“Katonda Kwagala”
“Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala.”—1 YOKAANA 4:8.
1-3. (a) Baibuli eyogera ki ku kwagala kwa Yakuwa, era ky’eyogera kya njawulo mu ngeri ki? (b) Lwaki Baibuli egamba nti “Katonda kwagala”?
ENGERI za Yakuwa zonna nnungi nnyo, zituukiridde, era zisikiriza. Naye okwagala kwe kusinga okusikiriza mu ngeri ze zonna. Tewali kitusikiriza eri Yakuwa okusinga okwagala. Eky’essanyu, okwagala era ye ngeri ye esinga obukulu. Ekyo tukimanya tutya?
2 Baibuli erina ky’eyogera ku kwagala ng’ate tekyogera ku ngeri za Yakuwa endala enkulu. Ebyawandiikibwa tebigamba nti Katonda maanyi oba nti Katonda bwenkanya oba nti Katonda magezi. Kituufu, alina engeri ezo, era ye nsibuko y’engeri ezo zonsatule. Kyokka, waliwo ekintu ekikulu ennyo ekyogerwa ku kwagala mu 1 Yokaana 4:8 nti: “Katonda kwagala.” Yee, mu ngeri zonna z’alina, okwagala kwe kuzisinga. Tuyinza okukirowoozaako bwe tuti: Amaanyi ga Yakuwa gamusobozesa okubaako ne ky’akolawo. Obwenkanya bwe n’amagezi bimuwa obulagirizi mu by’akola. Naye okwagala kwa Yakuwa kwe kumukubiriza okubaako ne ky’akolawo. Era bulijjo okwagala kwe kweyolekera mu ngeri gy’akozesaamu engeri ze endala.
3 Kitera okugambibwa nti Yakuwa ye nsibuko y’okwagala. N’olwekyo, bwe tuba twagala okuyiga ebikwata ku kwagala, tulina okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Kati ka twekenneenye ezimu ku ngeri okwagala kwa Yakuwa okungi ennyo gye kwoleseddwamu.
Ekikolwa eky’Okwagala Ekisingirayo Ddala Obukulu
4, 5. (a) Kikolwa ki eky’okwagala ekisingirayo ddala mu byafaayo byonna? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti okwagala okuliwo wakati wa Yakuwa n’Omwana we kwe kusingirayo ddala okuba okw’amaanyi?
4 Yakuwa alaze okwagala mu ngeri nnyingi, naye waliwo engeri emu esinga zonna. Y’eruwa eyo? Kwe kutuma Omwana we okubonaabona ku lwaffe n’okutufiiririra. Awatali kubuusabuusa tusobola okugamba nti ekyo kye kikolwa eky’okwagala ekisingirayo ddala obukulu mu byafaayo byonna. Lwaki tugamba bwe tutyo?
5 Baibuli eyita Yesu “omubereberye ow’ebitonde byonna.” (Abakkolosaayi 1:15) Lowooza ku kino—Omwana wa Yakuwa yaliwo ng’ebintu byonna tebinnatondebwa. Kati olwo, Kitaffe n’Omwana baali wamu kumala bbanga ki? Bannasayansi abamu bateebereza nti obwengula bumaze emyaka obuwumbi 13 nga weebuli. Ne bwe kiba nti embalirira eyo ntuufu, teyandibadde mpanvu kimala okwenkanankana ekiseera Omwana wa Yakuwa kye yaakabeerawo! Yali akola ki mu kiseera ekyo ekiwanvu ennyo? Omwana yali akola ne Kitaawe nga ‘omukozi omukulu.’ (Engero 8:30; Yokaana 1:3) Yakuwa yakolera wamu n’Omwana we okutonda ebintu ebirala byonna. Ebiseera ebyo nga bali wamu, nga biteekwa okuba nga byali bya ssanyu nnyo! Kati olwo, ani ku ffe ayinza okuteebereza okwagalana okw’amaanyi ennyo kwe babadde nakwo mu kiseera ekyo ekiwanvu ennyo ekiyiseewo? Awatali kubuusabuusa, okwagala okuliwo wakati wa Yakuwa Katonda n’Omwana kwe kusingirayo ddala okuba okw’amaanyi.
