Essuula ey’Ekkumi n’Omusanvu
Okwawulawo Abasinza ab’Amazima mu Kiseera eky’Enkomerero
1. Okusinziira ku Danyeri essuula 7, mu kiseera kyaffe kintu ki ekitali kya bulijjo ekyandituuse ku kabinja k’abantu abatasobola kwetaasa?
AKABINJA k’abantu abatasobola kwetaasa kalumbibwa obufuzi kirimaanyi. Bawonawo nga tebatuusiddwako kabi konna. Kyokka, ekyo tekibaawo mu maanyi gaabwe naye olw’okuba Yakuwa Katonda abatwala nga ba muwendo. Danyeri essuula 7 yalagula ebintu bino, ebyaliwo mu matandika g’ekyasa ekya 20. Naye, abantu abo be baani? Essuula y’emu eya Danyeri yaboogerako nga “abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo,” Yakuwa Katonda. Era yalaga nti abantu bano bajja kuba bafuzi mu Bwakabaka bwa Masiya!—Danyeri 7:13, 14, 18, 21, 22, 25-27.
2. (a) Yakuwa afaayo kyenkana wa ku baweereza be abaafukibwako amafuta? (b) Kiki ekyandibadde eky’amagezi okukola mu biseera bino?
2 Nga bwe tuyize mu Danyeri essuula 11, kabaka ow’obukiika kkono ajja kutuuka ku nkomerero ye ng’agezaako okusaanyawo ensi ey’eby’omwoyo ey’abantu bano abeesigwa. (Danyeri 11:45; geraageranya Ezeekyeri 38:18-23.) Yee, Yakuwa akuuma butiribiri abantu be abeesigwa abaafukibwako amafuta. Zabbuli 105:14, 15 zitugamba: “[Yakuwa] yanenya bakabaka ku lwabwe; ng’ayogera nti Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, so temukolanga bubi bannabbi bange.” Tokiraba nno nti kyandibadde kya magezi mu biseera bino ebya kazigizigi ‘ab’ekibiina ekinene’ okukolera awamu n’abatukuvu bano? (Okubikkulirwa 7:9; Zekkaliya 8:23) Yesu Kristo yakubiriza abantu abalinga endiga okukola ekyo kyennyini; okukolera awamu ne baganda be abaafukibwako amafuta nga babawagira mu mulimu gwabwe.—Matayo 25:31-46; Abaggalatiya 3:29.
3. (a) Lwaki si kyangu okuzuula abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta era n’okubanywererako? (b) Danyeri essuula 12 eneekuyamba etya mu nsonga eno?
3 Kyokka, Setaani, Omulabe wa Katonda, agguddewo olutalo olw’amaanyi ku baafukibwako amafuta. Ataddewo eddiini ez’obulimba, era bw’atyo n’ajjuza ensi yonna Abakristaayo ab’obulimba. Ekivuddemu, abantu bangi babuzaabuziddwa. Abalala tebalowooza nti kisoboka okuzuula abali mu ddiini ey’amazima. (Matayo 7:15, 21-23; Okubikkulirwa 12:9, 17) N’abo abazudde ‘ab’ekisibo ekitono’ era ne batandika okukolagana nabo bateekwa okulwanirira ennyo okukkiriza kwabwe, kubanga ensi eno eyagala okukusaanyawo. (Lukka 12:32) Kiri kitya gy’oli? Ozudde “abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo,” era otandise okukolagana nabo? Ofunye obujulizi obunywevu obukakasiza ddala nti beebo ddala Katonda be yalonda? Obujulizi ng’obwo busobola okunyweza okukkiriza kwo. Era osobola okubukozesa okuyamba abalala okulaba obunnanfuusi obuli mu madiini agaliwo leero. Danyeri essuula 12 erimu okumanya kuno okw’omuwendo okusobola okuwonya obulamu.
OMULANGIRA OMUKULU ABAAKO KY’AKOLA
4. (a) Danyeri 12:1 lwalagula bintu ki ebibiri ebikwata ku Mikayiri? (b) Mu Danyeri, kabaka ‘okuyimirira’ kitera kuba na makulu ki?
4 Danyeri 12:1 lusoma: “Mu biro ebyo Mikayiri aliyimirira, omulangira omukulu ayimiririra [“ayimiridde ku lwa,” NW] abaana b’abantu bo.” Olunyiriri luno lwalagula ebintu bibiri ebikulu ebikwata ku Mikayiri: ekisooka kiri nti ‘ayimiridde,’ nga kyoleka nti kino kibaawo okumala ebbanga; eky’okubiri nti “aliyimirira,” ng’ekyo kiraga nti kikolwa ekiribaawo mu bbanga eryo. Okusooka, twagala okumanya ekiseera Mikayiri lw’abeera nga ‘ayimiridde ku lw’abaana b’abantu ba Danyeri.’ Jjukira nti Mikayiri lye linnya eriyitibwa Yesu mu kifo kye ng’Omufuzi ow’omu ggulu. Okwogera ku ‘kuyimirira’ kwe kutujjukiza engeri ekigambo ekyo gye kikozesebwamu mu bitundu ebirala eby’ekitabo kya Danyeri. Kitera okutegeeza ekyo kabaka ky’aba akoze, gamba ng’okulya obwakabaka.—Danyeri 11:2-4, 7, 20, 21.
5, 6. (a) Kiseera ki Mikayiri lw’abeera ng’ayimiridde? (b) Ddi Mikayiri ‘lw’aliyimirira,’ era mu ngeri ki, ate biki ebinaavaamu?
