ESSUULA EY’ABIRI MU EBBIRI
Yanywerera ku Yesu Wadde nga Yafuna Ebigezo Bingi
1, 2. Kirabika Peetero yali asuubira ki Yesu bwe yali ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu, naye kiki ekyaliwo?
PEETERO yatunuulira abantu abaali bawuliriza Yesu mu kkuŋŋaaniro ly’omu Kaperunawumu. Mu kibuga ekyo mwe yali abeera, era mikwano gye egisinga, n’ab’eŋŋanda ze, era n’abamu ku abo be yakolanga nabo mwe baali babeera; era n’omulimu gwe ogw’okuvuba yagukoleranga awo ku Nnyanja ey’e Ggaliraaya. Peetero ayinza okuba nga yali asuubira nti abantu ab’omu kibuga kye abaali bawuliriza Yesu nabo baali bagenda kukitegeera nti ye yali Masiya era bakkirize obubaka obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda bwe yali abuulira. Naye eky’ennaku ekyo si kye kyaliwo.
2 Bangi baalekera awo okuwuliriza Yesu, era abamu ku bo ne babaako bye boogera nga bawakanya bye yali ayogera. Kyokka ekyasinga okuluma Peetero kwe kulaba nga n’abamu ku bayigirizwa ba Yesu bakiraga nti baali tebakyayagala ebyo Yesu bye yali abayigirizza. Abamu baali balabika nga basunguwavu, ate abalala baatandika n’okugamba nti Yesu bye yali ayogera byali byesisiwaza. Nabo baalekera awo okuwuliriza bye yali ayogera ne bava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda. Baalekera awo okutambulira awamu ne Yesu.—Soma Yokaana 6:60, 66.
3. Okukkiriza kwa Peetero kwamuyamba kukola ki?
3 Ako kaali kaseera kazibu nnyo eri Peetero n’abatume abalala. Ebimu ku ebyo Yesu bye yali ayigirizza ku lunaku olwo Peetero yali tabitegedde, era ateekwa okuba yali alaba ensonga lwaki byali bisobola okwesittaza omuntu nga tannyonnyoddwa makulu gaabyo. Naye kati ye yali agenda kukola atya? Ogwo si gwe gwali omulundi ogusoose obwesigwa bwe eri Mukama we okugezesebwa era si gwe gwasembayo. Ka tulabe engeri okukkiriza kwa Peetero gye kwamuyamba okunywerera ku Yesu wadde nga yafuna ebigezo bingi.
Yanywerera ku Yesu Abalala ne Bwe Baamwabulira
4, 5. Bintu ki Yesu bye yakola ebyewuunyisa ennyo abantu?
4 Ebimu ku ebyo Yesu bye yayogeranga ne bye yakolanga byewuunyisanga nnyo Peetero. Mu butuufu, Yesu yayogera era yakola ebintu bingi ebyewuunyisa ennyo abantu. Ng’ekyokulabirako, ku lunaku olwali luvuddeko, Yesu bwe yaliisa enkumi n’enkumi z’abantu emmere ne bakutta, abantu abo baayagala okumufuula kabaka. Naye yabeewuunyisa, kubanga yabaviira buviizi era n’agamba abayigirizwa be balinnye eryato bagende e Kaperunawumu. Ate abayigirizwa bwe baali basaabala mu lyato ekiro, Yesu yabeewuunyisa bwe yajja ng’atambulira ku mazzi g’Ennyanja y’e Ggaliraaya eyali esiikuuse. Ekintu ekyo kyayigiriza Peetero obukulu bw’okuba n’okukkiriza okunywevu.
5 Olunaku olwaddako ku makya ekibiina ky’abantu kyajja emitala w’ennyanja Yesu n’abatume gye baali bazze. Baali banoonya Yesu. Naye kya lwatu baali tebamunoonya olw’okuba baali baagala abayigirize, wabula olw’okuba baali baagala addemu akole ekyamagero abawe emmere balye. Yesu yabanenya nnyo olw’omwoyo ogwo ogw’okwagala ennyo ebintu eby’omubiri. (Yok. 6:25-27) Ensonga eyo Yesu yeeyongera okugyogerako ng’ali mu kkuŋŋaaniro ly’e Kaperunawumu, era bye yayogera abantu tebyabasanyusa.
