‘Muli Mikwano Gyange’
“Bwe mukwata bye mbalagira, muba mikwano gyange.”—YOK. 15:14.
1, 2. (a) Mikwano gya Yesu baali baakulira mu mbeera ki? (b) Lwaki kikulu okuba mikwano gya Yesu?
ABASAJJA abaali batudde ne Yesu mu kisenge ekya waggulu baali baakulira mu mbeera za njawulo. Peetero ne muganda we Andereya baali bavubi. Matayo yali muwooza, era abantu abaakolanga omulimu guno Abayudaaya baabayisangamu nnyo amaaso. Abamu, nga Yakobo ne Yokaana, kirabika baali bamanyi Yesu okuviira ddala mu buto bwe. Abalala, nga Nassanayiri, baali baakamulabira ebbanga ttono. (Yok. 1:43-50) Wadde kyali kityo, bonna abaaliwo mu Yerusaalemi ku lunaku olwo olw’Okuyitako baali bakakafu nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa, Omwana wa Katonda omulamu. (Yok. 6:68, 69) Kiteekwa okuba nga kyabasanyusa nnyo okuwulira ng’abagamba nti: “Mbayise mikwano gyange kubanga ebintu byonna bye nnawulira okuva eri Kitange mbibategeezezza.”—Yok. 15:15.
2 Ebigambo ebyo Yesu bye yayogera eri abatume be abeesigwa bitwaliramu Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta abaliwo leero, era bikwata ne ku bannaabwe ‘ab’endiga endala.’ (Yok. 10:16) Ka tube nga twakulira mu mbeera ki, ffenna tusobola okufuna enkizo okufuuka mikwano gya Yesu. Okuba mukwano gwa Yesu kikulu nnyo kubanga kituyamba okufuuka mikwano gya Yakuwa. Mu butuufu, omuntu tasobola kufuuka mukwano gwa Yakuwa nga tasoose kuba mukwano gwa Kristo. (Soma Yokaana 14:6, 21.) Kati olwo tulina kukola ki okufuuka era n’okusigala nga tuli mikwano gya Yesu? Nga tetunnayogera ku nsonga eno enkulu, ka tusooke tulabe ekyokulabirako Yesu kye yateekawo mu kulaga abalala omukwano, era tulabe kye tuyigira ku ngeri abayigirizwa be gye baakwatibwako olw’omukwano gwe yabalaga.
Ekyokulabirako kya Yesu mu Kulaga Abalala Omukwano
3. Kiki ekyali kimanyiddwa ku Yesu?
3 Kabaka Sulemaani yawandiika nti: “Omugagga alina emikwano mingi.” (Nge. 14:20) Ebigambo ebyo biraga nti abantu abatatuukiridde baagala nnyo okukola omukwano ku bantu nga banoonya kufuna so si kugaba. Yesu teyali bw’atyo. Teyakola mukwano na bantu olw’okuba bagagga oba ba kitiibwa. Kituufu nti Yesu yawulira okwagala eri omufuzi omugagga era yamuyita okufuuka omugoberezi we. Kyokka Yesu yagamba omusajja oyo asooke atunde eby’obugagga bye yalina agabire abaavu. (Mak. 10:17-22; Luk. 18:18, 23) Yesu yali amanyiddwa nga mukwano gw’abantu abaavu n’aba wansi, so si nga mukwano gw’abagagga na batutumufu.—Mat. 11:19.
4. Lwaki kiyinza okugambibwa nti mikwano gya Yesu baalina obunafu?
4 Kya lwatu nti mikwano gya Yesu baalina obunafu obutali bumu. Emirundi egimu Peetero ebintu yabirabanga mu ngeri eteri ntuufu. (Mat. 16:21-23) Yakobo ne Yokaana baalaga nti baagala nnyo obukulu bwe baasaba Yesu okubawa ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka bwe. Kino kyanyiiza nnyo abatume abalala, era eky’ani asinga obukulu ku bo kyateranga okubaleetera enkaayana. Wadde kyali kityo, Yesu teyakoowa kugolola mikwano gye egyo era ekyo yakikolanga n’obugumiikiriza.—Mat. 20:20-28.
5, 6. (a) Lwaki Yesu yasigala nga mukwano gw’abatume be abasinga obungi? (b) Lwaki Yesu yakomya omukwano gwe ne Yuda?