5 Kirabika nga wano malayika yali asonga ku kiseera ekyogerwako awalala mu bunnabbi bwa Baibuli. Ekiseera ekyo Yesu yakiyita ‘okubeerawo’ kwe (Oluyonaani, pa·rou·siʹa), mw’alifugira nga Kabaka mu ggulu. (Matayo 24:37-39, NW) Ekiseera ekyo era kiyitibwa ‘ennaku ez’oluvannyuma’ oba ‘ekiseera eky’enkomerero.’ (2 Timoseewo 3:1; Danyeri 12:4, 9) Kasookedde ekiseera ekyo kitandika mu 1914, Mikayiri abadde ayimiridde nga Kabaka mu ggulu.—Geraageranya Isaaya 11:10; Okubikkulirwa 12:7-9.
6 Kati olwo, Mikayiri ‘aliyimirira’ ddi? Ng’abaako eky’enjawulo ky’akolawo. Kino ajja kukikola mu biseera ebijja. Okubikkulirwa 19:11-16 woogera ku Yesu nga Kabaka Masiya ow’amaanyi akulembera eggye lya bamalayika erizikiriza abalabe ba Katonda. Danyeri 12:1 lweyongera ne lugamba: “Era waliba ekiseera eky’okunakuwaliramu, ekitabangawo kasooka wabaawo eggwanga okutuusa ku biro ebyo.” Ng’Omumbowa wa Yakuwa Omukulu, Kristo ajja kuzikiriza embeera z’ebintu embi eziriwo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekyalagulwa.—Matayo 24:21; Yeremiya 25:33; 2 Abasessalonika 1:6-8; Okubikkulirwa 7:14; 16:14, 16.
7. (a) Abeesigwa bonna abanaabaawo mu ‘kiseera eky’okunakuwaliramu’ balina ssuubi ki? (b) Ekitabo kya Yakuwa kye kiruwa, era lwaki kikulu okuwandiikibwa mu kitabo ekyo?
7 Abantu abalina okukkiriza balikwatibwako batya mu kiseera ekyo ekya kazigizigi? Danyeri yategeezebwa bw’ati: “Mu biro ebyo abantu bo baliwonyezebwa, buli alirabika nga yawandiikibwa mu kitabo.” (Geraageranya Lukka 21:34-36.) Ekitabo ekyo kikiikirira ki? Kyoleka nti Yakuwa Katonda ajjukira abo abakola by’ayagala. (Malaki 3:16; Abebbulaniya 6:10) Abo abawandiikiddwa mu kitabo kino eky’obulamu be bantu abasingayo okuba n’obukuumi mu nsi, kubanga balina obukuumi bwa Katonda. Ka kabeere kabi ki akabatuukako, kasobola okujjululwa era kajja kujjululwa. Ka kibe nti bafa nga ‘ekiseera ekijja eky’okunakuwaliramu’ tekinnatuuka, Yakuwa ajja kusigala ng’abajjukira. Era ajja kubazuukiza mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Yesu Kristo.—Ebikolwa 24:15; Okubikkulirwa 20:4-6.
ABATUKUVU ‘BAZUUKUKA’
8. Danyeri 12:2 lulimu kisuubizo ki eky’essanyu?
8 Essuubi ery’okuzuukira lizzaamu nnyo amaanyi. Danyeri 12:2 lulyogerako bwe luti: “Bangi ku abo abeebaka mu nfuufu ey’oku nsi balizuukuka, abamu eri obulamu obutaggwaaawo, n’abamu eri ensonyi n’okunyoomebwa okutaggwaawo.” (Geraageranya Isaaya 26:19.) Ebigambo ebyo biyinza okutujjukiza ekisuubizo kya Yesu Kristo ekikwata ku kuzuukira. (Yokaana 5:28, 29) Nga ssuubi lya kitalo nnyo! Lowooza ku mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo abaafa nga baweereddwa akakisa okukomawo nate mu bulamu! Naye ekisuubizo kino eky’omu kitabo kya Danyeri, okusingira ddala kikwata ku kuzuukira okw’engeri endala okwatandika edda okubaawo. Ekyo kisoboka kitya?
9. (a) Lwaki kiba kituukirawo okusuubira nti Danyeri 12:2 lwandituukiriziddwa mu nnaku ez’oluvannyuma? (b) Kuzuukira kwa ngeri ki obunnabbi buno kwe bwogerako, era tumanya tutya?
9 Lowooza ku nnyiriri ezeetooloddewo. Nga bwe tumaze okulaba, olunyiriri olusooka olw’essuula 12 lukwata ku kiseera eky’ennaku ez’oluvannyuma, kyonna awamu, so si ku nkomerero yokka ey’embeera zino ez’ebintu. Mu butuufu, ekitundu ekisinga obunene eky’essuula si kya kutuukirizibwa mu lusuku lwa Katonda olugenda okujja, wabula mu kiseera kino eky’enkomerero. Wabaddewo okuzuukira mu kiseera kino eky’enkomerero? Omutume Pawulo yagamba nti okuzuukira ‘kw’abo aba Kristo’ kubaawo mu “kiseera eky’okubeerawo kwe.” Kyokka, abo abazuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu bafuna ‘obutavunda.’ (1 Abakkolinso 15:23, 52, NW) Tewali n’omu ku bo azuukizibwa eri “ensonyi n’okunyoomebwa okutaggwaawo” ebyogerwako mu Danyeri 12:2. Waliwo okuzuukira okw’engeri endala? Mu Baibuli, oluusi okuzuukira kuba n’amakulu ag’eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, Ezeekyeri ne Okubikkulirwa byombi birimu obunnabbi obukwata ku kuzuukira okw’eby’omwoyo.—Ezeekyeri 37:1-14; Okubikkulirwa 11:3, 7, 11.
