ESSUULA 68
Omwana wa Katonda kye “Kitangaala ky’Ensi”
YESU AYAMBA ABALALA OKUTEGEERA OMWANA
MU NGERI KI ABAYUDAAYA GYE BALI ABADDU?
Ku lunaku olusembayo olw’Embaga ey’Ensiisira, olunaku olw’omusanvu, Yesu ayigiriza mu yeekaalu “mu kifo awali eggwanika.” (Yokaana 8:20; Lukka 21:1) Kirabika ekifo ekyo kisangibwa mu Luggya lw’Abakazi, abantu we baweerayo ssente.
Ekiro, ng’embaga egenda mu maaso, ekitundu kino ekya yeekaalu kiba kirimu ekitangaala eky’amaanyi. Waliwo ebikondo by’ettaala bina ebinene, era nga buli kimu kirina bbenseni nnya ennene ezijjudde amafuta. Ekitangaala ekiva ku ttaala ezo kya maanyi nnyo era kimulisa wonna. Ebyo Yesu by’ayogera biteekwa okuba nga bireetera abamuwuliriza okulowooza ku ttaala ezo. Agamba nti: “Nze kitangaala ky’ensi. Buli angoberera talitambulira mu kizikiza, naye alibeera n’ekitangaala eky’obulamu.”—Yokaana 8:12.
Abafalisaayo, bawakanya ebigambo Yesu by’ayogedde, nnga bagamba nti: “Ggwe weewaako obujulirwa; obujulirwa bwo si bwa mazima.” Yesu abagamba nti: “Wadde nga nze nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange bwa mazima, kubanga mmanyi gye nnava ne gye ŋŋenda. Naye mmwe gye nnava ne gye ŋŋenda temumanyiiyo.” Agattako nti: “Kyawandiikibwa mu Mateeka gammwe nti: ‘Obujulirwa obw’abantu ababiri bwa mazima.’ Nze nneewaako obujulirwa, era ne Kitange eyantuma naye ampaako obujulirwa.”—Yokaana 8:13-18.
Olw’okuba Abafalisaayo tebakkiriza ebyo Yesu by’abagambye, bamubuuza nti: “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu abaddamu butereevu nti: “Temummanyi era ne Kitange temumumanyi. Singa mubadde mummanyi ne Kitange mwandibadde mumumanyi.” (Yokaana 8:19) Wadde ng’Abafalisaayo baagala Yesu akwatibwe, tewali n’omu amukwatako.
Yesu addamu ebigambo bye yayogera. Agamba nti: “Ŋŋenda era mujja kunnoonya, kyokka mujja kufiira mu bibi byammwe. Gye ŋŋenda temusobola kujjayo.” Olw’okuba Abayudaaya tebategedde bigambo bya Yesu ebyo, batandika okugamba nti: “Agenda kwetta? Kubanga agambye nti, ‘Gye ŋŋenda temusobola kujjayo.’” Tebategeera bigambo bya Yesu kubanga tebamanyi gye yava. Yesu abagamba nti: “Mmwe muva wansi; nze nva waggulu. Mmwe muli ba mu nsi muno, nze siri wa mu nsi muno.”—Yokaana 8:21-23.
Yesu akiraga nti yali abeera mu ggulu nga tannajja ku nsi era nti ye Masiya oba Kristo eyasuubizibwa, abakulembeze b’eddiini bano nabo gwe bandibadde basuubira. Wadde kiri kityo, banyiiga ne bamubuuza nti: “Ggwe ani?”—Yokaana 8:25.
Yesu abaddamu nti: “Ye lwaki njogera nammwe?” Essira alissa ku Kitaawe era n’alaga ensonga lwaki Abayudaaya balina okuwuliriza Omwana. Agamba nti: “Oyo eyantuma wa mazima, era ebintu bye nnawulira okuva gy’ali bye njogera mu nsi.”—Yokaana 8:25, 26.
Oluvannyuma Yesu akiraga nti yeesiga Kitaawe, ekintu Abayudaaya kye balemeddwa okukola. Abagamba nti: “Bwe mulimala okuwanika Omwana w’omuntu, awo mulimanya nti ye nze, era nti sirina kintu kyonna kye nkola ku bwange; naye ebintu bino mbyogera nga Kitange bwe yanjigiriza. Oyo eyantuma ali nange; tanjabuliranga, kubanga bulijjo nkola ebintu ebimusanyusa.”—Yokaana 8:28, 29.
Kyokka, waliwo Abayudaaya abamu abakkiririza mu Yesu, era Yesu abagamba nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala, era mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.”—Yokaana 8:31, 32.
Yesu bw’ayogera ku ky’okufuuka ab’eddembe, ekyo Abayudaaya abamu tebakitegeera. Bagamba nti: “Tuli bazzukulu ba Ibulayimu era tetubeerangako baddu ba muntu yenna. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mujja kufuuka ba ddembe’?” Abayudaaya bakimanyi nti ebiseera ebimu babadde bafugibwa amawanga amalala, naye bagaana okuyitibwa abaddu. Kyokka Yesu akiraga nti bakyali baddu. Abagamba nti: “Buli akola ekibi aba muddu wa kibi.”—Yokaana 8:33, 34.
Abayudaaya okugaana okukkiriza nti baddu ba kibi, kya kabi nnyo gye bali. Yesu agamba nti: “Omuddu tabeera mu maka mirembe gyonna; omwana abeeramu emirembe gyonna.” (Yokaana 8:35) Omuddu taba na buyinza bwonna ku bya busika, era basobola okumugoba essaawa yonna. Kyokka, omwana abeerawo “emirembe gyonna,” kwe kugamba, ebbanga lyonna ery’obulamu bwe.
N’olwekyo, amazima agakwata ku Mwana ge gasobozesa abantu okusumululwa okuva mu buddu bw’ekibi emirembe gyonna. Yesu agamba nti: “Singa Omwana abafuula ba ddembe, mujja kubeerera ddala ba ddembe.”—Yokaana 8:36.