Okusiga Ensigo z’Amazima g’Obwakabaka
“Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo.”—OMUBUULIZI 11:6.
1. Abakristaayo basiga ensigo mu ngeri ki leero?
OBULIMI bwalina ekifo kikulu nnyo mu Bebbulaniya ab’edda. Eyo ye nsonga lwaki Yesu, eyamala obulamu bwe bwonna obw’obuntu mu Nsi Ensuubize, yayogera ku bulimu mu byokulabirako bye. Ng’ekyokulabirako, yageraageranya okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ku kusiga ensigo. (Matayo 13:1-9, 18-23; Lukka 8:5-15) N’okutuuka leero, ka kibe nti tubeera mu kitundu ekikolerwamu eby’obulimu oba nedda, okusiga ensigo ez’eby’omwoyo mu ngeri eno gwe mulimu ogusingayo obukulu Abakristaayo gwe bakola.
2. Omulimu gwaffe ogw’okubuulira mukulu kwenkana wa, era bintu ki ebimu ebikolebwa leero okugutuukiriza?
2 Nkizo ya maanyi nnyo okwenyigira mu kusiga amazima ga Baibuli mu kiseera kino eky’enkomerero. Abaruumi 10:14, 15 zooleka bulungi obukulu bw’omulimu guno: “Baliwulira batya awatali abuulira? Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti Ebigere byabwe nga birungi nnyo ababuulira enjiri ey’ebirungi!” Tekibangako ekikulu bwe kiti okubeera n’endowooza entuufu mu kutuukiriza omulimu guno ogwatuweebwa Katonda. N’olw’ensonga eyo, Abajulirwa ba Yakuwa benyigidde mu mulimu gw’okufulumya n’okubunyisa Baibuli n’ebitabo ebiyamba okutegeera Baibuli mu nnimi 340. Okuteekateeka ebitabo bino kyetaagisa bannakyewa abasukka mu 18,000 ku kitebe kyabwe ekikulu ne ku ofiisi z’amatabi mu mawanga agatali gamu. Era Abajulirwa ng’obukadde mukaaga benyigidde mu kubunyisa ebitabo bino ebyogera ku Baibuli okwetooloola ensi yonna.
3. Kiki ekituukirizibwa okuyitira mu kusiga amazima g’Obwakabaka?
3 Bibala ki ebivudde mu mulimu guno ogw’amaanyi? Nga bwe kyali mu biseera ebyo ng’Obukristaayo bwakatandika, bangi leero bakkiriza amazima. (Ebikolwa 2:41, 46, 47) Naye, ekisingira ewala obukulu omuwendo omunene ogw’ababuulizi b’Obwakabaka abappya abaakabatizibwa kiri nti obujulirwa buno obukulu ennyo buleetera erinnya lya Yakuwa okutukuzibwa era n’okumugulumiza nga Katonda yekka ow’amazima. (Matayo 6:9) Ate era, okumanya okuli mu Kigambo kya Katonda kulongoosa obulamu bw’abantu bangi era kuyinza okubakulembera okutuuka ku bulokozi.—Ebikolwa 13:47.
4. Abatume baafaayo kwenkana wa ku bantu be baabuuliranga?
4 Abatume baali bamanyi bulungi obukulu bw’amawulire amalungi agawa obulamu, era baalumirirwanga nnyo abo be baabuuliranga. Kino kitegeerekeka bulungi mu bigambo by’omutume Pawulo, bwe yawandiika nti: “Bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo, ne tusiima okubagabira, si njiri ya Katonda yokka, era naye n’emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo.” (1 Abasessaloniika 2:8) Mu kufaayo ku bantu mu bwesimbu mu ngeri eyo, Pawulo n’abatume abalala baali bakoppa Yesu ne bamalayika ab’omu ggulu, abenyigidde ennyo mu mulimu guno ogw’okuwonya obulamu. Ka twekkaanye emirimu emikulu abaweereza ba Katonda bano ab’omu ggulu gye balina mu kusiga ensigo z’amazima g’Obwakabaka, era ka tulabe engeri ekyokulabirako kyabwe gye kitukubiriza okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe.