10. (a) Mu ngeri ki abaafukibwako amafuta gye bazuukiziddwa mu kiseera eky’enkomerero? (b) Abaafukibwako amafuta abamu abaazuukusibwa beesanga batya nga balina “ensonyi n’okunyoomebwa okutaggwaawo”?
10 Abaweereza ba Katonda mu kiseera eky’enkomerero balamuse mu ngeri ey’eby’omwoyo? Yee! Kimanyiddwa bulungi nti mu 1918 ensigalira ey’Abakristaayo abeesigwa baakolebwako obulabe obw’amaanyi obwagootaanya obuweereza bwabwe. Naye ekyewuunyisa , mu 1919 ne balamuka nate mu ngeri ey’eby’omwoyo. Ebyaliwo bino bikwatagana bulungi n’okuzuukizibwa okwogerwako mu Danyeri 12:2. Abamu ‘baazuukuka’ mu ngeri ey’eby’omwoyo mu kiseera ekyo era n’oluvannyuma. Naye eky’ennaku, bonna tebeeyongera kubeera balamu mu by’omwoyo. Abo abeesamba Kabaka Masiya era ne balekera awo okuweereza Katonda oluvannyuma lw’okuzuukusibwa, baafuna “ensonyi n’okunyoomebwa okutaggwaawo” ebyogerwako mu Danyeri 12:2. (Abaebbulaniya 6:4-6) Kyokka, abaafukibwako amafuta abeesigwa, abeeyambisa obulungi embeera yaabwe ey’okuzzibwa obuggya mu by’omwoyo, baawagira Kabaka Masiya. Mu nkomerero, ng’obunnabbi bwe bulaga, obwesigwa bwabwe bujja kubaviiramu “obulamu obutaggwaawo.” Leero, obunywevu bwabwe mu by’omwoyo busobozesa abalala okubaawulawo.
‘BAAKAAYAKANA NG’EMMUNYEENYE’
11. Baani ‘abalina okutegeera’ leero, era mu ngeri ki gye baakaayakanamu ng’emmunyeenye?
11 Ennyiriri ebbiri eziddako mu Danyeri essuula 12 zongera okutuyamba okutegeera “abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo.” Mu lunyiriri 3 malayika agamba Danyeri: “N’abo abalina amagezi [“okutegeera,” NW] balyakaayakana ng’okumasamasa okw’omu bbanga: n’abo abakyusa abangi eri obutuukirivu ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe.” Be baani “abo abalina okutegeera” leero? Nate obujulizi busonga ku ‘batukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo.’ Ggwe ate, ng’oggyeko ensigalira y’abaafukibwako amafuta abeesigwa, eriyo abalala bonna abaalina okutegeera okwabasobozesa okumanya nti Mikayiri, Omulangira Omukulu, yayimirira nga Kabaka mu 1914? Mu kubuulira amazima nga gano, era n’okunywerera ku mpisa ez’Ekikristaayo, babadde ‘baakaayakana ng’emmunyeenye’ mu nsi eno ekutte ekizikiza eky’eby’omwoyo. (Abafiripi 2:15; Yokaana 8:12) Yesu yalagula bw’ati ku bo: “Abatuukirivu balimasamasa ng’enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe.”— Matayo 13:43.
12. (a) Mu kiseera eky’enkomerero, abaafukibwako amafuta ‘bakyusizza batya bangi eri obutuukirivu’? (b) Abaafukibwako amafuta banaakyusa batya bangi eri obutuukirivu era ‘baakaayakane ng’emmunyeenye’ mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi?
12 Ate era, Danyeri 12:3 lututegeeza omulimu ogwandikoleddwa Abakristaayo bano abaafukibwako amafuta mu kiseera kino eky’enkomerero. ‘Bandikyusizza bangi eri obutuukirivu.’ Ab’ensigalira y’abaafukibwako amafuta baatandika okukuŋŋaanya omuwendo ogwali gusigaddeyo ogw’abasika ba Kristo 144,000. (Abaruumi 8:16, 17; Okubikkulirwa 7:3, 4) Omulimu ogwo bwe gwamalirizibwa, mu masekkati g’emyaka gya 1930, baatandika okukuŋŋaanya ‘ekibiina ekinene’ ekya “endiga endala.” (Okubikkulirwa 7:9; Yokaana 10:16) Bano nabo bakkiririza mu kinunulo kya ssaddaaka ya Yesu Kristo. N’olwekyo, balina ennyimirira ennungi mu maaso ga Yakuwa. Nga kati omuwendo gwabwe gutuuse mu bukadde, essuubi lye balina ery’okuwonawo ku kuzikirizibwa kw’ensi eno embi balitwala nga lya muwendo nnyo. Mu bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, Yesu ne bakabaka era bakabona banne 144,000, bajja kutuusa emiganyulo gy’ekinunulo mu bujjuvu ku bantu abawulize ku nsi. Mu ngeri eyo bajja kuyamba bonna abooleka okukkiriza okwetakkululiza ddala ku kibi kya Adamu. (2 Peetero 3:13; Okubikkulirwa 7:13, 14; 20:5, 6) Mu ngeri esingirayo ddala obukulu, mu kiseera ekyo abaafukibwako amafuta bajja kwenyigira mu ‘kukyusa bangi eri obutuukirivu’ era bajja ‘kwakaayakana ng’emmunyeenye’ mu ggulu. Essuubi ery’okubeera ku nsi wansi wa gavumenti y’obwakabaka bwa Kristo n’abo abagenda okufuga naye, olitwala nga lya muwendo? Nga nkizo ya maanyi okwenyigira awamu ‘n’abatukuvu’ mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda!—Matayo 24:14.