6. Yesu abantu yabawa kyakulabirako ki, era kyabayisa kitya?
6 Yesu yali tayagala bantu bamutwale ng’omuntu eyali asobola okubawa emmere, wabula yali ayagala bakitegeere nti Katonda yali amusindise okubayamba mu by’omwoyo, era nti yali agenda kuwaayo obulamu bwe abantu basobole okufuna obulamu obutaggwawo. Kyeyava abawa ekyokulabirako n’agamba nti ye yalinga emmaanu, eyavanga mu ggulu mu biseera bya Musa. Abamu ku bo bwe baakiraga nti baali tebakkiriza bye yali ayogera, yabawa ekyokulabirako ekirala, ng’abagamba nti baalina okulya ennyama ye n’okunywa omusaayi gwe okusobola okufuna obulamu obutaggwawo. Ekyo abantu baakiwakanyiza ddala, era abamu ne bagamba nti: “Ebigambo ebyo byesisiwaza; ani ayinza okubiwuliriza?” Abayigirizwa ba Yesu bangi nabo baasalawo okulekera awo okutambula naye.a—Yok. 6:48-60, 66.
7, 8. (a) Kiki ekikwata ku Yesu Peetero kye yali tannategeera? (b) Peetero yaddamu atya ekibuuzo Yesu kye yabuuza abatume?
7 Kati ye Peetero yali agenda kukola atya? Ebyo Yesu bye yayogera biteekwa okuba nga naye byamutabula. Mu kiseera ekyo naye yali tannakitegeera nti Yesu yali alina okufa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda. Naye yali agenda kulekera awo okutambula ne Yesu ng’abayigirizwa abamu bwe baali bakoze? Nedda; ye Peetero yali wa njawulo. Mu ngeri ki?
8 Yesu yatunuulira abatume be n’ababuuza nti: “Nammwe mwagala kugenda?” (Yok. 6:67) Yali abuuza bonna 12, naye Peetero ye yaddamu. Era Peetero ye yateranga okusooka banne okwogera. Kiyinzika okuba nti ye yali abasinga obukulu. Ate era kirabika Peetero ye yali abasinga obukalukalu, era nga ye teyalonzalonzanga kwogera kye yabanga alowooza. Ebigambo bye yayogera ku olwo bibuguumiriza nnyo. Yagamba nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby’obulamu.”—Yok. 6:68.
9. Peetero yakiraga atya nti yali anyweredde ku Yesu?
9 Bw’osoma ebigambo ebyo, towulira ng’okwatiddwako nnyo? Okukkiriza Peetero kwe yalina kwamuyamba okunywerera ku Yesu. Peetero yali akiraba bulungi nti Yesu ye Mulokozi yekka Yakuwa gwe yali awadde abantu, era nga yali abayamba okufuna obulokozi okuyitira mu ebyo bye yali ayigiriza ku Bwakabaka bwa Katonda. Wadde nga waaliwo ebintu Peetero bye yali tannategeera bulungi, yali akimanyi nti tewaali walala we yali ayinza kugenda, era yali akimanyi nti yali alina okusigala ng’agoberera Yesu okusobola okusiimibwa Katonda n’okufuna obulamu obutaggwawo.
Tulina okwagala ennyo Yesu bye yayigiriza ne bwe kiba nti ebimu tetubitegeera bulungi oba nga bikontana n’ebyo ffe bye twagala
10. Okufaananako Peetero, tusobola tutya okunywerera ku Yesu?
10 Naawe bw’otyo bw’okiraba nti tewali walala wonna w’oyinza kugenda? Kya nnaku nti abantu bangi leero mu nsi bagamba nti baagala Yesu naye ate ne balemererwa okumunywererako. Naffe bwe tuba twagala okunywerera ku Yesu nga Peetero bwe yakola, tuba tulina okwagala ebyo Yesu bye yayigiriza. Naffe twetaaga okuyiga Yesu bye yayigiriza, tumanye kye bitegeeza, era tubitambulizeeko obulamu bwaffe, ne bwe kiba nti ebimu tetubitegeera bulungi, era ne bwe kiba nti bikontana n’ebyo ffe bye twagala. Yesu ayagala tufune obulamu obutaggwawo, era bwe tuba nga naffe twagala okubufuna, tulina okumunywererako.—Soma Zabbuli 97:10.
