ESSUULA 13
Yigira ku Ngeri Yesu Gye Yaziyizaamu Ebikemo
MATAYO 4:1-11 MAKKO 1:12, 13 LUKKA 4:1-13
SITAANI AKEMA YESU
Amangu ddala nga Yokaana amaze okubatiza Yesu, omwoyo gwa Katonda gutwala Yesu mu ddungu lya Yuda. Ku kubatizibwa kwe, ‘eggulu lyabikkuka.’ (Matayo 3:16) N’olwekyo, Yesu asobola okujjukira ebintu bye yayiga ne bye yakola ng’akyali mu ggulu. Mu butuufu, alina ebintu bingi eby’okufumiitirizaako!
Yesu amala mu ddungu ennaku 40, emisana n’ekiro. Mu kiseera ekyo, talina kintu kyonna ky’alya. Oluvannyuma nga Yesu enjala emuluma nnyo, Sitaani Omulyolyomi ajja n’amukema ng’agamba nti: “Bw’oba ng’oli mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.” (Matayo 4:3) Olw’okuba akimanyi nti kikyamu okukola ebyo ye by’ayagala ng’akozesa amaanyi agaamuweebwa okukola eby’amagero, Yesu aziyiza ekikemo ekyo.
Naye Omulyolyomi takoma awo; akozesa ekikemo ekirala. Agamba Yesu abuuke okuva waggulu ku kisenge kya yeekaalu agwe wansi. N’ekikemo ekyo Yesu akiziyiza kubanga okwo kuba kweraga. Ng’ajuliza Ebyawandiikibwa, Yesu agamba nti kikyamu okukema Katonda ng’okola ekintu ng’ekyo.
Mu kikemo eky’okusatu, Omulyolyomi alaga Yesu “obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo,” era amugamba nti: “Ebintu bino byonna nja kubikuwa singa ovunnama n’onsinza.” Yesu agaanira ddala, era agamba nti: “Vaawo genda Sitaani!” (Matayo 4:8-10) Agaana okusinza Sitaani, kubanga akimanyi nti Katonda yekka y’alina okusinzibwa. Yesu asigala mwesigwa eri Katonda.
Waliwo bingi bye tuyigira ku bikemo ebyo n’engeri Yesu gye yabiziyizaamu. Ebikemo ebyo byali bya ddala, era ekyo kiraga nti Sitaani si ndowooza mbi eri mu mitima gy’abantu ng’abamu bwe balowooza. Sitaani kitonde eky’omwoyo ekitalabika. Ate era tuyiga nti gavumenti z’abantu Sitaani y’azirinako obuyinza. Ggwe ate singa tekiri bwe kityo, ekyo kyandibadde kikemo?
Okugatta ku ekyo, Sitaani yali mwetegefu okuwa Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi, singa yavunnama n’amusinza omulundi gumu gwokka. Naffe Sitaani ayinza okutukema ng’atusuubiza okutuwa eby’obugagga oba obuyinza mu nsi eno. Nga kiba ky’amagezi okukoppa Yesu ne tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ka tube nga tukemeddwa mu ngeri ki! Naye kijjukire nti Sitaani yaleka Yesu “okutuusa lwe yandifunye akakisa akalala.” (Lukka 4:13) Naffe ayinza okutukola bw’atyo, n’olwekyo tusaanidde okusigala nga tuli bulindaala.