“Awatali Lugero Teyabagamba Kigambo”
“Yesu yabigamba ebibiina mu ngero; naye awatali lugero teyabagamba kigambo.”—MATAYO 13:34.
1, 2. (a Lwaki si kyangu kwerabira ebyokulabirako ebirungi? (b) Byakulabirako bya ngeri ki Yesu bye yakozesa, era bibuuzo ki ebijjawo ku ngeri gye yakozesaamu ebyokulabirako? (Laba obugambo obutono wansi.)
OYINZA okujjukira ekyokulabirako kye wawulira, oboolyawo mu kwogera kwa bonna, emyaka mingi egiyiseewo? Si kyangu kwerabira byakulabirako ebirungi. Omuwandiisi omu yagamba nti ebyokulabirako “bireetera omuntu okulaba ebyo by’awulira era bireetera abawulira okukuba ebifaananyi mu birowoozo byabwe ku ebyo bye bawulira.” Olw’okuba tutegeera mangu nga tukubye ebifaananyi mu birowoozo byaffe, n’ebyokulabirako kye biva bitusobozesa okutegeera obulungi ekiba kyogerwako. Ebyokulabirako bisobola okuteeka amakulu mu bigambo, era bwe kityo ne bye tuyiga ne bikakata mu birowoozo byaffe.
2 Tewali musomesa yenna ku nsi eyali abadde n’obukugu bw’okukozesa ebyokulabirako nga Yesu Kristo. Wadde nga kati wayiseewo emyaka nga 2000 bukya azoogera, tukyajjukira bulungi engero za Yesu.a Lwaki yakozesa nnyo engeri eno ey’okuyigiriza? Era lwaki ebyokulabirako bye byali birungi nnyo?
Ensonga Lwaki Yesu Yayigiriza ng’Akozesa Engero
3. (a) Okusinziira ku Matayo 13:34, 35, ensonga emu lwaki Yesu yakozesa engero y’eruwa? (b) Kiki ekiraga nti Yakuwa ateekwa okuba ng’atwala engeri eno ey’okuyigiriza nga ya muwendo?
3 Baibuli ewa ensonga bbiri enkulu lwaki Yesu yakozesanga ebyokulabirako. Okusooka, mu kukozesa ebyokulabirako oba engero, kyali kituukiriza obunnabbi. Omutume Matayo yawandiika: “Ebigambo ebyo byonna Yesu yabigamba ebibiina mu ngero; naye awatali lugero teyabagamba kigambo: kituukirire ekyayogererwa mu nnabbi, ng’agamba nti Ndyasamya akamwa kange mu ngero; ndireeta ebigambo ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.” (Matayo 13:34, 35) “Nnabbi,” Matayo gwe yajuliza y’oyo eyawandiika Zabbuli 78:2. Omuwandiisi oyo owa Zabbuli, Katonda yamuluŋŋamya okuwandiika ebigambo ebyo ng’ekyabulayo ebyasa bingi Yesu azaalibwe. Tekyewuunyisa nnyo nti ng’ekyabulayo ebikumi by’emyaka, Yakuwa yalagula nti Omwana we yandiyigirizza ng’akozesa ebyokulabirako? Mazima ddala Yakuwa ateekwa okuba ng’atwala engeri eno ey’okuyigiriza nga ya muwendo nnyo!
4. Yesu yawa nsonga ki lwaki yakozesa engero?
4 Ensonga eyokubiri, Yesu kennyini yannyonnyola nti yakozesa engero okusobola okwawulamu abo abalina emitima egitakkiriza. Oluvannyuma lw’okutegeeza ‘ekibiina ky’abantu ekinene’ olugero lw’omusizi, abayigirizwa be baamubuuza: “Kiki ekikwogeza nabo mu ngero?” Yesu yabaddamu: “Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby’ekyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaweereddwa. Kyenva njogera nabo mu ngero; kubanga bwe balaba tebalaba, bwe bawulira, tebawulira, so tebategeera. Naye Isaaya bye yalagula bibatuukiriridde, ebyayogera nti Muliwulira buwulizi, naye temulitegeera; muliraba bulabi, naye temulyetegereza: kuba omutima gw’abantu bano gusavuwadde, n’amatu gaabwe gawulira bubi, n’amaaso gaabwe bagazibye; baleme okulaba n’amaaso, n’okuwulira n’amatu, n’okutegeera n’omutima, n’okukyuka, ne mbawonya.”—Matayo 13:2, 10, 11, 13-15; Isaaya 6:9, 10.
