Olubereberye
3 Omusota+ gwali mwegendereza* nnyo okusinga ensolo zonna ez’omu nsiko Yakuwa Katonda ze yali akoze. Ne gugamba omukazi nti: “Ddala Katonda yagamba nti temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?”+ 2 Omukazi n’agamba omusota nti: “Tusobola okulya ku bibala eby’emiti egy’omu lusuku.+ 3 Naye ku bibala eby’omuti oguli wakati mu lusuku,+ Katonda yagamba nti, ‘Temugulyangako wadde okugukwatako. Bwe munaakikola mujja kufa.’” 4 Omusota ne gugamba omukazi nti: “Okufa temujja kufa.+ 5 Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako, amaaso gammwe galizibuka ne muba nga Katonda, nga mumanyi ekirungi n’ekibi.”+
6 Awo omukazi n’alaba ng’omuti mulungi okulyako, nga gulabika bulungi, era nga gusanyusa okutunuulira. Bw’atyo n’anoga ku bibala byagwo n’alya.+ Oluvannyuma bwe yali n’omwami we n’amuwaako naye n’alya.+ 7 Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bakitegeera nti baali bwereere. Bwe batyo, ne batunga ebikoola by’omutiini ne babikka ku bwereere bwabwe.+
8 Oluvannyuma omusajja ne mukazi we ne bawulira eddoboozi lya Yakuwa Katonda ng’atambula mu lusuku mu kiseera eky’oluwewowewo, ne beekweka mu miti egy’omu lusuku Yakuwa Katonda aleme okubalaba. 9 Yakuwa Katonda n’ayita omusajja, n’amugamba nti: “Oli ludda wa?” 10 Omusajja n’addamu nti: “Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku ne ntya kubanga mbadde bwereere, era kyenvudde nneekweka.” 11 Awo n’amugamba nti: “Ani akugambye nti obadde bwereere?+ Olidde ku muti gwe nnakulagira obutalyako?”+ 12 Omusajja n’agamba nti: “Omukazi gwe wampa okubeera nange y’ampadde ekibala ky’omuti nange ne ndya.” 13 Awo Yakuwa Katonda n’agamba omukazi nti: “Kiki kino ky’okoze?” Omukazi n’addamu nti: “Omusota gwannimbyerimbye ne ndya.”+
14 Yakuwa Katonda n’agamba omusota+ nti: “Olw’okuba okoze ekintu kino, okolimiddwa mu nsolo zonna ez’awaka ne mu nsolo zonna ez’omu nsiko. Ojja kwewaluliranga ku lubuto lwo era ojja kulyanga nfuufu ennaku zonna ez’obulamu bwo. 15 Era nja kuteekawo obulabe*+ wakati wo+ n’omukazi,+ ne wakati w’ezzadde lyo+ n’ezzadde lye.+ Alikubetenta* omutwe+ era naawe olimubetenta ekisinziiro.”+
16 N’agamba omukazi nti: “Nnaakwongerangako obulumi ng’oli lubuto; mu bulumi mw’onoozaaliranga abaana, era oneegombanga nnyo balo, era anaakufuganga.”
17 N’agamba ne Adamu* nti: “Olw’okuba owulirizza eddoboozi lya mukazi wo n’olya ku muti gwe nnakulagira+ nti, ‘Togulyangako,’ ettaka likolimiddwa ku lulwo.+ Mu kutegana* mw’onooliiranga ebibala byalyo ennaku zonna ez’obulamu bwo.+ 18 Lijja kukumerezanga amaggwa n’amatovu era ojja kulyanga ebimera eby’oku ttale. 19 Mu ntuuyo z’omu maaso go mw’onooliiranga emmere* okutuusa lw’olidda mu ttaka, kubanga omwo mwe waggibwa.+ Kubanga oli nfuufu era mu nfuufu mw’olidda.”+
20 Oluvannyuma Adamu n’atuuma mukazi we Kaawa,* kubanga ye yali agenda okuba nnyina w’abo bonna abalamu.+ 21 Yakuwa Katonda n’akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo ebiwanvu eby’amaliba ne bambala.+ 22 Yakuwa Katonda n’agamba nti: “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe mu kumanya ekirungi n’ekibi.+ Kati obutagolola mukono gwe kunoga na ku kibala eky’oku muti ogw’obulamu+ alye abeere mulamu emirembe gyonna,—” 23 Awo Yakuwa Katonda n’amugoba mu lusuku Edeni+ agende alimenga ettaka mwe yaggibwa.+ 24 Bw’atyo n’agobamu omuntu, era ku ludda olw’ebuvanjuba olw’olusuku Edeni n’ateekayo bakerubi+ n’ekitala ekyaka era nga kyetooloola obutasalako, okukuumanga ekkubo eryali ligenda ku muti ogw’obulamu.