Tobaako Ludda lw’Owagira mu Bintu by’Ensi Eno Eyeeyawuddemu
“Ebya Katonda mubiwe Katonda.”—MAT. 22:21.
1. Tuyinza tutya okugondera Katonda ate nga mu kiseera kye kimu tugondera ab’obuyinza?
EKIGAMBO KYA KATONDA kitukubiriza okugondera ab’obuyinza, naye ate kitugamba okugondera Katonda, so si abantu. (Bik. 5:29; Tit. 3:1) Kati olwo tugambe nti Bayibuli ekontana? Nedda! Yesu yatuwa omusingi ogutuyamba okumanya engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu. Yagamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”[1] (Mat. 22:21) Tuyinza tutya okukolera ku bigambo bya Yesu ebyo? Tuyinza okubikolerako nga tugondera amateeka ab’obuyinza ge bateekawo, nga tussa ekitiibwa mu bakungu ba gavumenti, era nga tusasula emisolo egiba gigerekeddwa. (Bar. 13:7) Naye singa ab’obuyinza batugamba okukola ekintu ekikontana n’amateeka ga Katonda, tetubagondera.
2. Tukiraga tutya nti tetulina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi by’ensi eno?
2 Engeri emu gye tuwaamu Katonda ebibye, kwe kwewala okubaako oludda lwe tuwagira mu by’obufuzi by’ensi. (Is. 2:4) Bwe kityo, tetuwakanya gavumenti z’abantu kubanga Katonda y’azireseewo zigire nga zifuga; era tetwenyigira mu bintu ebitumbula mwoyo gwa ggwanga. (Bar. 13:1, 2) Tetuwa ndowooza yaffe ku mateeka gavumenti g’essaanidde okuyisa, tetulonda, tetwesimbawo, era tetulwanyisa gavumenti.
3. Lwaki tulina okwewala okubaako oludda lwe tuwagira mu by’obufuzi?
3 Waliwo ensonga nnyingi lwaki Katonda atugamba obutabaako ludda lwe tuwagira mu bintu by’ensi eno. Okusookera ddala, tukoppa Omwana we, Yesu Kristo, nga ‘tetuba ba nsi,’ kwe kugamba, nga twewala okwenyigira mu by’obufuzi n’entalo. (Yok. 6:15; 17:16) Era bwe tutabaako ludda lwe tuwagira mu bintu by’ensi eno, tuba tulaga nti tuwagira Obwakabaka bwa Katonda. Tetusobola kugamba bantu nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu byaffe ate mu kiseera kye kimu ne tuba nga tuwagira obufuzi bw’abantu. Ate era obutafaananako madiini ag’obulimba agaleetedde abagoberezi baago okweyawulayawulamu nga beenyigira mu by’obufuzi, ffe abaweereza ba Katonda ab’amazima tetwenyigira mu bya bufuzi ebyo era ekyo kituyambye okusigala nga tuli bumu.—1 Peet. 2:17.
4. (a) Lwaki tusuubira nti kijja kweyongera okuba ekizibu okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi? (b) Lwaki tulina okuba abamalirivu kati okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu bintu by’ensi eno?
4 Kiyinzika okuba nga mu kitundu mwe tuli abantu n’ab’obuyinza tebatukaka kwenyigira mu bya bufuzi. Kyokka, ng’enkomerero egenda esembera, tusuubira nti kijja kweyongera okuba ekizibu gye tuli okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi. Olw’okuba leero ensi ejjudde abantu ‘abatakkiriza kukkaanya’ era ‘abakakanyavu,’ tusuubira nti ejja kweyongera bweyongezi kweyawulamu. (2 Tim. 3:3, 4) Mu nsi ezimu wabaddewo enkyukakyuka mu by’obufuzi ezizzeewo amangu era baganda baffe mu nsi ezo boolekaganye n’okusoomooza okw’amaanyi mu nsonga ey’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Olaba ensonga lwaki tulina okuba abamalirivu kati okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira? Bwe tunaalinda embeera ezitugezesa mu nsonga eyo zimale okutuuka, kiyinza okutubeerera ekizibu okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. Kati olwo tuyinza tutya okwetegeka tusobole okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu bintu by’ensi eno eyeeyawudde? Ka tulabeyo ebintu bina bye tuyinza okukola.