Ne Bwe Yagololwa, Yasigala nga Mwesigwa
11. Wa Yesu gye yatwala abayigirizwa be?
11 Nga wayise ekiseera kitono, Yesu n’abatume be awamu n’abamu ku bayigirizwa be baakwata ekkubo ne boolekera ebukiikakkono. Olusozi Kerumooni oluli okumpi n’ensalo y’Ensi Ensuubize ey’ebukiikakkono oluusi omuntu yasobolanga okululengera ng’ali ku Nnyanja ey’e Ggaliraaya. Ebyalo Yesu n’abayigirizwa be gye baali bagenda byali kumpi ne Kayisaliya ekya Firipo, ekyali okumpi n’Olusozi Kerumooni, n’olw’ekyo olusozi olwo baali basobolera ddala bulungi okululaba nga batuuse gye balaga. Nga bali eyo, Yesu yabuuza abagoberezi be ekibuuzo ekikulu ennyo.
12, 13. (a) Lwaki Yesu yayagala okumanya abantu kye baali bamulowoozaako? (b) Ebigambo Peetero bye yaddamu Yesu byalaga bitya nti yalina okukkiriza okwa nnamaddala?
12 Yesu yabuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bagamba nti nze ani?” Yesu yali ababuuza olw’okuba yali ayagala amanye abantu kye baali bamulowoozaako, era abayigirizwa be baamubuulira ezimu ku ndowooza enkyamu abantu ze baamulinako. Naye Yesu yayagala n’okumanya obanga n’abagoberezi be abo nabo baali balowooza kye kimu ng’abantu abalala. N’olwekyo yababuuza nti: “Ate mmwe mugamba nti nze ani?”—Luk. 9:18-20.
13 Ne ku luno Peetero ye yasooka banne okuddamu, era kye yaddamu ky’ekyo ne banne kye baali balowooza. Yagamba nti: “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.” Yesu yamusiima olw’okuddamu obulungi bw’atyo. Yagamba Peetero nti Yakuwa Katonda kennyini, so si muntu mulala yenna, ye yali amubikkulidde ekintu ekyo ekikulu ennyo, ekyali kibikkulirwa abo bokka abaalina okukkiriza okwa nnamaddala. Yakuwa yali ayambye Peetero okutegeera ekintu ekikulu ennyo, nti Yesu ye yali Kristo oba Masiya abantu gwe baali baludde nga balindirira!—Soma Matayo 16:16, 17.
14. Nkizo ki ey’amaanyi Yesu gye yawa Peetero?
14 Kristo y’oyo eyali ayogeddwako mu bunnabbi ng’ejjinja abazimbi lye baagaana. (Zab. 118:22; Luk. 20:17) Yesu bye yayogera byali bikwatagana bulungi n’obunnabbi obwo bwe yagamba nti ku lwazi olwo Peetero lwe yali ategedde obulungi okuba nga ye Kristo, Yakuwa kwe yali agenda okuzimba ekibiina. Yesu era yakiraga nti Peetero yali agenda kuba n’enkizo ez’amaanyi mu kibiina ekyo. Naye Yesu yali tamuwa buyinza kukulira batume ng’abamu bwe balowooza, wabula yali aliko obuvunaanyizibwa bw’amuwa. Yamuwa “ebisumuluzo by’obwakabaka.” (Mat. 16:19) Peetero yali agenda kuba n’enkizo ey’okuggulirawo ebibinja by’abantu bisatu omukisa ogw’okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda. Yali wa kusooka kuggulirawo Bayudaaya, azzeeko Abasamaliya, ate oluvannyuma azzeeko Ab’amawanga.
15. Kiki ekyaleetera Peetero okuzza Yesu ebbali n’amugamba okubaako ky’amugamba?
15 Kyokka Yesu oluvannyuma yagamba nti abo abaaweebwa ebingi balisabibwa bingi, era ne Peetero yasabibwa bingi olw’okuba yali aweereddwa bingi. (Luk. 12:48) Yesu yabuulira abayigirizwa be ebintu bingi ebikwata ku Masiya, nga mw’otwalidde n’okuba nti Masiya yali agenda kubonyaabonyezebwa era attirwe e Yerusaalemi. Peetero kyamuyisa bubi nnyo bwe yawulira ebintu ebyo, era yazza Yesu ebbali n’amugamba nti: “Weesaasire Mukama wange; kino tekirikutuukako n’akatono.”—Mat. 16:21, 22.