‘BADDIŊŊANA’
13. Mu ngeri ki ebigambo ebiri mu kitabo kya Danyeri gye byabikkibwako era ne bissibwako akabonero?
13 Obubaka bwa malayika eri Danyeri obutandikira mu Danyeri 10:20, bufundikirwa n’ebigambo bino ebibuguumiriza: “Naye ggwe, Danyeri, bikka ku bigambo, osse akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky’enkomerero: bangi abaliddiŋŋana embiro, n’okumanya kulyeyongera.” (Danyeri 12:4) Ebisinga obungi ku ebyo Danyeri bye yaluŋŋamizibwa okuwandiika mazima ddala byabikkibwako era ne bitasobola kutegeerwa bantu. Ne Danyeri kennyini oluvannyuma yawandiika: “Ne mpulira, naye ne sitegeera.” (Danyeri 12:8) Mu ngeri eyo, ekitabo kya Danyeri kyamala ebyasa ebiwerako nga kissiddwako akabonero. Kiri kitya leero?
14. (a) Mu ‘kiseera eky’enkomerero,’ baani ‘abaddiŋŋanye,’ era kiki kye baddiŋŋanye? (b) Kiki ekiraga nti Yakuwa awadde omukisa ‘okuddiŋŋana’ okwo?
14 Tulina enkizo okubeerawo mu ‘kiseera kino eky’enkomerero’ ekyogerwako mu kitabo kya Danyeri. Nga bwe kyalagulwa, abeesigwa bangi ‘baddiŋŋanye’ Ekigambo kya Katonda. Kiki ekivuddemu? Olw’emikisa gya Yakuwa, okumanya okutuufu kweyongedde nnyo. Okuwaayo ebyokulabirako bitono: Abajulirwa ba Yakuwa abaafukibwako amafuta bafunye okumanya okubasobozesezza okutegeera nti Omwana w’omuntu yafuuka Kabaka mu 1914, okutegeera ensolo ezoogerwako mu bunnabbi bwa Danyeri, n’okulabula abantu ku ‘ky’omuzizo ekizikiriza.’ (Danyeri 11:31) N’olwekyo, okumanya kuno okweyongedde, ke kabonero akalala akaawulawo “abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo.” Naye Danyeri yaweebwa obujulizi obulala.
‘BAMENYAAMENYEBWA’
15. Kibuuzo ki malayika ky’abuuza, era ekibuuzo kino kiyinza kutujjukiza baani?
15 Tujjukira nti Danyeri yafuna obubaka buno okuva eri malayika ng’ali ku mabbali ga “omugga omunene” Kiddekeri, era ogumanyiddwa nga Tiguli. (Danyeri 10:4) Ng’ali awo, alaba bamalayika basatu n’agamba: “Nze Danyeri ne ndyoka ntunula, era, laba, abalala babiri nga bayimiridde, omu ku lubalama lw’omugga emitala w’eno, n’omulala ku lubalama lw’omugga emitala w’eri. N’omu n’agamba omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w’amazzi g’omugga, nti Eby’ekitalo birituusa wa okukoma?” (Danyeri 12:5, 6) Ekibuuzo malayika kye yabuuza wano era kiyinza okutujjukiza “abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo.” Mu ntandikwa ‘y’ekiseera eky’enkomerero,’ mu 1914, baayagala nnyo okumanya ebbanga lye kyanditutte ebisuubizo bya Katonda okutuukirizibwa. Okuba nti obunnabbi buno bwogera ku bo, kyeyoleka bulungi mu ngeri ekibuuzo kino gye kiddibwamu.
16. Bunnabbi ki malayika bw’awa, era aggumiza atya nti bujja kutuukirizibwa?
16 Danyeri yeeyongera okututegeeza: “Ne mpulira omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w’amazzi g’omugga, ng’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, n’alayira [O]yo abeera omulamu emirembe gyonna, nga birituusa ekiseera n’ebiseera n’ekitundu ky’ekiseera: era bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag’abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo.” (Danyeri 12:7) Kino kikulu nnyo. Malayika awanika emikono gye gyombi n’alayira, oboolyawo ekikolwa ekyo kisobole okulabibwa bamalayika ababiri abali ku njuyi zombi ez’omugga ogwo omunene. Mu ngeri eno aggumiza nti obunnabbi buno buteekwa okutuukirizibwa. Naye ebiseera ebyo ebigereke bibaawo ddi? Eky’okuddamu si kizibu kuzuula nga bwe wandirowoozezza.
17. (a) Kufaanagana ki okuliwo wakati w’obunnabbi obuli mu Danyeri 7:25, Danyeri 12:7, ne Okubikkulirwa 11:3, 7, 9? (b) Ebiseera ebisatu n’ekitundu byenkana wa obuwanvu?
17 Obunnabbi buno bufaanagana nnyo n’obunnabbi obulala bubiri. Obusooka, bwe twekenneenya mu Ssuula 9 ey’ekitabo kino, busangibwa mu Danyeri 7:25; ate obulala, buli mu Okubikkulirwa 11:3, 7, 9. Weetegereze okufaanagana okuliwo. Bwombi bukwata ku kiseera eky’enkomerero. Bwombi bwogera ku baweereza ba Katonda abatukuvu, bulaga nti bayigganyizibwa era ne bamala ekiseera nga tebakyasobola kukola mulimu gwabwe ogw’okubuulira mu lujjudde. Bwombi era bulaga nti abaweereza ba Katonda baddamu endasi ne beeyongera okukakkalabya omulimu gwabwe, ne balemesa ababayigganya. Ate era, obunnabbi bwombi bwogera ku buwanvu bw’ekiseera ekyo ekizibu abaweereza ba Katonda kye babeeramu. Obunnabbi bwombi mu Danyeri (7:25 ne 12:7) bwogera ku ‘kiseera, ebiseera, n’ekitundu ky’ekiseera.’ Abeekenneenya bagamba nti kino kitegeeza ebiseera bisatu n’ekitundu. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti ekiseera ekyo kye kimu kirimu emyezi 42, oba ennaku 1,260. (Okubikkulirwa 11:2, 3) Kino kikakasa nti ebiseera ebisatu n’ekitundu mu Danyeri bitegeeza emyaka esatu n’ekitundu, nga buli gumu gulimu ennaku 360. Ennaku zino 1,260 zaatandika ddi?
18. (a) Okusinziira ku Danyeri 12:7, kiki ekyandibaddewo ku nkomerero y’ennaku 1,260? (b) Ddi ‘amaanyi g’abatukuvu’ lwe gamenyaamenyebwa, era kyabaawo kitya? (c) Ddi ennaku 1,260 lwe zaatandika, era mu ngeri ki abaafukibwako amafuta gye ‘baabuuliramu nga bambadde ebibukutu’ mu kiseera ekyo?
18 Obunnabbi bulagira ddala kaati ddi ennaku 1,260 lwe zandikomye, nga kye kiseera ekyo we ‘bamalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag’abantu abatukuvu.’ Mu masekkati ga 1918, abakungu ba Watch Tower Bible and Tract Society, nga mw’otwalidde ne prezidenti waakyo, J. F. Rutherford, baasibibwako emisango gye batazza, ne basindikibwa mu kkomera. Mazima ddala, abatukuvu ba Katonda bano, baalabira ddala ng’omulimu gwabwe ‘gumenyaamenyeddwa,’ era nga n’amaanyi gabawedde. Bwe tubala emyaka esatu n’ekitundu okuva mu massekati ga 1918 okuddayo emabega kitutuusa ku nkomerero ya 1914. Mu kiseera ekyo abaafukibwako amafuta baali beetegekera okuyigganyizibwa. Ssematalo I yali abaluseewo, era omulimu gwabwe gwali gweyongedde okuziyizibwa. Mu mwaka 1915, beesigamya ekyawandiikibwa kyabwe eky’omwaka ku kibuuzo kino Kristo kye yabuuza abagoberezi be: “Muyinza okunywa ku kikompe nze kye ŋŋenda okunywako?” (Matayo 20:22) Nga bwe kyalagulwa mu Okubikkulirwa 11:3, ebbanga ery’ennaku 1,260 eryaddirira kyali kiseera kya buyinike eri abaafukibwako amafuta; baali ng’ababuulira nga bambadde ebibukutu. Okuyigganyizibwa kweyongera. Abamu baasibibwa mu makomera, abalala baakubibwa emiggo, abalala baatulugunyizibwa. Bangi baggwaamu amaanyi C. T. Russell, prezidenti wa Sosayate eyasooka, bwe yafa mu 1916. Naye kiki ekyali kigenda okubaawo ng’ekiseera ekyo ekya kazigizigi kikomekkerezeddwa n’okuttibwa kw’abatukuvu bano ku bikwata ku mulimu gw’okubuulira?
19. Obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa essuula 11 butukakasa butya nti abaafukibwako amafuta tebaali ba kusirika kumala bbanga ggwanvu?
19 Obunnabbi obufaanaganako obuli mu Okubikkulirwa 11:3, 9, 11 bulaga nti oluvannyuma lwa ‘abajulirwa ababiri’ okuttibwa, baba bafu okumala ekiseera kitono nnyo; nnaku ssatu n’ekitundu, ate ne bazuukizibwa. Mu ngeri y’emu obunnabbi obuli mu Danyeri essuula 12 bulaga nti abatukuvu tebaali ba kusirika busirisi naye baalina omulimu ogw’okukola.
‘BALONGOOSEBWA, BATUKUZIBWA, ERA BAWOOMEZEBWA’
20. Okusinziira ku Danyeri 12:10, mikisa ki egyandifuniddwa abaafukibwako amafuta oluvannyuma lw’okuyita mu bizibu eby’amaanyi?
20 Nga bwe twalabye emabega, Danyeri yawandiika ebintu bino naye teyasobola kubitegeera. Kyokka, ateekwa okuba nga yeebuuza obanga abatukuvu bandimaliddwawo ddala abo ababayigganya, kubanga yabuuza “Ebiriva mu ebyo biriba bitya?” Malayika yamuddamu: “Kwata amakubo go Danyeri: kubanga ebigambo bibikkiddwako era bissi[dd]wako akabonero okutuusa ekiseera eky’enkomerero. Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abaliwoomezebwa: naye ababi balikola ebibi: so ku babi tekuliba abalitegeera: naye abo abalina amagezi balitegeera.” (Danyeri 12:8-10) Waaliwo essuubi ekkakafu ku bikwata ku batukuvu! Mu kifo ky’okuzikirizibwa, banditukuziddwa, ne basiimibwa mu maaso ga Yakuwa Katonda. (Malaki 3:1-3) Okutegeera ebintu eby’omwoyo kwandibasobozesezza okusigala nga bayonjo mu maaso ga Katonda. Okwawukana ku ekyo, ababi bandigaanye okutegeera ebintu eby’omwoyo. Naye bino byonna byandibaddewo ddi?
