Abasajja—Mukoppe Obukulembeze bwa Kristo
“Omutwe gwa buli musajja ye Kristo.”—1 ABAKKOLINSO 11:3.
1, 2. (a) Ssemaka omulungi osobola kumutegeerera ku ki? (b) Lwaki kikulu okutegeera nti obufumbo Katonda ye yabutandikawo?
SSEMAKA omulungi omutegeerera ku ki? Ku magezi g’alina, ku kikula kye, oba ku by’obugagga by’alina? Oba osinga kumutegeerera ku ngeri gy’ayisaamu mukazi we n’abaana be? Bw’osinziira ku ngeri gye bayisaamu ab’omu maka gaabwe, abasajja bangi si bassemaka balungi olw’okuba bagoberera emitindo gy’abantu n’omwoyo gw’ensi. Lwaki? Okusingira kiva ku kuba nti tebakkiriza bulagirizi bw’Oyo eyatandikawo obufumbo—Oyo ‘eyaddira olubiriizi lwe yaggya mu musajja n’alukolamu omukazi era n’amuleeta eri omusajja.’—Olubereberye 2:21-24.
2 Yesu Kristo yajuliza ennyiriri ezo ezikakasa nti Katonda ye yatandikawo obufumbo bwe yagamba Abafalisaayo nti: “Temusoma nti oyo eyabakola olubereberye nga yabakola omusajja n’omukazi, n’agamba nti Omuntu ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu? Obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.” (Matayo 19:4-6) Ekituufu kiri nti, omuntu okusobola okuba n’obufumbo obulungi alina okukkiriza nti obufumbo bwatandikibwawo Katonda, era n’okugoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kye, Baibuli.
Ekiyamba Omusajja Okuba Ssemaka Omulungi
3, 4. (a) Lwaki Yesu amanyi nnyo ebikwata ku bufumbo? (b) Mukazi wa Yesu ow’akabonero y’ani, era abasajja basaanidde kuyisa batya bakazi baabwe?
3 Omusajja okusobola okuba ssemaka omulungi alina okuyiga ebyo Yesu bye yayogera n’okukoppa bye yakola. Yesu amanyi nnyo ebikwata ku bufumbo, kubanga yaliwo nga abantu ababiri abasooka batondebwa era nga bagattibwa. Yakuwa Katonda yamugamba nti: ‘Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe.’ (Olubereberye 1:26) Yee, Katonda yali ayogera n’Oyo gwe Yatonda nga tannatonda muntu wadde ekintu kyonna era oyo ye ‘yali gy’ali ng’omukoza we.’ (Engero 8:22-30) Oyo ye “mubereberye w’ebitonde byonna.” Oyo lwe ‘lubereberye lw’okutonda kwa Katonda’ era yaliwo nga n’obwengula bwonna tebunnatondebwa.—Abakkolosaayi 1:15; Okubikkulirwa 3:14.
4 Yesu ayitibwa “Omwana gw’endiga [o]gwa Katonda,” ate mu ngeri ey’akabonero ayogerwako ng’alina omukyala. Lumu malayika yagamba nti: “Jjangu nnaakulaga omugole, mukazi w’Omwana gw’endiga.” (Yokaana 1:29; Okubikkulirwa 21:9) Olwo omugole, oba mukazi we y’ani? “Mukazi w’Omwana gw’endiga” be bagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta, abajja okufugira awamu naye mu ggulu. (Okubikkulirwa 14:1, 3) N’olwekyo, engeri Yesu gye yayisaamu abagoberezi be nga ali nabo ku nsi kyakulabirako ku ngeri abasajja gye balina okuyisaamu bakazi baabwe.
