enkyukakyuka ku nsi. (Isaaya 9:6, 7; Danyeri 2:44) Bujja kutukuza erinnya lya Katonda nga bwanika obulimba bwa Sitaani era oluvannyuma buggyewo Sitaani n’ebikolwa bye byonna. Obwakabaka bwa Katonda bujja kukomya entalo, obulwadde, enjala—n’okufa. (Zabbuli 46:9; 72:12-16; Isaaya 25:8; 33:24) Bw’osaba Obwakabaka bwa Katonda bujje, oba osaba Katonda atuukirize ebisuubizo ebyo.
“By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”
Ebigambo bya Yesu biraga nti ebyo Katonda by’ayagala bijja kukolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu, Katonda gy’abeera. Tewali kisobodde kulemesa ebyo Katonda by’ayagala kukolebwa mu ggulu; Omwana wa Katonda yalwana olutalo ne Sitaani awamu ne bamalayika be n’abasuula wano ku nsi. (Okubikkulirwa 12:9-12) Okufaananako ebintu ebibiri bye twasoose okulaba ebiri mu ssaala ey’okulabirako, ekintu kino eky’okusatu kituyamba okussa essira ku bintu ebisinga obukulu—si ebyo ffe bye twagala wabula Katonda by’ayagala. Ebyo Katonda by’ayagala bye bisobozesa ebitonde byonna okubeera obulungi. Olaba ne Yesu atuukiridde yagamba Kitaawe nti: “Kye njagala si kye kiba kikolebwa wabula ggwe ky’oyagala.”—Lukka 22:42.
“Otuwe emmere yaffe eya leero.”
Yesu yeeyongera okulaga nti tusobola n’okusaba ebyetaago byaffe. Si kikyamu okusaba Katonda atuwe ebyetaago byaffe ebya buli lunaku. Mu butuufu, okukola kino kitujjukiza nti Yakuwa “y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna.” (Ebikolwa 17:25) Baibuli ekyoleka kaati nti ye muzadde ow’okwagala ayagala ennyo okuwa abaana be bye beetaaga. Kyokka, okufaananako omuzadde omulungi, Yakuwa tajja kuwa baana be ebyo bye bamusaba nga tebijja kubaganyula.
“Otusonyiwe amabanja gaffe.”
Ddala waliwo ekintu kyonna Katonda ky’akubanja? Weetaaga akusonyiwe? Bangi leero tebakyategeera ekibi kye ki era nti tekisaanidde kubuusibwa maaso. Naye Baibuli eyigiriza nti ekibi y’ensibuko y’ebizibu byonna bye tulina, kubanga kye kiviirako abantu okufa. Okuva bwe kiri nti twazaalibwa tuli boonoonyi, ffenna tusobya obutayosa era twetaaga okusonyiyibwa Katonda okusobola okuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. (Abaruumi 3:23; 5:12; 6:23) Kituleetera obuweerero okumanya nti Baibuli egamba: “Ggwe, Mukama [“Yakuwa,” NW], oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa.”—Zabbuli 86:5.
“Tulokole okuva eri omubi.”
Okimanyi nti mu kiseera kino weetaaga nnyo obukuumi bwa Katonda? Bangi tebakkiriza nti “omubi,” Sitaani, gyali. Naye Yesu yayigiriza nti Sitaani wa ddala, era yatuuka n’okumuyita “omufuzi w’ensi eno.” (Yokaana 12:31; 16:11) Sitaani abuzaabuzizza ensi eno gy’afuga era mumalirivu okukubuzaabuza, okukulemesa okukola omukwano ne Kitaawo, Yakuwa. (1 Peetero 5:8) Kyokka, Yakuwa asinga Sitaani amaanyi era ayagala nnyo okukuuma abo abamwagala.
Ebyo bye tulabyeko mu bufunze ebikwata ku nsonga enkulu Yesu ze yayogerako mu ssaala ye ey’okulabirako tebyogera ku bintu byonna bye tusaanidde okusaba. Jjukira ekyo 1 Yokaana 5:14 kye woogera ku Katonda, wagamba nti: “Bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.” N’olwekyo teweeraliikirira ng’olowooza nti ebizibu byo si bikulu nnyo era nti tosaanidde kubitegeeza Katonda.—1 Peetero 5:7.
Ate kiri kitya ku bikwata ku kiseera n’ekifo? Kikulu okumanya wa na ddi lw’osaanidde okusaba?