Yesu—Omusizi w’Amazima g’Obwakabaka
5. Mulimu ki Yesu gwe yeemalirako bwe yali ku nsi?
5 Yesu, ng’omusajja atuukiridde, yalina obuyinza okukolera abantu ab’omu kiseera kye ebintu ebirungi bingi. Ng’ekyokulabirako, yandisobodde okumalirawo ddala endowooza enkyamu ezikwata ku bujjanjabi ezaaliwo mu kiseera kye, oba yandisobodde okutumbula okutegeera kw’abantu mu bya sayansi ebirala. Kyokka, yakyoleka bulungi okuva ku ntandikwa y’obuweereza bwe nti omulimu gwe gwali kubuulira mawulire malungi. (Lukka 4:17-21) Ng’anaatera okukomekkereza obuweereza bwe, yannyonnyola: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima.” (Yokaana 18:37) N’olwekyo, yeemalira ku kusiga ensigo z’amazima g’Obwakabaka. Okuyigiriza abaaliwo mu kiseera kye ebikwata ku Katonda n’ebigendererwa Bye kye kyali kisinga obukulu okuyigiriza kwonna okulala Yesu kwe yandibawadde.—Abaruumi 11:33-36.
6, 7. (a) Kweyama ki okukulu ennyo Yesu kwe yakola nga tannagenda mu ggulu, era akutuukiriza atya? (b) Endowooza Yesu gye yalina ku mulimu gw’okubuulira ekukolako ki?
6 Yesu yeeyogerako ng’Omusizi w’amazima g’Obwakabaka. (Yokaana 4:35-38) Yasaasaanya ensigo z’amawulire amalungi buli lwe yafunanga akakisa. Ne bwe yali ng’afiira ku muti, yalangirira amawulire amalungi agakwata ku lusuku lwa Katonda olulibeera ku nsi mu biseera eby’omu maaso. (Lukka 23:43) Ate era, okufaayo okw’amaanyi kwe yalina ku bikwata ku kubuulira amawulire amalungi tekwakoma bwe yafiira ku muti ogw’okubonnyabonnya. Nga tannagenda mu ggulu, yalagira abatume okweyongera okusiga ensigo z’amazima g’Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa. Awo Yesu n’awa ekisuubizo eky’ekitalo. Yagamba: “Laba!, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.”—Matayo 28:19, 20.
7 N’ebigambo bino Yesu yeeyama okuwagira, okuwa obulagirizi, era n’okukuuma omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi “ennaku zonna okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” N’okutuukira ddala mu kiseera kyaffe, Yesu akyafaayo nnyo ku mulimu gw’okubuulira. Ye Mukulembeze waffe, akulira omulimu gw’okusiga amazima g’Obwakabaka. (Matayo 23:10) Ng’Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, avunaanyizibwa mu maaso ga Yakuwa ku bikwata ku mulimu guno ogw’ensi yonna.—Abaefeso 1:22, 23; Abakkolosaayi 1:18.
Bamalayika Balangirira Amawulire ag’Essanyu
8, 9. (a) Bamalayika balaze batya nti bafaayo ddala ku nsonga z’abantu? (b) Kiyinza kugambibwa kitya nti ffe tuli ekyerolerwa eri bamalayika?
8 Yakuwa bwe yatonda ensi, bamalayika ‘bayimbira wamu ne boogerera waggulu olw’essanyu.’ (Yobu 38:4-7) Okuva olwo, ebitonde bino eby’omu ggulu biraze nti bifaayo nnyo ku nsonga z’abantu. Yakuwa abakozesezza okutuusa ekigambo kye ku bantu. (Zabbuli 103:20) Kino bwe kiri naddala ku bikwata ku kubunyisa amawulire amalungi mu kiseera kyaffe. Mu kubikkulirwa okwamuweebwa, omutume Yokaana yalaba “malayika ng’abuuka mu bbanga ery’omu ggulu” ng’alina “amawulire amalungi ag’emirembe n’emirembe ag’okubuulira ng’amawulire ag’essanyu eri abo abatuula ku nsi na buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu, ng’ayogera n’eddoboozi ddene: ‘Mutye Katonda era mumuwe ekitiibwa, kubanga ekiseera ky’omusango gwe kituuse.’”—Okubikkulirwa14:6, 7, NW.