5. Baani naddala abalina okukoppa ekyokulabirako kya Yesu?
5 Kituufu, Yesu ayogerwako mu Baibuli ng’ekyokulabirako eri abagoberezi be bonna, nga bwe tusoma nti: “Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” (1 Peetero 2:21) Wabula okusingira ddala, Yesu kyakulabirako eri abasajja. Baibuli egamba: “Omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Abakkolinso 11:3) Okuva bwe kiri nti Yesu gwe mutwe gw’omusajja, abasajja beetaaga okukoppa ekyokulabirako kye. N’olwekyo, amaka okusobola okubaamu essanyu, omusingi guno ogw’obukulembeze gulina okugobererwa. Bwe kityo, abasajja beetaaga okuyisa bakazi baabwe mu ngeri ey’okwagala nga Yesu bw’ayisa mukazi we ow’akabonero, abayigirizwa be abaafukibwako amafuta.
Engeri y’Okugonjoolamu Ebizibu mu Maka
6. Abasajja basaanidde kuyisa batya bakazi baabwe?
6 Mu nsi eno ejjudde ebizibu, abasajja naddala beetaaga okukoppa ekyokulabirako kya Yesu eky’obugumiikiriza, okwagala n’okunywerera ku misingi gy’obutuukirivu. (2 Timoseewo 3:1-5) Ng’eyogera ku kyokulabirako Yesu kye yateekawo Baibuli egamba: “Abasajja mubeerenga n’abakazi bammwe n’amagezi.” (1 Peetero 3:7) Yee, abasajja beetaaga okukozesa amagezi nga bagonjoola ebizibu ebibaawo mu mufumbo nga Yesu bwe yakola nga ayolekaganye n’ebizibu. Yafuna ebizibu okusinga omuntu omulala yenna, naye yali akimanyi nti Setaani ne badayimooni be, n’ensi eno embi ye nsibuko y’okubonaabona kwe. (Yokaana 14:30; Ephesians 6:12) Yesu tekyamwewuunyisa bwe yafuna ebizibu, n’olwekyo, abafumbo tebasaanidde kwewuunya nga bafunye “okubonaabona mu mubiri.” Baibuli erabula nti abafumbo bajja kufuna ebizibu.—1 Abakkolinso 7:28.
7, 8. (a) Abasajja okukozesa amagezi nga bakolagana ne bakazi baabwe kizingiramu ki? (b) Lwaki abakazi bagwanira okuweebwa ekitiibwa?
7 Baibuli egamba nti abasajja basaanidde ‘okubeeranga ne bakazi baabwe n’amagezi, nga babassaamu ekitiibwa ng’ekibya ekisinga obunafu.’ (1 Peetero 3:7) Mu kifo ky’okuyisa obubi mukazi we, nga Baibuli bwe yalagula nti abasajja bangi bwe bandikoze, omusajja asiimibwa Katonda awa mukyala we ekitiibwa. (Olubereberye 3:16) Ajja kumutwala ng’ekintu eky’omuwendo, nga tamukuba olw’okuba amusinza amaanyi. Mu kifo ky’ekyo, ajja kufaayo ku nneewulira ye, ng’amuwa ekitiibwa.
8 Lwaki abasajja basaanidde okuwa bakazi baabwe ekitiibwa? Baibuli eddamu nti: “Kubanga nabo basika bannammwe ab’ekisa eky’obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.” (1 Peetero 3:7) Abasajja abasinza Yakuwa beetaaga okukimanya nti tabatwala nti ba waggulu kusinga basinza bannaabwe abakazi. Abakazi abasiimibwa Katonda bajja kufuna ekirabo kye kimu eky’obulamu obutaggwaawo ng’abasajja—nga bangi bajja kubeera mu ggulu, ‘etajja kubeera njawulo wakati wa musajja na mukazi.’ (Abaggalatiya 3:28) N’olwekyo, abasajja beetaaga okujjukira nti omuntu okuba omwesigwa kye kimufuula okuba ow’omuwendo mu maaso ga Katonda. Tekisinziira ku kubeera musajja oba mukazi, mufumbo oba obutaba mufumbo, oba okuba omwana.—1 Abakkolinso 4:2.
9. (a) Okusinziira ku Peetero, lwaki abasajja basaanidde okuwa bakazi baabwe ekitiibwa? (b) Yesu yawa atya abakazi ekitiibwa?
