ESSUULA 100
Olugero Olukwata ku Mina Ekkumi
OLUGERO LWA YESU OLUKWATA KU MINA EKKUMI
Wadde nga Yesu agenda Yerusaalemi, ye n’abayigirizwa be bayinza okuba nga bakyali mu maka ga Zaakayo. Abayigirizwa be balowooza nti “Obwakabaka bwa Katonda” bunaatera okuteekebwawo Yesu atandike okufuga nga Kabaka. (Lukka 19:11) Tebannategeera bulungi nsonga eyo nga bwe bakyalemereddwa okutegeera nti Yesu alina okufa. N’olwekyo, Yesu abagerera olugero okubayamba okutegeera nti Obwakabaka bukyali wala.
Agamba nti: “Waaliwo omusajja ow’omu lulyo olulangira eyagenda mu nsi ey’ewala okulya obwakabaka era oluvannyuma akomewo.” (Lukka 19:12) Olugendo ng’olwo lutwala ekiseera kiwanvu. Yesu ye ‘musajja ow’omu lulyo olulangira’ agenda mu “nsi ey’ewala,” mu ggulu, Kitaawe gy’ajja okumuweera obuyinza obw’okufuga nga Kabaka.
Mu lugero, ‘ng’omusajja ow’omu lulyo olulangira’ tannagenda, ayita abaddu kkumi buli omu n’amuwa mina emu eya ffeeza era n’abagamba nti: “Muzikozese okusuubula okutuusa lwe ndikomawo.” (Lukka 19:13) Mina eza ffeeza ssente za muwendo mungi. Mina emu yenkanankana omusaala gwa myezi egisukka mu esatu omupakasi ow’omu nnimiro gw’afuna.
Abayigirizwa bayinza okukitegeera nti balinga abaddu ekkumi aboogerwako mu lugero olwo, kubanga emabegako Yesu yabageraageranya ku bakunguzi. (Matayo 9:35-38) Naye bo si bakunguzi ba birime, wabula bakungula mu ngeri nti bayamba abantu abalala okufuuka abayigirizwa nabo basobole okufuna ekifo mu Bwakabaka bwa Katonda. Abayigirizwa bakozesa ebintu byabwe mu kuyamba abalala okufuuka abasika b’Obwakabaka.
Bintu ki ebirala Yesu by’ayogerako mu lugero olwo? Yesu agamba nti omusajja ow’omu lulyo olulangira abatuuze baali “tebamwagala, era oluvannyuma lw’okugenda, baatuma ababaka gye yali agenze bagambe nti, ‘Tetwagala musajja oyo kufuuka kabaka waffe.’” (Lukka 19:14) Abayigirizwa bakimanyi nti Abayudaaya tebakkiririza mu Yesu, era nti abamu baagala kumutta. Oluvannyuma lwa Yesu okufa n’okuddayo mu ggulu, Abayudaaya okutwalira awamu bakiraga nti tebamwagala nga bayigganya abayigirizwa be. Bakyoleka kaati nti tebaagala Yesu afuuke Kabaka waabwe.—Yokaana 19:15, 16; Ebikolwa 4:13-18; 5:40.
Abaddu ekkumi bo bakozesa batya mina zaabwe okutuusa “omusajja ow’omu lulyo olulangira” lw’afuna obuyinza obw’okufuga nga kabaka era n’akomawo? Yesu agamba nti: “Bwe yakomawo ng’amaze okulya obwakabaka, yayita abaddu be yali awadde ssente eza ffeeza, asobole okumanya amagoba ge baali bafunye mu kusuubula. Ow’olubereberye n’ajja n’amugamba nti, ‘Mukama wange, mina yo yavaamu mina kkumi.’ N’amugamba nti, ‘Weebale nnyo, omuddu omulungi! Olw’okuba mu kintu ekitono ennyo olaze nti oli mwesigwa, nkuwadde obuyinza ku bibuga kkumi.’ Ow’okubiri n’ajja n’agamba nti, ‘Mukama wange, mina yo yavaamu mina ttaano.’ Ono naye n’amugamba nti, ‘Naawe beera n’obuyinza ku bibuga bitaano.’”—Lukka 19:15-19.
Singa abayigirizwa bamanya nti be boogerwako ng’abaddu era ne bakozesa ebintu byabwe okufuula abalala abayigirizwa, basobola okuba abakakafu nti ekyo kijja kusanyusa nnyo Yesu era nti ajja kubawa empeera. Kyo kituufu nti abayigirizwa ba Yesu bonna tebali mu mbeera y’emu era tebalina busobozi bwe bumu. Naye Yesu, eyafuna obuyinza obw’okufuga nga Kabaka, ajja kubawa emikisa olw’okufuba okufuula abantu abayigirizwa.—Matayo 28:19, 20.
Naye weetegereze Yesu ky’agamba ng’afundikira olugero olwo: “[Omuddu] omulala n’ajja n’agamba nti, ‘Mukama wange, mina yo yiino gye nnatereka mu lugoye. Omanyi, nnali nkutya kubanga oli mukambwe; otwala by’otaatereka era okungula by’otaasiga.’ N’amugamba nti, ‘Ggwe omuddu omubi, nkusalira omusango okusinziira ku ebyo by’oyogedde. Wali okimanyi nti ndi mukambwe, nti ntwala kye saatereka era nti nkungula kye saasiga; kati olwo lwaki ssente zange eza ffeeza tewaziwa basuubuzi? Bwe nnandikomyewo nnandizifunye nga ziriko amagoba.’ Awo n’agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina mugiwe oyo alina mina ekkumi.’”—Lukka 19:20-24.
Olw’okuba yalemererwa okukola asobole okwongera ku by’obugagga by’obwakabaka bwa mukama we, omuddu oyo yafiirwa ne kye yalina. Abatume beesunga ekiseera Yesu lw’anaatandika okufuga mu Bwakabaka bwa Katonda. N’olwekyo, ebyo by’ayogera ku muddu oyo kirabika bibayamba okumanya nti bwe bataba banyiikivu tebajja kufuna kifo mu Bwakabaka obwo.
Yesu akubiriza abayigirizwa be abeesigwa okuba abanyiikivu. Afundikira bw’ati: “Mbagamba nti, buli alina alyongerwako; naye oyo atalina, ne ky’alina kirimuggibwako.” Agattako nti abalabe be abatayagala ‘abeere kabaka waabwe’ bajja kuzikirizibwa. Yesu bw’amaliriza, yeeyongerayo ku lugendo lwe n’agenda e Yerusaalemi.—Lukka 19:26-28.