9 Baibuli eyogera ku bamalayika nga “emyoyo egiweereza, nga gitumibwa okuweereza olw’abo abagenda okusikira obulokozi.” (Abaebbulaniya 1:14) Nga bamalayika banyiikira okutuukiriza emirimu gyabwe egyabaweebwa, balina omukisa gw’okutwetegereza awamu n’omulimu gwaffe. Nga tulinga abali ku siteegi y’emizannyo erabibwa bonna, tukola omulimu gwaffe mu maaso g’abo abali mu ggulu. (1 Abakkolinso 4:9) Nga kizzaamu nnyo amaanyi era nga kisanyusa nnyo okumanya nti tetukola ffekka ng’abasizi b’amazima g’Obwakabaka!
Tutuukiriza Omulimu Gwaffe n’Omwoyo Ogwagala
10. Amagezi amalungi agali mu Omubuulizi 11:6 gayinza gatya okukozesebwa mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira?
10 Lwaki Yesu ne bamalayika baagala nnyo okumanya ebikwata ku mulimu gwaffe? Yesu yawa ensonga emu bwe yagamba: “Mbagamba nti, liba ssanyu mu maaso ga bamalayika ba Katonda olw’oyo alina ebibi omu eyeenenya.” (Lukka 15:10) Naffe tufaayo ddala ku bantu mu ngeri y’emu. N’olwekyo, tukola kyonna kye tusobola okubunyisa ensigo z’amazima g’Obwakabaka buli wamu. Ebigambo ebiri mu Omubuulizi 11:6 biyinza okukozesebwa ku mulimu gwaffe. Mu lunyiriri olwo Baibuli etubuulirira bw’eti: “Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.” Kyo kituufu, ku buli muntu akkiriza obubaka bwaffe wayinza okubaawo bikumi na bikumi oba nkumi na nkumi ababugaana. Naye, okufaananako bamalayika, tusanyuka wadde nga “omwonoonyi omu” akkiriza obubaka bw’obulokozi.
11. Ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli bya muganyulo kwenkana wa?
11 Bingi ebitwalirwamu mu kubuulira amawulire amalungi. Ekintu ekimu ekiyamba ennyo mu mulimu guno bye bitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebikozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa. Mu ngeri ezimu, ebitabo bino nabyo biringa ensigo ezisaasanyizibwa wonna wonna. Tetumanyi wa we binaafunira omukisa. Emirundi egimu ekitabo kiyinza okuweebwa omuntu omu naye n’akiwa omulala nga tewannabaawo akisoma. Yesu ne bamalayika bayinza okubaako kye bakola mu mbeera ezimu okusobozesa kino okubaawo kiganyule ab’emitima emyesigwa. Lowooza ku byokulabirako ebimu ebiraga engeri Yakuwa gy’ayinza okusobozesa ebintu ebirungi ebitasuubirwa okubaawo okuyitira mu bitabo ebyalekerwa abantu.