5 Yesu okusigala nga mukwano gw’abasajja abo tekyava ku kuba nti yali tafaayo ku bunafu bwabwe oba nti yali tabulaba. Mu kifo ky’ekyo, yatunuuliranga ebigendererwa byabwe ebirungi n’engeri zaabwe ennungi. Ng’ekyokulabirako, Peetero, Yakobo, ne Yokaana badda mu kwebaka mu kifo ky’okugumya Yesu ng’ali mu mbeera enzibu ennyo. Kino Yesu tekyamusanyusa, naye yakiraba nti tebaakikola mu bugenderevu, era yagamba nti: “Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”—Mat. 26:41.
6 Ku luuyi olulala, Yesu yakomya omukwano gwe ne Yuda Isukalyoti. Wadde nga Yuda yali yeefuula nga eyali akyali mukwano gwa Yesu, Yesu yakiraba nti omutima gwe gwali gwonoonese. Yuda yakola omukwano n’ensi, bw’atyo n’afuuka omulabe wa Katonda. (Yak. 4:4) N’olwekyo, Yesu yasooka kugoba Yuda n’alyoka ayita abatume be 11 abeesigwa mikwano gye, yali amaze okugoba Yuda.—Yok. 13:21-35.
7, 8. Yesu yalaga atya mikwano gye okwagala?
7 Yesu teyeesibanga ku nsobi za mikwano gye, era yakolanga buli ekyetaagisa okubayamba. Ng’ekyokulabirako, yasaba Kitaawe okubakuuma nga bagezesebwa. (Soma Yokaana 17:11.) Yesu yakiraga nti amanyi obusobozi bwabwe we bukoma. (Mak. 6:30-32) Teyakomanga ku kubabuulira kiki ye ky’alowooza naye era yafangayo okuwuliriza n’okutegeera bo kye balowooza.—Mat. 16:13-16; 17:24-26.
8 Yesu yakozesa obulamu bwe okuganyula mikwano gye, era yabafiirira. Kituufu nti omutindo gwa Kitaawe ogw’obwenkanya gwali gumwetaagisa okuwaayo obulamu bwe. (Mat. 26:27, 28; Beb. 9:22, 28) Naye okwagala kwe kwakubiriza Yesu okuwaayo obulamu bwe. Yagamba nti: “Tewali n’omu alina kwagala nga kuno, omuntu okuwaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.”—Yok. 15:13.
Abayigirizwa Baakwatibwako Batya olw’Omukwano Yesu gwe Yabalaga?
9, 10. Abantu baakola ki olw’okwagala Yesu kwe yabalaga?
9 Yesu yakozesanga ebiseera bye n’ebintu bye okuyamba abalala era yalaga nti abaagala. Kino ky’aleetera abantu okufuuka mikwano gye era nabo baabanga basanyufu okumuwa ku bye balina. (Luk. 8:1-3) Bwe kityo yali asobola okugamba nti: “Mugabenga, nammwe abantu balibagabira. Balibayiira mu bikondoolo byammwe ekigera ekirungi, ekikkatiddwa era ekijjudde ne kibooga. Kubanga ekipimo kye mukozesa okupimira abalala nammwe kye balikozesa okubapimira.”—Luk. 6:38.
10 Kya lwatu nti abamu bajjanga eri Yesu nga balina bye baagala okumufunako. Abantu bano abaali beefudde okuba mikwano gya Yesu baamwabulira bwe yayogera ekintu kye bataategeera. Mu kifo ky’okulinda Yesu abannyonnyole, baamwabulira era ne balekera awo okutambula naye. Obutafaananako bantu abo, abatume bo baamunywererako. Wadde omukwano gwabwe ne Kristo gwagezesebwa, gwasigala nga munywevu, era baakola buli kye basobola okumuwagira mu biseera ebirungi n’ebizibu. (Soma Yokaana 6:26, 56, 60, 66-68.) Mu kiro kye ekyasembayo ku nsi, Yesu yalaga mikwano gye okusiima n’agamba nti: ‘Mmwe mutandekulidde nga ngezesebwa.’—Luk. 22:28.
11, 12. Yesu yagumya atya abayigirizwa be, era baakwatibwako batya?
11 Nga Yesu yaakamala okusiima abayigirizwa be olw’okukuuma obwesigwa, abasajja abo bennyini baamwabulira. Okumala akaseera, baalemererwa okulaga okwagala kwabwe eri Kristo olw’okutya abantu. Ne ku mulundi ogwo Yesu yabasonyiwa. Oluvannyuma lw’okuttibwa n’okuzuukizibwa, yabalabikira era n’abakakasa nti yali abaagala nnyo. Ng’oggyeko ekyo, yabakwasa omulimu omukulu ogw’okufuula “abantu b’omu mawanga gonna” abayigirizwa, n’okuba abajulirwa be “mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Mat. 28:19; Bik. 1:8) Abayigirizwa be baakwatibwako batya?
