Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Makko
KU NJIRI zonna ennya, eya Makko y’esingayo obumpi. Yawandiikibwa Yokaana Makko emyaka ng’asatu nga Yesu amaze okufa n’okuzuukira era erimu ebintu bingi Yesu bye yakola mu buweereza bwe obw’emyaka esatu n’ekitundu.
Ekitabo kya Makko kino ekirabika nga kyawandiikibwa kuganyula ba mawanga, naddala Abaruumi, kiraga nti Yesu yali mwana wa Katonda eyakola ebyamagero era eyabuulira n’obunyiikivu. Makko essira alissa ku ebyo Yesu bye yakola so si ku ebyo bye yayigiriza. Okwekenneenya Enjiri ya Makko kijja kunyweza okukkiriza kwe tulina mu Masiya era kituleetere okuba abanyiikivu mu kulangirira obubaka bwa Katonda mu buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo.—Beb. 4:12.
OBUWEEREZA BW’E GGALIRAAYA
Ng’amaze okuwandiika ku mulimu gwa Yokaana Omubatiza ne ku nnaku 40 Yesu ze yamala mu ddungu mu nnyiriri 14 zokka, Makko awandiika ku buweereza bwa Yesu obw’e Ggaliraaya. Olw’okuba addiŋŋana ebigamba “amangu ago,” kiraga nti awandiika talandagga.—Makko 1:10, 12.
Mu myaka egitawera esatu, Yesu agenda e Ggaliraaya emirundi esatu okubuulira. Makko ebintu ebisinga abiwandiika nga bwe bigenda biddiriŋŋana. Okubuulira kwa Yesu okw’Oku Lusozi n’okubuulira kwe okulala okuwanvu takwogerako.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:15—‘Kiseera’ ki ekyali kituuse? Yesu yali agamba nti ekiseera ky’okutandika obuweereza bwe kyali kituuse. Olw’okuba ye eyali alondeddwa okuba Kabaka yali waali, Obwakabaka bwa Katonda bwali busembedde. Olwo abantu ab’emitima emirungi baali basobola okumuwuliriza era ne bakola ekyetaagisa okusiimibwa Katonda.
1:44; 3:12; 7:36—Lwaki Yesu yali tayagala byamagero bye bimanyisibwe? Yesu yali ayagala abantu bakirabe nti ye Kristo nga basinziira ku ebyo bye balabyeko n’amaaso gaabwe mu kifo ky’okuwulira abalala nga babyogera, oboolyawo nga babisavuwazza oba nga babikyusizzaamu. (Is. 42:1-4; Mat. 8:4; 9:30; 12:15-21; 16:20; Luk. 5:14) Omusajja ow’omu nsi y’Abagerasene gwe yaggyako dayimooni ye yekka gwe yakkiriza okwogera kye yali amukoledde. Yesu yamugamba agende abuulire ab’eŋŋanda ze ebyali bimutuuseeko. Olw’okuba abantu b’omu kitundu ekyo baamusaba ave mu kitundu kyabwe, Yesu teyasobola bulungi kwogera nabo. Obujulirwa bw’omusajja oyo Yesu gwe yawonya bw’andiyambye obutayogera bubi ku Yesu olw’embizzi ezaali zifudde.—Mak. 5:1-20; Luk. 8:26-39.
2:28—Lwaki Yesu ayitibwa “mukama wa ssabbiiti”? Omutume Pawulo yawandiika nti: ‘Amateeka galina ekisiikirize ky’ebirungi ebigenda okujja.’ (Beb. 10:1) Ng’Amateeka bwe gaali gagamba, Ssabbiiti yabangawo oluvannyuma lw’ennaku mukaaga ez’okukola emirimu, era emirundi mingi Yesu yawonya abantu ku lunaku olwo. Kino kyali kisonga ku mirembe n’emikisa emirala abantu gye bajja okufuna wansi w’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi obunaabaawo nga obufuzi bwa Setaani buggiddwawo. N’olwekyo, Kabaka w’Obwakabaka obwo era ye “Mukama wa ssabbiiti.”—Mat. 12:8; Luk. 6:5.
3:5; 7:34; 8:12—Makko yategeera atya engeri Yesu gye yabanga awuliramu mu mbeera ez’enjawulo? Makko teyali omu ku batume 12 era teyali mukwano gwa Yesu wa ku lusegere. Kirowoozebwa nti omutume Peetero, eyali mukwano gwa Makko nfiirabulago, ye yamubuulira ebintu ebimu bye yawandiika.—1 Peet. 5:13.
6:51, 52—“Eby’emigaati” abayigirizwa bye batategeera bye biruwa? Yesu yali yaakamala okuliisa abasajja 5,000 n’abakazi n’abaana abatamanyiddwa muwendo ng’akozesa emigaati ettaano gyokka n’ebyennyanja bibiri. “Eby’emigaati” abayigirizwa bye baalina okutegeera byali nti Yakuwa Katonda yali awadde Yesu obuyinza okukola eby’amagero. (Mak. 6:41-44) Singa baali bategedde amaanyi Yesu ge yali aweereddwa, tebandyewuunyizza kumulaba ng’atambulira ku mazzi.
8:22-26—Lwaki Yesu yayita mu mitendera ebiri ng’azibula amaaso g’omusajja omuzibe? Yesu ayinza okuba nga yakikola olw’okubalirira musajja ono. Obutazibula lumu maaso ga musajja oyo eyali amanyidde ekizikiza kyandiba nga kyamuyamba obutatunula mu kitangaala mulundi gumu.