GAVUMENTI Z’ABANTU ZITUNUULIRE NGA YAKUWA BW’AZITUNUULIRA
5. Yakuwa atwala atya gavumenti z’abantu?
5 Ekintu ekisooka ekinaatuyamba okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi kwe kutunuulira gavumenti z’abantu nga Yakuwa bw’azitunuulira. Wadde nga gavumenti ezimu ziyinza okulabika ng’ennungi, kikulu okukijjukira nti Katonda teyatonda bantu nga balina okwefuga. (Yer. 10:23) Gavumenti z’abantu zitumbula mwoyo gwa ggwanga, oguviirako abantu okweyawulayawulamu. N’abafuzi abasingayo obulungi tebasobola kugonjoola bizibu by’abantu byonna. Ate era okuva mu 1914, gavumenti z’abantu zaafuuka balabe b’Obwakabaka bwa Katonda, obunaatera okuzizikiriza.—Soma Zabbuli 2:2, 7-9.
6. Tuyinza tutya okukolagana obulungi n’ab’obuyinza?
6 Katonda akyaleseewo gavumenti z’abantu kubanga zireetawo emirembe emisaamusaamu, ekyo ne kitusobozesa okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Bar. 13:3, 4) Katonda era atukubiriza n’okusabira ab’obuyinza, naddala bwe baba ng’ebyo bye bagenda okusalawo bikwata ku kusinza okw’amazima. (1 Tim. 2:1, 2) Oluusi bwe tuba nga tuyisiddwa mu ngeri eteri ya bwenkanya, tusaba gavumenti okutuyamba, ng’omutume Pawulo bwe yakola. (Bik. 25:11) Wadde nga Bayibuli egamba nti gavumenti z’ensi ziri mu buyinza bwa Sitaani, omulabe wa Katonda, tegamba nti buli ali mu buyinza Sitaani aba amukozesa butereevu. (Luk. 4:5, 6) N’olwekyo, tusaanidde okwewala okugamba nti omufuzi ono oba oli Sitaani amukozesa. Mu kifo ky’ekyo, bwe tuba tukolagana ‘n’abafuzi n’ab’obuyinza,’ twewala ‘okuboogerako obubi.’—Tit. 3:1, 2.
7. Kiki kye tusaanidde okwewala?
7 Tukiraga nti tugondera Katonda nga twewala okubaako munnabyabufuzi gwe tuwagira oba ekibiina ky’eby’obufuzi kye tuwagira ka kibe nti programu z’omuntu oyo oba ez’ekibiina ekyo zirabika ng’ennungi. Kyokka ekyo oluusi tekiba kyangu. Ng’ekyokulabirako, watya singa waliwo ekibiina ky’abantu abagezaako okuggya gavumenti mu buyinza ate nga gavumenti eyo ebadde etulugunya abantu ba Katonda? Tuyinza obuteekalakaasiza wamu na bantu abo, naye kyandiba nti mu mutima gwaffe tubawagira? (Bef. 2:2) Ebigambo byaffe, ebikolwa byaffe, n’ebyo ebiri mu mitima gyaffe birina okulaga nti tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi by’ensi eno.
MUBEERE “BEEGENDEREZA” NAYE NGA “TEMULIIKO KYA KUNENYEZEBWA”
8. Tuyinza tutya okuba ‘abeegendereza’ ate era ne ‘tutabaako kya kunenyezebwa’ nga twolekagana n’embeera ezisoomooza?
8 Ekintu eky’okubiri ekiyinza okutuyamba okwewala okubaako oludda lwe tuwagira kwe kubeera ‘abeegendereza ng’emisota ng’ate tetuliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba’ nga twolekagana n’embeera ezisoomooza. (Soma Matayo 10:16, 17.) Tukiraga nti tuli beegendereza nga tulengerera wala akabi, era tusigala nga tetuliiko kya kunenyezebwa nga tetwekkiriranya. Lowooza ku mbeera zino wammanga n’engeri gye tuyinza okuzaŋŋangamu.