12 Abayigirizwa be beenyigira mu kulangirira obubaka bw’Obwakabaka n’omutima gwabwe gwonna. Nga bayambibwako omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu, mu bbanga ttono baali babunyizza okuyigiriza kwabwe mu Yerusaalemi. (Bik. 5:27-29) Wadde nga kyali kisobola okubaviirako okuttibwa, baanywerera ku kiragiro kya Yesu eky’okufuula abalala abayigirizwa. Ng’emyaka teginnawera na 30 nga Yesu amaze okubawa kiragiro ekyo, omutume Pawulo yali asobola okugamba nti amawulire amalungi gaali gabuuliddwa “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.” (Bak. 1:23) Yee, abayigirizwa bano baalaga nti omukwano gwabwe ne Yesu kyali kintu kikulu ennyo gye bali!
13. Yesu bye yayigiriza byakwata bitya ku bayigirizwa be?
13 Abo abaafuuka abayigirizwa era bakkiriza okutambulira ku ebyo Yesu bye yayigiriza. Bangi kyali kibeetaagisa okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu nneeyisa yaabwe ne mu ngeri zaabwe. Nga tebannafuuka bayigirizwa, abamu baali balyi ba bisiyaga, benzi, batamiivu, abalala nga babbi. (1 Kol. 6:9-11) Abalala baalina obusosoze mu mawanga. (Bik. 10:25-28) Naye baagondera Yesu ne bakola enkyukakyuka. Beeyambulako omuntu omukadde ne bambala omuggya. (Bef. 4:20-24) Baategeera bulungi “endowooza ya Kristo” ne bafuba okumukoppa.—1 Kol. 2:16.
Okufuuka Mukwano gwa Kristo Leero
14. Yesu yasuubiza kukola ki mu kiseera ‘ky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu’?
14 Bangi ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali bamanyiganye ne Yesu oba baamulaba nga azuukidde. Kya lwatu nti ffe omukisa ogwo tetugulina. Kati olwo tuyinza tutya okufuuka mikwano gya Kristo? Engeri emu kwe kugondera obulagirizi obutuweebwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi, nga bano be baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta abakyali ku nsi. Yesu yasuubiza nti yandisigidde omuddu oyo “ebintu bye byonna” mu kiseera ‘ky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.’ (Mat. 24:3, 45-47) Leero, abasinga obungi ku abo abaagala okufuuka mikwano gya Kristo tebali mu kibiina kya muddu oyo. Engeri gye batwalamu obulagirizi obubaweebwa omuddu omwesigwa ekwata etya ku mukwano gwabwe ne Kristo?
15. Omuntu okubalibwa ng’endiga oba embuzi kinaasinziira ku ki?
15 Soma Matayo 25:31-40. Abo abandibadde mu kibiina ky’omuddu omwesigwa Yesu yabayita baganda be. Mu lugero olukwata ku kwawula endiga n’embuzi, Yesu agamba nti buli kye tukolera baganda be abo tuba tukikoledde ye. Mu butuufu yagamba nti omuntu okufuuka endiga oba embuzi kyandisinzidde ku ngeri gy’ayisizzaamu baganda be, k’abe ‘omu ku basembayo okuba aba wansi.’ N’olwekyo, engeri enkulu abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi gye balagamu nti baagala okufuuka mikwano gya Kristo kwe kuwagira omuddu omwesigwa.
16, 17. Tuyinza tutya okulaga baganda ba Kristo nti tubaagala?
16 Bw’oba olina essuubi ery’okubeera ku nsi ng’efugibwa Obwakabaka bwa Katonda, oyinza otya okulaga baganda ba Kristo omukwano? Ka tulabeyo engeri ssatu. Esooka, weenyigire mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. Kristo yalagira baganda be okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna. (Mat. 24:14) Kyokka, baganda ba Kristo abasigaddewo ku nsi leero bandizibuwaliddwa nnyo okwetikka obuvunaanyizibwa obwo nga tebayambiddwako mikwano gyabwe ab’endiga endala. Mu butuufu, buli ab’endiga endala lwe beenyigira mu mulimu gw’okubuulira, baba bayamba baganda ba Kristo okutuukiriza obuweereza bwabwe obwo obutukuvu. Omuddu omwesigwa era ow’amagezi asiima nnyo abo bonna abamulaga omukwano mu ngeri eno, era ne Kristo bw’atyo.