Bye Tuyigamu:
2:18; 7:11; 12:18; 13:3. Makko annyonnyola obulombolombo, ebigambo, enzikiriza, n’ebifo ebyali bitamanyiddwa basomi abataali Bayudaaya. Annyonnyola nti Abafalisaayo ‘baali basiiba,’ nti kolubaani “kitone kya Katonda,” nti Abasaddukaayo ‘bagamba nti tewali kuzuukira,’ era nti yeekaalu yali ‘eyolekedde olusozi olwa Zeyituuni.’ Makko tawandiika lunyiriri lwa buzaale bwa Masiya kubanga lwali luganyula Bayudaaya okusinga. Mu ngeri eno Makko atuteerawo ekyokulabirako. Tusaanidde okulowooza ku bantu ba kika ki be twogera nabo bwe tuba mu buweereza bw’ennimiro oba nga tuwa emboozi mu kibiina.
3:21. Ab’eŋŋanda za Yesu tebaali bakkiriza. N’olwekyo ategeera bulungi embeera y’abo abayigganyizibwa oba abavumibwa ab’eŋŋanda olw’okukkiriza kwabwe.
3:31-35. Bwe yabatizibwa, Yesu yafuuka Mwana wa Katonda ow’eby’omwoyo, era “Yerusaalemi eky’omu ggulu” yafuuka maama we. (Bag. 4:26) Okuva olwo, abayigirizwa ba Yesu baali ba muwendo nnyo gy’ali okusinga ab’eŋŋanda ze ab’omubiri. Kino kituyigiriza nti ebintu eby’omwoyo bye tulina okukulembeza mu bulamu bwaffe.—Mat. 12:46-50; Luk. 8:19-21.
8:32-34. Tetusaanidde kuwuliriza abo abatuwa amagezi amakyamu nga balowooza nti batuyamba. Omugoberezi wa Kristo alina okuba omwetegefu ‘okwefiiriza yekka,’ nga kino kitegeeza nti by’ayagala ne by’aluubirira abiteeka ku bbali. Alina okuba omwetegefu okwetikka ‘omuti gwe ogw’okubonaabona’ nga kino kitegeeza okuswazibwa, okuyigganyizibwa, oba oluusi n’okuttibwa olw’okubeera Omukristaayo. Era ateekwa ‘okugobereranga’ Yesu, ng’akoppa ekyokulabirako kye. Okubeera abayigirizwa kitwetaagisa okuba n’omwoyo gw’okwefiiriza ng’ogwa Kristo Yesu.—Mat. 16:21-25; Luk. 9:22, 23.
9:24. Tetusaanidde kutya kubuulira balala bye tukkiriza oba kutya kusaba Katonda atwongere okukkiriza.—Luk. 17:5.
OMWEZI OGWASEMBAYO
Ng’omwaka 32 C.E. gufundikira, Yesu ajja mu “mbibi ez’e Buyudaaya n’emitala wa Yoludaani,” era nate ebibinja by’abantu bijja gy’ali. (Mak. 10:1) Bw’amala okubuulira mu bitundu ebyo, akwata erigenda e Yerusaalemi.
Nga Nisani 8, Yesu ali e Bessaniya. Bw’aba ali ku kijjulo, omukazi ajja gy’ali n’afuka amafuta ag’akaloosa ku mutwe gwe. Ebyo ebibaawo okuva Yesu lw’ayingira Yerusaalemi okutuusa lw’azuukizibwa byawandiikibwa nga bwe bigenda biddiriŋŋana.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
10:17, 18—Lwaki Yesu yagolola omusajja eyamuyita “Omuyigiriza omulungi”? Mu kugaana ekitiibwa kino, Yesu yali ayagala kiweebwe Yakuwa era yakiraga nti Katonda ow’amazima ye nsibuko y’ebintu byonna ebirungi. Ng’oggyeko ekyo, Yesu yakiraga nti Yakuwa Katonda Omutonzi w’ebintu byonna ye yekka alina obuyinza okuteekawo emitindo kwe tusinziira okusalawo ekirungi oba ekibi.—Mat. 19:16, 17; Luk. 18:18, 19.
14:25—Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba abatume be abeesigwa nti: “Sirinywa nate ku bibala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya mu bwakabaka bwa Katonda”? Yesu yali tategeeza nti mu ggulu waliyo omwenge. Naye, olw’okuba omwenge oluusi gukiikirira okujaguza, Yesu yali ayogera ku ssanyu ery’okubeera awamu n’abagoberezi be abaafukibwako amafuta mu Bwakabaka.—Zab. 104:15; Mat. 26:29.
14:51, 52—Mulenzi ki ‘eyadduka obwereere’? Makko yekka y’ayogera ku kintu kino, n’olwekyo tuyinza okugamba nti yali yeeyogerako.
15:34—Yesu bwe yagamba nti “Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?” okukkiriza kwe kwali kunafuye? Nedda. Wadde nga tetumanyi bulungi lwaki Yesu yayogera atyo, ebigambo ebyo biyinza okuba nga biraga nti Yesu yakiraba nti Yakuwa yali amuggyeko obukuumi Bwe bwonna, asobole okugezesebwa mu bujjuvu. Era kiyinza okuba nti Yesu yayogera atyo atuukirize ekyo ekyamwogerwako mu Zabbuli 22:1.—Mat. 27:46.
Bye Tuyigamu:
10:6-9. Katonda tayagala bafumbo kwawukana. N’olwekyo mu kifo ky’okusalawo okugattululwa, abafumbo basaanidde okufuba okussa mu nkola emisingi gya Baibuli okusobola okuvvuunuka ebizibu ebibaawo mu bufumbo.—Mat. 19:4-6.
12:41-44. Ekyokulabirako kya nnamwandu kituyigiriza nti tulina okuwagira okusinza okw’amazima.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Lwaki Yesu yagamba omusajja ono okubuulira ab’eŋŋanda ze byonna bye yali amukoledde?