Abakristaayo Bwe Bakuŋŋuntibwa ng’Eŋŋaano
NGA Yesu anaatera okufa yalabula abayigirizwa be nti: “Laba, Setaani asabye okubakuŋŋunta ng’eŋŋaano.” (Luk. 22:31, NW) Yesu yali ategeeza ki?
Mu biseera bya Yesu, okukungula eŋŋaano kwali kwetaagisa okufuba ennyo era nga kutwala ebiseera bingi. Okusooka, abakunguzi baakuŋŋaanyanga eŋŋaano okuva mu nnimiro. Ebirimba by’eŋŋaano baabikubanga ku kintu ekikaluba oba baakozesanga ensolo okubiyisaako ejjinja erizitowa. Kino kyasobozesanga empeke okuva ku birimba ne mu bisusunku. Oluvannyuma baayoolanga eŋŋaano eyo ne bagikasuka mu bbanga. Empeke zaagwanga ku ttaka ate byo ebisusunku ne bifuuyibwa empewo. Ekyo bwe kyaggwanga, ng’empeke bazikuŋŋuntamu obucaafu bwonna.
Nga Yesu bwe yayogera, Setaani yalumbanga abayigirizwa ba Yesu mu biseera ebyo, nga bw’atulumba leero. (Bef. 6:11) Kyo kituufu nti si buli kizibu kye tufuna mu bulamu Setaani y’aba akireese butereevu. (Mub. 9:11) Wadde kiri kityo, Setaani akola kyonna ky’asobola okumenya obugolokofu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, ayinza okutukema okwemalira ku kunoonya ebintu, okwenyigira mu kwesanyusaamu okutasaana, oba okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ayinza n’okukozesa be tubeera nabo ku ssomero oba ku mulimu, ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza okutupikiriza okuluubirira obuyigirize obwa waggulu oba emirimu eginaatusobozesa ofuna ssente ennyingi. Ng’oggyeko ekyo, Setaani ayinza okukozesa okuyigganyizibwa okugezaako okumenya obugolokofu bwaffe eri Katonda. Kya lwatu waliwo engeri endala nnyingi Setaani zaakozesa okukuŋŋunta mu ngeri ey’akabonero.
Tusobola tutya okuziyiza omulabe ono ow’amaanyi? Tetusobola kukikola mu maanyi gaffe. Setaani wa maanyi okutusinga; kyokka tukimanyi nti Yakuwa asingira wala nnyo Setaani amaanyi. Singa twesiga Yakuwa, ne tumusaba okutuwa amagezi n’obuvumu tusobole okugumiikiriza, era ne tugoberera obulagirizi bw’atuwa, ajja kutuwa amaanyi tusobole okuziyiza Setaani.—Zab. 25:4, 5.
Bwe tuba tugezesebwa, twetaaga okuba n’obusobozi ‘bw’okwawulawo ekirungi n’ekibi,’ mu ngeri eyo tusobole okwewala okugwa mu mitego gya Setaani. (Beb. 5:13, 14) Yakuwa asobola okutuyamba okufuna obusobozi obwo. Tulina okunywerera ku kkubo ettuufu, ne bwe kiba ki. Singa tugoberera obulagirizi bwa Yakuwa, ajja kutuyamba okusigala nga tuli bamalirivu okukola ekituufu.—Bef. 6:10.
Setaani ayinza okugezaako okutukuŋŋunta ng’eŋŋaano. Naye mu maanyi ga Yakuwa, tusobola okumuziyiza, nga tuli banywevu mu kukkiriza. (1 Peet. 5:9) Yee, Ekigambo kya Yakuwa kitukakasa nti: “Mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga.”—Yak. 4:7.