Oli ‘Mugagga mu Maaso ga Katonda’?
“Bwe kityo bwe kibeera eri omuntu eyeeterekera eby’obugagga naye nga si mugagga mu maaso ga Katonda.”—LUKKA 12:21, NW.
1, 2. (a) Abantu beetegefu okukola kyonna ekisoboka bafune ki? (b) Buzibu ki Abakristaayo bwe balina okwekuuma?
ABAANA si be bokka abazannya omuzannyo gw’okunoonya n’okukwekula ebintu. Kino kye kintu abantu kye babadde bakola mu bulamu obwa bulijjo okuva edda n’edda. Ng’ekyokulabirako, mu kyasa 19 bwe kyazuulibwa nti mu Australia, South Africa, Canada ne Amerika waaliyo zaabu, abantu okuva mu nsi ezitali zimu baaleka amaka gaabwe ne bagenda okunoonya obugagga mu nsi ezo ze baali batamanyi ate nga n’ezimu zaali tezibeerekamu. Yee, abantu bangi beetegefu okukola kyonna ekisoboka okufuna eby’obugagga bye baagala, ka babe nga bateeka obulamu bwabwe mu kabi.
2 Wadde ng’abantu abasinga obungi leero tebatindigga ŋŋendo kunoonya bya bugagga, balina okukola ennyo okusobola okweyimirizaawo. Mu nsi ya kakyo kano, kino si kyangu era kyetaagisa ebiseera bingi. Kyangu omuntu okumalira ebiseera bye mu kunoonya eby’okulya, eby’okwambala, n’aw’okusula, n’alagajjalira oba ne yeerabira ebintu ebisinga obukulu mu bulamu. (Abaruumi 14:17) Yesu yagera olugero olwannyonnyola obulungi ensonga eno. Olugero olwo lusangibwa mu Lukka 12:16-21.
3. Mu bufunze yogera ebiri mu lugero lwa Yesu oluli mu Lukka 12:16-21.
3 Olugero olwo Yesu yalugera bwe yali ng’ayogera ku kwekuuma okwegomba ebintu, kwe twayogerako mu kitundu ekyaggwa. Bwe yamala okulabula ku kwegomba okwo, Yesu n’ayogera ku musajja omugagga alina amawanika agajjudde ebintu ebirungi naye nga si mumativu era ng’ateekateeka kugamenya azimbe agasingako obunene asobole okuterekamu ebintu ebisingawo obungi. Aba yaakatandika okulowooza nti agenda kuba mu bulamu obweyagaza, Katonda amugamba nti obulamu bwe bugenda kumuggibwako, era byonna by’abadde akuŋŋaanyizza omuntu omulala agenda kubitwala. Awo Yesu n’afundikira ng’agamba nti: “Bwe kityo bwe kibeera eri omuntu eyeeterekera eby’obugagga naye nga si mugagga mu maaso ga Katonda.” (Lukka 12:21, NW) Kyakuyiga ki ekiri mu lugero luno? Tusobola tutya okussa mu nkola eky’okuyiga ekyo mu bulamu bwaffe?
Omusajja Alina Ekizibu
4. Musajja wa ngeri ki ayogerwako mu lugero lwa Yesu?
4 Olugero Yesu lwe yagera lumanyiddwa bulungi. Yalutandika ng’agamba: “Waaliwo omuntu omugagga, ennimiro ye n’eyaza.” Yesu bwe yali ayogera ku musajja ono teyagamba nti yayitira mu makubo okufuna eby’obugagga. Mu ngeri endala, teyagamba nti omusajja oyo yali mubi. Mu butuufu, okusinziira ku bigambo bya Yesu, tusobola okugamba nti omusajja ayogerwako mu lugero yali mukozi nnyo. Ate era kyeyoleka bulungi nti yali musajja eyeeteekerateekera ebiseera eby’omu maaso, oboolyawo nga kino yali akikola ku lw’obulungi bw’ab’omu maka ge. Bwe kityo, mu ndaba ey’obuntu, ono yali musajja omukozi era afaayo okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwe.
5. Omusajja ayogerwako mu lugero lwa Yesu yalina kizibu ki?
5 Omusajja Yesu gwe yayogerako mu lugero yamuyita muntu mugagga, ekiraga nti yali yeekolera dda era ng’alina eby’obugagga bingi. Kyokka, nga Yesu bwe yannyonnyola, omusajja oyo omugagga yalina ekizibu. Ennimiro ye yabala nnyo okusinga bwe yali asuubira, ng’ebintu bingi nnyo talina na w’abitereka. Kati yandibadde akola ki?