6. Yesu bwe yabatizibwa, Yakuwa yayogera bigambo ki ebyoleka enneewulira gye yalina ku Mwana we oyo?
6 Wadde kyali kityo, Yakuwa yasindika Omwana we n’azaalibwa ng’omuntu ku nsi. Bwe kityo nno, okumala amakumi g’emyaka, Yakuwa yeefiiriza enkolagana ey’oku lusegere gye yalina mu ggulu n’Omwana we omwagalwa. Ng’ayima mu ggulu, yalaba Yesu ng’akula era n’afuuka omusajja atuukiridde. Yesu bwe yaweza emyaka 30, yabatizibwa. Mu kiseera ekyo, Kitaawe kennyini yayogera okuva mu ggulu: “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira.” (Matayo 3:17) Kitaawe ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yalaba nga Yesu atuukiriza byonna ebyamulagulwako!—Yokaana 5:36; 17:4.
7, 8. (a) Biki ebyatuuka ku Yesu nga Nisani 14, 33 C.E., era Kitaawe ow’omu ggulu yawulira atya? (b) Lwaki Yakuwa yaleka Omwana we okubonaabona n’okufa?
7 Kyokka, Yakuwa yawulira atya nga Nisani 14, 33 C.E., nga Yesu aliiriddwamu olukwe era n’akwatibwa ekibinja ky’abantu? Yawulira atya nga Yesu asekererwa, ng’awandulirwa amalusu era ng’akubibwa ebikonde? Yawulira atya bwe baamukuba embooko ezamuyuzayuza ennyama y’oku mugongo? Yawulira atya nga Yesu bamukomerera ku muti era abantu ne bamukudaalira ng’ali okwo? Kitaffe yawulira atya ng’Omwana we omwagalwa akaaba olw’obulumi obungi? Yakuwa yawulira atya nga Yesu assa ogw’enkomerero, ne kiba nti bukya ebintu byonna bitondebwa, kaakano Omwana we omwagalwa yali takyalina bulamu?—Matayo 26:14-16, 46, 47, 56, 59, 67; 27:38-44, 46; Yokaana 19:1.
8 Okuva Yakuwa bw’alina enneewulira, obulumi bwe yawulira ng’Omwana we attiddwa tebuyinza na kunnyonnyolekeka. Ekiyinza okunnyonnyolwa ye nsonga lwaki yakikkiriza okubaawo. Lwaki Yakuwa yakkiriza okugumikiriza obulumi ng’obwo obw’amaanyi? Yakuwa atuwa ensonga mu mu Yokaana 3:16 olunyiriri olukulu ennyo mu Baibuli, abamu lwe bagamba nti luwumbawumbako bulungi ebiri mu njiri. Wagamba: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” N’olwekyo, ekyaleetera Yakuwa okukola ekyo, kwali kwagala. Tewali muntu yenna eyali alaze okwagala okusinga okwo.
Engeri Yakuwa gy’Atukakasaamu nti Atwagala
9. Kiki Setaani ky’ayagala tulowooze ku ngeri Yakuwa gy’atutunuuliramu, naye kiki Yakuwa ky’atukakasa?
9 Kyokka, wajjawo ekibuuzo ekikulu. Ddala Katonda atwagala kinnoomu? Abamu bayinza okukikkiriza nti Katonda ayagala abantu bonna okutwalira awamu, nga Yokaana 3:16 bwe wagamba. Naye, bayinza okulowooza nti, ‘Katonda tayinza kunjagala nze ng’omuntu kinnoomu.’ Ekituufu kiri nti, Setaani ayagala tulowooze nti Yakuwa tatwagala era nti tatutwala nga ab’omuwendo. Ku ludda olulala, ka tube nga tulowooza nti teri atwagala oba nti tetulina mugaso gwonna, Yakuwa atukakasa nti buli muweereza we omwesigwa wa muwendo gy’ali.
