Batendekebwa Okuwa Obujulirwa
“Munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.”—EBIKOLWA 1:8.
1, 2. Mulimu ki Peetero gwe yaweebwa, era ani yagumuwa?
‘YESU Omunazaaleesi yatulagira okubuulira abantu n’okubategeeza nti Katonda yamulagira okusala emisango gy’abalamu n’abafu.’ (Ebikolwa 10:38, 42) Mu kwogera bw’atyo, omutume Peetero yali ategeeza Koluneeriyo n’ab’omu maka ge omulimu gwe yali aweereddwa ogw’okubuulira amawulire amalungi.
2 Ddi Yesu lwe yawa abayigirizwa be omulimu ogwo? Kirabika Peetero yali alowooza ku ebyo Yesu eyali azuukiziddwa bye yayogera ng’ebulayo akaseera katono agende mu ggulu. Ku olwo, Yesu yagamba abayigirizwa be abeesigwa: “Munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.” (Ebikolwa 1:8) Kyokka, nga Yesu tannayogera bigambo ebyo, Peetero yali akimanyi nti ng’omuyigirizwa we, yali alina okutegeeza abalala ebikwata ku Yesu.
Emyaka Esatu nga Batendekebwa
3. Kyamagero ki Yesu kye yakola era kiki kye yagamba Peetero ne Andereya?
3 Nga wayiseewo emyezi egiwerako oluvannyuma lw’okubatizibwa kwe mu 29 C.E., Yesu yabuulira mu kifo Peetero ne muganda we Andereya gye baavubiranga ku nnyanja ey’e Ggaliraaya. Baali bamaze ekiro kyonna nga bavuba naye nga tebakwasizza kintu kyonna. Wadde kyali kityo, Yesu yabagamba: ‘Musembere ebuziba, musuule emigonjo gyammwe, muvube.’ Bwe baakikola, “ba[a]kwasa ebyennyanja bingi nnyo nnyini; emigonjo gyabwe ne gyagala okukutuka.” Peetero bwe yalaba ekyamagero ekyo, yatya nnyo, naye Yesu n’amukkakkanya ng’amugamba nti: “Totya: okusooka kaakano, onoovubanga abantu.”—Lukka 5:4-10.
4. (a) Yesu yatendeka atya abayigirizwa be okuwa obujulirwa? (b) Obuweereza bwa Yesu bwayawukana butya ku bw’abayigirizwa be?
4 Amangu ddala, Peetero ne Andereya awamu ne batabani ba Zebbedaayo Yakobo ne Yokaana, baaleka omulimu gwabwe ogw’okuvuba ne bagoberera Yesu. Okumala emyaka ng’esatu, baabuuliranga ne Yesu era ng’abatendeka okubeera ababuulizi. (Matayo 10:7; Makko 1:16, 18, 20, 38; Lukka 4:43; 10:9) Oluvannyuma lw’okutendekebwa okwo, nga Nisani 14, 33 C.E., Yesu yabagamba: “Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola; era alikola egisinga egyo obunene.” (Yokaana 14:12) Abayigirizwa ba Yesu bandibuulidde mu ngeri y’emu nga bwe yabuulira naye ku kigero ekisingawo. Mangu ddala baakitegeera nti, bo bennyini awamu n’abayigirizwa abalala, bandibadde babuulira mu “mawanga gonna,” okutuukira ddala ku ‘nkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno.’—Matayo 28:19, 20.
5. Tuyinza tutya okuganyulwa mu ngeri Yesu gye yatendekamu abagoberezi be?
5 Tuli mu kiseera ‘eky’enkomerero y’omulembe guno.’ (Matayo 24:3) Okwawukanako ku bayigirizwa abasooka, ffe tetubuulira na Yesu era tetusobola kumulaba ng’ayigiriza. Wadde kiri kityo, tusobola okuganyulwa mu ngeri gye yatendekamu abagoberezi be nga tusoma mu Baibuli ebikwata ku ngeri gye yayigirizaamu. (Lukka 10:1-11) Ate era, mu kitundu kino tujja kwogera ku kintu ekikulu ennyo Yesu kye yayigiriza abayigirizwa be, kwe kugamba, endowooza entuufu gye bandibadde nayo nga babuulira.
