Baibuli Esobola Okukuyamba Okufuna Essanyu
WADDE Baibuli si kitabo kya bya kisawo, eraga nti omuntu bw’aba omusanyufu oba omunakuwavu kirina kye kikola ku bulamu bwe. Egamba: “Omutima ogujaguza ddagala ddungi: Naye omwoyo ogumenyese gukaza amagumba.” Ate era yeeyongera n’egamba: “Bw’ozirika ku lunaku olw’okulabirako obuyinike, amaanyi go nga matono.” (Engero 17:22; 24:10) Bwe tuwulira nti tetulina mugaso kitumalamu amaanyi, ne tutuuka n’okuwulira nti tetwagala kukola nkukakyuka wadde okuyambibwa.
Omuntu awulira nti talina mugaso, kyangu nnyo okuddirira mu by’omwoyo. Abantu abalina enneewulira ng’eyo batera okulowooza nti tebasobola kuba na nkolagana nnungi na Katonda, era nti tasobola kubawa mikisa. Ng’ekyokulabirako, Simone ayogeddwako mu kitundu ekivuddeko, yali awulira nti ‘tasiimibwa Katonda.’ Kyokka, bwe tusoma Ekigambo kya Katonda Baibuli, tukisanga nti Katonda asiima abo abafuba okumusanyusa.
Mazima Ddala Katonda Afaayo
Baibuli etutegeeza nti “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.” Katonda afaayo ku abo abalina “omutima ogumenyese era oguboneredde” era asuubiza “okulamya omwoyo gw’abakkakkamu, n’okulamya omutima gw’abo ababoneredde.”—Zabbuli 34:18; 51:17; Isaaya 57:15.
Lumu, Yesu Omwana wa Katonda yalaba nga kyetaagisa okutegeeza abayigirizwa be nti Katonda atunuulira ebirungi abaweereza Be bye bakola. Ng’akozesa ekyokulabirako yabalaga nti buli nkazaluggya egwa wansi Katonda agiraba—ekintu abantu kye batatwala ng’ekikulu. Ate era yabalaga nti Katonda amanyi kalonda yenna akwata ku bantu nga mw’otwalidde n’omuwendo gw’enviiri eziri ku mitwe gyabwe. Oluvannyuma Yesu yafundikira ng’agamba: “Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.” (Matayo 10:29-31)a Yesu yalaga nti wadde ng’abantu abamu bayinza okuwulira nti tebalina mugaso, abo abalina okukkiriza ba muwendo mu maaso ga Katonda. Omutume Peetero atujjukiza nti “Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.”—Ebikolwa 10:34, 35.
Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu
Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okuba n’endowooza ennuŋŋamu mu ngeri gye twetunuuliramu. Ng’aluŋŋamiziddwa omwoyo gwa Katonda, Omutume Pawulo yawandiika nti: “Olw’ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mwe, alemenga okwerowooza okusinga bwe kimugwanidde okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza.”—Abaruumi 12:3.
Kyo kituufu nti, tetwandyagadde kwetwala nti tuli ba waggulu nnyo ne tutuuka n’okwewaana; ate tetwandyagadde kwenyooma kiyitiridde ne tutuuka n’okulowooza nti tetulina mugaso. Mu kifo ky’ekyo, twandibadde tumanya ekkomo lyaffe n’obusobozi bwaffe. Omukyala omu Omukristaayo yayogera bw’ati ku nsonga eno: “Si nze mubi ennyo; naye ate si nze mulungi okukira abalala. Nnina engeri ennungi ate era nnina n’engeri embi ng’omuntu omulala yenna.”
Ekituufu kiri nti, si kyangu kuba na ndowooza ng’eyo. Kiyinza okutubeerera ekizibu okweggyamu endowooza enkyamu ze tubadde nazo okumala ekiseera ekiwanvu. Naye, Katonda asobola okutuyamba okukyusa engeri zaffe awamu n’engeri gye twetunuuliramu. Ekyo kyennyini Ekigambo kya Katonda kye kitukubiriza okukola bwe kigamba nti: ‘Mwambule omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba, era mufuuke abaggya mu mwoyo ogw’ebirowoozo byammwe. Mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.’—Abaefeso 4:22-24.
Bwe tufuba okufuuka abaggya mu ‘mwoyo gw’ebirowoozo byaffe,’ tusobola okulekera awo okwenyooma ne tutandika okwetunuulira mu ngeri entuufu. Lena ayogeddwako mu kitundu ekivuddeko, yakitegeera nti tewaliiwo kyali kisobola kukyusa nneewulira ye okutuusa ng’alekedde awo okulowooza nti tewali ayinza kumwagala wadde okumuyamba. Misingi ki egy’omu Baibuli egyayamba Lena, Simone, n’abalala okweggyamu endowooza enkyamu?
