EKITUNDU EKY’OKUSOMA 26
“Mudde Gye Ndi”
“Mudde gye ndi nange nja kudda gye muli.”—MAL. 3:7.
OLUYIMBA 102 “Yambanga Abanafu”
OMULAMWAa
1. Yakuwa awulira atya emu ku ndiga ze bw’eddamu okumuweereza?
NGA bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yakuwa yeegeraageranya ku musumba omulungi afaayo ku buli emu ku ndiga ze. Era anoonya eyo yonna eba ewabye n’eva ku kisibo. Yakuwa yagamba Abayisirayiri abaali bamuvuddeko nti: “Mudde gye ndi nange nja kudda gye muli.” Tukimanyi nti Yakuwa bw’atyo bw’awulira ne leero kubanga agamba nti: “Sikyuka.” (Mal. 3:6, 7) Yesu yagamba nti Yakuwa ne bamalayika basanyuka nnyo omuntu ne bw’aba omu aba akomyewo eri Yakuwa.—Luk. 15:10, 32.
2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Tugenda kulaba engero za Yesu ssatu ezituyamba okumanya engeri gye tuyinza okuyamba abo abaawaba ne balekera awo okuweereza Yakuwa. Tugenda kulaba engeri ze twetaaga okwoleka okusobola okuyamba endiga eyabula esobole okudda eri Yakuwa. Era tugenda kulaba ensonga lwaki kikulu okuyamba abo abatakyaweereza Yakuwa okuddamu okumuweereza.
OKUNOONYA SSENTE EYALI EBUZE
3-4. Lwaki omukazi ayogerwako mu Lukka 15:8-10 yanoonya n’obwegendereza ssente ye eyali ebuze?
3 Kitwetaagisa okufuba ennyo okuzuula abo abaagala okudda eri Yakuwa. Mu lugero oluli mu Njiri ya Lukka, Yesu yayogera ku ngeri omukazi gye yanoonyaamu ekintu eky’omuwendo ekyali kimubuzeeko, ng’eno yali ssente eya ffeeza. Ensonga enkulu eri mu lugero luno ye ngeri omukazi gye yafubamu ennyo okunoonya ssente eyo.—Soma Lukka 15:8-10.
4 Yesu ayogera ku ngeri omukazi gye yawuliramu ng’azudde ssente ye eyali ebuze. Mu kiseera kya Yesu, omukazi bwe yafumbirwanga, oluusi maama we yamuwanga ssente eza ffeeza kkumi ku lunaku lw’embaga ye. Oboolyawo ssente omukazi oyo gye yali anoonya yali emu ku ezo maama we ze yamuwa. Omukazi yali asuubira nti ssente eyo yali emuguddeko mu nnyumba. Bwe kityo yakoleeza ettaala n’atandika okuginoonya naye n’emubula. Ettaala ye eyinza okuba nga yali temuwadde kitangaala kimala okuzuula ssente eyo. Oluvannyuma yayera ennyumba yonna n’obwegendereza. Mu bye yali ayeze yalabamu essente ye ng’emasamasa. Yasanyuka nnyo okugizuula! Yayita mikwano gye ne baliraanwa be okubabuulira ku mawulire ago amalungi.
5. Lwaki kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okuzuula abo ababa batakyakuŋŋaana wamu naffe?
5 Nga bwe tulaba mu lugero lwa Yesu, kyetaagisa okufuba ennyo okuzuula ekintu ekiba kyabula. Mu ngeri y’emu, kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okuzuula abo abatakyakuŋŋaana. Wayinza okuba nga wayise emyaka bukya balekera awo okukuŋŋaana naffe. Bayinza n’okuba nga baasengukira mu kitundu ekirala era ng’ab’oluganda mu kitundu ekyo tebabamanyi. Naye tuli bakakafu nti abamu ku abo ababa baalekera awo okuweereza Yakuwa baba baagala okudda eri Yakuwa. Baagala okuweereza Yakuwa nga bali wamu ne bakkiriza bannaabwe, naye baba tebasobola kukikola awatali kuyambibwa.
6. Bonna mu kibiina bayinza batya okuyambako mu kunoonya abo ababa baalekera awo okuweereza Yakuwa?
6 Baani abayinza okwenyigira mu kunoonya abo abatakyaweereza Yakuwa? Ffenna, nga mw’otwalidde abakadde, bapayoniya, ab’eŋŋanda zaabwe, n’ababuulizi abalala mu kibiina, tusobola okuyambako. Olinayo mukwano gwo oba ow’eŋŋanda zo eyalekera awo okuweereza Yakuwa? Olinayo omuntu eyalekera awo okuweereza Yakuwa gwe wasanga ng’obuulira nnyumba ku nnyumba oba mu kifo ekya lukale? Omuntu oyo mugambe nti bw’aba nga yandyagadde abakadde okumukyalira ayinza okukuwa endagiriro ye oba essimu ye, obibawe.
