‘Okuzuula Luulu ey’Omuwendo Omungi’
“Abantu baluubirira okutuuka mu bwakabaka obw’omu ggulu, era abo abanyiikira be babutuukamu.”—MATAYO 11:12, NW.
1, 2. (a) Ngeri ki etatera kusangika mu bantu Yesu gye yayogerako mu lumu ku ngero ze ezikwata ku Bwakabaka? (b) Kiki Yesu kye yayogera mu lugero olukwata ku luulu ey’omuwendo omungi?
WALIWO ekintu ky’otwala nti kya muwendo nnyo ne kiba nti osobola okuwaayo buli kintu ky’olina oba okwefiiriza byonna by’olina osobole okukifuna? Wadde ng’abantu bagamba nti bakola kyonna kye basobola okufuna ssente, okwekolera erinnya, okufuna obuyinza oba okutuuka ku ddaala erimu mu bulamu, si kya bulijjo omuntu okwefiiriza byonna by’alina okusobola okufuna ekintu ky’ayagala. Mu lumu ku ngero ze ezikwata ku Bwakabaka bwa Katonda, Yesu Kristo yayogera ku ngeri eyo ey’okwefiiriza etatera kusangika mu bantu.
2 Olugero olwo Yesu yalugera ng’ali n’abayigirizwa be bokka, era lutera okuyitibwa olugero olwa luulu ey’omuwendo omungi. Yesu yabagamba bw’ati: “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana[ko omusuubuzi eyatindigga olugendo okunoonya] eruulu ennungi: bwe yalaba eruulu emu ey’omuwendo omungi, n’agenda n’atunda by’ali nabyo byonna, n’agigula.” (Matayo 13:36, 45, 46) Kiki Yesu kye yayagala abaali bamuwuliriza bayige mu lugero luno? Era tuyinza tutya okuganyulwa mu bigambo bya Yesu bino?
Luulu ya Muwendo Mungi
3. Lwaki luulu ennungi zaalinga za muwendo nnyo mu biseera eby’edda?
3 Okuva edda n’edda, luulu zibadde zikozesebwa nnyo mu kutonaatona ebintu. Mu kitabo ekimu, omuwandiisi omu Omuruumi ayitibwa Pliny the Elder yagamba, luulu zakwatanga “kifo kisooka mu bintu eby’omuwendo.” Obutafaananako zaabu, ffeeza oba amayinja amalala ag’omuwendo, luulu zikolebwa bintu ebiramu. Kimanyiddwa nti akayinja bwe kayingira mu kisosonkole eky’ekika ekimu eky’amakovu, ekkovu likakolamu luulu ennungi. Mu biseera eby’edda, luulu ennungi zaggibwanga mu Nnyanja Emmyufu, mu Kyondo ky’e Buperusi era ne mu Indian Ocean—ebifo ebyesudde Isiraeri. Eno y’ensonga lwaki Yesu yayogera ku ‘musuubuzi eyatindigga olugendo okunoonya luulu ey’omuwendo.’ Kyali kyetaagisa okufuba okw’amaanyi okusobola okufuna luulu ey’omuwendo.
4. Kya kuyiga ki ekikulu ekiri mu lugero lwa Yesu olukwata ku musuubuzi eyatindigga olugendo okunoonya luulu?
4 Wadde ng’okuva edda n’edda luulu ebadde egulwa buwanana, kya lwatu nti ebbeeyi yaayo si y’ensonga enkulu eri mu lugero lwa Yesu. Mu lugero luno, Obwakabaka bwa Katonda Yesu teyabugeraageranya ku luulu ey’omuwendo omungi, wabula ku ‘musuubuzi eyatindigga olugendo okunoonya luulu ennungi’ n’ekyo kye yakola ng’agifunye. Obutafaananako basuubuzi balala, omusuubuzi oyo eyatindigga olugendo okunoonya luulu, ayinza okuyitibwa omukugu mu by’obusuubuzi, kubanga yasobola okutegeera ebintu ebyekusifu ebifuula luulu okuba ey’omuwendo ennyo. Yasobola okwawulawo luulu ennungi n’etali nnungi.