6. Kusalawo ki abaweereza ba Katonda bangi kwe boolekagana nakwo?
6 Bangi ku baweereza ba Yakuwa leero bali mu mbeera efaananako ey’omusajja oyo omugagga. Abakristaayo ab’amazima bafuba okubeera abakozi abeesigwa era abanyiikivu. (Abakkolosaayi 3:22, 23) Ka kibe nti bakozesebwa bukozesebwa oba balina bizineesi ezaabwe ku bwabwe, batera okukola obulungi emirimu gyabwe, oluusi n’okusingira ddala abalala. Kyokka bwe bakuzibwa ku mulimu oba bwe bafuna omulimu omulala, boolekagana n’okusalawo okw’amaanyi. Bamale gakkiriza okukuzibwa basobole okufuna essente ezisingawo? Mu ngeri y’emu, abavubuka bangi abajulirwa bakola bulungi mu ssomero okusinga bannaabwe. Era bayinza okufuna sikaala okweyongerayo mu matendekero aga waggulu amaatiikirivu. Bandimaze gakkiriza sikaala ezo ng’abasinga obungi bwe bakola?
7. Omusajja ow’omu lugero lwa Yesu yasalawo kugonjoola atya ekizibu kye?
7 Nga tuzzeeyo ku lugero lwa Yesu, omusajja omugagga yakola ki ng’ennimiro ye ebazizza nnyo ne kiba nti w’atereka amakungula ge waali tewakyamala? Yasalawo okumenya amawanika ge yalina azimbe agasingako obunene asobole okuterekamu amakungula ge gonna. Kino kyamuleetera essanyu n’obumativu era n’agamba nti: “Ndigamba emmeeme yange nti Emmeeme, olina ebintu bingi ebiterekeddwa eby’emyaka emingi; wummula, olye, onywe, osanyuke.”—Lukka 12:19.
Lwaki ‘Musirusiru’?
8. Kintu ki ekikulu omusajja ow’omu lugero lwa Yesu kye yabuusa amaaso?
8 Kyokka, nga Yesu bwe yakiraga, omusajja oyo kye yali alowooza okukola, wadde nga kyalabika ng’eky’amagezi, kyali tekijja kumuwa ssanyu na bumativu kubanga alina ekintu ekikulu ennyo kye yali abuusizza amaaso—okukola Katonda by’ayagala. Omusajja oyo kye yali alowoozaako kyokka kwe kuba n’emirembe ng’alya, ng’anywa era nga yeeyagala. Yalowooza nti olw’okuba yalina ‘ebintu bingi,’ kyandimusobozesezza n’okuwangaala “emyaka emingi.” Naye ebintu tebyagenda nga bwe yali alowooza. Nga Yesu bwe yagamba, ‘obulamu bw’omuntu si bye bintu ebingi by’aba nabyo.’ (Lukka 12:15) Mu kiro ekyo kyennyini, omusajja oyo bye yali ateekateeka okukola byonna byakoma awo, kubanga Katonda yamugamba nti: “Musiru ggwe, mu kiro kino emmeeme yo banaagikuggyako; kale ebintu by’otegese binaaba by’ani?”—Lukka 12:20.
9. Lwaki omusajja ow’omu lugero ayitibwa omusirusiru?
9 Wano we tutuukira ku mulamwa oguli mu lugero lwa Yesu. Katonda yagamba nti omusajja oyo yali musirusiru. Ekitabo Exegetical Dictionary of the New Testament kinnyonnyola nti engeri ez’enjawulo ekigambo kino gye kikozesebwamu mu Luyonaani “bulijjo zitegeeza obutategeera.” Ekitabo kino kigamba nti mu lugero olwo Katonda akozesa ekigambo ekyo okulaga nti “pulaani z’abagagga ez’ebiseera eby’omu maaso teziriimu makulu.” Ekigambo ekyo kiba kiraga “omuntu agaana okukiraba nti kyetaagisa okwesigama ku Katonda,” so si oyo atalina magezi. Ekyo Yesu kye yayogera ku musajja omugagga kitujjukiza ebyo bye yagamba Abakristaayo b’omu kibiina ky’omu Lawodikiya eky’omu Asiya Omutono ekyaliwo mu kyasa ekyasooka: “Oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng’oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w’amaaso era ali obwereere.”—Okubikkulirwa 3:17.
10. Lwaki okuba ‘n’ebintu ebingi’ tekitegeeza kuwangaala ‘myaka mingi’?
10 Kikulu okufumiitiriza ku ky’okuyiga ekiri mu lugero luno. Twandiba nga tufaananako omusajja oyo ow’omu lugero—nga tukola nnyo tusobole okufuna ‘ebintu bingi’ kyokka ne tutafaayo kukola ekyo ekinatuyamba okufuna essuubi ery’okuwangaala “emyaka emingi”? (Yokaana 3:16; 17:3) Baibuli egamba nti: “Obugagga tebuliiko kye bugasa ku lunaku olw’obusungu,” era nti oyo “eyeesiga obugagga bwe aligwa.” (Engero 11:4, 28) Yesu kye yava afundikira olugero ng’agamba nti: “Bwe kityo bwe kibeera eri omuntu eyeeterekera eby’obugagga naye nga si mugagga mu maaso ga Katonda.”—Lukka 12:21, NW.