16. Yesu yayogera bigambo ki okulaga Peetero nti yalina endowooza enkyamu, era ebigambo bya Yesu ebyo tubiyigirako ki?
16 Peetero ye yalowooza nti yali ayamba Yesu, n’olwekyo engeri Yesu gye yamuddamu eteekwa okuba nga yamwewuunyisa. Yesu yakyuka n’akuba Peetero amabega n’atunuulira abayigirizwa abalala, oboolyawo nga nabo baalina endwooza y’emu, n’agamba nti: “Dda ennyuma wange Sitaani! Oli nkonge gye ndi, kubanga tolina ndowooza ya Katonda wabula ya bantu.” (Mat. 16:23; Mak. 8:32, 33) Tulina kye tuyigira ku bigambo bya Yesu ebyo. Kyangu nnyo okutunuulira ebintu mu ngeri ey’obuntu mu kifo ky’okubitunuulira nga Yakuwa bw’abitunuulira. Bwe tutunuulira ebintu mu ngeri ey’obuntu, oluusi tuyinza okuwa omuntu amagezi ffe ge tulowooza nti malungi, naye ne twesanga nga tumuletedde okukola ekintu ekisanyusa Sitaani. Peetero yakola ki Yesu bwe yamugamba ebigambo ebyo?
17. Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba Peetero ‘okudda ennyuma we’?
17 Peetero ateekwa okuba yakitegeera nti Yesu yali tamuyita Sitaani Omulyolyomi. Engeri gye yayogeramu ne Peetero si y’emu ne gye yali yayogeramu ne Sitaani emabegako. Yesu yagamba Sitaani nti: “Genda Sitaani”; so ng’ate ye Peetero yamugamba nti: “Dda ennyuma wange Sitaani.” (Mat. 4:10) Yesu yali alaba ebirungi bingi mu Peetero era teyamwesamba, wabula yamuyamba okutereeza endowooza enkyamu gye yalina. Peetero yali yeetaaga okudda emabega wa Mukama we amuwagire, mu kifo ky’okubeera ng’enkonge mu maaso ge.
Enkolagana yaffe ne Yesu Kristo awamu ne Yakuwa, Kitaawe, okusobola okweyongera okunywera tuba tulina okukkiriza okuwabulwa era ne tufuba obutaddamu nsobi gye tuba tukoze
18. Peetero yakiraga atya nti yali anyweredde ku Yesu, era tuyinza kumukoppa tutya?
18 Peetero yanyiigira Yesu olw’okumunenya? Nedda; Peetero yakkiriza ensobi ye, era bw’atyo n’ayongera okukiraga nti yali akyanyweredde ku Yesu. Abakristaayo ffenna tukola ensobi ne tuba nga twetaaga okunenyezebwa. Enkolagana yaffe ne Yesu Kristo awamu ne Yakuwa, Kitaawe, okusobola okweyongera okunywera tulina okukkiriza okuwabulwa era ne tufuba obutaddamu nsobi gye tuba tukoze.—Soma Engero 4:13.
Yafuna Emikisa olw’Okunywerera ku Yesu
19. Yesu yayogera bigambo ki ebirala ebyewuunyisa, era Peetero ayinza okuba nga yalowooza ki?
19 Nga wayiseewo ebbanga ttono, waliwo ebigambo ebirala Yesu bye yayogera ebyali byewuunyisa. Yagamba abayigirizwa be nti: “Mazima mbagamba nti, waliwo abamu ku bali wano abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba Omwana w’omuntu ng’ajja mu bwakabaka bwe.” (Mat. 16:28) Peetero ateekwa okuba nga yali ayagala nnyo okumanya baani Yesu be yali ategeeza. Peetero era ayinza okuba nga yalowooza nti engeri Yesu gye yali yaakamala okumunenya ennyo bw’atyo yali tasobola kuweebwa nkizo ng’eyo.