Omulimu gwa Katonda ow’Amazima
12. Kamagazini akakadde kaayamba katya amaka agamu okumanya Yakuwa?
12 Mu 1953, Robert, Lila, n’abaana baabwe baava mu kibuga ekinene ne bagenda mu nnyumba enkadde ennyo eyali eyonoonese eyali ku faamu mu kyalo ky’e Pennsylvania, U.S.A. Amangu ddala nga baakagiyingira, Robert yasalawo okukola ekinaabiro wansi w’amadaala agaali gagenda waggulu mu nnyumba. Oluvannyuma lw’okuggyawo embaawo eziwerako, yakizuula nti emabega w’ekisenge, emmese zaali zituumye empapula enjulifuyulifu, ebisusunku n’ebisaaniko ebirala. Mu ebyo byonna, mwalimu kamagazini akayitibwa The Golden Age. Robert yasanyukira nnyo akatundu akaali kakwata ku kukuza abaana. Yasanyukira nnyo obulagirizi obwesigamiziddwa ku Baibuli obutegeerekeka obulungi obwali mu kamagazini n’atuuka n’okugamba Lila nti baali bagenda kwegatta ku “ddiini ya The Golden Age.” Nga wayiseewo wiiki ntono, Abajulirwa ba Yakuwa bajja ewaabwe, naye Robert yabagamba nti amaka ge gaali gaagala bikwata ku “ddiini ya The Golden Age.” Abajulirwa bamunnyonnyola nti Golden Age kati kaalina erinnya eppya, Awake! Robert ne Lila baatandika okusoma Baibuli n’Abajulirwa obutayosa, era oluvannyuma ne babatizibwa. Nabo, baasiga ensigo ez’amazima mu baana baabwe era ne bakungula mu bungi. Leero, abantu abasukka mu 20 okuva mu maka gano, nga mw’otwalidde n’abaana omusanvu aba Robert ne Lila, baweereza ba Yakuwa Katonda ababatize.
13. Kiki ekyaleetera omugogo gw’abafumbo mu Puerto Rico okwagala okuyiga Baibuli?
13 Emyaka nga 40 egiyise, William ne Ada, omugogo gw’abafumbo okuva mu Puerto Rico, baali tebaagala kusoma Baibuli. Buli Abajulirwa ba Yakuwa lwe baakonkonanga ku luggi lwabwe, abafumbo bano beefuulanga ng’abataali waka. Lumu William yagenda gye batundira ebintu ebikadde okugulayo ekintu ekyali kyetaagisa okuddaabiriza amaka gaabwe. Bwe yali avaayo, n’alaba akatabo aka langi eya kiragala ne kyenvu nga kali mu kipipa ekinene ekisuulibwamu ebisasiro. Kaali akatabo akayitibwa Religion, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa emabega mu 1940. William yatwala akatabo ako eka era yasanyuka nnyo okusoma ku njawulo eriwo wakati w’eddiini ey’obulimba n’ey’amazima. Omulundi omulala ng’Abajulirwa ba Yakuwa bamukyalidde, William ne Ada baawuliriza obubaka bwabwe n’essanyu era ne batandika okuyiga nabo Baibuli. Oluvannyuma lw’emyezi baabatizibwa mu 1958 mu Lukuŋŋaana Olunene olw’Ensi Yonna olwa Katonda by’Ayagala. Okuva olwo, bayambye abantu abasukka mu 50 okufuuka ekitundu ky’oluganda lwaffe olw’Ekikristaayo.
14. Nga bwe kiragibwa mu kyokulabirako, ebitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Baibuli biyinza bitya okuba eby’omuganyulo?
14 Karl yalina emyaka 11 egy’obukulu era nga mulalulalu. Kyamulabikira nti buli kiseera yagwanga mu mitawaana. Kitaawe, eyali omubuulizi Omumesodokisi Omugirimaani, yali amuyigirizza nti abantu ababi bookebwa mu hell oluvannyuma lw’okufa. N’olwekyo, Karl yali atya nnyo hell. Lumu mu 1917, Karl yalaba mu luguudo akapapula akaliko ebiwandiiko era n’akalonda. Bwe yali akasoma, amaaso ge gaagwa ku kibuuzo: “Hell kye ki?” Akapapula ako kaali kayita abantu okubeerawo ku mboozi ya bonna ekwata ku hell eyali etegekeddwa Abayizi ba Baibuli, abamanyiddwa leero nga Abajulirwa ba Yakuwa. Nga wayiseewo omwaka nga gumu, oluvannyuma lw’okusoma Baibuli emirundi egiwerako, Karl yabatizibwa era n’afuuka omu ku Bayizi ba Baibuli. Mu 1925 yayitibwa okukolera ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa—gy’akyaweerereza n’okutuuka leero. Omulimu gw’Ekikristaayo gw’akoledde emyaka egisukka mu kinaana gwatandika ng’asoma akapapula ke yalonda mu luguudo.
