Tomanyi Wa Gye Zirirabira Mukisa!
“Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa.”—MUB. 11:6.
1. Lwaki engeri ensigo gy’ekulamu yeewuunyisa era kino kituyamba kutegeera ki?
OMULIMI kimwetaagisa okuba omugumiikiriza. (Yak. 5:7) Bw’amala okusiga ensigo, alina okuzirinda ne zimera era ne zikula. Embeera y’obudde bw’eba ennungi, emitunsi gigenda givaayo mpolampola mu ttaka. Emitunsi egyo gikula ne gifuuka ebimera era ne gibala ebirimba. Mu bbanga ttono okuva awo, ennimiro eba etuuse okukungula. Nga kyewuunyisa okulaba engeri ensigo gy’ekulamu! Kino kituyamba okukiraba nti Oyo akuza ensigo atuli waggulu nnyo. Tusobola okulabirira ensigo n’okugifukirira, naye Katonda yekka y’asobola okugikuza.—Geraageranya 1 Abakkolinso 3:6.
2. Mu ngero ze twalaba mu kitundu ekyayita, biki Yesu bye yayigiriza ku kukulaakulana okw’eby’omwoyo?
2 Nga bwe kyalagibwa mu kitundu ekyaggwa, Yesu yageraageranya omulimu gw’okubuulira Obwakabaka ku kusiga ensigo. Mu lugero lw’ebika by’ettaka eby’enjawulo, Yesu yakiraga nti omulimi ne bw’asiga ensigo ennungi, okukula kwayo oba obutakula kisinziira ku mbeera ya mutima gw’oyo awuliriza. (Mak. 4:3-9) Mu lugero lw’omusizi eyeebaka, Yesu yakiraga nti omulimi tamanyi bulungi ngeri nsigo gy’ekulamu. Kino kiri bwe kityo kubanga okukula kusinziira ku maanyi ga Katonda, so si ku ga bantu. (Mak. 4:26-29) Kati ka twetegerezeeyo engero za Yesu endala ssatu—olugero lw’empeke ya kaladaali, olw’ekizimbulukusa, n’olw’ekiragala.a
Olugero lw’Empeke ya Kaladaali
3, 4. Olugero lw’empeke ya kaladaali lulaga ki ku bubaka bw’Obwakabaka?
3 Olugero lw’empeke ya kaladaali oluli mu Makko essuula 4 lussa essira ku bintu bibiri: ekisooka, lulaga nti amawulire g’Obwakabaka gasaasaana mu ngeri eyeewuunyisa; ekyokubiri, lulaga nti abo abakkiriza amawulire ago baweebwa obukuumi. Yesu yagamba nti: “Tunaabufaananya tutya obwakabaka bwa Katonda? Nantiki tunaabunnyonnyolera ku kifaananyi ki? Bufaanana ng’akaweke aka kaladaali, ako, bwe kasigibwa mu ttaka, newakubadde nga ke katono okukira ensigo zonna eziri mu nsi, naye bwe kasigibwa, kakula, kaba kanene okukira enva zonna, kasuula amatabi amanene; kale era ennyonyi ez’omu bbanga ne ziyinza okutuula wansi w’ekisiikirize kyagwo.”—Mak. 4:30-32.
4 Olugero luno lulaga okukulaakulana ‘kw’obwakabaka bwa Katonda’ okweyolekera mu kusaasaana kw’amawulire g’Obwakabaka, ne mu kukula kw’ekibiina Ekikristaayo okuva ku Pentekoote 33 C.E. n’okweyongerayo. Akaweke ka kaladaali kaba katono nnyo era kasobola okukiikirira ekintu ekitono ennyo. (Geraageranya Lukka 17:6.) Kyokka, bwe kakula kavaamu ekimera ekiweza obuwanvu obuli wakati wa mita 3 ne 5, era kireeta amatabi ne kifaananira ddala ng’omuti.—Mat. 13:31, 32.