5, 6. (a) Kiki kye tulina okwetegereza ku musuubuzi ayogerwako mu lugero lwa Yesu? (b) Olugero olukwata ku ky’obugagga ekyakwekebwa lwoleka ki ku musuubuzi eyatambula okunoonya luulu?
5 Waliwo ekintu ekirala kye tulina okwetegereza ku musuubuzi ono. Bulijjo omusuubuzi asooka kumanya magoba g’agenda okufuna ku luulu n’alyoka agisuubula. Ate era, ayinza n’okusooka okukakasa nti alina b’ajja okugiguza amangu ddala. Mu ngeri endala, yandyagadde agifunemu amagoba mu bwangu so si kugisigaza. Naye tekyali bwe kityo eri omusuubuzi ayogerwako mu lugero lwa Yesu. Ekiruubirirwa kye tekyali kya kufuna ssente oba bintu. Mu butuufu, yali mwetegefu okwefiiriza “by’alina byonna,” kwe kugamba, eby’obugagga bwe byonna asobole okugula ekyo ky’abadde anoonya.
6 Abasuubuzi abasinga obungi bayinza okugamba nti omusajja oyo ayogerwako mu lugero lwa Yesu kye yakola tekyali kya magezi. Omusuubuzi ow’amagezi teyandiyingiridde bizineesi ng’eyo eyinza okumufiiriza. Kyokka, omusuubuzi ayogerwako mu lugero lwa Yesu yalina ebiruubirirwa bya njawulo. Yali taluubirira kufuna magoba wabula yali aluubirira okufuna essanyu n’obumativu omuntu by’afuna olw’okubeera n’ekintu eky’omuwendo. Ensonga eno yeeyongera okutegeerekeka mu lugero lwa Yesu olulala olulufaananako. Yagamba: “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’eky’obugagga ekyak[weke]bwa mu lusuku; omuntu n’akiraba, n’akikweka; n’olw’essanyu lye [yafuna] n’agenda n’atunda by’ali nabyo byonna, n’agula olusuku olwo.” (Matayo 13:44) Yee, essanyu lye yafuna olw’okuzuula ekintu eky’obugagga lyamukubiriza okutunda buli ky’alina. Leero waliwo abantu abafaananako ng’abo? Waliwo ekintu kyonna eky’omuwendo ekitwetaagisa okwefiiriza okusobola okukifuna?
Abo Abaasiima Ekintu eky’Omuwendo
7. Yesu yalaga atya nti Obwakabaka abutwala ng’ekintu eky’omuwendo ennyo?
7 Mu lugero lwe, Yesu yali ayogera ku ‘bwakabaka obw’omu ggulu.’ Ye kennyini yatwala Obwakabaka ng’ekintu eky’omuwendo ennyo. Ebiri mu Njiri bikakasiza ddala ensonga eno. Bwe yamala okubatizibwa mu 29 C.E., Yesu ‘yatandikirawo okubuulira ng’agamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.’ Okumala emyaka esatu n’ekitundu, yayigiriza abantu bangi nnyo ebikwata ku Bwakabaka. Yatambula wano ne wali, “mu bibuga ne mu mbuga ng’abuulira ng’atenda enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda.”—Matayo 4:17; Lukka 8:1.
8. Kiki Yesu kye yakola okulaga ekyo Obwakabaka kye bujja okutuukiriza?
8 Bwe yakola ebyamagero ebingi mu nsi, gamba ng’okuwonya abalwadde, okuliisa abalumwa enjala, okukkakkanya omuyaga, n’okuzuukiza abafu—Yesu yalaga Obwakabaka bwa Katonda kye bujja okukola. (Matayo 14:14-21; Makko 4:37-39; Lukka 7:11-17) Mu nkomerero, yalaga nti anyweredde ku Katonda ne ku Bwakabaka, bwe yawaayo obulamu bwe ng’akomererwa ku muti. Ng’omusuubuzi eyatindigga olugendo okunoonya ‘luulu ey’omuwendo omungi’ bwe yeerekereza buli kimu, ne Yesu yaluubirira Obwakabaka era n’atuuka n’okuttibwa.—Yokaana 18:37.