17 Engeri ey’okubiri ab’endiga endala gye basobola okuyambamu baganda ba Kristo kwe kuwaayo ssente okuwagira omulimu gw’okubuulira. Yesu yakubiriza abagoberezi be okukola emikwano nga bakozesa “eby’obugagga ebitali bya butuukirivu.” (Luk. 16:9) Kino tekitegeeza nti tusobola okugula omukwano gwa Yesu oba ogwa Yakuwa. Naye bwe tukozesa ebintu bye tulina okuwagira omulimu gw’Obwakabaka, tuba tulaga omukwano gwaffe n’okwagala kwaffe “mu bikolwa ne mu mazima,” so si mu bigambo mwokka. (1 Yok. 3:16-18) Tukozesa ssente nga twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, tuwaayo ssente okuwagira omulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe mwe tusinziza, era tuwaayo ssente okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Ka tube nga tuwaayo kitono oba kinene, Yakuwa ne Yesu basiima bwe tuwaayo n’essanyu.—2 Kol. 9:7.
18. Lwaki tusaanidde okugoberera obulagirizi obuva mu Baibuli obutuweebwa abakadde mu kibiina?
18 Engeri ey’okusatu ffenna gye tulagamu nti tuli mikwano gya Kristo kwe kugoberera obulagirizi bw’abakadde mu kibiina. Abasajja bano balondebwa omwoyo omutukuvu wansi w’obulagirizi bwa Kristo. (Bef. 5:23) Omutume Pawulo yawandiika nti: “Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga.” (Beb. 13:17) Ebiseera ebimu kiyinza obutatwanguyira kugoberera bulagirizi obuva mu Baibuli obutuweebwa abakadde. Tuyinza okusambajja bye batubuulirira olw’okuba tumanyi obunafu bwabwe. Naye tukijjukire nti Kristo, Omutwe gw’ekibiina, yasalawo okukozesa abasajja bano abatatuukiridde. N’olwekyo, engeri gye tutwalamu obulagirizi bwe batuwa erina kinene ky’ekola ku mukwano gwaffe ne Kristo. Bwe tukolera ku bulagirizi bwe batuwa mu kifo ky’okutunuulira ensobi zaabwe, tuba tulaga nti twagala Kristo.
Tuyinza Kufuna Wa Emikwano Emirungi?
19, 20. Kiki kye tusobola okufuna mu kibiina, era kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekinaddako?
19 Yesu takoma ku kutulabirira ng’ayitira mu bakadde abalaga okwagala, naye era atuwa bamaama, baganda baffe, ne bannyinnaffe mu kibiina. (Soma Makko 10:29, 30.) Ab’eŋŋanda zo baakuyisa batya bwe weegatta ku kibiina kya Yakuwa? Oboolyawo baakuwagira ng’ofuba okufuna enkolagana ennungi ne Katonda era ne Kristo. Naye Yesu yalabula nti emirundi egimu “abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.” (Mat. 10:36) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti mu kibiina mulimu abantu abajja okutulaga omukwano ogusinga n’ogw’abo be tuzaalibwa nabo!—Nge. 18:24.
20 Mu bigambo bye ebifundikira ebbaluwa gye yawandiikira ekibiina ky’e Rooma, Pawulo akyoleka bulungi nti yalina emikwano emirungi mingi. (Bar. 16:8-16) Omutume Yokaana yafundikira ebbaluwa ye ey’okusatu ng’agamba nti: “Nnamusiza buli omu ku mikwano gyaffe.” (3 Yok. 14) Awatali kubuusabuusa, naye yalina emikwano emirungi mingi. Okufaananako Yesu n’abayigirizwa abaasooka, tuyinza tutya okukola era n’okukuuma omukwano gwaffe n’ab’oluganda? Ekibuuzo kino kijja kuddibwamu mu kitundu kyaffe ekinaddako.
Wandizzeemu Otya?
• Yesu yatuteerawo kyakulabirako ki mu kulaga omukwano?
• Abayigirizwa baakwatibwako batya olw’omukwano Yesu gwe yabalaga?
• Tuyinza tutya okulaga nti tuli mikwano gya Kristo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Yesu yafangayo okumanya mikwano gye kye balowooza
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Tuyinza tutya okulaga nti twagala okuba mikwano gya Kristo?