10, 11. Ekyokulabirako kya Yesu ekikwata ku nkazaluggya kiraga kitya nti tuli ba muwendo mu maaso ga Yakuwa?
10 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 10:29-31. Ng’awa ekyokulabirako ekiraga nti abayigirizwa be ba muwendo, Yesu yagamba: “Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? [Naye] tewaliba n’emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi: era n’enviiri zammwe ez’oku mutwe zaabalibwa zonna. Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.” Lowooza ku makulu abantu abaali bawuliriza Yesu mu kyasa ekyasooka ge baggya mu bigambo ebyo.
11 Mu kiseera kya Yesu, enkazaluggya ye yali esinga okuba ey’ebbeeyi entono ennyo mu binyonyi ebiriibwa ebyatundibwanga. Eppeesa emu ey’omuwendo omutono ennyo yali esobola okugula enkazaluggya bbiri. Naye oluvannyuma, okusinziira ku Lukka 12:6, 7, Yesu yagamba nti singa omuntu awaayo eppeesa bbiri, yandifunyemu enkazaluggya ttaano so si nnya. Enkazaluggya ey’okutaano yalinga nnyongeza nga gy’obeera terina muwendo gwonna. Oboolyawo ebinyonyi ng’ebyo abantu baali babitwala nga si bya muwendo, naye ye Omutonzi yabitwala atya? Yesu yagamba: “Tewali n’emu ku zo [wadde eyo egattiddwako] eyeerabirwa mu maaso ga Katonda.” Kati tuyinza okutegeera ekyo Yesu kye yali annyonnyola. Okuva Yakuwa bw’atwala enkazaluggya emu bw’eti okuba ey’omuwendo, kati olwo ffe abantu tetuli ba muwendo nnyo n’okusingawo! Nga Yesu bwe yagamba, Yakuwa amanyi buli kintu kyonna ekitukwatako. N’omuwendo gw’enviiri z’oku mutwe gwaffe agumanyi!
12. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yesu yali tasavuwaza busavuwaza bwe yagamba nti enviiri ez’oku mitwe gyaffe zibaliddwa?
12 Abamu bayinza okulowooza nti wano Yesu yali asavuwaza. Kyokka, lowooza ku kuzuukira. Yakuwa ng’ateekwa okuba ng’atumanyi bulungi nnyo okusobola okutuzzaawo! Atutwala nga tuli ba muwendo nnyo ne kiba nti amanyi kalonda yenna atukwatako, nga mw’otwalidde n’ebiwandiiko eby’ensikirano ebiri mu mibiri gyaffe, ne byonna ebyatutuukako mu bulamu bwonna. N’olwekyo, okumanya omuwendo gw’enviiri zaffe, ng’omutwe ogumu gubaako enviiri nga 100,000, kiba kintu kyangu nnyo gy’ali. Ng’ebigambo bya Yesu ebyo bitulaga bulungi nnyo nti Yakuwa atufaako ng’abantu kinnoomu!
13. Ebyo ebyatuuka ku Yekosofaati biraga bitya nti Yakuwa yeetegereza ebirungi ebiri mu ffe wadde nga tetutuukiridde?
13 Baibuli erina ekirala ky’etulaga ekitukakasa nti Yakuwa atwagala. Yeetegereza ebirungi ebiri mu ffe era abitwala nga bya muwendo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Kabaka omulungi Yekosofaati. Kabaka oyo bwe yakola ekintu eky’obusiru, nnabbi wa Yakuwa yamugamba: “Olw’ekigambo ekyo obusungu bukuliko obuva mu maaso ga Mukama.” Ebigambo ebyo nga byali byeraliikiriza nnyo! Naye obubaka bwa Yakuwa tebwakoma awo. Bweyongerayo: “Naye mu ggwe mulabise ebirungi.” (2 Ebyomumirembe 19:1-3) N’olwekyo, wadde nga Yakuwa yali musunguwavu, tekyamulobera kulaba ‘birungi’ mu Yekosofaati. Tekizzaamu maanyi okumanya nti Katonda waffe yeetegereza ebintu ebirungi ebiri mu ffe wadde nga tetutuukiridde?