9 Ensonga lwaki abasajja balina okuwa abakazi baabwe ekitiibwa eggumizibwa mu bigambo omutume Peetero by’asembyayo mu lunyiriri olwo bw’agamba nti, “okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.” Ekyo nga kiba ekya kabi! Kiyinza okuviirako okusaba kw’omusajja obutawulirwa nga bwe kyali ku baweereza ba Katonda abamu mu biseera eby’edda. (Okukungubaga 3:43, 44) Kirungi abasajja Abakristaayo—abafumbo, n’abo abasuubira okuwasa, okuyiga engeri Yesu gye yawaamu abakazi ekitiibwa. Yakkiriza okugenda nabo mu buweereza, yabalaganga ekisa era n’abawa ekitiibwa. Yesu bwe yazuukira, yasooka kulabikira bakazi era n’abagamba bagende bategeeze abasajja!—Matayo 28:1, 8-10; Lukka 8:1-3.
Ekyokulabirako Naddala eri Abasajja
10, 11. (a) Lwaki kyetaagisa naddala abasajja okukoppa ekyokulabirako kya Yesu? (b) Abasajja basobola batya okulaga bakazi baabwe okwagala?
10 Nga bwe twalabye, Baibuli egeraageranya okwagala wakati w’omusajja n’omukazi ku kwagala okuliwo wakati wa Kristo ‘n’omugole’ we nga kino kye kibiina ky’abagoberezi be abaafukibwako amafuta. Baibuli egamba nti: “Omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekkanisa.” (Abaefeso 5:23) Ebigambo bino bisaanidde okuleetera abasajja okwetegereza engeri Yesu gye yakulemberamu abagoberezi be. Eno y’engeri yokka abasajja gye bajja okusobola okugobereramu ekyokulabirako kya Yesu era basobole okuwa bakazi baabwe obulagirizi, okubaagala, n’okubalabirira nga Yesu bwe yalabiriramu ekkanisa.
11 Baibuli ekubiriza Abakristaayo nti: “Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo.” (Abaefeso 5:25) Mu ssuula ey’okuna mu Abaefeso, “ekkanisa” eyitibwa “omubiri gwa Kristo.” Omubiri guno ogw’akabonero gulina ebitundu bingi, nga be basajja n’abakazi, era nga bonna wamu baleetera omubiri okukola obulungi. Kya lwatu Yesu ‘gwe mutwe gw’omubiri, ekkanisa.’—Abaefeso 4:12; Abakkolosaayi 1:18; 1 Abakkolinso 12:12, 13, 27.
12. Yesu yalaga atya okwagala eri omubiri gwe ogw’akabonero?
12 Yesu yalaga okwagala kwe eri omubiri gwe ogw’akabonero, ‘ekkanisa,’ naddala mu ngeri gye yafaayo eri abo abandigibaddemu. Ng’ekyokulabirako, lumu abayigirizwa be bwe baali nga bakooye, yagamba nti: “Mujje mwekka tugende mu kifo etali bantu muwummuleko.” (Makko 6:31) Ng’ayogera ku byaliwo ng’ebula ssaawa busaawa Yesu attibwe, omu ku batume be yawandiika: “Yesu . . . , yayagala ababe [kwe kugamba abakola omubiri gwe ogw’akabonero] . . . , yabaagala okutuusa enkomerero.” (Yokaana 13:1) Nga Yesu yateerawo abasajja ekyokulabirako ekirungi ku ngeri gye balina okuyisaamu bakazi baabwe!
13. Abasajja bakubirizibwa kwagala batya bakazi baabwe?
13 Nga ayongera okwogera ku kyokulabirako Yesu kye yateerawo abasajja, Pawulo yagamba nti: “Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng’emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka. Kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa, agujjanjaba, era nga Kristo bw’ajjanjaba ekkanisa.” Pawulo yagattako nti: “Buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka.”—Abaefeso 5:28, 29, 33.