15. Kiki Yakuwa ky’ayinza okukola ng’alabye nga kyetaagisa?
15 Kyo kituufu, tekiri mu busobozi bw’omuntu okumanyira ddala ekifo bamalayika kye baalina mu byokulabirako bino. Wadde kiri kityo, tetulina kubuusabuusa nti Yesu ne bamalayika balina kinene kye bakola mu mulimu gw’okubuulira era nti Yakuwa ayinza okwenyigira mu nsonga bw’alaba nga kyetaagisa. Ebyokulabirako bino n’ebirala bingi ebibifaananako biraga ebirungi ebiyinza okubaawo oluvannyuma lw’okugaba ebitabo byaffe.
Tutereseddwa eky’Obugagga
16. Kiki kye tuyinza okuyiga okuva mu bigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 4:7?
16 Omutume Pawulo yayogera ku “bugagga mu bibya eby’ebbumba.” Obugagga obwo gwe mulimu ogwatukwasibwa Katonda ogw’okubuulira, ate ebibya eby’ebbumba be bantu Yakuwa b’ateresezza obugagga buno. Okuva abantu abo bwe batatuukiridde ate nga baliko we bakoma, Pawulo ayongera n’agamba nti ekiva mu kuweebwa omulimu ng’ogwo kiri nti “amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe.” (2 Abakkolinso 4:7) Yee, tuyinza okwesiga Yakuwa okutuwa amaanyi aganaatusobozesa okutuukiriza omulimu oguliwo.
17. Kiki kye tunaasanga nga tusiga ensigo z’amazima g’Obwakabaka, era lwaki tulina okubeera n’endowooza entuufu?
17 Emirundi mingi tuba tulina okwerekereza. Kiyinza okubeera ekizibu oba obutatwanguyira kukola mu bitundu ebimu. Mu bifo ebimu abantu abasinga obungi tebeefiirayo era bakambwe. Tuyinza obutafuna bibala mu bifo ng’ebyo wadde nga tufubye nnyo. Naye okufuba ng’okwo tekuba kwa bwereere kubanga bangi boolekedde akabi. Jjukira nti, ensigo z’osiga ziyinza okuleetera abantu essanyu kaakano n’obulamu obutaggwaawo gye bujja. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 126:6 bituukiridde enfunda n’enfunda: “Newakubadde nga yagenda ng’akaaba ng’atwala ensigo; alidda nate n’essanyu, ng’aleeta ebinywa bye.”
18. Tuyinza tutya okussaayo omwoyo buli kiseera ku buweereza bwaffe, era lwaki twandikoze tutyo?
18 Ka tukozese buli mukisa gwonna ogubaawo okusiga ensigo ez’amazima g’Obwakabaka. Tuleme kwerabira nti, wadde ffe tusiga era ne tufukirira ensigo, Yakuwa y’azikuza. (1 Abakkolinso 3:6, 7) Kyokka, nga Yesu ne bamalayika bwe batuukiriza omulimu gwabwe, Yakuwa atusuubira okutuukiriza obuweereza bwaffe mu bujjuvu. (2 Timoseewo 4:5) Ka tussengayo omwoyo buli kiseera ku kuyigiriza kwaffe, endowooza yaffe, era n’obunyiikivu bwaffe mu buweereza. Lwaki? Pawulo addamu: “Bw’okola bw’otyo olyerokola wekka era n’abo abakuwuliriza.”—1 Timoseewo 4:16.
Kiki Kye Tuyize?
• Omulimu gwaffe ogw’okusiga guvaamu gutya ebibala ebirungi?
• Yesu Kristo ne bamalayika benyigidde batya mu mulimu gw’oku buulira?
• Lwaki twandyenyigidde mu kusiga ensigo z’amazima g’Obwakabaka?
• Bwe twolekagana n’obuteefiirayo oba obukambwe mu buweereza bwaffe, kiki ekyanditukubirizza okugumiikiriza?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Okufaananako abalimi mu Isiraeri ey’edda, Abakristaayo leero babunyisa ensigo ez’amazima g’Obwakabaka
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Abajulirwa ba Yakuwa bafulumya era babunyisa ebitabo ebitali bimu ebyesiga- miziddwa ku Baibuli mu nnimi 340