5. Ekibiina eky’omu kyasa ekyasooka kyakula kitya?
5 Ekibiina Ekikristaayo kyatandika mpola okukula mu 33 C.E., abayigirizwa nga 120 bwe baafukibwako omwoyo omutukuvu. Mu bbanga ttono kyakula ne kiweza abakkiriza nkumi na nkumi. (Soma Ebikolwa by’Abatume 2:41; 4:4; 5:28; 6:7; 12:24; 19:20.) Mu myaka asatu gyokka, ababuulizi baali beeyongedde nnyo obungi ne kiba nti Pawulo yatuuka n’okugamba ab’omu kibiina ky’e Kkolosaayi nti amawulire amalungi gaali gabuuliddwa mu “bitonde byonna wansi w’eggulu.” (Bak. 1:23) Ng’omulimu ogwo gwakulaakulana mu ngeri eyeewuunyisa!
6, 7. (a) Kweyongerayongera ki okubaddewo okuva mu 1914? (b) Kweyongerayongera ki okujja okubaawo?
6 Okuva Obwakabaka bwa Katonda lwe bwassibwawo mu ggulu mu 1914, amatabi ‘g’omuti’ gwa kaladaali gakuze okusinga bwe kyali kisuubirwa. Abantu ba Katonda beerabiddeko n’agaabwe ng’obunnabbi bwa Isaaya buno butuukirizibwa: “Omuto alifuuka lukumi n’omutono alifuuka ggwanga lya maanyi.” (Is. 60:22) Ekyasa 20 we kyatandikira, Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaali bakola omulimu gw’Obwakabaka baali batono nnyo, era baali tebayinza na kulowooza nti omwaka gwa 2008 gwandigenze okutuuka ng’Abajulirwa kumpi obukadde musanvu mu nsi ezisukka mu 230 be beenyigira mu mulimu guno. Okufaananako ensigo ya kaladaali ey’omu lugero lwa Yesu, okweyongerayongera okwo mu butuufu kwewuunyisa.
7 Naye okweyongerayongera okwo kukoma awo? Nedda. Ekiseera kijja kutuuka ng’abantu abagondera Obwakabaka bwa Katonda bokka be bali mu nsi. Abo bonna ababuwakanya bajja kuba bazikiriziddwa. Kino Yakuwa Omufuzi w’Obutonde Bwonna y’ajja okukituukiriza, so si bantu. (Soma Danyeri 2:34, 35.) Olwo nno obunnabbi bwa Isaaya buno bujja kutuukirira: “Ensi erijjula okumanya Mukama ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.”—Is. 11:9.
8. (a) Ebinyonyi ebyogerwako mu lugero lwa Yesu bikiikirira baani? (b) Bukuumi ki bwe tufuna mu kiseera kino?
8 Yesu agamba nti ebinyonyi eby’omu bbanga bifuna we bituula mu kisiikirize ky’Obwakabaka buno. Ebinyonyi bino tebikiikirira balabe ba Bwakabaka abagezaako okulya ensigo ennungi okufaananako ebinyonyi biri ebyogerwako mu lugero lw’omusajja eyamansa ensigo ku bika by’ettaka eby’enjawulo. (Mak. 4:4) Mu kifo ky’ekyo, ebinyonyi ebyogerwako mu lugero luno bikiikirira abantu ab’emitima emirungi abaagala okufuna obukuumi mu kibiina Ekikristaayo. Abantu abo bafuna obukuumi kati nga beewala emize emibi n’ebintu ebiyinza okubaleetera obutasiimibwa Katonda. (Geraageranya Isaaya 32:1, 2.) Mu bunnabbi, Yakuwa naye yageraageranya Obwakabaka bwa Masiya ku muti n’agamba nti: “Ku lusozi olw’entikko ya Isiraeri kwe ndirisimba: kale lirisuula amatabi ne libala ebibala, ne guba omuvule omulungi: era wansi waagwo wanaaberanga ennyonyi zonna ez’ebiwaawaatiro byonna; mu kisiikirize eky’amatabi gaagwo we zinaatulanga.”—Ez. 17:23.
Olugero lw’Ekizimbulukusa
9, 10. (a) Nsonga ki Yesu gye yayogerako mu lugero lw’ekizimbulukusa? (b) Mu Baibuli, ekizimbulukusa kitera kukiikirira ki, era kibuuzo ki kye tugenda okwetegereza ekikwata ku kizimbulukusa Yesu kye yayogerako?