Okufaayo ku Bantu
6, 7. Kiki ekyasobozesa Yesu okubuulira obulungi, era tusobola tutya okumukoppa?
6 Lwaki Yesu yabuulira mu ngeri ennungi bw’etyo? Ensonga emu eri nti, yafaangayo nnyo ku bantu. Omuwandiisi wa zabbuli yalagula nti Yesu ‘yandisaasidde omwavu n’omunafu era n’alokola n’emmeeme z’abanafu.’ (Zabbuli 72:13) Mazima ddala, yatuukiriza obunnabbi obwo. Baibuli emwogerako bw’eti: “Bwe yalaba ebibiina, n’abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.” (Matayo 9:36) N’abantu abaali ababi ennyo baakitegeera nti Yesu afaayo ku balala era ne bagenda gy’ali.—Matayo 9:9-13; Lukka 7:36-38; 19:1-10.
7 Naffe leero tujja kusobola okubuulira mu ngeri ennungi singa tufaayo ku bantu. Nga tonnagenda kubuulira, lwaki tosooka kulowooza ku bwetaavu obw’amaanyi abantu bwe balina obw’okuwulira obubaka bw’obatwalira? Lowooza ne ku bizibu bye balina ebisobola okugonjoolebwa Obwakabaka bwokka. Fuba okutunuulira buli muntu ng’asobola okukkiriza obubaka bwo, okuva bw’otamanyi ani ayinza okubukkiriza. Oboolyawo omuntu gw’onoddako okubuulira abadde asaba asobole okufuna omuntu amuyambe!
Bakubirizibwa Kwagala
8. Okufaananako Yesu, kiki ekikubiriza abagoberezi be okubuulira amawulire amalungi?
8 Amawulire amalungi Yesu ge yabuulira gaali gakwata ku kutuukiriza ebigendererwa bya Yakuwa, okutukuza erinnya lye, era n’okulaga obutuufu bw’obufuzi bwe, kwe kugamba, ensonga enkulu ennyo ezizingiramu abantu. (Matayo 6:9, 10) Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Kitaawe, yasigala nga mwesigwa okutuukira ddala ku nkomerero era n’abuulira ku Bwakabaka obwandikoze ku nsonga ezo. (Yokaana 14:31) Ate era, olw’okuba abagoberezi ba Yesu nabo baagala nnyo Yakuwa, babuulira n’obunyiikivu. Omutume Yokaana yagamba: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye,” nga mw’otwalidde n’eky’okubuulira amawulire amalungi awamu n’okufuula abantu abayigirizwa.—Matayo 28:19, 20.
9, 10. Ng’oggyeko okwagala kwe tulina eri Katonda, kiki ekirala ekitukubiriza okubuulira?
9 Yesu yagamba abagoberezi be: ‘Bwe muba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. Oyo abikwata, y’anjagala.’ (Yokaana 14:15, 21) N’olw’ensonga eyo, bwe tuba twagala Yesu, tujja kuwa obujulirwa ku mazima era tukole n’ebintu ebirala bye yalagira. Ku mulundi ogumu Yesu lwe yalabikira abagoberezi be oluvannyuma lw’okuzuukira kwe, yagamba Peetero: “Liisanga abaana b’endiga bange. . . . Lunda endiga zange. . . . Liisanga endiga zange.” Kiki ekyandikubiriza Peetero okuliisa endiga za Yesu? Yesu yakiraga bulungi bwe yamubuuza enfunda n’enfunda nti: “Onjagala?” Okwagala Peetero kwe yalina eri Yesu kwe kwandimukubirizza okuwa obujulirwa, okunoonya ‘endiga za Yesu,’ era n’okuzirundanga.—Yokaana 21:15-17.
10 Ffe tetubeerangako na Yesu nga Peetero. Wadde kiri kityo tumanyi bulungi ebyo Yesu bye yatukolera. Tukwatibwako nnyo olw’okwagala okw’amaanyi kwe yatulaga ‘ng’afiirira abantu bonna.’ (Abaebbulaniya 2:9; Yokaana 15:13) Tulina endowooza ng’eya Pawulo eyagamba nti: “Okwagala kwa Kristo kutuwaliriza . . . Yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira.” (2 Abakkolinso 5:14, 15) Bwe tunyiikirira omulimu gw’okubuulira gwe yatukwasa tuba tulaga nti tusiima okwagala Yesu kwe yatulaga. (1 Yokaana 2:3-5) Tetwagala kulagajjalira mulimu ogwo, nga gy’obeera nti ssaddaaka ya Yesu si ya muwendo.—Abaebbulaniya 10:29.