9. Kiki kye tulina okwegendereza nga twogera n’abalala?
9 Nga twogera n’abalala. Tulina okuba abeegendereza nga waliwo abantu aboogera ku nsonga z’eby’obufuzi. Ng’ekyokulabirako, bw’oba obuulira, weewale okutendereza oba okukolokota enkola z’ekibiina ky’eby’obufuzi oba eza munnabyabufuzi. Mu kifo ky’okwogera ku ebyo abantu bye baagala okukola okusobola okugonjoola ebizibu ebiriwo, kozesa Bayibuli okulaga abantu engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bujja okugonjoolamu ebizibu ebyo. Singa abantu abamu batandika okuwa endowooza zaabwe ku bintu, gamba ng’okulya ebisiyaga, okuggyamu embuto, balage ekyo Bayibuli ky’egamba ku bintu ebyo n’engeri gy’ofuba okukolera ku bulagirizi obugirimu. Ng’oyogera n’abantu ku nsonga ezo, weewale okwogera ebintu ebirina akakwate n’eby’obufuzi. Tetuwa ndowooza yaffe ku mateeka ki gavumenti g’erina okussaawo, okuggyawo, oba okukyusaamu, era tetugezaako kukaka balala kutunuulira bintu nga ffe bwe tubitunuulira.
10. Tuyinza tutya okukuuma endowooza yaffe obutayonoonebwa ebyo ebifulumira ku mikutu gy’empuliziganya?
10 Emikutu gy’empuliziganya. Oluusi amawulire agafulumira ku mikutu gy’empuliziganya gafulumizibwa mu ngeri erimu kyekubiira. Oluusi bannabyabufuzi bakozesa emikutu gy’empuliziganya okusaasaanya endowooza zaabwe. Mu nsi ezimu, gavumenti ze zisalawo ebyo ebirina okufulumira mu mawulire. Singa bannamawulire babaako oludda lwe beekubiddeko, tulina okwewala okutwalirizibwa endowooza zaabwe. Weebuuze, ‘Waliwo omuntu gwe nnyumirwa okuwuliriza ku leediyo oba ku ttivi olw’okuba nkiraba nti endowooza ze ezikwata ku by’obufuzi zirimu omulamwa?’ Bwe kiba kityo, weewale okuwuliriza oba okulaba programu ezirimu kyekubiira mu by’obufuzi. Mu kifo ky’ekyo, fuba okulaba nti programu z’owuliriza oba z’olaba teziriimu kyekubiira. Era bulijjo by’owuliriza bigeraageranye “ku mutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo” ebiri mu Bayibuli.—2 Tim. 1:13.
11. Okwagala ennyo ebintu kuyinza kutya okutulemesa okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi?
11 Eby’obugagga. Bwe tuba nga twagala nnyo ebintu, kiyinza okutubeerera ekizibu okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira nga wazzeewo okugezesebwa. Mwannyinaffe Ruth ow’omu Malawi yalaba Abajulirwa ba Yakuwa abatali bamu abaagwa mu mutego ogwo bwe baali bayigganyizibwa mu myaka gya 1970. Agamba nti: “Tebaali beetegefu kwerekereza bulamu obulungi bwe baalimu. Abamu ku bo twagenda nabo mu buwaŋŋanguse naye oluvannyuma ne basalawo okwegatta ku kibiina ky’eby’obufuzi ekyali mu buyinza ne baddayo ewaabwe olw’okuba baali tebaagala kweyongera kubeera mu mbeera enzibu gye twalimu mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamu.” Naye abaweereza ba Yakuwa bangi basigadde tebaliiko ludda lwe bawagira mu by’obufuzi wadde ng’embeera y’eby’enfuna ebanyigiriza oba wadde nga bafiiriddwa ebintu byabwe byonna.—Beb. 10:34.