14. Omusajja ayisa atya omubiri gwe ogutatuukiridde, era kino kiraga ki ku ngeri gy’asaanidde okuyisaamu mukazi we?
14 Lowooza ku bigambo bya Pawulo ebyo waggulu. Omusajja ategeera asobola okwetema olubale mu bugenderevu? Omusajja bwe yeekoona ekigere, akikuba? Tasobola n’akatono! Asobola okweswaza mu mikwano gye oba okumala gababuulira ensobi ze? N’akatono! Kati olwo lwaki yandivumye mukazi we oba okumukuba? Abasajja tebasaanidde kwefaako bokka wabula n’okufa ku bakyala baabwe.—1 Abakkolinso 10:24; 13:5.
15. (a) Yesu yakola ki abayigirizwa be bwe baayoleka obunafu? (b) Ekyokulabirako kye kituyigiriza ki?
15 Weetegereze engeri Yesu gye yafaayo ku bayigirizwa be bwe baayoleka obunafu mu kiro ekyasembayo nga tannafa. Bwe baali mu nnimiro y’e Gesusemane, emirundi esatu yabasanga beebase wadde nga yali abakubirizza enfunda n’enfunda okusaba. Amangu ago abaserikale baabazinda. Yesu yababuuza nti: “Munoonya ani?” Bwe bamuddamu nti: “Yesu Omunazaaleesi,” yabaddamu nti: “Nze nzuuno.” Olw’okuba yali akimanyi nti ‘ekiseera kyali kituuse’ attibwe, yagamba nti: “Kale oba nga munoonya nze, muleke bano bagende.” Yesu yafangayo ku lw’obulungi bw’abayigirizwa be—abaali ekitundu ky’omugole we ow’akabonero—bw’atyo yabasalira amagezi baleme okukwatibwa. Abasajja bwe bayiga engeri Yesu gye yayisangamu abayigirizwa be, bajja kumanya engeri gye basaanidde okuyisaamu abakazi baabwe.—Yokaana 18:1-9; Makko 14:34-37, 41.
Okwagala kwa Yesu kwa Nnamaddala
16. Yesu yalina nkolagana ki ne Maliza, naye yatereeza atya endowooza ye?
16 Baibuli egamba nti: “Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo” be yateranga okukyalira mu maka gaabwe. (Yokaana 11:5) Naye ekyo tekyamugaana kuwabula Maliza bwe yeemalira ku kuteekateeka eby’okulya mu kifo okuwuliriza eby’omwoyo. Yamugamba nti: “Maliza, Maliza, weeraliikirira, olina emitawaana egy’ebigambo bingi; naye ekyetaagibwa kiri kimu.” (Lukka 10:41, 42) Awatali kubuusabuusa olw’okuba yalina okwagala eri Maliza, kyaleetera Maliza okukkiriza okuwabulwa okwo. Mu ngeri y’emu, abasajja basaanidde okulaga bakazi baabwe okwagala, ekisa, n’okwogera nabo mu ngeri ennungi. Wabula bwe wabaawo ekisobye, kirungi okukyogerako nga Yesu bwe yakola.
17, 18. (a) Peetero yanenya atya Yesu, era lwaki endowooza ya Peetero yalina okuterezebwa? (b) Buvunaanyizibwa ki omusajja bw’alina?
17 Olulala, Yesu yagamba abayigirizwa be nti alina okugenda e Yerusaalemi, gye yali ajja okubonyaabonyezebwa “abakadde ne bakabona abakulu n’abawandiisi, n’okuttibwa, ne ku lunaku olw’okusatu okuzuukizibwa.” Peetero bwe yawulira bino n’azza Yesu ku bbali n’amugamba nti: “Nedda, Mukama wange: ekyo tekirikubaako n’akatono.” Endowooza ya Peetero teyali nnungi, era yali yeetaaga okutereezebwa. Bwe kityo Yesu yamugamba: “Dda ennyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby’abantu.”—Matayo 16:21-23.
