Ebiri mu “Ndagaano Enkadde” Bikyagasa?
MU 1786 omusawo omu Omufalansa yakuba ekitabo ekiyitibwa Traité d’anatomie et de physiologie (Enkula y’Omubiri n’Enkola Yaagwo). Mu kiseera ekyo ekitabo kino kye kyali kisinga byonna okulaga obulungi engeri obusimu bw’omubiri gye bukolamu, era olw’okuba tekirabikalabika, emabegako awo baali bakitunda doola ezisukka 27,000! Wadde kiri kityo abalwadde batono nnyo abayinza okukkiriza omusawo yenna okubajjanjaba nga yeesigama ku kunoonyereza okwakolebwa edda ennyo okuli mu kitabo kino. Kituufu nti ekitabo ekyo kiraga amagezi g’ekisawo n’eby’obujjanjabi bwe byabanga mu biseera eby’edda naye tekirina kya maanyi nnyo kye kigasa mulwadde wa kakyo kano.
Abantu bangi bwe batyo bwe batwala ekitundu kya Baibuli kye bayita Endagaano Enkadde. Baagala ebikirimu ebikwata ku byafaayo bya Isiraeri era n’ebitontome ebikirimu. Naye, tebalowooza nti kya magezi okukolera ku bulagirizi obukirimu olw’okuba kyawandiikibwa emyaka egisoba mu 2,400 egiyise. Ebya sayansi, eby’obusuubuzi, ne eby’obulamu bw’amaka bikyuse nnyo leero by’obigeraageranya ne bwe byali mu kiseera Baibuli mwe yandiikirwa. Philip Yancey, eyaliko omukuŋŋaanya w’akatabo akayitibwa Christianity Today, yawandiika mu kitabo kye The Bible Jesus Read n’agamba nti: “Ebiri mu Ndagaano Enkadde tebitegeerekeka, n’ebimu ebisobola okutegeerekeka tewali n’omu ennaku zino ayagala kubiwuliriza. Olw’ensonga zino era n’endala, Endagaano Enkadde, ng’eri ebitundu bisatu bya kuna ebya Baibuli, abantu tebatera kugisoma.” Endowooza eyo si mpya n’akamu.
Nga tewannayita na myaka 50 oluvannyuma lwa Yokaana okufa awo nga mu 100 C.E., omusajja eyali omugagga ayitibwa Marcion yagamba nti Endagaano Enkadde Abakristaayo basaanidde okwewala okugisoma. Okusinziira ku munnabyafaayo Omungereza ayitibwa Robin Lane Fox, Marcion yagamba nti: “‘Katonda’ w’omu Ndagaano Enkadde yali ‘mukambwe nnyo’ era ng’awagira abamenyi b’amateeka n’abatujju nga Kabaka Dawudi owa Isiraeri. Kyokka ate ye Kristo Katonda gw’ayogerako wa njawulo nnyo era wa kika ekya waggulu okusinga oyo ow’omu Ndagaano Enkadde.” Fox agamba nti endowooza za Marcion zino “ze zaafuuka enzikiriza eyitibwa ‘Marcionism’ era okutuusiza ddala mu kyasa eky’okuna, abantu baagiyingiramu nnyo, naddala ab’omu kitundu ky’Ebuvanjuba abaayogeranga olulimi Olusuuli.” Na kati wakyaliwo abantu abalina ezimu ku ndowooza ezo. Oluvannyuma lw’emyaka egisukka 1,600, Philip Yancey kye yava awandiika nti, “Abakristaayo bagenda balekerayo ddala okukolera ku magezi ag’omu Ndagaano Enkadde era nga n’abantu b’ennaku zino kumpi tebakyagakolerako.”
Endagaano Empya yadda mu kifo ky’Endagaano Enkadde? Tusobola tutya okutegeera nti “Mukama ow’eggye” ow’omu Ndagaano Enkadde ye “Katonda ow’okwagala n’emirembe” ow’omu Ndagaano Empya? (Isaaya 13:13; 2 Abakkolinso 13:11) Endagaano Enkadde esobola okukuganyula leero?