Tokkiriza Kintu Kyonna Kukuwugula
11, 12. Lwaki Yesu yajja mu nsi, era kiki ekiraga nti ekyo kye yatwala ng’ekikulu?
11 Ng’ali mu maaso ga Piraato, Yesu yagamba: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow’amazima awulira eddoboozi lyange.” (Yokaana 18:37) Yesu teyakkiriza kintu kyonna kumulemesa kubuulira mazima. Ogwo gwe mulimu Katonda gwe yali ayagala akole.
12 Mazima ddala, Setaani yagezaako okulemesa Yesu okukola Katonda by’ayagala. Amangu ddala nga Yesu yakabatizibwa, Setaani yamusuubiza okumufuula omuntu omututumufu mu nsi, n’okumuwa ‘obwakabaka bw’ensi zonna n’ekitiibwa kyazo.’ (Matayo 4:8, 9) Oluvannyuma, Abayudaaya baayagala okumufuula kabaka. (Yokaana 6:15) Abamu leero bayinza okulowooza nti singa Yesu yakkiriza ebyo bye baamusuubiza, n’afuuka kabaka, yandisobodde okubakolera ebintu ebirungi bingi. Kyokka, Yesu teyalina ndowooza ng’eyo. Ekintu kye yali atwala ng’ekikulu ennyo, kwe kubuulira amazima.
13, 14. (a) Kiki ekitaawugula Yesu okuva ku mulimu gwe omukulu? (b) Wadde nga Yesu yali mwavu, kiki kye yakolera abantu?
13 Okugatta ku ekyo, Yesu teyawugulibwa bya bugagga bya mu nsi muno, era eyo ye nsonga lwaki teyali mugagga. Teyalina nnyumba yiye ku bubwe. Lumu yagamba: “Ebibe birina obunnya, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirina ebisu; naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.” (Matayo 8:20) Yesu bwe yafa, ekintu kyokka eky’omuwendo ekyogerwako mu Baibuli kye yalina, ye kkanzu Abaserikale Abaruumi gye baakubira akalulu. (Yokaana 19:23, 24) Kati olwo tugambe nti Yesu teyali wa mugaso? N’akatono!
14 Yesu yakola ebintu bingi ebirungi ebisingira ewala ebyo ebiyinza okukolebwa n’omuntu asingayo obugagga. Pawulo yagamba: “Mutegeera ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye n’afuuka omwavu ku lwammwe, obwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe.” (2 Abakkolinso 8:9; Abafiripi 2:5-8) Wadde nga yali mwavu, Yesu yasobozesa abantu abawombeefu okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Nga tusiima nnyo ekyo Yesu yatukolera! Ate, nga tuli basanyufu nnyo olw’empeera gye yafuna olw’okukulembeza ebyo Katonda by’ayagala!—Zabbuli 40:8; Ebikolwa 2:32, 33, 36.
15. Kintu ki eky’omuwendo ennyo okusinga obugagga?
15 Abakristaayo abafuba okukoppa Yesu leero, nabo tebakkiriza kuwugulibwa bya bugagga. (1 Timoseewo 6:9, 10) Bakimanyi nti obugagga buyinza okusobozesa omuntu okubeera mu bulamu obulungi, naye era bakimanyi nti obulamu bwabwe obw’ebiseera eby’omu maaso tebwesigamye ku bugagga bwe balina. Omukristaayo bw’afa, obugagga bwe buba tebukyamugasa era nga n’ekkanzu ya Yesu bw’etaamugasa ng’amaze okufa. (Omubuulizi 2:10, 11, 17-19; 7:12) Omukristaayo bw’afa, ekintu kyokka eky’omuwendo ekiba kisigaddewo, ye nkolagana ennungi gy’abadde alina ne Yakuwa era ne Yesu Kristo.—Matayo 6:19-21; Lukka 16:9.
