Yokaana
16 “Mbabuulidde ebintu bino muleme kwesittala. 2 Abantu balibagoba mu makuŋŋaaniro.+ Mu butuufu, ekiseera kijja, buli anaabatta+ alowooze nti aweereza Katonda. 3 Naye bajja kukola ebintu ebyo kubanga Kitange tebamumanyi era nange tebammanyi.+ 4 Kyokka mbabuulidde ebintu bino, ekiseera kyabyo bwe kirituuka mujjukire nti nnabibabuulira.+
“Ebintu bino saabibabuulira mu kusooka kubanga nnali nammwe. 5 Naye kaakano ŋŋenda eri Oyo eyantuma;+ kyokka tewali n’omu ku mmwe ambuuza nti, ‘Ogenda wa?’ 6 Naye olw’okuba mbabuulidde ebintu bino, emitima gyammwe gijjudde ennaku.+ 7 Kyokka, mbabuulira mazima nti okugenda kwange kuganyula mmwe. Kubanga bwe siigende omuyambi+ tajja kujja gye muli; naye bwe ŋŋenda nja kumubaweereza. 8 Era oyo bw’anajja ajja kuwa ensi obukakafu obumatiza obukwata ku kibi, ku butuukirivu, ne ku kusala omusango: 9 okusooka, obukwata ku kibi,+ kubanga tebanzikiririzaamu;+ 10 oluvannyuma, obukwata ku butuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange era temujja kuddayo kundaba; 11 era oluvannyuma, obukwata ku musango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.+
12 “Nkyalina ebintu bingi eby’okubabuulira naye temuyinza kubitegeera kati. 13 Naye oyo* bw’anajja, omwoyo ogw’amazima,+ ajja kubawa obulagirizi musobole okutegeera amazima gonna, kubanga tajja kwogera ku bubwe, naye ebintu by’awulira by’ajja okwogera, era ajja kubabuulira ebintu ebirina okujja.+ 14 Oyo ajja kungulumiza+ kubanga ajja kubabuulira by’ajja okufuna okuva gye ndi.+ 15 Ebintu byonna Kitange by’alina byange.+ Eyo ye nsonga lwaki ŋŋambye nti ajja kubabuulira by’ajja okufuna okuva gye ndi. 16 Mu kaseera katono mugenda kuba temukyandaba,+ ate wayitewo akaseera katono mundabe.”
17 Awo abamu ku bayigirizwa be ne bagambagana nti: “Ategeeza ki bw’atugamba nti, ‘Mu kaseera katono mugenda kuba temukyandaba, ate wayitewo akaseera katono mundabe,’ era nti ‘kubanga ŋŋenda eri Kitange’?” 18 Era ne bagamba nti: “Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘mu kaseera katono’? Tetutegeera ky’ayogerako.” 19 Yesu yamanya nti baali baagala kumubuuza, kyeyava abagamba nti: “Mwebuuzaganya mmwekka na mmwekka olw’ekyo kye mbagambye nti: ‘Mu kaseera katono mugenda kuba temukyandaba, ate wayitewo akaseera katono mundabe?’ 20 Mazima ddala mbagamba nti, mujja kukaaba era mukube ebiwoobe, naye ensi ejja kusanyuka; mujja kunakuwala, naye ennaku yammwe ejja kufuulibwa ssanyu.+ 21 Omukazi bw’aba azaala aba mu bulumi, kubanga ekiseera kye kiba kituuse; naye bw’amala okuzaala omwana aba takyajjukira bulumi olw’essanyu ly’aba nalyo olw’okuba omuntu azaaliddwa mu nsi. 22 Nammwe kati mulumwa; naye nja kuddamu okubalaba era emitima gyammwe gijja kusanyuka,+ era tewali ajja kubaggyako ssanyu lyammwe. 23 Ku lunaku olwo temugenda kumbuuza kibuuzo kyonna. Mazima ddala mbagamba nti bwe musaba Kitange ekintu kyonna,+ ajja kukibawa mu linnya lyange.+ 24 N’okutuusa kati tewali kintu kye mwali musabye mu linnya lyange. Musabe mujja kuweebwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
25 “Ebintu bino mbibabuulidde mu ngero. Ekiseera kijja kutuuka nga sikyayogera nammwe mu ngero, wabula nga mbabuulira butereevu ebifa ku Kitange. 26 Ku lunaku olwo mulisaba Kitange mu linnya lyange; bwe njogera bwe ntyo mba sitegeeza nti nja kubaako kye mbasabira. 27 Kitange kennyini abaagala olw’okuba munjagala+ era mukkirizza nti nnajja kukiikirira Kitange.+ 28 Nnajja kukiikirira Kitange era nnajja mu nsi. Kati nva mu nsi ŋŋenda eri Kitange.”+
29 Abayigirizwa be ne bagamba nti: “Laba! Kati oyogera kaati, toyogerera mu ngero. 30 Kati tumanyi nti omanyi ebintu byonna era nti teweetaaga muntu yenna kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nti wava eri Katonda.” 31 Yesu n’abaddamu nti: “Kati mukkiriza? 32 Laba! Ekiseera kijja era kituuse musaasaane buli omu adde ewuwe mundeke nzekka. Naye siri nzekka,+ kubanga Kitange ali nange.+ 33 Mbabuulidde ebintu bino musobole okuba n’emirembe okuyitira mu nze.+ Mujja kubonaabona mu nsi, naye mugume! Nze mpangudde ensi.”+