ESSUULA 118
Bakaayana ku Ani ku Bo Asinga Obukulu
MATAYO 26:31-35 MAKKO 14:27-31 LUKKA 22:24-38 YOKAANA 13:31-38
YESU ABAWABULA KU KY’OKWAGALA OBUKULU
PEETERO AJJA KWEGAANA YESU
OKWAGALA KWAWULAWO ABAGOBEREZI BA YESU
Mu kiro ky’asembyeyo okuba n’abatume be, Yesu abayigirizza ebikwata ku kuba abeetoowaze ng’abanaaza ebigere. Lwaki abayigiriza ku nsonga eyo? Olw’okuba waliwo obunafu bwe boolese. Abatume baagala nnyo Katonda, naye bakyalowooza nnyo ku nsonga ekwata ku ani ku bo asinga obukulu. (Makko 9:33, 34; 10:35-37) Obunafu obwo buddamu okweyoleka mu kiro kino.
Abatume batandika ‘okukaayana ku ani ku bo atwalibwa okuba nga y’asinga banne obukulu.’ (Lukka 22:24) Nga kiteekwa okuba nga kinakuwaza nnyo Yesu okulaba ng’abatume be bazzeemu okukaayana ku nsonga eyo! Kiki ky’akola?
Mu kifo ky’okukambuwalira abatume be olw’endowooza gye balina n’engeri gye beeyisizzaamu, Yesu ayogera nabo mu ngeri ey’ekisa. Abagamba nti: “Bakabaka b’amawanga babakajjalako, n’abo abalina obuyinza ku mawanga bayitibwa Bayambi. Kyokka tekirina kuba bwe kityo mu mmwe. . . . Ani asinga obukulu, oyo aba atudde ku mmeeza oba oyo aweereza?” Oluvannyuma abajjukiza ekyokulabirako ky’azze ng’abateerawo, ng’agamba nti: “Naye nze ndi wakati mu mmwe ng’omuweereza.”—Lukka 22:25-27.
Wadde ng’abatume bakola ensobi, banyweredde ku Yesu mu mbeera nnyingi enzibu. Bw’atyo abagamba nti: “Nkola nammwe endagaano, nga Kitange bwe yakola nange endagaano ey’obwakabaka.” (Lukka 22:29) Abasajja bano bagoberezi ba Yesu abeesigwa. Yesu abakakasa nti okuyitira mu ndagaano gy’akoze nabo, bajja kuba mu Bwakabaka era bajja kufugira wamu naye.
Wadde ng’abatume balina essuubi eryo ery’ekitalo, bakyali bantu abatatuukiridde. Yesu abagamba nti: “Sitaani asabye okubakuŋŋunta mmwenna ng’eŋŋaano” esaasaana nga bagikuŋŋunta. (Lukka 22:31) Ate era abagamba nti: “Mmwenna mujja kwesittala olw’ekyo ekigenda okuntuukako ekiro kino, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Ndikuba omusumba, endiga ez’omu kisibo ne zisaasaana.’”—Matayo 26:31; Zekkaliya 13:7.
Nga yeekakasa, Peetero agamba nti: “Wadde abalala bonna baneesittala olw’ekyo ekigenda okukutuukako, nze sijja kwesittala!” (Matayo 26:33) Yesu agamba Peetero nti enkoko bw’eneeba tennakookolima emirundi ebiri ekiro ekyo, Peetero ajja kumwegaana. Kyokka Yesu agattako nti: “Naye nkusabidde okukkiriza kwo kuleme okuggwaawo; era bw’olimala okukomawo, onywezanga baganda bo.” (Lukka 22:32) Wadde kiri kityo, Peetero yeeyongera okugamba nti: “Ne bwe kinaaba nga kitegeeza kufiira wamu naawe, sijja kukwegaana.” (Matayo 26:35) N’abatume abalala nabo boogera ekintu kye kimu.
Yesu agamba abayigirizwa be nti: “Nkyali nammwe akaseera katono. Mujja kunnoonya; naye nga bwe nnagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda temuyinza kujjayo,’ nammwe ekyo kye mbagamba kati. Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala mmwe, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange—bwe munaayagalananga.”—Yokaana 13:33-35.
Peetero bw’awulira Yesu ng’agamba nti ali nabo akaseera katono, abuuza Yesu nti: “Mukama waffe, ogenda wa?” Yesu amuddamu nti: “Gye ŋŋenda toyinza kungoberera kaakati naye ojja kungoberera oluvannyuma.” Ng’asobeddwa, Peetero agamba Yesu nti: “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakati? Nja kuwaayo obulamu bwange ku lulwo.”—Yokaana 13:36, 37.
Oluvannyuma, Yesu ayogera ku kiseera we yasindikira abatume okugenda okubuulira mu bitundu by’e Ggaliraaya nga tebalina nsawo eteekebwamu ssente n’ensawo omuba eby’okulya. (Matayo 10:5, 9, 10) Ababuuza nti: “Waliwo kye mwajula?” Bamuddamu nti: “Nedda!” Naye baneetegekera batya ennaku ezigenda okuddirira? Yesu abagamba nti: “Oyo alina ensawo eteekebwamu ssente agitwale, n’oyo alina ensawo omuba eby’okulya agitwale; era n’oyo atalina kitala atunde ekyambalo kye eky’okungulu akigule. Kubanga mbagamba nti, ekyawandiikibwa ekigamba nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ kirina okutuukirira ku nze. Kubanga bino ebyampandiikibwako kati bituukirira.”—Lukka 22:35-37.
Yesu ayogera ku kiseera lw’anaakomererwa ku muti awamu n’aboonoonyi, oba abamenyi b’amateeka. Oluvannyuma lw’ekyo okubaawo, abagoberezi be bajja kuyigganyizibwa nnyo. Abatume bawulira nti beetegese era bagamba nti: “Mukama waffe, laba! waliwo ebitala bibiri.” Yesu abagamba nti: “Bimala.” (Lukka 22:38) Olw’okuba balina ebitala bibiri, ekyo kijja kuwa Yesu akakisa okubayigiriza ekintu ekirala ekikulu ennyo.