9 Oluusi ekintu kiyinza okukula ng’abantu tebakiraba. Kino Yesu yakyogerako mu lugero lwe oluddako. Agamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n’akissa mu bubbo busatu obw’obutta, n’okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonna.” (Mat. 13:33) Ekizimbulukusa kino kikiikirira ki era kirina kakwate ki n’okukulaakulana kw’Obwakabaka?
10 Mu Baibuli, ekizimbulukusa kitera kukiikirira kibi. Omutume Pawulo yayogera ku kizimbulukusa mu ngeri eno bwe yali ayogera ku mwonoonyi omu eyali mu kibiina ky’e Kkolinso eky’edda n’engeri gye yali ayinza okwonoona abalala. (1 Kol. 5:6-8) Kino kitegeeza nti ekizimbulukusa Yesu kye yayogerako mu lugero kyali kikiikirira ekintu ekibi?
11. Ekizimbulukusa kyakozesebwanga kitya mu Isiraeri ey’edda?
11 Nga tetunnaddamu kibuuzo ekyo, tulina okwetegereza ebintu bisatu. Ekisooka, wadde nga Yakuwa yali yagaana ekizimbulukusa okukozesebwa mu mbaga y’Okuyitako, mu biseera ebirala yakkirizanga ebiweebwayo omuli ekizimbulukusa. Ekizimbulukusa kyakozesebwanga mu biweebwayo omuntu bye yawangayo kyeyagalire okwebaza Yakuwa olw’emikisa emingi gye yabanga amuwadde. Ekiweebwayo kino kyaleeteranga abo abaabanga bakiwaddeyo essanyu lingi.—Leev. 7:11-15.
12. Kiki kye tuyiga ku ngeri Baibuli gy’ekozesaamu ebintu ebimu?
12 Ekyokubiri, ekintu kiyinza okwogerwako awamu mu Byawandiikibwa nga kikiikirira ekintu ekibi, ate awalala ne kyogerwako nga kikiikirira ekintu ekirungi. Ng’ekyokulabirako, mu 1 Peetero 5:8, Setaani afaananyizibwa empologoma, nga kino kiraga nti mukambwe nnyo era nti wa kabi. Ate mu Okubikkulirwa 5:5, Yesu afaananyizibwa empologoma—“Empologoma ow’omu kika kya Yuda.” Wano empologoma ekiikirira obwenkanya obulaga obuvumu.
13. Olugero lw’ekizimbulukusa lulaga ki ku kukulaakulana okw’eby’omwoyo?
13 Ekyokusatu, mu lugero olwo Yesu teyagamba nti ekizimbulukusa ekyo kyayonoona eŋŋaano yonna n’eba nga tekyagasa. Yali ayogera ku ngeri emigaati gye gikolebwamu bulijjo. Omukazi yassaamu ekizimbulukusa ng’amanyi bulungi ky’akola era ebyavaamu byali birungi. Ekizimbulukusa ekyo kyakwekebwa mu ŋŋaano. Bwe kityo, omukazi yali tasobola kulaba ngeri mugaati gye gwazimbulukukamu. Kino kitujjukiza omusajja asiga ensigo ne yeebaka ekiro. Yesu yagamba nti ‘ensigo emeruka n’ekula ng’omusajja oyo tamanyi bw’emeruse.’ (Mak. 4:27) Mu ngeri eyo ennyangu okutegeera, yalaga nti tewali asobola kulaba ngeri muntu gy’akula mu bya mwoyo. Kyokka ekiseera bwe kigenda kiyitawo, wabaawo obubonero obulaga nti akulaakulana.