11. Lwaki kiba kya butaliimu omuntu okuteeka essuubi lye mu by’obugagga?
11 Yesu bwe yagamba nti “bwe kityo bwe kibeera,” yali alaga nti ekyo ekyatuuka ku musajja oyo omugagga ayogerwako mu lugero kijja kutuuka ne ku abo abateeka essuubi lyabwe mu by’obugagga. Ekizibu tekiri mu ‘kweterekera bya bugagga,’ wabula kiri mu kulemererwa okubeera “mugagga mu maaso ga Katonda.” Omutume Yakobo naye yalabula ku kintu kye kimu bwe yawandiika nti: “Kale nno mmwe aboogera nti Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi, tumaleyo omwaka gumu tulitunda, tuliviisa amagoba: naye nga temutegeera bya nkya.” Kiki kye bandikoze? “[Mu kifo ky’ekyo, mwandigambye] nti Mukama waffe bw’alyagala, tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti.” (Yakobo 4:13-15) Omuntu ne bw’aba nga mugagga nnyo oba ng’alina ebintu bingi, bw’ataba mugagga mu maaso ga Katonda, taganyulwa. Kati olwo kitegeeza ki okuba omugagga mu maaso ga Katonda?
Okuba Omugagga mu Maaso ga Katonda
12. Tulina kukola ki okusobola okuba abagagga mu maaso ga Katonda?
12 Ebigambo bya Yesu biraga nti okubeera omugagga mu maaso ga Katonda kikontana n’okululunkanira ebintu. N’olwekyo, Yesu yali agamba nti ekiruubirirwa kyaffe ekikulu mu bulamu tekyandibadde kwetuumira bya bugagga oba okweyagalira mu ebyo bye tulina. Mu kifo ky’ekyo, twandikozesezza ebyo bye tulina okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Awatali kubuusabuusa bwe tunaakola ekyo tujja kuba bagagga mu maaso ga Katonda. Lwaki? Kubanga ajja kutuwa emikisa mingi. Baibuli etugamba nti: “Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.”—Engero 10:22.
13. Omukisa gwa Yakuwa “gugaggawaza” gutya?
13 Yakuwa bw’aba awa abantu be emikisa, bulijjo abawa ekisingayo okuba ekirungi. (Yakobo 1:17) Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yawa Abaisiraeri aw’okubeera, yabawa ‘ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’ Wadde ng’ensi y’e Misiri nayo yali eyogeddwako bw’etyo, waaliwo ekintu eky’enjawulo ensi Yakuwa gye yawa Abaisiraeri kye yali esinza Misiri. Musa yagamba Abaisiraeri nti eno yali ‘nsi Mukama Katonda wo gy’ayagala.’ Kwe kugamba, bandibadde bulungi olw’okuba Yakuwa yandibadde abalabirira. Abaisiraeri bwe baabeeranga abeesigwa eri Yakuwa, baafunanga emikisa mingi era ng’embeera y’obulamu bwabwe esingira wala ey’ab’amawanga gonna agaali gabeetoolodde. Yee, omukisa gwa Yakuwa gwe “gugaggawaza”!—Okubala 16:13; Ekyamateeka 4:5-8; 11:8-15.
14. Birungi ki abagagga mu maaso ga Katonda bye balina?
14 Okutwalira awamu abagagga bafaayo ku ngeri abalala gye babatunuuliramu. Kino kitera okweyolekera mu bulamu bwabwe nga bakola ekyo Baibuli ky’eyita ‘okweraga olw’ebyo omuntu by’aba nabyo mu bulamu.’ (1 Yokaana 2:16, NW) Ku luuyi olulala, abo abagagga mu maaso ga Katonda balina enkolagana ennungi ne Katonda, basiimibwa mu maaso ge, era abalaga ekisa kye. Awatali kubuusabuusa, embeera ennungi ng’eyo ebaleetera okuwulira nti balina essanyu n’obukuumi okusinga bwe kyandibadde nga beesize eby’obugagga. (Isaaya 40:11) Ekyebuuzibwa kiri nti, Tulina kukola ki okusobola okuba abagagga mu maaso ga Katonda?