21. (a) Bintu ki ebyandisoose okutuukirizibwa, ekiseera ekyogerwako mu Danyeri 12:11 kiryoke kitandike? (b) “Ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna” kye kiruwa, era kyaggibwawo ddi? (Laba akasanduuko ku lupapula 298.)
21 Danyeri yagambibwa: “Era kasooka ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna kiggibwawo, eky’omuzizo ekizikiriza ne kiyimirizibwa, walibaawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda.” Bwe kityo ekiseera kino kyanditandise ng’ebintu ebimu bimaze okubeerawo. “Ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna”a kyali kirina okuggibwawo. (Danyeri 12:11) Kiweebwayo ki malayika kye yali ayogerako? Si ssaddaaka ez’ensolo ezaaweebwangayo mu yeekaalu ey’oku nsi. Ne yeekaalu ey’omu Yerusaalemi yali ‘kifaananyi bufaananyi’ ekya yeekaalu ya Yakuwa enkulu ey’eby’omwoyo, eyatandikibwawo Kristo bwe yafuuka Kabona waayo Omukulu mu 29 C.E.! Mu yeekaalu eno ey’eby’omwoyo, ekiikirira enteekateeka ya Katonda ey’okusinza okulongoofu, tekikyetaagisa kuwaayo ebiweebwayo olw’ebibi, kubanga ‘Kristo yaweebwayo omulundi gumu okwetikka ebibi by’abangi.’ (Abaebbulaniya 9:24-28) Kyokka, Abakristaayo bonna ab’amazima bawaayo ssaddaaka mu yeekaalu eno. Omutume Pawulo yawandiika: “Kale mu [Kristo] tuweereyo eri Katonda bulijjo ssadaaka ey’ettendo, kye kibala eky’emimwa egyatula erinnya lye.” (Abaebbulaniya 13:15) N’olwekyo, ekintu kino ekyalina okusooka okutuukirizibwa, nga kuno kwe kuggyawo ‘ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna, kyatuukirizibwa mu masekkati ga 1918, ng’omulimu gw’okubuulira guliyinnyiddwamu eggere.
22. (a) “Eky’omuzizo” ekizikiriza kye kiruwa, era kyateekebwawo ddi? (b) Ekiseera ekyogerwako mu Danyeri 12:11 kyatandika ddi, era kyaggwaako ddi?
22 Ate, kyo, ekintu eky’okubiri ‘eky’okuyimiriza’ oba okussaawo ‘eky’omuzizo ekizikiriza’? Nga bwe twalaba nga twekenneenya Danyeri 11:31, eky’omuzizo kino okusooka kyali Ekinywi ky’Amawanga ate oluvannyuma ne kibeera ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Byombi bya muzizo kubanga byalangirirwa nti bye byokka ebiyinza okuleeta emirembe ku nsi. N’olwekyo, abantu bangi batwala ebibiina bino okuba Obwakabaka bwa Katonda! Ekiteeso eky’okussaawo Ekinywi ekyo kyaleetebwa mu Jjanwali 1919. Bwe kityo nno, mu kiseera ekyo ebintu byombi ebyalina okusooka okubaawo ebyogerwako mu Danyeri 12:11 byatuukirizibwa. N’olwekyo ennaku 1,290 zaatandika mu matandika ga 1919 era ne ziggwaako mu kasambula wa 1922.
23. Abatukuvu ba Katonda baalongoosebwa batya mu bbanga ery’ennaku 1,290 eryalagulwa mu Danyeri essuula 12?
23 Mu kiseera ekyo, abatukuvu beeyongera okutukuzibwa mu maaso ga Katonda? Mazima ddala! Mu Maaki 1919, prezidenti wa Watch Tower Society ne banne baasumululwa mu kkomera. Oluvannyuma baggibwako emisango gyonna gye baali basibiddwako. Nga bakitegeera bulungi nti omulimu gwabwe gwali tegunnaggwa, baatandikirawo okukola, ne bategeka olukuŋŋaana olunene mu Ssebutemba 1919. Mu mwaka gwe gumu, baatandika okufulumya akatabo akalala kanne ka Omunaala gw’Omukuumi. Ng’okusooka kaali kayitibwa The Golden Age (kati Awake!), akatabo kano kawagidde Omunaala gw’Omukuumi nga kalaga obwonoonefu bw’ensi eno era nga kayamba abantu ba Katonda okusigala nga bayonjo. Ku nkomerero y’ennaku 1,290 ezaalagulwa, abatukuvu baali balongooseddwa nnyo. Mu Ssebutemba 1922, mu kiseera kyennyini ebbanga lino we lyaggweerako, baafuna olukuŋŋaana olunene mu Cedar Point, eky’omu Ohio, Amereka. Lwayongera nnyo amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Kyokka, baali beetaaga okweyongera okukulaakulana. Era kyali bwe kityo ne mu bbanga eggereke eryaddako.
ABATUKUVU BAFUNA ESSANYU
24, 25. (a) Kiseera ki ekyalagulwa mu Danyeri 12:12, era kyatandika ddi, ate ne kiggwaako ddi? (b) Ensigalira y’abaafukibwako amafuta baali mu mbeera ki ey’eby’omwoyo ku ntandikwa y’ennaku 1,335?
24 Malayika wa Yakuwa afundikira obunnabbi bwe obukwata ku batukuvu n’ebigambo bino: “Alina omukisa [“essanyu,” NW] alindirira n’atuuka ku nnaku olukumi mu ebisatu mu asatu mu ettaano.” (Danyeri 12:12) Malayika tatutegeeza ddi kiseera ekyo lwe kitandika oba lwe kikoma. Ebyaliwo mu byafaayo byoleka nti kitandikira awo ekiseera kiri ekivuddeko we kikoma. Bwe kityo, kiva mu kasambula wa 1922 okutuuka mu mwaka 1926. Abatukuvu baafuna essanyu ku nkomerero y’ebbanga eryo? Yee, mu ngeri enkulu ez’eby’omwoyo.
25 N’oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1922 (olulagibwa ku lupapula 302), abamu ku batukuvu ba Katonda baali bakyegomba eby’emabega. Ebitabo ebikulu bye baakozesanga mu nkuŋŋaana zaabwe byali Baibuli n’emizingo egiyitibwa Studies in the Scriptures egyawandiikibwa C. T. Russell. Mu kiseera ekyo, bangi baalina endowooza nti okuzuukira era n’Olusuku lwa Katonda okuzzibwawo ku nsi byali bya kutandika okubaawo mu 1925. Bwe kityo, bangi baaweerezanga nga balina olunaku olukakafu lwe batunuulira. Abamu, olw’amalala, baagaana okubuulira mu lujjudde. Embeera eno yali tereeta ssanyu.
26. Ng’ennaku 1,335 zitandise, embeera y’abaafukibwako amafuta ey’eby’omwoyo yakyuka etya?
26 Kyokka, ng’ennaku ezo 1,335 zitandise bino byonna byakyuka. Okubuulira kwayongerwamu amaanyi, ng’enteekateeka enkakafu zikolebwa buli omu okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Enkuŋŋaana zaategekebwa okwekenneenyanga Omunaala gw’Omukuumi buli wiiki. Akatabo ka Watch Tower akaafuluma nga Maaki 1, 1925, kaalimu ekitundu ekikulu ennyo ekyalina omutwe “Okuzaalibwa kw’Eggwanga,” ekyasobozesa abantu ba Katonda okutegeerera ddala mu bujjuvu ebyaliwo wakati wa 1914 ne 1919. Oluvannyuma lwa 1925, abatukuvu baali tebakyaweereza Katonda nga balina olunaku lwonna olukakafu lwe balowoolezaamu. Naye, okutukuza erinnya lya Yakuwa kye kyali ekikulu ennyo gye bali. Amazima gano amakulu gaateekebwako nnyo essira mu kitundu ekyalina omutwe “Ani Anaawa Yakuwa Ekitiibwa?” ekyali mu katabo ka Watch Tower aka Jjanwali 1, 1926. Mu lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu Maayi 1926, ekitabo Deliverance kyafulumizibwa. (Laba olupapula 302.) Kino kye kimu ku bitabo ebippya ebyategekebwa okudda mu kifo kya Studies in the Scriptures. Abatukuvu baali tebakyegomba by’emabega. N’obwesige, baali batunuulira biseera eby’omu maaso era n’omulimu gwe baalina. N’olwekyo, nga bwe kyalagulwa, ennaku 1,335 zaggwaako ng’abatukuvu bali mu mbeera ey’essanyu.
27. Danyeri essuula 12 etuyamba etya okwawulawo abo Yakuwa be yafukako amafuta?
27 Kya lwatu, bonna tebaagumiikiriza mu biseera bino ebizibu. Awatali kubuusabuusa, eno ye nsonga lwaki malayika yaggumiza obukulu ‘bw’okulindirira.’ Abo abaagumiikiriza era ne balindirira, baafuna emikisa mingi. Kino Danyeri essuula 12 ekiraga bulungi. Nga bwe kyalagulwa, abaafukibwako amafuta, baazukizibwa mu ngeri ey’eby’omwoyo. Baafuna okutegeera okw’amaanyi okukwata ku Kigambo kya Katonda, ne basobola ‘okukiddiŋŋana,’ era ne bakulemberwa omwoyo omutukuvu okutegeera ebyama ebikirimu. Yakuwa yabatukuza era n’abasobozesa okwakaayakana ng’emmunyeenye mu by’omwoyo. N’olw’ensonga eyo, baasobozesa bangi okufuna ennyimirira ennungi mu maaso ga Yakuwa Katonda.
28, 29. Twandimaliridde kukola ki mu ‘kiseera kino eky’enkomerero’?
28 Ng’omuntu amaze okulaba obubonero buno obw’obunnabbi obwawulawo “abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo,” kya kwekwasa ki ky’ayinza okuba nakyo obutabategeera era n’okukolera awamu nabo? Emikisa egy’ekitalo girindiridde ab’ekibiina ekinene, abeegatta ku baafukibwako amafuta mu kuweereza Yakuwa. Ffenna tuteekwa okulindirira okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda. (Kaabakuuku 2:3) Mu kiseera kyaffe, Mikayiri, Omulangira Omukulu, abadde ayimiridde ku lw’abantu ba Katonda okumala amakumi g’emyaka. Mu kiseera kitono, ajja kukola omulimu Katonda gw’amuwadde ogw’okuggyawo embeera zino ez’ebintu. Bw’anaakola ekyo, kiki ekinaatutuukako?
29 Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kijja kwesigama ku ekyo kye tusalawo kati ku bikwata ku kutambulira mu bulamu obugolokofu. Okusobola okunyweza obumalirivu bwaffe okukola ekyo mu ‘kiseera kino eky’enkomerero,’ ka twekenneenye olunyiriri olusembayo mu kitabo kya Danyeri. Okwekenneenya olunyiriri olwo mu ssuula eddako kujja kutuyamba okulaba engeri Danyeri gye yayimiriramu mu maaso ga Katonda we era n’engeri gy’anaayimiriramu mu maaso Ge gye bujja.
[Obugambo obuli wansi]
a Kivvuunulwa nga “ssaddaaka” mu Septuagint ey’Oluyonaani.
• Kiseera ki Mikayiri lw’abeera ‘ng’ayimiridde,’ era ‘aliyimirira” mu ngeri ki era ddi?
• Kuzuukira kwa ngeri ki Danyeri 12:2 kwe lwogerako?
• Ddi bino wammanga lwe bitandika era lwe bifundikira:
ebiseera ebisatu n’ekitundu ebyogerwako mu Danyeri 12:7?
ennaku 1,290 ezaalagulwa mu Danyeri 12:11?
ennaku 1,335 ezaalagulwa mu Danyeri 12:12?
• Okussaayo omwoyo ku Danyeri essuula 12 kitusobozesa kitya okwawulawo abasinza ba Yakuwa ab’amazima?
[Ebibuuzo]
[Akasanduuko akali ku lupapula 298]
OKUGGIBWAWO KW’EKIWEEBWAYO EKYOKEBWA EKY’ENNAKU ZONNA
Mu Danyeri, ebigambo “ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna” birabika emirundi etaano. Bitegeeza ssaddaaka ey’ettendo, nga kino kye “kibala eky’emimwa” abaweereza ba Yakuwa Katonda kye bawaayo gy’ali bulijjo. (Abebbulaniya 13:15) Okuggibwawo kwakyo kwogerwako mu Danyeri 8:11; 11:31, ne Danyeri 12:11.
Mu ssematalo zombi, abantu ba Yakuwa baayigganyizibwa nnyo mu bitundu ebyali bifugibwa “kabaka ow’obukiika obwa kkono” ne “kabaka ow’obukiika ddyo.” (Danyeri 11:14, 15) “Ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna” kyaggibwawo ku nkomerero ya Ssematalo I omulimu gw’okubuulira bwe gwataataganyizibwamu mu masekkati ga 1918. (Danyeri 12:7) Mu ngeri y’emu, mu Ssematalo II, “ekiweebwayo ekyokebwa eky’ennaku zonna” ‘kyaggibwawo’ Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amereka okumala ennaku 2,300. (Danyeri 8:11-14; laba Essuula 10 ey’ekitabo kino.) Era kyaggibwawo “emikono” gy’Abanazi okumala ekiseera ekitayogerwako mu Byawandiikibwa.—Danyeri 11:31; laba Essuula 15 ey’ekitabo kino.
[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 301]
EBISEERA EBY’OBUNNABBI EBYOGERWAKO MU DANYERI
Ebiseera musanvu (emyaka 2,520): Okitobba 607 B.C.E.
Danyeri 4:16, 25 okutuuka October 1914 C.E.
(Obwakabaka bwa Masiya bwassibwawo.
Laba Essuula 6 ey’ekitabo kino.)
Ebiseera ebisatu n’ekitundu Ddesemba 1914 okutuuka Jjuuni 1918
(Ennaku 1,260): (bakristaayo abaafukibwako amafuta
baayigganyizibwa.
Danyeri 7:25; 12:7 Laba Essuula 9 ey’ekitabo kino.)
Amawungeera Jjuuni 1 oba 15, 1938, okutuuka
n’amakya 2,300: nga Okitobba 8 oba 22, 1944
Danyeri 8:14 (“Ekibiina ekinene” kirabika, kyeyongera.
Laba Essuula 10 ey’ekitabo kino.)
Wiiki 70 (emyaka 490): 455 B.C.E. okutuuka mu 36 C.E.
Danyeri 9:24-27 (Okujja kwa Masiya n’obuweereza bwe Laba Essuula 11ey’ekitabo kino.)
Ennaku 1,290: Jjanwali 1919 okutuuka nga
Danyeri 12:11 Ssebutemba 1922
(Abakristaayo abaafukibwako amafutaa bazuukukamu bakulaakulana
mu by’omwoyo.)
Ennaku 1,335: Ssebutemba 1922 okutuuka Maayi 1926
Danyeri 12:12 (Abakristaayo abaafukibwako
amafuta batuuka
mu mbeera ey’essanyu.)
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 287]
Abaweereza ba Yakuwa ab’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi baasindikibwa mu kkomera ery’omu Atlanta, Georgia, Amereka. Okuva ku kkono okudda ku ddyo: (abatudde) A. H. Macmillan, J. F. Rutherford, W. E. Van Amburgh; (abayimiridde) G. H. Fisher, R. J. Martin, G. DeCecca, F. H. Robison, ne C. J. Woodworth
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 299]
Enkuŋŋaana ennene ezaali mu Cedar Point, Ohio, Amereka, mu 1919 (waggulu) ne mu 1922 (wansi)
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 302]