18 Yesu yali yaakoogera nti agenda kubonyaabonyezebwa nnyo era n’oluvannyuma attibwe. (Zabbuli 16:10; Isaaya 53:12) Bwe kityo Peetero yali mukyamu okunenya Yesu. Yee, Peetero yali yeetaaga okugololwa era nga bwe kyetaagisa eri ffenna. Ng’omutwe gw’amaka, omusajja alina obuyinza n’obuvunaanyizibwa okugolola ab’omu maka ge nga mw’otwalidde ne mukazi we. Wadde kiyinza okumwetaagisa okunywerera ku nsonga, kino alina okukikola n’ekisa era mu kwagala. Nga Yesu bwe yayamba Peetero okulaba ebintu mu ngeri entuufu, oluusi abasajja kiyinza okubeetaagisa okuyamba bakazi baabwe mu ngeri y’emu. Ng’ekyokulabirako, omusajja kiyinza okumwetaagisa okugamba ku mukazi we singa ennyambala ye oba engeri gye yeekolako eba etandise okukontana n’emisingi gy’Ebyawandiikibwa.—1 Peetero 3:3-5.
Kirungi Abasajja Okuba Abagumiikiriza
19, 20. (a) Wajjawo kizibu ki mu batume ba Yesu, era Yesu yabayamba atya? (b) Okufuba kwa Yesu kwavaamu bibala ki?
19 Bwe wabaawo ekizibu ekirina okugonjoolebwa, abasajja tebandisuubidde birungi kuvaamu mangu ago. Yesu kyamutwalira ekiseera okusobola okutereeza endowooza y’abatume be. Ng’ekyokulabirako, bajjamu omwoyo gw’okuvuganya era ogwaddamu ne gweyoleka nga Yesu anaatera okumaliriza obuweereza bwe. Baali bawakana ani ku bo eyali asinga obukulu. (Makko 9:33-37; 10:35-45) Waali wayise ekiseera kitono nga bamaze okuwakana omulundi ogw’okubiri, Yesu n’ateekateeka okukwata embaga ey’Okuyitako eyasembayo ng’ali wamu nabo. Ku olwo, tewali n’omu yali ayagala kunaaza banne bigere ng’empisa y’omu kitundu bwe yali. Yesu ye yabanaaza era bwe yamala n’abagamba nti: “Mbawadde ekyokulabirako.”—Yokaana 13:2-15.
20 Abasajja abooleka obwetoowaze ng’obwa Yesu bajja kukisanga nga kyangu okukolagana obulungi ne bakazi baabwe. Naye kyetaagisa obugumiikiriza. Mu kiro ekyo kyennyini eky’embaga ey’Okuyitako, abatume baddamu okuwakana ku ani eyali alabika nga y’asinga obukulu mu bo. (Lukka 22:24) Omuntu okukyusa endowooza ye oba engeri ze kitwala ekiseera. Kyokka, kizzaamu amaanyi bw’akyusa endowooza ye ng’abatume bwe baakola!
21. Engeri gye waliwo ebizibu ebingi leero, kiki abasajja kye bakubirizibwa okujjukira era okukola?
21 Ennaku zino, abafumbo boolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi n’okusinga bwe kyali kibadde. Bangi tebakyatwala bweyamo bwabwe nga kikulu. N’olwekyo, abasajja mujjukire nti Yakuwa Katonda ow’okwagala ye yatandikawo obufumbo. Yawaayo Omwana we, Yesu, okutuweerayo kinunulo, n’okuteerawo abasajja ekyokulabirako kye basobola okukoppa.—Matayo 20:28; Yokaana 3:29; 1 Peetero 2:21.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki kikulu okukkiriza obulagirizi bw’oyo eyatandikawo obufumbo?
• Abasajja bakubirizibwa kwagala batya bakyala baabwe?
• Ngeri ki Yesu gye yayisaamu abayigirizwa be eraga abasajja bwe basaanidde okuyisaamu bakazi baabwe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Abayigirizwa be bwe baali bakooye, Yesu yalaga okufaayo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Abasajja basaanidde okugolola bakazi baabwe mu ngeri ey’ekisa, era n’okwogera nabo obulungi