Katonda ‘Ayanguwa Okusonyiwa’
14. Bwe twonoona, nneewulira ki gye tuyinza okubeera nayo, naye tuyinza tutya okusonyiyibwa Yakuwa?
14 Bwe twonoona, ensonyi n’okulumizibwa mu mitima gyaffe bye tuwulira biyinza okutuleetera okulowooza nti tetukyasaanira kuweereza Yakuwa. Kyokka, kijjukire nti Yakuwa ‘ayanguwa okusonyiwa.’ (Zabbuli 86:5) Yee, singa twenenya ebibi byaffe era ne tufuba obutabiddamu, Yakuwa atusonyiwa. Lowooza ku ngeri Baibuli gy’eyogera ku ngeri eno ey’ekitalo eyoleka okwagala kwa Yakuwa.
15. Yakuwa ebibi byaffe abiteeka wala kwenkana wa okuva we tuli?
15 Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli alina ebigambo ebirungi ennyo bye yakozesa okunnyonnyola engeri Yakuwa gy’asonyiwamu: ‘Ng’ebuvanjuba n’ebugwanjuba bwe biri ewala, bw’atyo bw’atadde ewala ebyonoono byaffe.’ (Zabbuli 103:12) Ebuvanjuba weesudde ebugwanjuba bbanga ki? Kiyinza okugambibwa nti ebuvanjuba kye kifo ekisingayo okuba ewala okuva ebugwanjuba; byombi tebiyinza kusisinkana. Omwekenneenya omu agamba nti ebigambo ebyo bitegeeza “ewala ennyo nga bwe kisoboka; ewala ennyo nga bwe tuyinza okuteebereza.” Ebigambo bya Dawudi ebyaluŋŋamizibwa bitutegeeza nti Yakuwa bw’atusonyiwa, ebibi byaffe abiteeka wala nnyo ddala.
16. Yakuwa bw’asonyiwa ebibi byaffe, lwaki tetwandirowoozezza nti tuba tusigazza ebbala ly’ebibi ebyo?
16 Wali ogezezzaako okuggya ebbala mu lugoye? Oboolyawo wadde nga wafuba nnyo, ebbala lyasigalamu? Weetegereze Yakuwa bw’ayogera ku ngeri gy’asonyiwamu: ‘Ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu, binaaba byeru ng’omuzira; ne bwe bitwakala ng’ebendera, binaaba ng’ebyoya by’endiga.’ (Isaaya 1:18) Langi “entwakaavu” yali emu ku ezo ezaateekebwanga mu ngoye.a Ffe ku bwaffe tetuyinza kuggyawo bbala lya kibi. Ebibi ebigeraageranyizibwa ku langi emmyufu oba entwakaavu, Yakuwa ayinza okubifuula ebyeru ng’omuzira. Yakuwa bw’asonyiwa ebibi byaffe, tetwetaaga kulowooza nti tusigazza ebbala ly’ebibi ebyo.
17. Mu ngeri ki Yakuwa gy’asuulamu ebibi byaffe emabega we?
17 Mu luyimba olwoleka okusiima Keezeekiya lwe yayiiya oluvannyuma lw’okuwonyezebwa obulwadde obwali bugenda okumutta, yagamba Yakuwa: ‘Osudde ebibi byange byonna ennyuma w’amabega go.’ (Isaaya 38:17) Wano Yakuwa ayogerwako ng’atwala ebibi by’omwonoonyi eyeenenyezza n’abisuula emabega We gy’atabirabira. Okusinziira ku kitabo ekimu, ebigambo ebyo biyinza okuba n’amakulu gano: “[Ebibi byange] obiggiddewo ddala.” Ekyo tekizzaamu nnyo maanyi?
18. Nnabbi Mikka akiraga atya nti Yakuwa bw’asonyiwa, aggirawo ddala ebibi byaffe?
18 Mu kisuubizo ekikwata ku kubakomyawo ku butaka, nnabbi Mikka yali mukakafu nti Yakuwa yandisonyiye abantu be abeenenyezza: ‘Ani Katonda alinga ggwe ayita ku kwonoona okw’abasigalawo ab’obutaka bwe? Era olisuula ebibi byabwe byonna mu buziba bw’ennyanja.’ (Mikka 7:18, 19) Teeberezaamu ebigambo ebyo kye byategeeza eri abantu abaaliwo mu biseera bya Baibuli. Ekintu kyonna ekyali kisuuliddwa mu “buziba bw’ennyanja” kyali kisobola okuggibwayo? Bwe kityo, ebigambo bya Mikka biraga nti Yakuwa bw’asonyiwa, aggirawo ddala ebibi byaffe.
‘Obusaasizi bwa Katonda Waffe’
19, 20. (a) Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “okukwatibwa ekisa” kirina makulu ki? (b) Baibuli ekozesa etya enneewulira maama gy’ayoleka eri omwana we okutuyigiriza ku busaasizi bwa Yakuwa?
19 Obusaasizi ye ngeri endala eyoleka okwagala kwa Yakuwa. Obusaasizi kye ki? Mu Baibuli, waliwo akakwate ka maanyi wakati w’obusaasizi n’ekisa. Waliwo ebigambo bingi eby’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebiwa amakulu g’obusaasizi. Ng’ekyokulabirako, ekigambo ky’Olwebbulaniya ra·chamʹ, kitera okuvvuunulwa nga “okukwatibwa ekisa.” Ekigambo kino eky’Olwebbulaniya, ekikozesebwa ku Yakuwa, kirina akakwate n’ekigambo “enda” era kiyinza okunnyonnyolwa nga “obusaasizi bwa maama.”
20 Baibuli ekozesa enneewulira maama gy’ayoleka eri omwana we okutuyigiriza amakulu g’obusaasizi bwa Yakuwa. Isaaya 49:15 lugamba: “Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, obutasaasira [ra·chamʹ] mwana wa nda ye? Weewaawo, abo bayinza okwerabira, naye siikwerabirenga ggwe.” Kizibu okuteebereza nti maama ayinza okwerabira okuyonsa n’okulabirira omwana we. Kiri kityo kubanga omwana omuto aba talina ky’ayinza kukola ku bubwe; emisana n’ekiro aba yeetaaga okufiibwako maama we. Kyokka, eky’ennaku, bamaama abamu tebafaayo ku baana baabwe, naddala mu ‘nnaku zino ez’enkomerero,’ omutali ‘kwagala kwa ba luganda.’ (2 Timoseewo 3:1, 3) “Naye,” Yakuwa agamba, “siikwerabirenga.” Obusaasizi Yakuwa bw’alaga abaweereza be bwa maanyi nnyo okusinga enneewulira yonna gy’oyinza okuteebereza, gamba ng’obusaasizi maama bw’alaga omwana we.
21, 22. Abaisiraeri baabonaabona batya mu Misiri ey’edda, era Yakuwa yakolawo ki?
21 Okufaananako omuzadde omwagazi, Yakuwa alaga atya obusaasizi? Engeri eno yeeyolekera bulungi mu ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isiraeri. Ku nkomerero y’ekyasa 16 B.C.E., obukadde n’obukadde bw’Abaisiraeri, baali mu buddu mu Misiri ey’edda, gye baali banyigirizibwa ennyo. (Okuva 1:11, 14) Nga bali mu nnaku eyo, Abaisiraeri baakaabirira Yakuwa okubayamba. Katonda omusaasizi yakolawo ki?
22 Omutima gwa Yakuwa gwakwatibwako. Yagamba: “Ndabidde ddala okubonaabona okw’abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe . . . kubanga mmanyi ennaku [y]aabwe.” (Okuva 3:7) Yakuwa yali tayinza kulaba kubonaabona kw’abantu be wadde okuwulira okukaaba kwabwe n’atabalumirirwa. Yakuwa, ye Katonda alumirirwa abalala. Okulumirirwa abalala ngeri erina akakwate n’obusaasizi. Naye Yakuwa teyakoma ku kulumirwa bulumirirwa bantu be; yabaako ky’akolawo ku lwabwe. Isaaya 63:9 lugamba: “Mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula.” ‘N’omukono ogw’amaanyi,’ Yakuwa yanunula Abaisiraeri okuva mu Misiri. (Ekyamateeka 4:34) Oluvannyuma lw’ekyo, yabawa emmere mu ngeri ey’ekyamagero era n’abatuusa mu nsi ennungi gye yabawa.