9. Abayigirizwa ba Yesu abaasooka baayoleka ngeri ki etatera kusangika?
9 Yesu teyakoma ku kuluubirira Bwakabaka mu bulamu bwe naye era yakuŋŋaanya n’akabinja k’abantu abaamugobereranga. Bano nabo baali bantu abaasiimira ddala Obwakabaka. Mu bano mwalimu Andereya, okusooka eyali omuyigirizwa wa Yokaana Omubatiza. Oluvannyuma lw’okuwulira nga Yokaana agamba nti Yesu ye ‘Mwana gw’Endiga ogwa Katonda,’ Andereya n’omuyigirizwa wa Yokaana gwe baateranga okuyita Yokaana era ng’ayinza okuba yali omu ku baana ba Zebbedaayo, bajja eri Yesu ne bamugoberera. Naye tebaakoma ku ekyo kyokka. Bunnambiro, Andereya yagenda eri muganda we Simooni n’amugamba: “Tulabye [Masiya].” Amangu ago, Simooni (oluvannyuma eyayitibwa Keefa, oba Peetero), Firipo ne mukwano gwe Nassanayiri nabo baakitegeera nti Yesu ye yali Masiya. Mu butuufu, Nassanayiri yatuuka n’okwogera bw’ati ku Yesu: “Ggwe Mwana wa Katonda: ggwe Kabaka wa Isiraeri.”—Yokaana 1:35-49.
Baakubirizibwa Okubaako Kye Bakolawo
10. Kiki abayigirizwa kye baakola Yesu bwe yaddamu okubasanga omulundi ogw’okubiri era n’abayita okumugoberera?
10 Essanyu Andereya, Peetero, Yokaana n’abalala lye baafuna nga bazudde Masiya, liyinza okugeraageranyizibwa ku eryo omusuubuzi lye yafuna ng’azudde luulu ey’omuwendo omungi. Kati baali bagenda kukola ki? Enjiri tezitutegeeza buli kimu kye baakola nga baakalaba Yesu. Kirabika, abasinga obungi baddayo ku mirimu gyabwe egya bulijjo. Kyokka, nga wayiseewo ekiseera ekiri wakati w’emyezi mukaaga n’omwaka, Yesu yaddamu okusanga Andereya, Peetero, ne muganda wa Yokaana ayitibwa Yakobo nga bavuba ku Nnyanja ey’Eggaliraaya.a Bwe yabalaba, Yesu yabagamba nti: “Mujje, muyite nange, nange ndibafuula abavubi b’abantu.” Baakolawo ki? Enjiri ya Matayo eyogera bw’eti ku Peetero ne Andereya: “Amangu ago ne baleka awo emigonjo, ne bayita naye.” Ate, ku bikwata ku Yakobo ne Yokaana tusoma: “Amangu ago ne baleka awo eryato ne kitaabwe, ne bagenda naye.” Enjiri ya Lukka yo egattako nti “ne baleka byonna, ne bagenda naye.”—Matayo 4:18-22; Lukka 5:1-11.
11. Kiki ekyaviirako abayigirizwa okusitukiramu nga Yesu abayise?
11 Okuba nti abayigirizwa baayanukula mbagirawo, kyategeeza nti tebaasooka kufumiitiriza ku ekyo kye baasalawo? Si bwe kiri! Wadde nga baddayo okukola omulimu gw’okuvuba oluvannyuma lwa Yesu okubasisinkana omulundi ogusooka, tewali kubuusabuusa ebyo bye baalaba ne bye baawulira ku mulundi ogwo, byabasigala ku mutima ne mu birowoozo. Ekiseera ekyayitawo ekikunukkiriza mu mwaka kyabasobozesa okufumiitiriza ku bintu ebyo. Kati ekiseera kyali kituuse basalewo. Bandibadde ng’omusuubuzi eyalina kye yakolawo ng’azudde luulu ey’omuwendo, Yesu gwe yayogerako nti, ‘amangu ago n’agenda’ n’akola kyonna ekisoboka okugula luulu eyo? Yee, bwe batyo bwe bandibadde. Ebyo bye baalaba ne bye baawulira byabatuuka ku mutima. Baakitegeera nti ekiseera kyali kituuse babeeko kye bakolawo. Bwe kityo, ng’ebyawandiikibwa bwe bitutegeeza, baasitukiramu ne baleka byonna bye baali bakola ne bafuuka abagoberezi ba Yesu.
