Weegendereze Obulombolombo Obutasanyusa Katonda
MU LUGGYA olumu mu Afirika, mu kasana akeememula, mwalimu esanduuko embikkule ng’erimu omulambo. Ng’abakungubazi bagenda bayita awali omulambo, omusajja omu omukadde yayimirira awaali omulambo. Nga munakuwavu nnyo, yakutama okumpi n’omutwe gw’omufu n’agamba: “Lwaki tewambuulidde nti ogenda? Lwaki ondese bw’oti? Kaakano engeri gy’okomyewo, oneeyongera okunnyamba?”
Mu nsi endala ey’omu Afirika, waliwo omwana azaaliddwa. Tewali n’omu akkirizibwa kulaba ku mwana oyo. Wamala kuyitawo nnaku omwana n’alyoka aleetebwa okulabibwa abantu era ne bakola omukolo ogw’okumuwa erinnya.
Eri abamu, okwogera eri omulambo oba okukweka omwana eyaakazaalibwa aleme kulabibwa bantu kiyinza okulabika ng’ekintu ekitali kya bulijjo. Kyokka, mu nsi ezimu, engeri abantu gye batunuuliramu abafu n’okuzaalibwa kw’abaana yeesigamye ku nzikiriza egamba nti abafu baba baliko we bali era nga bategeera.
Enzikiriza eno yasimba dda amakanda era yeeyolekera mu bulombolombo obukwata kumpi ku mbeera zonna ez’abantu. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi nnyo bakkiriza nti emitendera emikulu mu bulamu bw’omuntu, gamba ng’okuzaalibwa, okuvubuka, obufumbo, okuzaala, n’okufa—ziba nkyukakyuka ezisobozesa omuntu okutuuka mu ttwale ery’emyoyo eri bajjajja abaafa. Bw’atuuka mu ttwale eryo, kisuubirwa nti omufu yeeyongera okubaako eky’amaanyi ky’akola ku bulamu bw’abo b’alese emabega. Era nti asobola okweyongera okuba omulamu singa addamu okuzaalibwa.
Okusobola okukakasa nti omuntu ayita bulungi mu mitendera egyo, waliwo obulombolombo n’emikolo ebikolebwa. Obulombolombo obwo bwesigama ku nzikiriza egamba nti waliwo ekitulimu ekiwonawo ku kufa. Abakristaayo ab’amazima beewala emikolo gyonna egyekuusa ku nzikiriza eyo. Lwaki?
Abafu Bali mu Mbeera Ki?
Baibuli eyogera kaati ku mbeera abafu gye balimu. Egamba: “Kubanga abalamu bama- nyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, . . . Okwagala kwabwe kwenkana n’okukyawa n’obuggya bwabwe okuzikirira kaakano: . . . Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n’amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.” (Omubuulizi 9:5, 6, 10) Okuva edda n’edda abasinza ba Katonda ab’amazima babadde bakkiriza amazima ago aga Baibuli. Bakimanyi nti emmeeme efa era nti esobola okuzikirizibwa. (Ezeekyeri 18:4) Era bakimanyi nti emyoyo gy’abafu tegiriiyo. (Zabbuli 146:4) Mu biseera eby’edda, Yakuwa yalagira abantu be obuteenyigira mu bulombolombo bwonna oba emikolo gyonna egyali gyekuusa ku nzikiriza egamba nti abafu bategeera era nti basobola okubaako kye bakola ku balamu.—Ekyamateeka 14:1; 18:9-13; Isaaya 8:19, 20.
N’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka beewala obulombolombo obwali bwekuusa ku njigiriza z’eddiini ez’obulimba. (2 Abakkolinso 6:15-17) Leero, Abajulirwa ba Yakuwa, ka babe ba ggwanga ki, langi ki oba nga baakulira wa, beewala obulombolombo n’emikolo ebyekuusa ku njigiriza ey’obulimba egamba nti waliwo ekiwonawo ng’omuntu afudde.
