ESSUULA 73
Omusamaliya Akiraga nti Muliraanwa owa Nnamaddala
ENGERI Y’OKUSIKIRAMU OBULAMU OBUTAGGWAAWO
OMUSAMALIYA OMULUNGI
Yesu bw’aba akyali okumpi ne Yerusaalemi, Abayudaaya abatali bamu bamutuukirira. Abamu baagala kubaako bye bamuyigirako ate abalala baagala kumugezesa bugezesa. Omu ku bo eyali omukenkufu mu Mateeka, abuuza Yesu nti: “Omuyigiriza, nkole ki okusobola okusikira obulamu obutaggwaawo?”—Lukka 10:25.
Yesu akiraba nti omusajja oyo ekibuuzo ekyo takibuuzizza lwa kwagala kuyiga. Ayinza okuba ng’ayagala Yesu addemu ekibuuzo ekyo mu ngeri eneenyiiza Abayudaaya. Yesu akiraba nti omusajja ono alina ye ky’ayagala okuwulira. Bwe kityo amuddamu mu ngeri emuleetera okuggyayo ekyo kyennyini ekiri ku mutima gwe.
Yesu amubuuza nti: “Amateeka gagamba ki? Osoma otya?” Omusajja oyo amanyi ekyo Amateeka ga Katonda kye gagamba, era addamu Yesu ng’asinziira ku Mateeka ago. Ajuliza Ekyamateeka 6:5 n’Eby’Abaleevi 19:18, n’agamba nti: “‘Oyagalanga Yakuwa Katonda wo, n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna,’ era ‘oyagalanga ne muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’” (Lukka 10:26, 27) Ekyo kye ky’okuddamu ekituufu?
Yesu agamba omusajja oyo nti: “Ozzeemu bulungi; kolanga bw’otyo era olifuna obulamu.” Naye emboozi ekoma awo? Omusajja oyo tayagala bwagazi kya kuddamu; ayagala “okulaga nti mutuukirivu,” kwe kugamba, okulaga nti ebyo by’alowooza bituufu era nti n’engeri gy’ayisaamu abalala ntuufu. Bwe kityo abuuza nti: “Muliraanwa wange y’ani?” (Lukka 10:28, 29) Wadde ng’ekibuuzo ekyo kirabika ng’ekyangu, kigazi. Mu ngeri ki?
Abayudaaya balowooza nti ekigambo “muliraanwa” kirina kukozesebwa ku abo bokka abagoberera empisa y’Ekiyudaaya, era kirabika nga gy’obeera ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:18 biwagira endowooza eyo. Mu butuufu, Abayudaaya bayinza n’okuba nga bakitwala nti “tekikkirizibwa mu Mateeka” kusinziza wamu na bantu abatali Bayudaaya. (Ebikolwa 10:28) N’olwekyo, omusajja oyo oboolyawo n’abamu ku bayigirizwa ba Yesu beetwala okuba abatuukirivu olw’okuba bayisa bulungi Bayudaaya bannaabwe. Naye bayinza okuba nga balowooza nti si kikyamu kuyisa bubi muntu atali Muyudaaya okuva bwe kiri nti tebamutwala nga “muliraanwa” waabwe.
Yesu ayinza atya okutereeza endowooza y’omusajja oyo enkyamu awatali kumunyiiza wadde okunyiiza Abayudaaya abalala? Ekyo akikola ng’amugerera olugero luno: “Waliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko n’agwa mu banyazi, ne bamwambula, ne bamukuba era ne bamuleka ng’abulako katono okufa.” Yesu agattako nti: “Awo kabona yali aserengeta mu kkubo eryo, naye bwe yamulaba, n’adda ku ludda olulala n’ayitawo. N’Omuleevi bwe yatuuka mu kifo ekyo, n’amulaba, n’adda ku ludda olulala n’ayitawo. Naye Omusamaliya eyali ayita mu kkubo eryo bwe yatuuka we yali, n’amulaba, yamukwatirwa ekisa.”—Lukka 10:30-33.
Omusajja Yesu gw’agerera olugero olwo akimanyi bulungi nti bakabona bangi n’Abaleevi abaweereza mu yeekaalu basula Yeriko. Bwe baba bava ku yeekaalu nga baddayo eka, batambula olugendo lwa mayiro nga 14. Ekkubo lye bayitamu litera okubaamu abanyazi. Wandisuubidde nti kabona n’Omuleevi bandiyambye Muyudaaya munnaabwe ali mu mbeera enzibu. Naye okusinziira ku lugero lwa Yesu, ekyo tebaakikola. Oyo eyayamba Omuyudaaya yali Musamaliya, kyokka ng’Abayudaaya banyooma nnyo Abasamaliya.—Yokaana 8:48.
Omusamaliya yayamba atya Omuyudaaya eyali atuusiddwako ebisago? Yesu agamba nti: “[Y]amutuukirira, n’afuka amafuta n’omwenge ku biwundu bye era n’abisiba. Olwamala n’amutuuza ku nsolo ye n’amutwala mu nnyumba omusula abatambuze n’amujjanjaba. Ku lunaku olwaddako n’akwata eddinaali bbiri n’aziwa alabirira ennyumba omusula abatambuze, n’amugamba nti, ‘Mulabirire, era n’endala z’onoosaasaanya nja kuzikusasula nga nkomyewo.’”—Lukka 10:34, 35.
Oluvannyuma lw’okugera olugero olwo, Omuyigiriza Omukugu, Yesu, abuuza omusajja ekibuuzo kino ekimuleetera okufumiitiriza: “Ani ku bantu bano abasatu eyeeraga okuba muliraanwa w’omuntu oyo eyagwa mu batemu?” Oboolyawo olw’obutaagala kuddamu nti “Omusamaliya” omusajja oyo addamu nti: “Oyo eyamulaga obusaasizi.” Awo Yesu alaga eky’okuyiga ekiri mu lugero olwo ng’agamba nti: “Genda naawe okolenga bw’otyo.”—Lukka 10:36, 37.
Ng’engeri Yesu gy’ayigirizaamu nnungi nnyo! Singa Yesu yagamba bugambi omusajja oyo nti n’abantu abatali Bayudaaya basaanidde okutwalibwa nga baliraanwa be, olowooza omusajja oyo n’Abayudaaya abalala abaali bawuliriza bandikikkirizza? Nedda. Kyokka okugera olugero olwo olwali olwangu okutegeera era ng’akozesa embeera abamuwuliriza gye bategeera obulungi, eky’okuddamu mu kibuuzo, “Muliraanwa wange y’ani?” kyeyoleka bulungi. Mu butuufu, muliraanwa owa nnamaddala y’oyo ayoleka okwagala n’ekisa, Ebyawandiikibwa bye bitulagira okwoleka.