7. Kiki ky’oyigidde ku bigambo by’omukadde ayitibwa Thomas?
7 Ebimu ku bintu abakadde bye bayinza okukola okuzuula abo ababa baagala okudda eri Yakuwa bye biruwa? Lowooza ku ebyo omukadde ayitibwa Thomasb abeera mu Sipeyini bye yagamba. Thomas yaakayamba Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 40 okukomawo eri Yakuwa. Agamba nti: “Okusooka, mbuuza ab’oluganda ne bannyinaffe abatali bamu obanga bamanyi wa abantu abatakyakuŋŋaana we babeera. Oba mbuuza ababuulizi obanga balinayo omubuulizi yenna gwe bajjukira atakyajja mu nkuŋŋaana. Bangi baba baagala okuyamba kubanga bawulira nti nabo baba beenyigira mu kunoonya endiga ya Yakuwa. Bwe ŋŋenda okukyalira ab’oluganda oba bannyinaffe abatakyajja mu nkuŋŋaana, mbabuuza ebikwata ku baana baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe abalala. Abamu ku abo ababa baalekera awo okuweereza Yakuwa bayinza okuba nga baalinga bajja n’abaana baabwe mu nkuŋŋaana era abaana abo bayinza n’okuba nga baaliko ababuulizi. Abaana abo nabo basobola okuyambibwa okudda eri Yakuwa.”
KOMYAWO BATABANI BA YAKUWA NE BAWALA BE MU KIBIINA
8. Mu lugero olukwata ku mwana omujaajaamya oluli mu Lukka 15:17-24, taata yayisa atya omwana we eyali yeenenyezza?
8 Ngeri ki ze tusaanidde okwoleka bwe tuba ab’okuyamba abo abaagala okudda eri Yakuwa? Lowooza ku ebyo bye tuyinza okuyiga mu lugero lwa Yesu olukwata ku mwana omujaajaamya eyava awaka. (Soma Lukka 15:17-24.) Yesu annyonnyola engeri omwana oyo gye yeekuba mu kifuba n’asalawo okudda awaka. Taata yadduka okusisinkana mutabani we era n’amugwa mu kifuba okumukakasa nti yali amwagala. Mutabani we oyo yali awulira ng’omutima gumulumiriza olw’engeri gye yali yeeyisizzaamu era ng’awulira nti tasaana kuyisibwa nga mwana. Omulenzi oyo yabuulira kitaawe engeri gye yali yeewuliramu era kitaawe yamukwatirwa ekisa. Taata alina ebintu bye yakola okukakasa mutabani we nti yali ayaniriziddwa, era nti yali tamutwala ng’omupakasi, wabula ng’omwana w’awaka. Okukakasa ekyo, taata yateekateeka ekijjulo era n’awa mutabani we oyo eyali yeenenyezza engoye ennungi ez’okwambala.
9. Ngeri ki ze tusaanidde okwoleka okusobola okuyamba abo abaagala okudda eri Yakuwa? (Laba akasanduuko “Okuyamba Abo Abaagala Okudda.”)
9 Yakuwa alinga taata ayogerwako mu lugero olwo. Baganda baffe ne bannyinaffe abatakyamuweereza abaagala era ayagala bakomewo gy’ali. Bwe tukoppa Yakuwa tusobola okubayamba okudda. Twetaaga okubagumiikiriza, okubalumirirwa, n’okubaagala. Lwaki tusaanidde okwoleka engeri ezo era tuyinza tutya okuzooleka?
10. Lwaki kitwetaagisa okuba abagumiikiriza nga tuyamba omuntu okuwona mu by’omwoyo?
10 Tulina okuba abagumiikiriza kubanga kitwala ekiseera omuntu okuwona mu by’omwoyo. Bangi ku abo abaali baalekera awo okuweereza Yakuwa bagamba nti baatandika okuddamu okuweereza Yakuwa oluvannyuma lw’abakadde n’abalala mu kibiina okubakyalira enfunda eziwera. Mwannyinaffe Nancy abeera mu nsi emu ey’omu Asiya agamba nti: “Mukwano gwange omu mu kibiina yannyamba nnyo. Yali anjagala nnyo ng’alinga mukulu wange. Yanzijukiza ebiseera ebirungi bye twalimu naye edda nga nkyaweereza Yakuwa. Yampuliriza n’obugumiikiriza nga mmubuulira ebyandi ku mutima era teyalonzalonza kumpa magezi. Yali wa mukwano owa nnamaddala, nga mwetegefu okunnyamba ekiseera kyonna we nnali nneetaagira obuyambi.”