12, 13. (a) Yakuwa atwala atya abantu bonna? (b) Tuyinza tutya okumanya obanga twenyumiriza ekisukkiridde mu ggwanga lyaffe?
12 Okwenyumiriza ekisukkiridde. Abantu batera okwenyumiririza mu langi yaabwe, eggwanga lyabwe, obuwangwa bwabwe, ebibuga byabwe, oba ensi yaabwe. Naye bwe twenyumiririza ekisukkiridde mu mawanga gaffe, obuwangwa bwaffe, oba ensi yaffe tuba tetulina ndowooza Yakuwa gy’alina ku bufuzi bw’abantu ne ku bantu. Kya lwatu nti Katonda tatugamba kukyawa buwangwa bwaffe. Yatutonda nga tuli ba njawulo era enjawulo ezo ziraga nti emirimu gye gya kitalo. Wadde kiri kityo, tusaanidde okukijjukira nti mu maaso ga Katonda, abantu bonna benkanankana.—Bar. 10:12.
13 Okwenyumiririza ennyo mu mawanga kye kisinga okuleetera abantu okuba ne mwoyo gwa ggwanga, era kiyinza okuleetera omuntu okubaako oludda lw’awagira mu bintu by’ensi eno. Abakristaayo nabo basobola okugwa mu katego ako, kubanga ne mu kyasa ekyasooka Abakristaayo abamu baasosola baganda baabwe olw’amawanga gaabwe. (Bik. 6:1) Tuyinza tutya okukimanya nti twenyumiriza ekisukkiridde? Watya singa ow’oluganda oba mwannyinaffe ow’eggwanga eddala abaako amagezi g’akuwa. Onoogagaana ng’ogamba nti, ‘Wano ffe engeri gye tukolamu ebintu esinga eyammwe’? Mu kifo ky’okukola bw’otyo, osaanidde okukolera ku kubuulirira kuno: ‘Mu buwombeefu, mukitwale nti abalala babasinga.’—Baf. 2:3.
YAKUWA ASOBOLA OKUKUYAMBA
14. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba, era waayo ekyokulabirako okuva mu Bayibuli?
14 Ekintu eky’okusatu ekisobola okutuyamba okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira kwe kusaba Yakuwa atuyambe. Singa wabaawo ekintu ekitali kya bwenkanya gavumenti ky’ekola, saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okwoleka obugumiikiriza n’okwefuga osobole okugumira embeera eyo. Era osobola okusaba Yakuwa akuyambe okulaba amangu embeera eyinza okukifuula ekizibu gy’oli okusigala nga toliiko ludda lw’owagira mu bintu by’ensi eno era akuyambe okumanya eky’okukola. (Yak. 1:5) Bw’osibibwa mu kkomera oba bw’oweebwa ekibonerezo olw’okunywerera ku kusinza okw’amazima, saba Yakuwa akuwe amaanyi n’obuvumu osobole okunywerera ku kituufu n’okugumira embeera yonna, k’ebe nzibu etya.—Soma Ebikolwa 4:27-31.
15. Bayibuli eyinza etya okutuyamba okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira? (Laba akasanduuko “Ekigambo kya Katonda Kyabanyweza.”)
15 Yakuwa asobola okukunyweza ng’akozesa Ekigambo kye. Fumiitiriza ku byawandiikibwa ebisobola okukuyamba okusigala nga toliiko ludda lw’owagira ng’oyita mukugezesebwa. Bikwate mu mutwe, bisobole okukunyweza singa otuuka mu mbeera nga tolina Bayibuli. Ekigambo kya Katonda era kisobola okunyweza okukkiriza kw’olina mu bisuubizo bya Katonda. Okukuumira ebisuubizo bya Katonda mu birowoozo byaffe kisobola okutuyamba okugumira okuyigganyizibwa. (Bar. 8:25) Kwata ebyawandiikibwa ebyogera ku bintu by’osinga okwesunga okulaba nga bituukirira mu nsi empya, era okube akafaananyi ng’oli mu nsi empya ng’olaba ebintu ebyo bituukiridde.