14. Eky’okuba nti ekizimbulukusa kizimbulukusa eŋŋaano yonna kiraga ki ku mulimu gw’okubuulira?
14 Ng’oggyeko okuba nti abantu tebasobola kukiraba na maaso, okukulaakulana kuno kugenda kubuna wonna. Kino nakyo kyeyoleka bulungi mu lugero lw’ekizimbulukusa. Ekizimbulukusa kizimbulukusa eŋŋaano yonna, ‘ebibbo byonna ebisatu eby’obutta.’ (Luk. 13:21) Okufaananako ekizimbulukusa, omulimu gw’okubuulira Obwakabaka oguleeseewo okukulaakulana kuno okw’eby’omwoyo, gubunye wonna era kati Obwakabaka bubuulirwa mu “bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8, NW; Mat. 24:14) Nga nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu guno ogw’Obwakabaka ogukula enkya n’eggulo!
Ekiragala
15, 16. (a) Wumbawumbako olugero lw’ekiragala. (b) Ekiragala kikiikirira ki, era olugero luno lulaga ki ku kweyongerayongera kw’Obwakabaka?
15 Ekisinga obukulu kwe kuba nti abo abagamba nti bayigirizwa ba Yesu bakola bye yalagira, so si kuba nti bangi. Ensonga eyo ekwata ku kukulaakulana kw’Obwakabaka Yesu agyogerako mu lugero lwe olw’ekiragala. Yagamba nti: “Nate, obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ekiragala, kye basuula mu nnyanja, ne kikuŋŋaanya [ebyennyanja] ebya buli ngeri.”—Mat. 13:47.
16 Ekiragala kino ekikiikirira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka kikuŋŋaanya ebyennyanja ebya buli ngeri. Yesu ayongera n’agamba nti: “[Ekiragala] bwe kyajjula, ne bakiwalulira ku ttale; ne batuula, ne bakuŋŋaanyiza ebirungi mu [bisero], ebibi ne babisuula. Bwe kityo bwe kiriba ku [mafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno]: bamalayika balijja, balyawulamu abantu ababi mu batuukirivu, balibasuula mu kikoomi eky’omuliro: mwe muliba okukaaba amaziga n’okuluma obujiji.”—Mat. 13:48-50.
17. Okwawulamu okwogerwako mu lugero lw’ekiragala kubaawo mu kiseera ki?
17 Okwawula kuno kwe kumu n’okwawula kw’endiga ne mbuzi Yesu kwe yagamba nti kujja kubaawo ng’azze mu kitiibwa kye? (Mat. 25:31-33) Nedda. Okwawula kw’endiga n’embuzi kujja kubaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene nga Yesu azze. Ate okwawulamu okwogerwako mu lugero lw’ekiragala kwo kubaawo mu kiseera kya “mafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno.”b Kino kye kiseera kati mwe tuli era kizingiramu n’ekibonyoobonyo ekinene. Kati olwo omulimu gw’okwawulamu gukolebwa gutya leero?
18, 19. (a) Omulimu gw’okwawula gukolebwa gutya leero? (b) Abantu ab’emitima emirungi balina kukola ki? (Laba obugambo obwa wansi ku lupapula 21.)
18 Obukadde n’obukadde bw’ebyennyanja eby’akabonero bajja mu kibiina kya Yakuwa mu kiseera kino. Abamu babeerawo ku Kijjukizo, abalala bajja mu nkuŋŋaana zaffe, ate abalala tuyiga nabo Baibuli. Naye abantu bano bonna ddala Bakristaayo ba nnamaddala? Kituufu nti ‘bawalulibwa ku ttale,’ naye Yesu agamba nti ‘abalungi’ be bokka abateekebwa mu bisero, nga bino bye bibiina by’Abakristaayo ab’amazima. Ebyennyanja ebibi bisuulibwa, era n’oluvannyuma byokebwa mu muliro ogw’akabonero, nga kino kitegeeza kuzikirizibwa mu biseera eby’omu maaso.
19 Okufaananako ebyennyanja ebibi, bangi ku abo ababadde bayiga Baibuli n’abaweereza ba Yakuwa balekedde awo. Abamu bakulidde mu maka Makristaayo naye tebaagala kufuuka bagoberezi ba Yesu. Basazeewo obutaweereza Yakuwa, oba oluusi bamuweerezaako kiseera buseera ne babivaako.c (Ez. 33:32, 33) Naye, abo bonna ab’emitima emirungi balina okukimanya nti kikulu okwegatta ku bibiina by’Abakristaayo ab’amazima n’okusigala mu kifo eky’obukuumi ng’olunaku lw’omusango terunnatuuka.
20, 21. (a) Biki bye tuyize mu ngero za Yesu ezikwata ku kukulaakulana kw’Obwakabaka? (b) Omaliridde kukola ki?
20 Biki bye tuyize mu ngero za Yesu ezikwata ku kukulaakulana kw’Obwakabaka? Ekisooka, ng’akaweke ka kaladaali bwe kakula ne kavaamu ekimera ekinene, wabaddewo okweyongerayongera kungi nnyo mu muwendo gw’abantu abasiima obubaka bw’Obwakabaka. Tewali kintu kyonna kiyinza kulemesa mulimu gwa Yakuwa kukolebwa! (Is. 54:17) Ng’oggyeko ekyo, obukuumi obw’eby’omwoyo buweebwa abo bonna abasalawo ‘okutuula wansi w’ekisiikirize ky’omuti ogwo.’ Ekyokubiri, Katonda y’akuza ensigo. Ng’ekizimbulukusa ekyakwekebwa mu ŋŋaano bwe kyagizimbulukusa yonna, okukulaakulana kw’eby’omwoyo kubaawo wadde ng’emirundi mingi kino abantu baba tebasobola kukiraba! Ekyokusatu, abantu abamu abasiima obubaka tebafuuka bayigirizwa balungi. Abantu ng’abo balinga ebyennyanja ebibi ebyogerwako mu lugero lwa Yesu.
21 Kyokka, kizzaamu nnyo amaanyi okulaba nti abantu abalungi bangi bajja eri Yakuwa! (Yok. 6:44) Kino kireeseewo okweyongerayongera kungi mu nsi nnyingi, era kiweesa Yakuwa Katonda ekitiibwa. Okulaba kino nga kibaawo kyanditukubirizza okukolera ku bigambo bino ebyawandiikibwa edda ennyo: “Enkya osiganga ensigo zo, . . . kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.”—Mub. 11:6.
[Obugambo obuli wansi]
a Enyinnyonnyola y’engero zino eri mu kitundu kino etereezaamu ku eyo eyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 1, 1993, olupapula 17-22, ne Watchtower eya Okitobba 1, 1975, olupapula 589-608.
b Wadde ng’olugero oluli mu Matayo 13:39-43 lwogera ku nsonga ndala ekwata ku mulimu gw’okubuulira Obwakabaka, nalwo lutuukirizibwa mu kiseera ‘ky’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno,’ ng’olugero lw’ekiragala. Omulimu gw’okwawula ebyennyanja eby’akabonero, n’ogw’okusiga n’okukungula gyombi gikyagenda mu maaso.—Watchtower eya Okitobba 15, 2000, olupapula 25-26; Sinza Katonda Omu ow’Amazima, olupapula 178-181, akatundu 8-11.
c Kino kitegeeza nti bamalayika baamala dda okukasuka ebweru buli eyalekera awo okuyiga Baibuli oba okukuŋŋaana n’abantu ba Yakuwa? Nedda! Yakuwa akkiriza omuntu yenna okudda gy’ali bw’aba ayagala.—Mal. 3:7.
Wandizzeemu Otya?
• Olugero lwa Yesu olw’ensigo ya kaladaali lutuyigiriza ki ku kukulaakulana kw’Obwakabaka ne ku bukuumi bw’eby’omwoyo?
• Ekizimbulukusa ekyogerwako mu lugero lwa Yesu kikiikirira ki, era Yesu atuyigiriza ki ku kukulaakulana kw’Obwakabaka mu lugero olwo?
• Olugero lw’ekiragala lutuyigiriza ki ku kukulaakulana kw’Obwakabaka?
• Tulina kukola ki okusigala mu abo ‘abakuŋŋaanyizibwa mu bisero’?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Olugero lw’akaweke ka kaladaali lutuyigiriza ki ku kweyongerayongera kw’Obwakabaka?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Tuyiga ki mu lugero lw’ekizimbulukusa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Okwawula kw’ebyennyanja ebirungi n’ebibi kulaga ki?