11. Lwaki twetaaga okulumirirwa omuntu alina eyamunyiiza?
11 Okulumirirwa abalala kuli ng’eddagala erisobola okuwonya obulumi omuntu bw’aba nabwo ku mutima. Abamu ku abo abaalekera awo okuweereza Yakuwa balina omuntu eyabanyiiza mu kibiina era nga bakyawulira obulumi obwo. Ekyo kiyinza okuba nga kikyabalemesezza okudda eri Yakuwa. Ate abalala bayinza okuba nga balowooza nti baayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Bayinza okuba nga beetaaga omuntu abawuliriza obulungi era ategeera enneewulira yaabwe. (Yak. 1:19) María, eyali yalekera awo okuweereza Yakuwa agamba nti: “Nnali nneetaaga omuntu ampuliriza obulungi, ambudaabuda, era ampa amagezi amalungi.”
12. Okwagala kwa Yakuwa kufaananako kutya ng’omuguwa?
12 Bayibuli egamba nti okwagala Yakuwa kw’alina eri abantu be kulinga omuguwa. Mu ngeri ki okwagala kwa Katonda gye kulinga omuguwa? Lowooza ku kyokulabirako kino: Kuba akafaananyi ng’ogudde mu nnyanja erimu amazzi agannyogoga ennyo era omuntu n’akukasukira akakooti akakuyamba obutabbira. Ekyo okisiima nnyo kubanga akakooti ako kakuyamba obutabbira. Naye akakooti ako ku bwako tekamala kukuyamba kusigala ng’oli mulamu. Amazzi gannyogoga nnyo era osobola okufa olw’obunnyogovu obwo singa totuuka mu lyato ery’abaduukirize. Oba weetaaga omuntu okukukasukira omuguwa n’ogwekwatako n’akusika okutuuka ku lyato eryo. Yakuwa yayogera bw’ati ku Bayisirayiri abaali bawabye: “Nnabasika . . . n’obuguwa obw’okwagala.” (Kos. 11:4) Ne leero bw’atyo Yakuwa bw’awulira eri abo abaalekera awo okumuweereza era abawulira ng’abali mu nnyanja y’ebizibu. Ayagala bakimanye nti abaagala era ayagala okubasika okubaleeta gy’ali. Era Yakuwa asobola okukukozesa okwoleka okwagala kwe gye bali.
13. Waayo ekyokulabirako ekiraga obukulu bw’okwoleka okwagala.
13 Kikulu okukakasa abo abatakyaweereza Yakuwa nti Yakuwa abaagala era nti naffe tubaagala. Pablo, eyayogerwako mu kitundu ekyayita, yamala emyaka egisukka mu 30 nga taweereza Yakuwa. Agamba nti: “Lumu ku makya bwe nnali nva awaka, nnasisinkana mwannyinaffe omu omukulu mu myaka eyayogera nange mu ngeri ey’okwagala era ey’ekisa. Nnatandika okukaaba ng’omwana omuto. Nnamugamba nti kirabika Yakuwa ye yali amusindise okwogera nange. Mu kaseera ako kennyini, nnasalawo okudda eri Yakuwa.”
YAMBA ABANAFU
14. Okusinziira ku Lukka 15:4, 5, kiki omusumba kye yakola ng’azudde endiga eyali ebuze?
14 Bwe tumala okuzuula abantu abatakyaweereza Yakuwa, tulina okweyongera okubayamba. Okufaananako omwana ayogerwako mu lugero lwa Yesu, bayinza okuba nga balina obulumi ku mutima obulwawo okuwona. Bayinza kuba nga banafu mu by’omwoyo olw’ebyo bye baba bayiseemu mu nsi ya Sitaani. Tuba twetaaga okubayamba okuddamu okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Mu lugero olukwata ku ndiga eyabula, Yesu yagamba nti omusumba bwe yazuula endiga yagiteeka ku bibegaabega bye n’agikomyawo mu kisibo. Omusumba yali amaze ebiseera bingi n’amaanyi ng’anoonya endiga eyabula. Naye yakiraba nti endiga eyo yali yeetaaga okusitulwa okugizza mu kisibo, kubanga ku bwayo yali terina maanyi gamala kutambula kudda mu kisibo.—Soma Lukka 15:4, 5.
15. Tuyinza tutya okuyamba abo abatalina maanyi abaagala okukomawo eri Yakuwa? (Laba akasanduuko “Brocuwa ey’Omuganyulo Ennyo.”)
15 Kiyinza okutwetaagisa okuwaayo ebiseera ebiwera n’amaanyi okuyamba omuntu atakyaweereza Yakuwa okuvvuunuka obunafu obumulemesa okuddamu okuweereza. Omwoyo gwa Yakuwa, Ekigambo kye, n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa, bisobola okutusobozesa okuyamba omuntu okuddamu okuba omunywevu mu by’omwoyo. (Bar. 15:1) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Ow’oluganda omu amaze ebbanga ng’aweereza ng’omukadde agamba nti: “Bangi ku abo abatakyaweereza Yakuwa bwe basalawo okukomawo eri Yakuwa baba beetaaga okuyigirizibwa Bayibuli.”c N’olwekyo bw’osabibwa okuyigiriza omuntu ng’oyo, kkiriza enkizo eyo embeera bw’eba ekusobozesa. Omukadde oyo era agamba nti: “Omubuulizi ayigiriza omuntu ng’oyo alina okuba ow’omukwano omulungi, omuntu oyo gw’asobola okweyabiza.”
ESSANYU MU GGULU NE KU NSI
16. Tumanya tutya nti bamalayika batuyamba okuzuula abo abaagala okudda eri Yakuwa?
16 Ebyokulabirako bingi biraga nti bamalayika bakolera wamu naffe okuzuula abantu abatakyaweereza Yakuwa naye nga baagala okukomawo gy’ali. (Kub. 14:6) Ng’ekyokulabirako, Silvio ow’omu Ecuador, yasaba nnyo Yakuwa amuyambe okukomawo gy’ali. Bwe yali akyasaba, akade k’oku nnyumba ye kaavuga. Abakadde babiri baali bazze ewuwe. Baatandika okumuyamba asobole okudda eri Yakuwa.
17. Birungi ki bye tufuna mu kuyamba abo abatakyaweereza Yakuwa?
17 Tujja kufuna essanyu lingi mu kuyamba abanafu mu by’omwoyo okudda eri Yakuwa. Weetegereze ebigambo bino Salvador, payoniya afuba ennyo okunoonya abantu abatakyaweereza Yakuwa, bye yayogera: “Bwe ndowooza ku bantu abaali batakyaweereza Yakuwa naye oluvannyuma ne baddamu okumuweereza, kindeetera essanyu eritagambika. Kinsanyusa nnyo okukiraba nti Yakuwa aba anunudde emu ku ndiga ze okuva mu nsi ya Sitaani era nti nange nfunye akakisa okukolera awamu naye omulimu ogwo.”—Bik. 20:35.
18. Bw’oba nga tokyaweereza Yakuwa, kiki ky’osaanidde okumanya?
18 Bw’oba nga walekera awo okuweereza Yakuwa, ba mukakafu nti Yakuwa akyakwagala. Ayagala okomewo gy’ali. Olina okubaako ky’okolawo okudda gy’ali. Naye okufaananako taata ayogerwako mu lugero lwa Yesu, Yakuwa akulindiridde okomewo awaka, era ajja kukwaniriza n’essanyu.
OLUYIMBA 103 Abasumba Birabo
a Yakuwa ayagala abo abatakyabuulira era abatakyakuŋŋaana na bantu be badde gy’ali. Tulina bingi bye tusobola okukola okuyamba abantu abo abaagala okudda eri Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tusobola okubayamba okudda eri Yakuwa.
b Amannya agamu gakyusiddwa.
c Abamu ku abo ababa batakyaweereza Yakuwa bayinza okuyambibwa nga bayigirizibwa ebitundu ebimu mu katabo Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, ate abalala baganyuddwa mu kusoma essuula ezimu mu katabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa. Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina ke kasalawo ani asaanidde okusoma n’omuntu ng’oyo.
d EBIFAANANYI: Ab’oluganda basatu ab’enjawulo nga bayamba ow’oluganda ayagala okudda eri Yakuwa. Ekyo bakikola nga bawuliziganya naye, nga bamukakasa nti Yakuwa akyamwagala, era nga bamuwuliriza bulungi.