12, 13. (a) Bangi ku abo abaawulira ebikwata ku Yesu baakola ki? (b) Kiki Yesu kye yayogera ku bayigirizwa be abeesigwa, era ebigambo bye byalina makulu ki?
12 Ng’abayigirizwa bano abeesigwa beeyisa mu ngeri ya njawulo nnyo ku y’abo aboogerwako oluvannyuma mu Njiri! Mu bano mulimu bangi Yesu be yawonya oba be yaliisa naye ne beddirayo okwekolera ebyabwe. (Lukka 17:17, 18; Yokaana 6:26) Abamu Yesu bwe yabayita okufuuka abagoberezi be, baamusaba basooke babeeko bye bamaliriza. (Lukka 9:59-62) Okwawukana ku bantu abo, Yesu yayogera bw’ati ku bayigirizwa abeesigwa: “Okuva mu biro bya Yokaana Omubatiza okutuusa leero abantu baluubirira okutuuka mu bwakabaka obw’omu ggulu, era abo abanyiikira be babutuukamu.”—Matayo 11:12, NW.
13 Ebigambo ‘okuluubirira n’okunyiikira’ birina makulu ki? Ekitabo Vine’s Expository Dictionary of Old and New Testament Words kyogera bwe kiti ku kigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa ‘okuluubirira n’okunyiikira’: “Ekigambo ekyo kirina amakulu g’okufuba ennyo.” Ate era, ku bikwata ku lunyiriri luno Heinrich Meyer omwekenneenya wa Baibuli agamba: “Ebigambo ebyo byoleka okufuba okw’amaanyi okusobola okutuuka mu bwakabaka bwa Masiya obugenda busembera . . . Omuntu aba yeesunga nnyo okuyingira mu Bwakabaka obwo.” Okufaananako omusuubuzi eyatindigga olugendo okunoonya luulu, abantu bano baategeera mangu nnyo ekintu ekyali kisinga okuba eky’omuwendo, era beerekereza byonna basobole okufuna Obwakabaka.—Matayo 19:27, 28; Abafiripi 3:8.
N’Abalala Baatandika Okunoonya
14. Yesu yatendeka atya abatume okukola omulimu gw’okubuulira Obwakabaka, era biki ebyavaamu?
14 Yesu bwe yeeyongera mu buweereza bwe, yatendeka era n’ayamba abalala okuluubirira Obwakabaka. Okusooka, yalonda abantu 12 okuva mu bayigirizwa be era n’abafuula abatume. Bano Yesu yabawa obulagirizi ku ngeri gye bandituukirizaamu obuweereza bwabwe era n’abalabula ku buzibu bwe bandisanze mu biseera eby’omu maaso. (Matayo 10:1-42; Lukka 6:12-16) Mu myaka ebiri egyaddirira oba n’okusingawo, baagendanga ne Yesu mu kubuulira era baafuna enkolagana ey’oku lusegere naye. Baawuliranga bye yayogeranga, baalaba ebyamagero bye yakola era n’ekyokulabirako kye yateekawo. (Matayo 13:16, 17) Awatali kubuusabuusa bino byonna byabakwatako nnyo, era nabo okufaananako omusuubuzi oli, baanyiikira okuluubirira Obwakabaka n’omutima gwabwe gwonna.
15. Kiki Yesu kye yagamba ekyandireetedde abagoberezi be okuba abasanyufu?
15 Ng’oggyeko abatume 12, Yesu ‘yalonda n’abalala nsanvu, n’abatuma kinnababirye okugenda mu buli kibuga na buli kifo gye yali agenda.’ Yabategeeza ebigezo n’ebizibu bye bandyolekaganye nabyo era n’abagamba okubuulira abantu nti: “Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde kumpi.” (Lukka 10:1-12) Abayigirizwa abo 70 baakomawo nga babugaanye essanyu era ne bagamba Yesu nti: “Mukama waffe, ne badayimooni batuwulira mu linnya lyo.” Naye kirabika kyabeewuunyisa nnyo Yesu bwe yabagamba nti bandifunye essanyu erisinga ku eryo mu biseera eby’omu maaso olw’okunyiikirira Obwakabaka. Yabagamba bw’ati: “Ekyo temukisanyukira, kubanga badayimooni babawulira; naye musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”—Lukka 10:17, 20.
