ESSUULA 122
Essaala ya Yesu Esembayo ng’Ali mu Kisenge Ekya Waggulu
OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA KATONDA N’OMWANA WE
YAKUWA, YESU, N’ABAYIGIRIZWA BE BALI BUMU
Olw’okuba Yesu ayagala nnyo abatume be, abadde abateekateeka kubanga anaatera okubavaako. Atunula eri eggulu n’atandika okusaba Kitaawe ng’agamba nti: “Gulumiza omwana wo, omwana wo alyoke akugulumize. Omuwadde obuyinza ku bantu bonna, asobole okuwa abo bonna b’omuwadde obulamu obutaggwaawo.”—Yokaana 17:1, 2.
Yesu akiraga kaati nti kikulu nnyo okugulumiza Katonda. Ate era, essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo Yesu ly’ayogerako litubudaabuda nnyo. Olw’okuba Yesu aweereddwa “obuyinza ku bantu bonna,” asobola okubayamba okuganyulwa mu kinunulo. Kyokka, si bonna nti bajja kufuna emiganyulo egyo. Lwaki si bonna? Kubanga abo abanaaganyulwa mu kinunulo beebo bokka abakolera ku bigambo bino Yesu by’azzaako: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”—Yokaana 17:3.
Omuntu alina okutegeera obulungi Kitaffe n’Omwana, kwe kugamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere nabo. Asaanidde okuba n’endowooza ng’eyaabwe ku buli nsonga, n’okufuba okwoleka engeri zaabwe ng’akolagana n’abalala. Ate era omuntu asaanidde okukimanya nti ekisinga obukulu kwe kugulumiza Katonda so si okufuna obulamu obutaggwaawo. Yesu kati addamu okwogera ku kugulumiza Katonda.
Agamba nti: “Nkugulumizza ku nsi kubanga mmalirizza omulimu gwe wampa okukola. Kaakano Kitange, ngulumiza mbeere ku lusegere lwo, mu kitiibwa kye nnalina nga ndi ku lusegere lwo ng’ensi tennabaawo.” (Yokaana 17:4, 5) Yesu asaba Katonda amuzuukize addemu okufuna ekitiibwa kye yalina ng’akyali mu ggulu.
Naye Yesu tanneerabira ebyo by’akoze mu buweereza bwe. Asaba Katonda nti: “Erinnya lyo ndimanyisizza eri abantu be wampa mu nsi. Baali babo n’obampa era bakutte ekigambo kyo.” (Yokaana 17:6) Yesu yamanyisa nnyo erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu buweereza bwe. Ate era yayamba abatume be okumanya erinnya eryo kye likiikirira—engeri za Katonda n’engeri gy’akolaganamu n’abantu.
Abatume bategedde Yakuwa, ekifo Omwana we ky’alina, n’ebintu Yesu by’abayigirizza. Mu buwombeefu Yesu agamba nti: “Ebigambo bye wampa mbibawadde era babikkirizza; bategedde nti nnajja kukukiikirira era bakkirizza nti wantuma.”—Yokaana 17:8.
Oluvannyuma Yesu akiraga nti abagoberezi be ba njawulo ku bantu abalala abali ku nsi ng’agamba nti: “Mbasabira; sisabira nsi naye nsabira abo be wampa, kubanga babo . . . Kitange Omutukuvu, bakuume olw’erinnya lyo lye wampa, basobole okuba omu nga ffe bwe tuli omu. . . . Mbakuumye era tewali n’omu ku bo azikiridde okuggyako omwana w’okuzikirira.” Oyo ye Yuda Isukalyoti, agenda okulyamu Yesu olukwe.—Yokaana 17:9-12.
Yesu yeeyongera okusaba ng’agamba nti: “Ensi ebakyaye. . . . Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume olw’omubi. Si ba nsi, nga nange bwe siri wa nsi.” (Yokaana 17:14-16) Abatume n’abayigirizwa abalala bali mu nsi, oba abantu abafugibwa Sitaani, naye balina okusigala nga bagyeyawuddeko n’ebikolwa byayo ebibi. Mu ngeri ki?
Okusobola okusigala nga batukuvu, oba nga baawuliddwawo okuweereza Katonda, balina okukolera ku mazima agali mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ne ku mazima Yesu g’abayigirizza. Yesu era asaba nti: “Batukuze ng’okozesa amazima; ekigambo kyo ge mazima.” (Yokaana 17:17) Oluvannyuma lw’ekiseera, abamu ku batume bajja kuluŋŋamizibwa bawandiike ebimu ku bitabo bya Bayibuli era nga nabyo bijja kubaamu “amazima” agasobola okutukuza omuntu.
Nga wayiseewo ekiseera, wajja kubaawo abalala abajja okukkiriza “amazima.” N’olwekyo, Yesu era asaba nti: “Sisabira bano bokka [abo b’ali nabo], naye era nsabira n’abo abanzikiririzaamu okuyitira mu kigambo kya bano.” Kiki Yesu ky’asabira bonna? Agamba nti: “Bonna basobole okubeera omu, nga ggwe Kitange bw’oli obumu nange, era nga nange bwe ndi obumu naawe, nabo babeere bumu naffe, ensi eryoke ekkirize nti wantuma.” (Yokaana 17:20, 21) Yesu ne Kitaawe okuba omu tekitegeeza nti benkanankana, wabula kitegeeza nti bakkiriziganya mu bintu byonna. Yesu asaba nti abagoberezi be nabo babeere bumu naye era ne Katonda.
Emabegako, Yesu yagambye Peetero n’abalala nti agenda okubateekerateekera ekifo mu ggulu. (Yokaana 14:2, 3) Yesu era ayogera ku nsonga eyo ng’asaba. Agamba nti: “Kitange, njagala abo be wampa babeere we ndi basobole okulaba ekitiibwa kye wampa, kubanga wanjagala ng’ensi tennatandika.” (Yokaana 17:24) Mu ngeri eyo akiraga nti okuva edda, nga Adamu ne Kaawa tebannazaala baana, Katonda yali ayagala nnyo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, eyafuuka Yesu Kristo.
Ng’afundikira essaala ye, Yesu addamu okwogera ku linnya lya Kitaawe ne ku kwagala Kitaawe kw’alina eri abatume n’abantu abalala abajja okukkiriza “amazima.” Agamba nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo era nja kulimanyisa, okwagala kwe wandaga kubeere mu bo era nange mbeere bumu nabo.”—Yokaana 17:26.