5. Engero za Yesu zaayawulawo zitya abantu abawombeefu abaali bamuwuliriza okuva ku abo ab’amalala?
5 Kiki ekyali mu ngero za Yesu ekyayamba okwawulawo abantu? Ebiseera ebimu, abaalinga bamuwuliriza baalinanga okwekenneenya ennyo okusobola okutegeera amakulu agaali mu bigambo bye. Abantu abawombeefu baamusabanga addemu okubannyonnyola bategeere. (Matayo 13:36; Makko 4:34) N’olwekyo, engero za Yesu zaabikkula amazima eri abo abaali bagaagala; era mu kiseera kye kimu ne zikweka amazima okuva ku abo abaalina amalala. Yesu nga yali muyigiriza mulungi nnyo! Kati ka twekenneenye ensonga ezimu ezaafuula engero ze okubeera ennungi ennyo.
Yakozesanga Ensonga Ezo Zokka Ezaali Zeetaagisa
6-8. (a) Nkizo ki abantu abaali bawuliriza Yesu mu kyasa ekyasooka gye bataalina? (b) Byakulabirako ki ebiraga nti Yesu yakozesanga ensonga ezo zokka ezaali zeetaagisa?
6 Wali weebuuzizzaako bwe kyali eri abayigirizwa ab’omu kyasa ekyasooka abaawulira Yesu ng’ayigiriza? Wadde nga baalina enkizo ey’enjawulo ey’okuwulira eddoboozi lya Yesu, mu kiseera ekyo kyali tekisoboka kunoonyereza mu Byawandiikibwa okusobola okujjukira ebintu bye yali ayogedde. Mu kifo ky’ekyo, baalina okukwata bukusu ebigambo bya Yesu. Ng’akozesa engero mu ngeri ey’ekikugu, Yesu yakifuula kyangu gye bali okujjukira bye yali abayigirizza. Mu ngeri ki?
7 Yesu yakozesanga ensonga ezo zokka ezaali zeetaagisa. Ensonga bwe zaabanga zituukagana bulungi n’olugero oba nga zeetaagisa okusobola okuggumiza ky’ayogerako, yazikozesanga. N’olw’ensonga eyo, yayogera omuwendo gwennyini ogw’endiga ezaali zisigaddewo nnyini zo ng’agenze okunoonya eyali ebuze, essaawa mmeka abakozi ze baamala nga bakola mu nnimiro y’emizabbibu, era ne talanta mmeka ezaasigirwa.—Matayo 18:12-14; 20:1-16; 25:14-30.
8 Mu kiseera kye kimu, Yesu teyakozesa nsonga zaali ziteetaagisa ezandibadde zitulemesa okutegeera obulungi amakulu agali mu ngero ze. Ng’ekyokulabirako, mu lugero lw’omuddu ataalina kisa, teyannyonnyola ngeri omuddu oyo gye yeetuumako ebbanja ery’eddinaali 60,000,000. Mu lugero olwo, Yesu yali aggumiza esonga ekwata ku kusonyiwa. Ekintu ekikulu tekyali engeri omuddu oyo gye yagwa mu bbanja eryo, wabula engeri gye yasonyiyibwamu ebbanja eryo era n’engeri gye yayisaamu muddu munne gwe yali abanja obusente obutono. (Matayo 18:23-35) Mu ngeri y’emu, mu lugero lw’omwana omujaajaamya, Yesu teyannyonnyola nsonga lwaki omwana oyo yasalawo okusaba eby’obusika bwe, era n’ensonga lwaki yabujaajaamya. Naye, Yesu yannyonnyola engeri taata w’omwana gye yawuliramu era ne kye yakola ng’omwana we akyusizza omutima gwe n’addayo ewaabwe. Ensonga ng’ezo eziragira ddala ekyo taata w’omwana kye yakola nkulu nnyo kubanga zaali zikwata ku nsonga Yesu gye yali ayogerako nti, Yakuwa “asonyiyira ddala.”—Isaaya 55:7; Lukka 15:11-32.
9, 10. (a) Bwe yali ng’ayogera ku bantu mu ngero ze, kiki Yesu kye yasimbangako essira? (b) Yesu yakifuula atya ekyangu eri abo abaali bamuwuliriza wamu n’abalala okujjukira engero ze?
9 Yesu era yakozesanga okutegeera mu ngeri gye yayogeranga ku bantu mu ngero ze. Mu kifo ky’okuwa kalonda yenna ku ngeri omuntu gye yali afaananamu, essira Yesu yasinganga kulissa ku bintu bye baakola oba ku ngeri gye beeyisaamu nga bawulidde bye yayogera. N’olwekyo, mu kifo ky’okunnyonnyola engeri Omusamaliya omulungi gye yali afaananamu, Yesu yayogera ku kintu ekyali kisingayo obukulu—engeri Omusamaliya oyo gye yayambamu Omuyudaaya eyali akubiddwa n’alekebwa awo ku kkubo. Yesu yayogera ku nsonga ezaali zeetaagisa okusobola okuyigiriza nti okwagala baliraanwa baffe kuzingiramu n’abantu ab’ekika ekirala oba eggwanga.—Lukka 10:29, 33-37.
10 Olw’okuba Yesu yakozesanga ensonga zennyini ezaali zeetaagisa, kyaleetera engero ze okuba nga tezirandagga. Mu kukola bw’atyo, yakifuula kyangu eri abo abaali bamuwuliriza mu kyasa ekyasooka—era n’abalala bangi abandisomye Enjiri ezaaluŋŋamizibwa—okuzijjukira era n’okujjukira n’eby’okuyiga ebirungi ebyalimu.
Yazikwataganyanga n’Ebintu Ebya Bulijjo
11. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti engero Yesu ze yakozesa zaayoleka ebintu bye yalaba ng’ali e Ggaliraaya gye yakulira.
11 Yesu yali mukugu mu kukozesa engero ezaali zikwata ku bulamu bw’abantu. Engero ze nnyingi zaali zikwata ku bintu bye yalaba e Ggaliraaya gye yakulira. Lowoozaako katono ku bikwata ku bulamu bwe ng’akyali muto. Emirundi emeka gye yalaba maama we ng’akozesa ekizimbulukusa ekyali kisigaddewo okusobola okuzimbulukusa omugaati omulala? (Matayo 13:33) Emirundi emeka gye yalaba abavubi nga basuula mu Nnyanja y’e Ggaliraaya ebitimba byabwe? (Matayo 13:47) Emirundi emeka gye yalaba abaana nga bazannyira mu katale? (Matayo 11:16) Kirabika, Yesu yeetegereza ebintu ebirala bye yakozesa mu ngero ze—gamba, ensigo nga zisigibwa, embaga z’obugole ez’essanyu era n’ebirimba by’eŋŋaano nga byengera mu musana.—Matayo 13:3-8; 25:1-12; Makko 4:26-29.
12, 13. Olugero lwa Yesu olw’eŋŋaano ennungi n’ey’omu nsiko, lwalaga lutya nti yali ategeera bulungi embeera eyali mu kitundu?
12 N’olw’ensonga eyo, tekyewuunyisa nti embeera ezikwata ku bulamu obwa bulijjo, zoogerwako nnyo mu ngero za Yesu. N’olwekyo, okusobola okutegeera obulungi obukugu bwe yalina mu kukozesa engeri eno ey’okuyigiriza, kiba kirungi okwetegereza ebigambo kye byali bitegeeza eri Abayudaaya abaali bamuwuliriza. Ka tulabe ebyokulabirako bibiri.
13 Okusooka, mu lugero olw’eŋŋaano ennungi n’eŋŋaano ey’omu nsiko, Yesu yayogera ku musajja eyasiga eŋŋaano ennungi mu nnimiro ye naye “omulabe” n’agenda mu nnimiro eyo n’asigamu eŋŋaano ey’omu nsiko. Lwaki Yesu yasalawo okukozesa ekikolwa ekyo ekibi? Kijjukire nti olugero luno yalwogera ng’ali kumpi n’Ennyanja y’e Ggaliraaya, ate ng’omulimu abantu b’omu Ggaliraaya gwe baali basinga okukola, gwali gwa bulimi. Kiki ekyandibadde eky’akabi ennyo eri omulimi okusinga omulabe okujja mu kyama n’asiga mu nnimiro ye eŋŋaano ey’omu nsiko? Amateeka agaaliwo mu kiseera ekyo galaga nti ebikolwa ng’ebyo byaliwo. N’olwekyo, tekirabika kaati nti Yesu yakozesa embeera abantu abaali bamuwuliriza gye baali basobola okutegeera obulungi?—Matayo 13:1, 2, 24-30.
14. Mu lugero lw’Omusamaliya omulungi, lwaki kyali kituukirawo Yesu okukozesa oluguudo olwali ‘luva e Yerusaalemi okudda e Yeriko’ okusobola okuggyayo ensonga ye?
14 Ensonga eyokubiri, jjukira olugero lw’Omusamaliya omulungi. Yesu yatandika ng’agamba: “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko; n’agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukuba emiggo, ne bagenda ne bamuleka ng’abulako katono okufa.” (Lukka 10:30) Weetegereze nti Yesu yakozesa ‘oluguudo olwali luva e Yerusaalemi okugenda e Yeriko’ okusobola okuggyayo ensonga ye. Bwe yayogera olugero luno, yali mu Buyudaaya, si wala nnyo okuva e Yerusaalemi; n’olwekyo, kirabika abaali bamuwuliriza baali bamanyi bulungi ekkubo eryo. Ekkubo eryo lyali lya kabi nnyo, naddala eri oyo eyali atambula yekka. Lyalimu amakoonakoona mangi, era nga abazigu bangi basobola okulyekwekamu.
15. Lwaki tewali muntu n’omu eyandigambye nti Omuleevi ne kabona mu lugero lwa Yesu olw’Omusamaliya omulungi baali tebanenyezebwa olw’okweyisa mu ngeri eyo?
15 Era waliwo n’ensonga endala enkulu lwaki Yesu yayogera ku luguudo olwali ‘luserengeta okuva e Yerusaalemi okudda e Yeriko.’ Okusinziira ku lugero olwo, kabona n’Omuleevi nabo baali batambulira mu luguudo olwo—wadde nga tewali n’omu ku bo eyayimirira okuyamba omuntu oyo eyali afunye omutawaana. (Lukka 10:31, 32) Bakabona baaweerezanga mu yeekaalu e Yerusaalemi, era nga bayambibwako Abaleevi. Bakabona bangi n’Abaleevi baabeeranga Yeriko mu kiseera nga tebaweereza mu yeekaalu, kubanga Yeriko yali eri mayiro 14 zokka okuva e Yerusaalemi. N’olwekyo, awatali kubuusabuusa kwonna, emirundi mingi baatambuliranga mu luguudo olwo. Era weetegereze nti kabona n’Omuleevi baali batambulira mu luguudo olwo nga ‘bava e Yerusaalemi,’ ekitegeeza nti baali bava mu yeekaalu.b N’olwekyo, tewali muntu n’omu ayinza kugamba nti ‘Abasajja abo tebanenyezebwa olw’okweyisa mu ngeri eyo olw’okuba mbu, baali beewala omusajja oyo eyali alabika ng’afudde, ate ng’okukwata ku mulambo kyandibafudde abatali balongoofu okumala akabanga, ne baba nga tebasobola kuweereza mu yeekaalu.’ (Abaleevi 21:1; Okubala 19:11, 16) Tekyeyoleka kaati nti engero za Yesu zaali zooleka ebintu ebyali bimanyiddwa obulungi abo abaali bamuwuliriza?
Yaziggya ku Bitonde
16. Lwaki tekyewuunyisa nti Yesu yali amanyi bulungi ebitonde?
16 Engero za Yesu nnyingi n’ebyokulabirako biraga nti yali amanyi bulungi ebikwata ku bimera, ebisolo n’embeera y’obudde. (Matayo 6:26, 28-30; 16:2, 3) Okumanya okwo yakufuna atya? Bwe yali e Ggaliraaya ng’akyali muto, awatali kubuusabuusa, yalina emikisa mingi okulaba ebintu Yakuwa bye yatonda. Okugatta ku ekyo, Yesu ye “omubereberye ow’ebitonde byonna” era Yakuwa yamukozesa ‘ng’omukoza’ mu kutonda ebintu byonna. (Abakkolosaayi 1:15, 16; Engero 8:30, 31) Kati olwo kyewuunyisa okulaba nti Yesu yali amanyi bulungi ebitonde? Ka tulabe engeri gye yakozesaamu obulungi okumanya kwe yalina ku bitonde mu kuyigiriza kwe.
17, 18. (a) Ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana essuula 10 biraga bitya nti yali amanyi bulungi engeri endiga gye zeeyisaamu? (b) Abakyaddeko mu nsi Baibuli zeeyogerako balabye nkolagana ki ebaawo wakati w’abasumba n’endiga zaabwe?
17 Olumu ku ngero ennungi ennyo Yesu ze yakozesa, lwelwo oluli mu Yokaana essuula 10, w’ageraageranyiza enkolagana ennungi eri wakati we n’abagoberezi be ku eyo ebaawo wakati w’omusumba n’endiga ze. Ebigambo bya Yesu byoleka nti yali amanyi bulungi nnyo engeri endiga gye zeeyisaamu. Yakiraga nti endiga zikkiriza okukulemberwa, era nti zigoberera omusumba waazo. (Yokaana 10:2-4) Abo abakyaddeko mu bifo Baibuli by’eyogerako, balabye enkolagana ey’enjawulo ebaawo wakati w’omusumba n’endiga ze. Mu kyasa ekya 19, munnasayansi ayitibwa H. B. Tristram yagamba: “Olumu nnalaba omusumba ng’azannya n’endiga ze. Yeefuula ng’omuntu eyali ayagala okudduka; endiga zaamugoberera era ne zimwetooloola. . . . Ku nkomerero, zonna zaakola olugo, era ne zitandika okubuukabuuka nga bwe zimwetooloola.”
18 Lwaki endiga zigoberera omusumba waazo? “Kubanga zimanyi eddoboozi lye,” Yesu bw’atyo bwe yagamba. (Yokaana 10:4) Ddala endiga zimanya eddoboozi ly’omusumba waazo? Okusinziira ku ekyo ye kennyini kye yalaba, George A. Smith yawandiika bw’ati mu kitabo kye The Historical Geography of the Holy Land: “Mu kiseera ky’omu ttuntu, twanyumirwanga okuwummulira okumpi n’ezimu ku nzizi z’omu Buyudaaya, mu kiseera abasumba basatu oba bana kye baaleeteramu endiga zaabwe. Olw’okuba endiga zonna zaabanga wamu kintabuli, twebuuzanga engeri buli musumba gy’anaasobola okwawulawo ezize. Kyokka, oluvannyuma ng’endiga zimaze okunywa amazzi n’okuzannya, buli musumba yagendanga ku ludda olulala olw’ekiwonvu, n’ayita mu ngeri ye ey’enjawulo; era endiga zeeyawulanga ku zzinewaazo ne zigenda eri omusumba waazo, era zonna ne ziddayo nga bwe zazze.” Tewali ngeri nnungi okusinga eno Yesu gye yandikozesezza okwolekamu ensonga ye. Singa tumanya era ne tugoberera okuyigiriza kwe, era singa tugoberera obukulembeze bwe, olwo nno, tujja kusobola okubeera wansi w’obukuumi obw’okwagala “obw’omusumba omulungi.”—Yokaana 10:11.
Yakozesa Ebintu Ebyali Bimanyiddwa Abantu Abaamuwulirizanga
19. Okusobola okusambajja endowooza enkyamu eyaliwo, Yesu yakozesa atya akatyabaga akaali ka kabaawo mu kitundu?
19 Ebyokulabirako ebirungi biyinza okuzingiramu ebintu ebyaliwo ddala ebiyinza okukozesebwa mu kuyigiriza. Olumu, Yesu yakozesa ekintu ekyali kya kabaawo okusambajja endowooza enkyamu egamba nti obutyabaga butuuka ku abo abasaana okubufuna. Yagamba: ‘Bali ekkumi n’omunaana ekigo ky’omu Sirowamu be kyagwako ne kibatta, mulowooza baali bakozi ba bubi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemi?’ (Lukka 13:4) Yesu yawakanya endowooza eyo egamba nti omuntu aba n’entuuko. Abantu abo 18 tebaafa lwa kuba baakola ekibi ekyaleetera Katonda okubanyiigira. Wabula, okufa okwo okw’ekikangabwa kwaliwo kubanga ebiseera n’ebitasuubirwa bituuka ku buli omu. (Omubuulizi 9:11) Mu ngeri eyo, yasambajja enjigiriza eyo enkyamu ng’akozesa ekyo ekyali kya kabaawo era ekyali kimanyiddwa abaali bamuwuliriza.
20, 21. (a) Lwaki Abafalisaayo baanenya abayigirizwa ba Yesu? (b) Kyawandiikibwa ki Yesu kye yakozesa okulaga nti Yakuwa teyayagala kuteekawo tteeka kkakali erikwata ku Ssabbiiti? (c) Kiki ekijja okukubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu ekiddako?
20 Mu kuyigiriza kwe, Yesu era yakozesa ebyokulabirako ebiri mu Byawandiikibwa. Jjukira ekiseera Abafalisaayo lwe baanenya abayigirizwa be olw’okunoga era ne balya ebirimba by’eŋŋaano ku lunaku lwa Ssabbiiti. Mu butuufu, abayigirizwa tebaamenya Tteeka lya Katonda, naye baamenya etteeka ly’Abafalisaayo eryali ekkakali erikwata ku ngeri gye bataputamu ebyo ebyali birina okukolebwa ku lunaku lwa Ssabbiiti. Okusobola okubalaga nti Katonda teyayagala tteeka lya Ssabbiiti kutunuulirwa mu ngeri enkakali ennyo bw’etyo, Yesu yayogera ku mbeera eyaliwo eyogerwako mu 1 Samwiri 21:3-6. Dawudi ne basajja be enjala bwe yali ebaluma, baagenda mu weema ne balya emigaati egy’okulaga egyali giggiddwawo basobole okussaawo emirala. Emigaati emikadde gyalinga gya kuliibwa bakabona. Kyokka, olw’embeera eyaliwo, Dawudi ne basajja be tebaanenyezebwa olw’okulya emigaati egyo. Ekyawandiikibwa ekyo kye kyokka ekiraga nti emigaati emikadde gyaliibwa abantu abatali bakabona. Yesu yali amanyi bulungi ekyawandiikibwa ekituufu eky’okukozesa, era awatali kubuusabuusa, Abayudaaya abaali bamuwuliriza ekyawandiikibwa ekyo baali bakimanyi bulungi.—Matayo 12:1-8.
21 Mazima ddala, Yesu yali Muyigiriza Omukulu! Tetuyinza buteewuunya busobozi bwe yalina obw’okuyigiriza amazima abaali bamuwuliriza mu ngeri etegeerekeka. Kati olwo, ffe tuyinza tutya okumukoppa mu kuyigiriza kwaffe? Kino kijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebyokulabirako bya Yesu byali mu ngeri nnyingi, nga mw’otwalidde okugeraageranya n’okufaanaganya ebintu. Amanyiddwa bulungi nnyo olw’okukozesa engero ezoogerwako ng’ezaali “ennyimpimpi, oluusi nga tezikwata ku bintu ebyaliwo ddala, naye nga zinnyonnyola amazima agakwata ku mpisa oba ku by’omwoyo.”
b Yerusaalemi kyali ku lusozi waggulu ng’ate Yeriko kiri mu kikko. N’olwekyo, bw’oba otambula ‘okuva e Yerusaalemi okudda e Yeriko,’ nga bwe kiri mu lugero, omutambuze yandibadde “aserengeta.”
Ojjukira?
• Lwaki Yesu yayigiriza ng’akozesa ebyokulabirako oba engero?
• Kyakulabirako ki ekiraga nti Yesu yakozesanga ebyokulabirako ebyali bitegeerekeka eri abantu abaamuwulirizanga mu kyasa ekyasooka?
• Yesu bye yali amanyi ku bitonde yabikozesa atya obulungi mu ngero ze?
• Yesu yakozesa atya ebintu ebyali bibaddewo era nga bimanyiddwa eri abo abaali bamuwuliriza?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Yesu yayogerako ku muddu eyagaana okusonyiwa munne ebbanja ettono ennyo era ne ku taata eyasonyiwa omwana omujaajaamya eyali atutte eby’obusika bwe bwonna
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Nsonga ki enkulu eyali mu lugero lwa Yesu olukwata ku Musamaliya omulungi?