16, 17. (a) Kiki Yesu kye yagamba abatume be abeesigwa mu kiro kye yasembayo okuba nabo? (b) Ebigambo bya Yesu byaviirako abatume kufuna ki?
16 Ku nkomerero, mu kiro ekyasembayo ng’ali n’abatume be ku Nisani 14, 33 C.E., Yesu yatandikawo omukolo oguyitibwa eky’Ekiro kya Mukama Waffe era n’abalagira okugukuzanga. Akawungeezi ako, Yesu yagamba abatume 11 abaasigalawo: “Mmwe muumuno abaagumiikirizanga wamu nange mu kukemebwa kwange; nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze, mulyoke mulye era munywere ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange; era mulituula ku ntebe ez’ekitiibwa, nga musalira emisango ebika ekkumi n’ebibiri eby’Abaisiraeri.”—Lukka 22:19, 20, 28-30.
17 Ng’abatume bateekwa okuba nga baafuna essanyu bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo! Baali bagenda kufuna enkizo esingayo obulungi omuntu yenna gye yandyagadde okufuna. (Matayo 7:13, 14; 1 Peetero 2:9) Okufaananako omusuubuzi, beefiiriza ebintu bingi okusobola okugoberera Yesu nga baluubirira Obwakabaka. Kati baali bakakafu nti okwefiiriza kwabwe tekwagwa butaka.
18. Ng’oggyeko abatume 11, baani abalala abandiganyuddwa mu Bwakabaka?
18 Abatume abaali ne Yesu ekiro ekyo si be bokka abaali ab’okuganyulwa mu Bwakabaka obwo. Kyali kigendererwa kya Yakuwa abantu 144,000 babeere mu ndagaano y’Obwakabaka nga bafugira wamu ne Yesu Kristo mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Ng’oggyeko abo, omutume Yokaana yalaba mu kwolesebwa “ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, . . . nga bayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga, . . . nga boogera nti Obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n’eri Omwana gw’endiga.” Banno be bajja okuba ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka.b—Okubikkulirwa 7:9, 10; 14:1, 4.
19, 20. (a) Abantu mu mawanga gonna baweereddwa mukisa ki? (b) Kibuuzo ki ekijja okwekeneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
19 Ng’ebulayo akaseera katono agende mu ggulu, Yesu yalagira abagoberezi be abeesigwa nti: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu, nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” (Matayo 28:19, 20) N’olw’ekyo, abantu okuva mu mawanga gonna bandifuuse abayigirizwa ba Yesu Kristo. Bano nabo bandyemalidde ku kunoonya Obwakabaka ng’omusuubuzi bwe yakola ng’anoonya luulu ey’omuwendo, ka kibe nti baali baakubufunira mu ggulu oba ku nsi.
20 Ebigambo bya Yesu byakyoleka nti omulimu gw’okufuula abayigirizwa gwandyeyongedde mu maaso okutuusiza ddala ‘ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu.’ Mu kiseera kyaffe, waliwo abantu abafaananako omusuubuzi eyatindigga olugendo okunoonya luulu, abeetegefu okwerekereza buli kye balina okusobola okuluubirira Obwakabaka bwa Katonda? Ekibuuzo kino kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
[Footnotes]
a Kirabika Yokaana, mutabani wa Zebbedaayo, yagobererako Yesu ku mulundi gwe yasooka okubasisinkana era n’alaba ebintu ebimu bye yakola, bwe kityo ne kimuyamba okubiwandiika obulungi mu Njiri ye. (Yokaana, essuula 2-5) Wadde kyali kityo, nga Yesu tannamuyita kumugoberera, yaddayo ku mulimu gw’okuvuba ogwakolebwanga ab’omu maka ge.
b Okumanya ebisingawo, laba essuula 10 ey’akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okunnyonnyola?
• Ssomo ki ekkulu eriri mu lugero lw’omusuubuzi eyatambula okunoonya luulu?
• Yesu yalaga atya nti Obwakabaka abutwala ng’ekintu eky’omuwendo?
• Kiki ekyaleetera Andereya, Peetero, Yokaana n’abalala okusitukiramu nga Yesu abayise?
• Abantu ab’amawanga gonna baweereddwa mukisa ki ogw’enjawulo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
‘Baaleka awo byonna ne bagoberera Yesu’