23. (a) Ebigambo bya Dawudi bitukakasa bitya nti Yakuwa atufaako nnyo ng’abantu kinnoomu? (b) Yakuwa atuyamba atya?
23 Yakuwa takoma ku kusaasira bantu be bokka ng’ekibiina. Katonda waffe ow’okwagala atufaako kinnoomu. Amanya bwe tubonaabona. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe. Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34: 15, 18) Yakuwa atuyamba atya ng’abantu kinnoomu? Tekitegeeza nti aggyawo ekituleetera okubonaabona. Kyokka, abo abamukaabirira alina ebintu bingi by’abakoledde okusobola okubayamba. Ekigambo kye, kituwa okubuulirira okulungi okuyinza okutuyamba okukola enkyukakyuka ennungi. Mu kibiina, Yakuwa ataddemu abalabirizi abalina ebisaanyizo, abafuba okwoleka obusaasizi bwe nga bayamba bakkiriza bannaabwe. (Yakobo 5:14, 15) ‘Ng’Oyo awulira okusaba,’ Yakuwa awa ‘omwoyo omutukuvu abo abamusaba.’ (Zabbuli 65:2; Lukka 11:13) Enteekateeka ezo zonna zooleka ‘obusaasizi bwa Katonda waffe.’—Lukka 1:78.
24. Onooyanukula otya okwagala Yakuwa kw’akulaze?
24 Tekisanyusa nnyo okufumiitiriza ku kwagala kwa Kitaffe ow’omu ggulu? Mu kitundu ekyayita twajjukizibwa nti Yakuwa alaga amaanyi ge, obwenkanya bwe, n’amagezi ge mu ngeri ey’okwagala tusobole okuganyulwa. Ate mu kitundu kino tulabye nti Yakuwa ayolesezza okwagala kwe eri abantu bonna era n’eri buli omu ku ffe kinnoomu mu ngeri ey’enkukunala. Kati kiba kirungi buli omu ku ffe okwebuuza, ‘Nnaayanukula ntya okwagala Yakuwa kw’andaze?’ Baako ky’okolawo ng’omwagala n’omutima gwo gwonna, n’ebirowoozo byo byonna, n’emmeeme yo yonna, era n’amaanyi go gonna. (Makko 12:29, 30) Ka engeri gye weeyisaamu buli lunaku erage nti, okuviira ddala mu mutima gwo, oyagala okweyongera okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Era ka Yakuwa, Katonda ow’okwagala, yeeyongere okubeera mukwano gwo ow’oku lusegere emirembe gyonna!—Yakobo 4:8.
[Obugambo obuli wansi]
a Omwekenneenya omu agamba nti langi emmyufu oba entwakaavu eyogerwako wano “yali ekwatira ddala mu lugoye. Yali teyinza kuvaamu, ka kibe nti olugoye olwo lukubiddwa enkuba, lwozeddwa, oba lukozeseddwa ekiseera ekiwanvu ennyo.”
Ojjukira?
• Tumanya tutya nti okwagala ye ngeri ya Yakuwa esinga obukulu?
• Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yakuwa okutuma Omwana we okubonaabona ku lwaffe era n’okutufiirira kye kikolwa eky’okwagala ekikyasingidde ddala obukulu?
• Yakuwa atukakasa atya nti atwagala kinnoomu?
• Mu ngeri ki ey’enkukunala Baibuli gy’ennyonnyolamu okusonyiwa kwa Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
“Katonda . . . yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
“Oli wa muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi”
[Ensibuko y’ekifaananyi]
© J. Heidecker/VIREO
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Engeri maama gy’afaayo ku mwana we erina ky’etuyigiriza ku busaasizi bwa Yakuwa