Ng’Abakristaayo, kiki ekiyinza okutuyamba okumanya obanga akalombolombo akamu kakyamu oba nedda? Ekisooka, tulina okukakasa nti tekeekuusa ku njigiriza ez’obulimba, gamba ng’eyo egamba nti emyoyo gy’abafu gisobola okubaako kye gikola ku bantu abalamu. Ate era, tulina okukakasa nti okwenyigira mu bulombolombo ng’obwo tekyesittaza balala abamanyi ekyo Abajulirwa ba Yakuwa kye bakkiriza ne kye bayigiriza. Kati nga tulina ensonga ezo mu birowoozo, ka twekenneenye ebintu bibiri—okuzaalibwa kw’omwana n’okufa kw’omuntu.
Emikolo egy’Okuzaalibwa kw’Omwana n’egy’Okumutuuma Erinnya
Obulombolombo bungi obukwataganyizibwa n’okuzaalibwa kw’omwana si bukyamu. Kyokka, mu bifo gye kitwalibwa nti okuzaalibwa kuba kuva mu ttwale ery’emyoyo okudda mu ly’abantu, Abakristaayo ab’amazima balina okwegendereza. Ng’ekyokulabirako, mu nsi ezimu mu Afirika, omwana azaaliddwa tafulumizibwa wabweru wa nnyumba era tatuumibwa linnya okutuusa ng’ekiseera kimaze kuyitawo. Wadde ng’ekiseera ekirina okusooka okuyitawo tekiba kye kimu mu buli kifo, ku nkomerero wakyo wabaawo omukolo omwana kw’atuumirwa erinnya era n’alagibwa ab’eŋŋanda n’ab’emikwano. Mu kiseera ekyo, erinnya erituumiddwa omwana litegeezebwa abo bonna ababaawo.
Nga kyogera ku makulu g’akalombolombo kano, ekitabo ekiyitibwa Ghana—Understanding the People and Their Culture kigamba: “Mu nnaku omusanvu ezisooka ng’omwana kyajje azaalibwe, atwalibwa okuba ‘ng’akyadde’ era ng’akyali mu nkyukakyuka ey’okuva mu ttwale ery’emyoyo okudda mu bulamu obw’oku nsi. . . . Omwana atera kukuumirwa mu nnyumba era abantu b’ebweru tebakkirizibwa kumulaba.”
Lwaki basooka okulinda ekiseera okuyitawo ng’omwana tannaweebwa linnya? Ekitabo ekiyitibwa Ghana in Retrospect kinnyonnyola: “Ng’olunaku olw’omunaana terunnaba kutuuka, omwana talowoozebwa kuba muntu. Aba akyatalibwa okuba mu ttwale ery’emyoyo.” Ekitabo ekyo kyongera ne kigamba nti: “Okuva bwe kirowoozebwa nti okutuuma omwana erinnya kye kimufuula omuntu, singa bazadde b’omwana balowooza nti ayinza okufa balindako okumutuuma erinnya okutuusa nga bakakasiza nti ajja kulama. . . . N’olwekyo omukolo guno ogw’okutuuma omwana erinnya, oluusi oguyitibwa ogw’okwanjula omwana eri abantu, gutwalibwa okuba omukulu ennyo eri omwana n’eri bazadde be. Omukolo guno gwe gusobozesa omwana okujja mu ttwale ly’abantu.”
Ow’eŋŋanda asinga obukulu mu myaka y’atera okukubiriza omukolo ogwo ogw’okutuuma omwana erinnya. Ebitera okukolebwa ku mukolo ogwo byawukana mu buli kifo, naye omukolo ogwo gutera okubaako okuyiwa omwenge ku ttaka, okwebaza bajjajja abaafa olw’okuyamba omwana okutuuka emirembe, n’ebintu ebirala.
Omukolo gutuuka ku ntikko ng’erinnya ly’omwana lirangirirwa. Wadde ng’abazadde be bavunaanyizibwa okutuuma omwana waabwe erinnya, ab’eŋŋanda batera okuwa endowooza yaabwe ku linnya ly’alina okutuumibwa. Amannya agamu gayinza okuba n’amakulu mu lulimi olwo, gamba nga “yagenda kati akomyewo,” “Maama azze omulundi ogw’okubiri,” oba “Taata akomyewo.” Amannya agamu gagendererwa okuziyiza bajjajja abaafa okuddamu okutwala omwana mu nsi y’abafu.