Abagagga mu Maaso ga Katonda
15. Tulina kukola ki okusobola okuba abagagga mu maaso ga Katonda?
15 Omusajja w’omu lugero lwa Yesu yateekateeka era n’akola nnyo nga ky’anoonya kyokka kwegaggawaza, era yayitibwa musirusiru. N’olwekyo, okusobola okuba abagagga mu maaso ga Katonda, tuteekwa okukola Katonda by’ayagala mu bujjuvu. Muno mwe muli n’ekyo Yesu kye yalagira nti: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa.” (Matayo 28:19) Bwe tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebitone byaffe mu mulimu gw’okulangirira Obwakabaka n’okufula abalala abayigirizwa, so si mu kwegaggawaza, tuba ng’abeeterekera eby’obugagga. Abakoze batyo baganyuddwa nnyo mu by’omyoyo, ng’ebyokulabirako bino wammanga bwe biraga.—Engero 19:17.
16, 17. Byakulabirako ki by’oyinza okuwa ebiraga engeri y’obulamu efuula omuntu omugagga mu maaso ga Katonda?
16 Lowooza ku kyokulabirako ky’omusajja omu Omukristaayo abeera mu nsi emu ey’omu Asiya eyali makanika wa kompyuta era ng’omulimu gwe gumusasula bulungi. Kyokka, omulimu guno gwali kumpi gutwala ebiseera bye byonna n’atuuka n’okuwulira ng’anafuye mu by’omwoyo. Oluvannyuma yasalawo okuguleka n’atandika okukola n’okutunda bbalaafu ku nguudo asobole okufuna obudde okukola ku byetaago bye eby’omwoyo n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. Wadde nga bakozi banne baamusekerera, biki ebyavaamu? Yagamba nti: “Mu butuufu, omulimu guno gwali gumpa ssente nnyingi okusinga ogwa kompyuta.” Yayongerako nti “Gwampa essanyu kubanga nnali sikyakakaalukana wadde okweraliikirira nga bwe kyali nga nkyakola guli. N’ekisinga obukulu, kati mpulira nga nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.” Okukola enkyukakyuka zino kyayamba Omukristaayo ono okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, era kati aweereza ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi ye. Mazima ddala omukisa gwa Yakuwa “gwe gugaggawaza.”
17 Ekyokulabirako ekirala kye ky’omukazi eyakulira mu maka agaali gatwala obuyigirize ng’ekintu ekikulu ennyo. Yasomera mu yunivasite ez’omu Bufalansa, Mexico, ne mu Switzerland, era yalina omulimu omulungi. Agamba nti: “Ebintu byali biŋŋendera bulungi; era nga buli omu ampa ekitiibwa, naye muli nnali mpulira nga nnina ekimbulako, nga siri mumativu.” Oluvannyuma yayiga ebikwata ku Yakuwa. Yagamba nti: “Bwe nnagenda nkula mu by’omwoyo, okwagala okusanyusa Yakuwa n’okubaako kye muddiza olw’ebyo bye yali ankoledde byannyamba okulaba ekkubo lye nnalina okukwata—okumuweereza ekiseera kyonna.” Yalekayo omulimu gwe era mangu ddala n’abatizibwa. Kati amaze emyaka 20 mu buweereza obw’ekiseera kyonna era musanyufu. Agamba “Abamu balowooza nti nnayonoona ebitone byange, naye bakiraba nti ndi musanyufu, era balaba nti emisingi kwe ntambuliza obulamu bwange gya muganyulo. Buli lunaku nsaba Yakuwa annyambe okuba omwetoowaze nsobole okufuna okusiimibwa kwe.”
18. Okufaananako Pawulo, tusobola tutya okuba abagagga mu maaso ga Katonda?
18 Sawulo, eyafuuka omutume Pawulo, yalina omulimu ogwandimusobozesezza okutuuka ku birungi bingi. Kyokka, oluvannyuma yawandiika nti: “Ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw’obulungi obungi obw’okutegeera Kristo Yesu Mukama wange.” (Abafiripi 3:7, 8) Eri Pawulo, obugagga bwe yafuna mu Kristo bwali businga ekintu kyonna kye yandifunye mu nsi. Mu ngeri y’emu, naffe bwe twemalira mu kuweereza Katonda, mu kifo ky’okwenoonyeza ebyaffe, tujja kuba bagagga mu maaso ga Katonda. Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti: “Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu ye mpeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.”—Engero 22:4.
Osobola Okunnyonnyola?
• Omusajja ayogerwako mu lugero lwa Yesu yalina kizibu ki?
• Lwaki omusajja ow’omu lugero ayitibwa omusirusiru?
• Kitegeeza ki okuba omugagga mu maaso ga Katonda?
• Tusobola tutya okubeera abagagga mu maaso ga Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30, 31]
“Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza”