ESSOMO 30
Abantu Bo Abaafa Basobola Okuddamu Okuba Abalamu!
Okufa kuleeta obulumi bungi n’ennaku. Eyo ye nsonga lwaki okufa Bayibuli ekuyita omulabe. (1 Abakkolinso 15:26) Mu Ssomo 27, wayiga nti Yakuwa ajja kuggyawo omulabe oyo. Naye kiki ky’anaakolera abantu abaafa? Mu ssomo lino, ojja kuyiga ekintu ekirala Yakuwa ky’atusuubizza. Ajja kusobozesa abantu buwumbi na buwumbi abaafa okuddamu okuba abalamu babeerewo emirembe gyonna. Ajja kubazuukiza! Naye ddala ekyo kisoboka? Bwe banaazuukizibwa banaabeera mu ggulu oba ku nsi?
1. Kiki Yakuwa ky’ayagala okukolera abantu baffe abaafa?
Yakuwa ayagala nnyo okuzuukiza abantu abaafa. Omusajja ayitibwa Yobu eyalina okukkiriza okw’amaanyi yali mukakafu nti bwe yandifudde Katonda teyandimwerabidde. Yagamba Katonda nti: “Olimpita, nange ndikuyitaba [nga ndi e Magombe].”—Soma Yobu 14:13-15.
2. Tukakasa tutya nti abafu basobola okuzuukizibwa?
Yesu bwe yali ku nsi, Katonda yamuwa obuyinza okuzuukiza abantu. Yesu yazuukiza omuwala ow’emyaka 12 ne mutabani wa nnamwandu. (Makko 5:41, 42; Lukka 7:12-15) Oluvannyuma, Laazaalo mukwano gwa Yesu yafa. Wadde nga Laazaalo yali amaze ennaku nnya mu ntaana, Yesu yamuzuukiza. Yesu bwe yamala okusaba Katonda, yagamba bugambi nti: “Laazaalo, fuluma!” “Omusajja eyali afudde” yafuluma mu ntaana nga mulamu! (Yokaana 11:43, 44) Lowooza ku ssanyu mikwano gya Laazaalo n’ab’eŋŋanda ze lye baafuna!
3. Oliddamu okulaba abantu bo abaafa?
Bayibuli egamba nti: “Wajja kubaawo okuzuukira.” (Ebikolwa 24:15) Abo Yesu be yazuukiza mu biseera eby’edda baali tebagenze mu ggulu. (Yokaana 3:13) Baasanyuka okuddamu okuba abalamu wano ku nsi. Mu ngeri y’emu, Yesu anaatera okuzuukiza abantu buwumbi na buwumbi, banyumirwe obulamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda wano ku nsi. Yagamba nti abo “bonna abali mu ntaana” Katonda b’ajjukira, bajja kuzuukira, ne bwe kiba nti tewali muntu n’omu abajjukira.—Yokaana 5:28, 29.
YIGA EBISINGAWO
Laba obukakafu okuva mu Bayibuli obulaga nti abafu basobola okuzuukira era nti bajja kuzuukira. Laba engeri okumanya nti wajja kubaawo okuzuukira gye kiyinza okukubudaabuda n’okukuwa essuubi.
4. Yesu yakiraga nti asobola okuzuukiza abafu
Manya ebisingawo ku ekyo Yesu kye yakolera mukwano gwe Laazaalo. Soma Yokaana 11:14, 38-44, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Tumanya tutya nti ddala Laazaalo yali afudde? Laba olunyiriri 39.
Singa Laazaalo yali agenze mu ggulu, olowooza Yesu yandimukomezzaawo wano ku nsi?
5. Abantu bangi bajja kuzuukira!
Soma Zabbuli 37:29, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Abantu buwumbi na buwumbi abanaazuukizibwa banaabeera wa?
Yesu tajja kuzuukiza abo bokka abaali basinza Yakuwa. Soma Ebikolwa 24:15, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Ani gwe wandyagadde okuddamu okulaba ng’azuukiziddwa?
Lowooza ku kino: Nga bwe kiri ekyangu eri omuzadde okuzuukusa omwana eyeebase, bwe kityo bwe kiri ekyangu eri Yesu okuzuukiza omuntu eyafa
6. Okumanya nti wajja kubaawo okuzuukira kisobola okukubudaabuda n’okukuwa essuubi
Ebyo Bayibuli by’etubuulira ku kuzuukira kwa muwala wa Yayiro bibudaabuda abo abafiirwa abantu baabwe. Bisomeeko mu Lukka 8:40-42, 49-56.
Yesu bwe yali agenda okuzuukiza muwala wa Yayiro, yagamba Yayiro nti: “Totya, ba n’okukkiriza.” (Laba olunyiriri 50.) Essuubi ly’okuzuukira lisobola kukuyamba litya . . .
ng’ofiiriddwa omuntu wo?
ng’obulamu bwo buli mu kabi?
Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Essuubi ly’okuzuukira libudaabuda litya bazadde ba Phelicity?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Tekisoboka kuba nti abantu abaafa basobola okuddamu okuba abalamu.”
Ggwe olowooza otya?
Kyawandiikibwa ki ky’osobola okukozesa okulaga abantu nti okuzuukira gyekuli?
MU BUFUNZE
Bayibuli eraga nti abantu buwumbi na buwumbi bajja kuzuukizibwa. Yakuwa ayagala baddemu okuba abalamu, era yawa Yesu obuyinza okubazuukiza.
Okwejjukanya
Yakuwa ne Yesu batwala batya eky’okuzuukiza abantu abaafa?
Abantu abangi ennyo abanaazuukizibwa banaabeera mu ggulu oba ku nsi? Lwaki ogamba bw’otyo?
Kiki ekikukakasa nti abantu bo abaafa bajja kuddamu okuba abalamu?
LABA EBISINGAWO
Laba ebyo ebisobola okukuyamba okuguma ng’ofiiriddwa omuntu wo.
“Ebisobola Okuyamba Abo Abafiiriddwa Abantu Baabwe” (Zuukuka! Na. 3 2018)
Ddala Bayibuli esobola okubudaabuda omuntu ali mu nnaku olw’okufiirwa omuntu we?
Biki ebisobola okuyamba abaana okuguma nga bafiiriddwa omuntu waabwe?
Waliwo abanaazuukizibwa okugenda mu ggulu? Baani abatajja kuzuukizibwa?