Emisingi gya Baibuli Egisobola Okuyamba Omuntu Okufuna Essanyu
“Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: taaganyenga batuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.” (Zabbuli 55:22) Ekintu ekisookera ddala era ekikulu ennyo ekiyinza okuyamba omuntu okufuna essanyu, kwe kusaba. Simone agamba: “Buli lwe mpulira nga ssirina mugaso, nsaba Yakuwa annyambe. Teri lunaku na lumu lwe yali andekeredde. Abaddenga ampa amaanyi n’obulagirizi.” Omuwandiisi wa zabbuli bw’atukubiriza okutikka Yakuwa emigugu gyaffe, aba atujjukiza nti Yakuwa takoma ku kutufaako kyokka, naye era akitwala nti buli omu ku ffe yeetaaga obuyambi bwe n’obuwagizi bwe. Mu kiro eky’Okuyitako mu 33 C.E., abayigirizwa ba Yesu baali banakuwavu nnyo olw’okuba Yesu yali abagambye nti agenda kubalekawo. Yesu yabakubiriza okusaba Kitaawe era n’agattako nti: “Musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.”—Yokaana 16:23, 24.
“Mu kugaba mulimu essanyu okusinga okutoola.” (Ebikolwa 20:35, NW) Nga Yesu bwe yagamba, okugaba kuleetera omuntu okufuna essanyu. Bwe tukolera ku mazima ga Baibuli ago, kituyamba okufaayo ku byetaago by’abalala mu kifo ky’okutunuulira obunafu bwaffe. Bwe tulaba ng’abo be tuyambye basiimye, kituleetera essanyu. Lena agamba nti okunyiikira okubuulira abalala amawulire amalungi agava mu Baibuli kimuyambye mu ngeri bbiri. Agamba: “Okusooka, kimpadde essanyu n’obumativu Yesu bye yayogerako. Eky’okubiri, abalala bwe basiima obubaka bwange, nfuna essanyu.” Bwe twewaayo okuyamba abalala, tujja kulaba obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Engero 11:25, awagamba nti: “Oyo afukirira amazzi, naye alifukirirwa.”
“Ennaku zonna ez’abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo alina omutima ogujaguza alya embaga etevaawo.” (Engero 15:15) Buli omu alina eddembe okwetunuulira nga bw’ayagala. Tuyinza okusalawo okutunuulira ebintu byonna mu ngeri enkyamu ne tuba ng’omuntu abonyaabonyezebwa, oba okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu ne tuba ng’omuntu alina “omutima ogujaguza” ne tuba basanyufu ng’abali ku mbaga. Simone agamba: “Nfuba nga bwe nsobola okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu. Ebiseera byange mbimalira mu kwesomesa, mu kubuulira, era nyiikirira okusaba. Ate era nfuba okubeera n’abantu abalina endowooza ennuŋŋamu era mba mwetegefu okuyamba abalala.” Okutunuulira ebintu mu ngeri ng’eyo kisobola okuyamba omuntu okufuna essanyu erya nnamaddala, nga Baibuli bw’etukubiriza nti: “Musanyukire Mukama, mujaguze mmwe abatuukirivu: mwogerere waggulu olw’essanyu, mwenna abalina omutima ogw’amazima.”—Zabbuli 32:11.
“Ow’omukwano ayagala mu biro byonna, era ow’oluganda yazaalirwa obuyinike.” (Engero 17:17) Bwe tubuulirako mukwano gwaffe oba omuntu gwe tuba twesiga ku kizibu kyaffe, kiyinza okutuyamba okuvvuunuka endowooza enkyamu. Bwe tubuulirako abalala ku kizibu kyaffe kijja kutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Simone agamba: “Bw’obaako gw’obuulira ku bizibu byo kiyamba nnyo. Weetaaga okubaako gw’obuulira ku bizibu byo. Ebiseera ebisinga, okubaako ne gwe weeyabiza kye kiba kyetaagisa.” Bw’okola bw’otyo kijja kukuyamba okulaba obutuufu bw’ebigambo ebiri mu ngero ebigamba: “Ennaku bw’eziba mu mutima gw’omuntu zigukutamya; naye ekigambo ekirungi kigusanyusa.”—Engero 12:25.
Ky’Oyinza Okukola
Twetegerezza egimu ku misingi gya Baibuli egiyinza okutuyamba okuvvuunuka endowooza enkyamu n’okufuna essanyu erya nnamaddala. Bwe kiba nti oli omu ku abo abawulira nti tebalina mugaso, tukukubiriza okwekenneenya Ekigambo kya Katonda, Baibuli. Fuba okwetunuulira mu ngeri entuufu era otwale enkolagana gy’olina ne Katonda nga ya muwendo. Tuli bakakafu nti Ekigambo kya Katonda kijja kukuyamba okufuna essanyu erya nnamaddala mu buli kyonna ky’onookola.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekyawandiikibwa kino kinnyonnyolwa bulungi ku lupapula 22 ne 23.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Okukolera ku misingi gya Baibuli kireeta essanyu