YIGIRA KU BAWEEREZA BA KATONDA ABAASIGALA NGA BEESIGWA
16, 17. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako abaweereza ba Yakuwa abaasigala nga beesigwa kye bassaawo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 27.)
16 Ekyokulabirako abaweereza ba Yakuwa abeesigwa kye bassaawo nakyo kisobola okutuyamba okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira. Bwe tufumiitiriza ku ngeri gye beeyisaamu nga bagezesebwa kisobola okutuyamba okufuna amagezi n’amaanyi ge twetaaga okusobola okugumiikiriza. Ng’ekyokulabirako, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baagaana okusinza ekibumbe ekyali kikiikirira obufuzi bwa Babulooni. (Soma Danyeri 3:16-18.) Okusoma ku bumalirivu bwe baayoleka kiyambye Abajulirwa ba Yakuwa bangi leero okuba abamalirivu obutasinza bbendera z’amawanga. Yesu naye teyeenyigira mu bya bufuzi n’obukuubagano eby’ensi eno. Yakimanya nti ekyokulabirako ekirungi kye yassaawo kyandiyambye abagoberezi be. Yabagamba nti: “Mugume! Nze mpangudde ensi.”—Yok. 16:33.
17 Waliwo Abajulirwa ba Yakuwa bangi ab’omu kiseera kyaffe abasigadde nga tebaliiko ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Abamu batulugunyiziddwa, basibiddwa mu makomera, oba battiddwa olw’okukkiriza kwabwe. Ekyokulabirako kye bassaawo kisobola okukuyamba nga bwe kyayamba Ow’oluganda Barış ow’omu Turkey, eyagamba nti: “Ow’oluganda omuto Franz Reiter yattibwa olw’okugaana okuyingira amagye ga Hitler. Ebbaluwa gye yawandiikira maama we mu kiro mwe yattirwa yalaga nti yali yeesiga nnyo Yakuwa, era ndi mumalirivu okumukoppa nga ntuuse mu mbeera egezesa.”[2]
18, 19. (a) Bakkiriza banno bayinza batya okukuyamba okusigala nga toliiko ludda lw’owagira mu bintu by’ensi? (b) Kiki ky’osaanidde okumalirira okukola?
18 Bakkiriza banno nabo basobola okukuyamba. Tegeeza abakadde ku bintu ebigezesa obwesigwa bwo ku nsonga y’obutabaako ludda lw’owagira mu bintu by’ensi eno era basabe bakuwe amagezi agava mu Bayibuli. Bakkiriza banno basobola okukuyamba singa bamanya ku kusoomooza kw’oyolekagana nakwo. Bagambe bakusabire. Kya lwatu nti bwe tuba nga twagala baganda baffe okutuyamba n’okutusabira, naffe tulina okukola kye kimu. (Mat. 7:12) Bw’oba wandyagadde okumanya amannya g’ab’oluganda abali mu makomera olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, genda ku mukutu gwaffe jw.org wansi w’ekitundu “Jehovah’s Witnesses Imprisoned for Their Faith—By Location” wansi w’omutwe NEWSROOM > LEGAL DEVELOPMENTS. Osobola okulondayo agamu ku mannya ga baganda baffe abo n’osaba Yakuwa abayambe okusigala nga banywevu era nga beesigwa gy’ali.—Bef. 6:19, 20.
19 Ng’enkomerero egenda esembera, tusuubira nti gavumenti z’abantu zijja kweyongera okutupikiriza okubaako oludda lwe tuwagira mu by’obufuzi. N’olwekyo, kino kye kiseera okuba abamalirivu okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu bintu by’ensi eno eyeeyawuddemu.
^ [1] (akatundu 1) Mu kwogera ku Kayisaali, Yesu yali ategeeza gavumenti z’abantu. Mu kiseera ekyo Kayisaali ye yali omufuzi ow’oku ntikko.
^ [2] (akatundu 17) Laba ekitabo Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, lup. 662; n’akasanduuko “Yafa olw’Okuweesa Katonda Ekitiibwa” mu ssuula 14 mu kitabo God’s Kingdom Rules!