Tebaggwaamu Maanyi olw’Okuyigganyizibwa
16. Yesu yeeyisa atya ng’ayolekaganye n’okuyigganyizibwa?
16 Okuyigganyizibwa nakwo tekwalemesa Yesu kuwa bujulirwa ku mazima. Wadde yali akimanyi nti agenda kuwaayo bulamu bwe nga ssaddaaka ku nkomerero y’obuweereza bwe, teyaggwaamu maanyi. Pawulo yayogera bw’ati ku Yesu: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba [omuti], ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.” (Abaebbulaniya 12:2) Weetegereze nti Yesu ‘yanyooma ensonyi.’ Teyafaayo ku ebyo abalabe be bye baali bamwogerako. Teyakkiriza kintu kyonna kumulemesa kukola Katonda by’ayagala.
17. Bwe tubeera abagumiikiriza nga Yesu tunaaganyula tutya?
17 Bwe yali ayogera ku ekyo kye tusobola okuyigira ku bugumiikiriza bwa Yesu, Pawulo yagamba bw’ati Abakristaayo: “Mumulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez’abakola ebibi ku bo bennyini, mulemenga okukoowa, nga muddirira mu mmeeme zammwe.” (Abaebbulaniya 12:3) Kyo kituufu nti okuyigganyizibwa n’okuvumibwa bisobola okutumalamu amaanyi. Era si kyangu okwerekereza ebintu ebiri mu nsi ebisikiriza okuva ab’eŋŋanda bwe batupikiriza okubifuna era nga bwe tutakola nga bwe baagala batuvumirira. Kyokka, okufaananako Yesu, twesiga Yakuwa okutuyamba era tuli bamalirivu okukulembeza Obwakabaka.—Matayo 6:33; Abaruumi 15:13; 1 Abakkolinso 2:4.
18. Kiki kye tuyinza okuyigira ku ebyo Yesu bye yagamba Peetero?
18 Bwe yali ategeeza abayigirizwa be ebikwata ku kufa kwe, yakiraga bulungi nti tayinza kukkiriza kintu kyonna kumuwugula. Peetero yakubiriza Yesu ‘obutakkiriza ekyo okumutuukako.’ Yesu yagaana okukola ekintu kyonna ekyandimulemesezza okutuukiriza Katonda by’ayagala. Yagamba Peetero nti: “Dda ennyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby’abantu.” (Matayo 16:21-23) Ka naffe tubeerenga bamalirivu okwesamba endowooza z’abantu. Era, ka bulijjo tuluŋŋamizibwenga endowooza ya Katonda.
Obwakabaka Bujja Kuleeta Emiganyulo Egya Nnamaddala
19. Wadde nga yakola ebyamagero bingi, kiki ekyali kisinga obukulu mu buweereza bwa Yesu?
19 Yesu yakola eby’amagero bingi okusobola okulaga nti ye yali Masiya. Yazuukiza n’abafu. Eby’amagero Yesu bya yakola byasikiriza abantu bangi, naye ekyo si kye kyamuleeta ku nsi. Yajja okubuulira amazima. Yali akimanyi bulungi nti ebintu byonna bye yandikoledde abantu byandibaganyudde akaseera katono. N’abo be yazuukiza bandizzeemu okufa. Okubabuulira amazima kye kintu kyokka ekyandibayambye okufuna obulamu obutaggwaawo.—Lukka 18:28-30.
20, 21. Mu ngeri ki Abakristaayo ab’amazima gye batagwa lubege ku nsonga y’okukolera abalala ebirungi?
20 Leero abantu abamu bagezaako okukoppa ebirungi Yesu bye yakolera abantu nga bazimba amalwaliro oba nga bakola ebintu ebirala ebiyamba abaavu. Emirundi egimu, beefiiriza ebintu bingi okusobola okukola ebintu ebyo, era basiimibwa nnyo olw’ebyo bye bakola; naye ebintu ng’ebyo biganyula abantu ekiseera kitono. Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okubaleetera emiganyulo egy’olubeerera. N’olw’ensonga eyo, Abajulirwa ba Yakuwa essira balissa ku kubuulira mazima agakwata ku Bwakabaka obwo.