Kya lwatu, si kikyamu okusanyuka ng’omwana azaaliddwa. Omwana okumubbulamu erinnya oba okumutuuma erinnya eriraga embeera eyaliwo ng’azaalibwa, bulombolombo obutalina kabi, era kiri eri buli muntu okusalawo ddi omwana lwe yandituumiddwa erinnya. Kyokka, Abakristaayo abaagala okusanyusa Katonda beewala obulombolombo n’emikolo egiwa ekifaananyi nti bakkiriziganya n’endowooza egamba nti omwana aba “akyadde” era ng’akyali mu nkyukakyuka ey’okuva mu ttwale ery’emyoyo okudda mu bulamu obw’oku nsi.
Ate era, wadde nga bangi mu kitundu batwala omukolo ogw’okutuuma omwana erinnya ng’engeri emusobozesa okuva mu bulamu obumu okudda mu bulala, Abakristaayo basaanidde okulowooza ku muntu ow’omunda ow’abalala era ne balowooza ku kifaananyi kye bawa abo abatali bakkiriza. Ng’ekyokulabirako, abamu banaakitwala batya singa Abakristaayo bakweka omwana waabwe okutuusa ng’omukolo ogw’okumutuuma erinnya guwedde? Banaawa kifaananyi ki singa omwana bamutuuma amannya agakontana n’ekyo Baibuli ky’eyigiriza?
N’olwekyo, nga basalawo engeri y’okutuumamu omwana erinnya ne ddi lwe yandituumiddwa, Abakristaayo bafuba ‘okukola buli kintu kyonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa’ baleme okwesittaza abantu. (1 Abakkolinso 10:31-33) Tebamenya ‘mateeka ga Katonda olw’okwagala okugoberera obulombolombo’ obulina ekigendererwa eky’okugulumiza abafu. Wabula, bagulumiza era ne bawa Yakuwa ekitiibwa, Katonda omulamu.—Makko 7:9, 13.
Okuva mu Kufa Okudda mu Bulamu
Okufaananako okuzaalibwa, okufa kutwalibwa ng’okuva mu bulamu obumu okudda mu bulala; omuntu bw’afa ava mu ttwale ly’abantu n’agenda mu ttwale ery’emyoyo gy’abafu. Bangi bakkiriza nti bajjajja abaafa, abalowoozebwa okuba n’obuyinza obw’okubonereza oba okuwa empeera, bayinza okunyiiga singa tewabaawo bulombolombo bukolebwa ng’omuntu afudde. Enzikiriza eyo esinziirwako nnyo nga bategeka ebikwata ku kuziika.
Emikolo egikolebwa ku kuziika okusobola okuwooyawooya omufu gibaamu ebintu bingi, gamba wayinza okubaawo okukuba ebiwoobe n’okuleekaana ate oluvannyuma lw’okuziika ne wabaawo ebikujjuko. Era ku mikolo egyo kubaako eby’okulya bingi nnyo, ettamiiro, okuzina era n’ennyimba ezitumbuddwa amaloboozi. Omukolo ogw’okuziika gutwalibwa nga mukulu nnyo ne kiba nti n’amaka amaavu lunkupe gafuba okufuna ssente ezimala basobole ‘okuziika omuntu mu ngeri ekkirizibwa,’ wadde nga kino kiyinza okugaleetera ebizibu n’okugwa mu mabanja.
Mu myaka egizze giyitawo, Abajulirwa ba Yakuwa baanise obulombolombo bw’okuziika obuteesigamiziddwa ku Byawandiikibwa.a Obulombolombo obwo butwaliramu obuteebaka kiro ng’omuntu afudde, okuyiwa omwenge ku ttaka, okwogera n’abafu n’okubaako by’obasaba bakukolere, okwabya ennyimbe, n’obulombolombo obulala obwesigamiddwa ku nzikiriza egamba nti waliwo ekiwonawo ng’omuntu afudde. Obulombolombo ng’obwo obutasanyusa Katonda ‘si bulongoofu,’ ‘bwa bulimba,’ era bwesigamiziddwa ku ‘ndowooza z’abantu’ so si ku Kigambo kya Katonda eky’amazima.—Isaaya 52:11; Abakkolosaayi 2:8.