20, 21. (a) Biki Peetero bye yalaba mu kwolesebwa? (b) Ebyo bye yawulira byamuyamba bitya okutereeza endowooza ye?
20 Nga wayiseewo wiiki ng’emu, Yesu yatwala Yakobo, Yokaana, ne Peetero ku “lusozi oluwanvu.” Kirabika luno lwali Lusozi Kerumooni, olw’okuba terwali wala nnyo okuva we baali. Kirabika we baagendera obudde bwali buzibye, kubanga abasajja abo abasatu otulo twali tubatawaanya. Yesu bwe yali asaba, waliwo ekyabaawo ekyaleetera abatume abo okuggwamu otulo.—Mat. 17:1; Luk. 9:28, 29, 32.
21 Endabika ya Yesu yatandika okukyuka. Mu maaso yali ayakaayakana ng’enjuba, era n’ebyambalo bye byafuuka byeru nnyo era nga bimasamasa. Waaliwo abantu babiri abaali naye; omu yali akiikirira Musa, ate omulala yali akiikirira Eriya. Baayogera naye ku “kugenda kwe okwali okw’okubaawo mu Yerusaalemi,” era nga kirabika ekyo kyali kitegeeza okufa kwe n’okuzuukira kwe. Kyeyoleka bulungi nti Peetero yali mukyamu nnyo okugamba nti Yesu yali tagenda kubonyaabonyezebwa na kuttibwa!—Luk. 9:30, 31.
22, 23. (a) Kiki ekiraga nti Peetero yali muntu wa kisa nnyo era ng’afaayo nnyo ku balala? (b) Nkizo ki endala Peetero, Yakobo, ne Yokaana gye baafuna ekiro ekyo?
22 Peetero yawulira ng’ayagala yeenyigire mu ebyo bye yali alaba era oboolyawo abeeko ky’akola bireme kukoma. Bwe kyalabika nti Musa ne Eriya baali bagenda, yagamba Yesu nti: “Omuyigiriza, kirungi ffe okubeera wano, n’olwekyo, ka tuzimbe ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa, n’endala ya Eriya.” Kyokka ekituufu kyali nti abaweereza ba Yakuwa abo ababiri, Musa ne Eriya, abaalabika mu kwolesebwa okwo baali baafa dda, era baali tebeetaaga weema. Peetero bye yali ayogera yali tabitegeera. Naye wadde kyali kityo, kyeyoleka bulungi nti Peetero yali muntu wa kisa nnyo, eyafangayo ennyo ku bantu abalala. Engeri ezo tezikuleetera kumwagala?—Luk. 9:33.
23 Peetero, Yakobo, ne Yokaana baafuna n’enkizo endala ekiro ekyo. Ekire kyajja ne kibasiikiriza ku lusozi, era ne bawulira eddoboozi lya Yakuwa Katonda ng’ayogera nti: “Ono ye Mwana wange alondeddwa. Mumuwulirize.” Okwolesebwa kwakoma, era ne basigala bokka ne Yesu ku lusozi.—Luk. 9:34-36.
24. (a) Ebyo Peetero bye yalaba mu kwolesebwa byamuyamba bitya? (b) Okwolesebwa okwo ffe kuyinza kutuyamba kutya?
24 Okwolesebwa okwo kwali kwa makulu nnyo eri Peetero era kwa makulu nnyo gye tuli leero. Nga wayiseewo emyaka, Peetero yawandiika n’ategeeza abalala ku nkizo gye yafuna ekiro ekyo, ‘okulabako n’amaaso ge ekitiibwa’ Yesu ky’alibaamu ng’afuga nga kabaka mu ggulu. Okwolesebwa okwo kwakakasa nti obunnabbi obuli mu Kigambo kya Katonda bujja kutuukirira, era kwanyweza nnyo n’okukkiriza kwa Peetero. Kwamuyamba okugumira ebizibu bye yayolekagana nabyo mu maaso eyo. (Soma 2 Peetero 1:16-19.) Okwolesebwa okwo naffe kusobola okunyweza okukkiriza kwaffe singa tukoppa Peetero ne tunywerera ku Mukama waffe Yesu, nga tumuyigirako, nga tukkiriza okuwabulwa okuva gy’ali, era nga tumugoberera buli lunaku.