21 Kya lwatu nti, n’Abakristaayo ab’amazima bakolera abalala ebirungi. Pawulo yawandiika: “Bwe tunaalabanga ebbanga, tubakolerenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Abaggalatiya 6:10) Mu biseera ebizibu oba bwe wabaawo omuntu ali mu bwetaavu, tetulonzaalonza ‘kukolera baliraanwa baffe oba baganda baffe Abakristaayo ebirungi.’ Wadde kiri kityo, ekintu kye tusinga okutwala ng’ekikulu kwe kubuulira amazima.
Yigira ku Kyokulabirako kya Yesu
22. Lwaki Abakristaayo babuulira baliraanwa baabwe?
22 Pawulo yawandiika: “Zinsanze, bwe ssibuulira njiri.” (1 Abakkolinso 9:16) Pawulo yatwala okubuulira amawulire amalungi ng’ekintu ekikulu ennyo kubanga kwandiwonyeza obulamu bwe n’obw’abo abaali bamuwuliriza. (1 Timoseewo 4:16) Naffe tulina endowooza y’emu ku buweereza bwaffe. Twagala okuyamba baliraanwa baffe. Twagala okwoleka okwagala kwe tulina eri Yakuwa, okukiraga nti twagala Yesu era nti tusiima nnyo okwagala kwe yatulaga. N’olwekyo, tubuulira amawulire amalungi era ne ‘tukola ebyo Katonda by’ayagala,’ mu kifo ky’okwenyigira mu bikolwa ebibi.—1 Peetero 4:1, 2.
23, 24. (a) Kiki kye tuyigira ku kyamagero kya Yesu eky’ebyennyanja? (b) Baani leero abawa obujulirwa mu bujjuvu?
23 Okufaananako Yesu, naffe tetuwugulibwa ka kibe nti abantu abalala batuvuma oba bagaana obubaka bwaffe. Tulina kye tuyigira ku kyamagero Yesu kye yakola lwe yagamba Peetero ne Andereya okumugoberera. Singa tugondera Yesu, era mu ngeri ey’akabonero ne tusuula obutimba bwaffe mu mazzi omulabika ng’omutali byennyanja, tuyinza okubaako kye tukwasa. Abakristaayo bangi bafunye ebibala bingi oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi nga babuulira mu bifo abantu gye baali balabika ng’abatasiima mazima. Abalala bagenze mu bifo awali obwetaavu obusingako era bafunye ebibala bingi. Ka kibe ki ekiyinza okubaawo, tetujja kulekera awo kubuulira mazima. Tukimanyi nti Yesu tannagamba nti omulimu gw’okubuulira gukomekerezeddwa.—Matayo 24:14.
24 Abajulirwa ba Yakuwa kati abasukka mu bukadde mukaaga babuulira mu nsi ezisukka 230. Omunaala gw’Omukuumi aka Febwali 1, 2005, kajja kubeeramu lipoota ekwata ku buweereza bwabwe mu mwaka ogw’obuweereza 2004. Alipoota eyo ejja kulaga emikisa Yakuwa gy’atuwadde mu mulimu gw’okubuulira. Mu kiseera kino ekikyasigaddeyo ng’eteekateeka y’ebintu eno tennaggibwawo, ka tweyongere okukolera ku bigambo bya Pawulo bino nti: ‘Nyiikiriranga okubuulira ekigambo.’ (2 Timoseewo 4:2) Ka tweyongere okuwa obujulirwa okutuusa Yakuwa lw’anaagamba nti guwedde.
Osobola Okuddamu?
• Tuyinza tutya okuganyulwa mu ngeri Yesu gye yatendekamu abayigirizwa be?
• Yesu yalina ndowooza ki ku bantu be yabuuliranga?
• Kiki ekitukubiriza okuwa obujulirwa?
• Okufaananako Yesu, tusobola tutya okukulembeza Katonda by’ayagala?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Ensonga esinga obukulu eyaleeta Yesu ku nsi kwe kubuulira amazima
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Abajulirwa ba Yakuwa essira balissa ku kubuulira mazima
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 27]
Okutandika n’omwaka guno, Alipoota ey’Ensi Yonna ey’Obuweereza bw’Abajulirwa ba Yakuwa tejja kubeeranga mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjanwali nga 1. Ejja kubeera mu Omunaala gw’Omukuumi aka Febwali 1.