Okupikirizibwa Okweyisa ng’Abalala
Okwewala obulombolombo bw’ensi kusoomooza kwa maanyi nnyo eri abamu, naddala abo abali mu nsi gye kitwalibwa nti kikulu nnyo okugulumiza abafu. Olw’okuba tebagoberera bulombolombo ng’obwo, Abajulirwa ba Yakuwa batunuulirwa bubi oba batwalibwa nti beeyawula ku bantu era nti tebawa bafu kitiibwa. Olw’okuvumirirwa n’okupikirizibwa mu ngeri eyo kiviiriddeko Abakristaayo abamu okutya okunywerera ku kituufu, wadde nga bamanyi bulungi ekyo Baibuli ky’eyigiriza. (1 Peetero 3:14) Abamu bagamba nti obulombolombo buno bwa mu buwangwa bwabwe era nti tebasbola kubwewalira ddala. Ate abalala bagamba nti singa tebabugoberera kiyinza okuviirako abantu b’omu kitundu okusosola abantu ba Katonda.
Tetwagala kunyiiza balala mu bugenderevu. Wadde kiri kityo, Baibuli ekiraga bulungi nti singa tunywerera ku mazima kijja kutuviirako okukyayibwa abantu abeeyawudde ku Katonda. (Yokaana 15:18, 19; 2 Timoseewo 3:12; 1 Yokaana 5:19) Tunywerera ku mazima olw’okuba tukimanyi nti tulina okuba abaawufu ku bantu abali mu kizikiza eky’eby’omwoyo. (Malaki 3:18; Abaggalatiya 6:12) Nga Yesu bwe yaziyiza Setaani ng’amukema okukola ekintu ekitandisanyusizza Katonda, naffe tetukkiriza kupikirizibwa kweyisa mu ngeri enyiiza Katonda. (Matayo 4:3-7) Mu kifo ky’okutya okunyiiza abantu, Abakristaayo ab’amazima bafaayo nnyo okusanyusa Yakuwa Katonda n’okumugulumiza nga Katonda ow’amazima. Ekyo bakikola nga tebamenya misingi gya Baibuli egikwata ku kusinza okw’amazima nga bapikiriziddwa abalala.—Engero 29:25; Ebikolwa 5:29.
Okugulumiza Yakuwa mu Ngeri gye Tutwalamu Abafu
Kya mu butonde okuwulira ennyiike n’obulumi nga tufiiriddwako omwagalwa. (Yokaana 11:33, 35) Okujjukira omwagalwa waffe eyafa n’okumuziika mu ngeri ennungi bisaanira era byoleka okwagala kwaffe. Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba obuteenyigira mu bulombolombo obutasanyusa Katonda wadde baba balina ennyiike ey’amaanyi. Kyokka, kino tekiba kyangu eri abo abakulidde mu bifo gye batya ennyo abafu. Tekiba kyangu obutagwa lubege nga tuli banakuwavu olw’okufiirwako omwagala waffe. Wadde kiri kityo, Abakristaayo abeesigwa bazzibwamu amaanyi ‘Katonda ow’okubudaabuda,’ era bayambibwa ne bakkiriza bannaabwe. (2 Abakkolinso 1:3, 4) Essuubi Abakristaayo ab’amazima lye balina nti abo bonna Katonda b’ajjukira bajja kuddamu babe balamu nate libayamba obutagoberera bulombolombo obukontana n’okuzuukira.
Tetuli basanyufu nti Yakuwa yatuyita ‘okuva mu kizikiza ne tuyingira mu kitangaala kye eky’ekitalo’? (1 Peetero 2:9) Bwe tuba n’essanyu olw’okufuna omwana oba n’ennaku olw’okufiirwa omwagalwa, ka okwagala okukola ekituufu n’okwagala Yakuwa Katonda bitukubirizenga ‘okutambula ng’abaana b’ekitangaala.’ Tetuganyanga okweyonoona mu by’omwoyo nga twenyigira mu mikolo n’obulombolombo obutasanyusa Katonda.—Abaefeso 5:8.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba obutabo Emyoyo gy’Abafu—Gisobola Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri? ne Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde? obukubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.